LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 54
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Sayuuni omugumba wa kuba n’abaana bangi (1-17)

        • Yakuwa, bba wa Sayuuni (5)

        • Abaana ba Sayuuni ba kuyigirizibwa Yakuwa (13)

        • Tewali kyakulwanyisa kirikozesebwa ku Sayuuni kiriraba mukisa (17)

Isaaya 54:1

Footnotes

  • *

    Oba, “mukama we.”

Marginal References

  • +Is 62:4
  • +Is 44:23; 49:13
  • +Is 66:7, 8
  • +Bag 4:26, 27

Isaaya 54:2

Marginal References

  • +Is 49:20
  • +Is 33:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1995, lup. 22

Isaaya 54:3

Marginal References

  • +Is 49:8; Ezk 36:35

Isaaya 54:4

Marginal References

  • +Is 41:10
  • +Is 61:7

Isaaya 54:5

Footnotes

  • *

    Oba, “mukama wo.”

Marginal References

  • +Is 44:2
  • +Ezk 16:8; Kos 2:16
  • +Is 44:6
  • +Zek 14:9; Bar 3:29

Isaaya 54:6

Footnotes

  • *

    Obut., “alumizibwa mu mwoyo.”

Marginal References

  • +Is 49:14; 62:4

Isaaya 54:7

Marginal References

  • +Ma 30:1, 3; Zb 30:5; 106:47; Is 27:12; Yer 29:10

Isaaya 54:8

Footnotes

  • *

    Oba, “Mu mataba ag’obusungu.”

Marginal References

  • +Is 47:6; Ezk 39:23
  • +Is 55:3
  • +Is 48:17; 49:26

Isaaya 54:9

Marginal References

  • +Lub 7:23
  • +Lub 8:21
  • +Yer 31:35, 36; Ezk 39:29

Isaaya 54:10

Marginal References

  • +Is 51:6
  • +Is 55:3
  • +Is 14:1

Isaaya 54:11

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku 1By 29:2.

Marginal References

  • +Is 52:2
  • +Kuk 1:2, 17
  • +Kub 21:19

Isaaya 54:12

Footnotes

  • *

    Mu Lungereza, ruby.

  • *

    Oba, “amayinja ag’omuliro.”

Isaaya 54:13

Marginal References

  • +Yer 31:34; Yok 6:45
  • +Zb 119:165; Is 66:12; Yer 33:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1994, lup. 7

    3/1/1991, lup. 11

    4/1/1990, lup. 14

Isaaya 54:14

Marginal References

  • +Is 1:26; 60:21
  • +Is 52:1
  • +Yer 23:4; Zef 3:13

Isaaya 54:15

Marginal References

  • +Ezk 38:16, 22; Zek 2:8; 12:3

Isaaya 54:16

Marginal References

  • +Is 10:5

Isaaya 54:17

Marginal References

  • +Zb 2:2, 4; Is 41:12
  • +Yer 23:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2019, lup. 6-7

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2008, lup. 28

    9/15/2008, lup. 7-8

General

Is. 54:1Is 62:4
Is. 54:1Is 44:23; 49:13
Is. 54:1Is 66:7, 8
Is. 54:1Bag 4:26, 27
Is. 54:2Is 49:20
Is. 54:2Is 33:20
Is. 54:3Is 49:8; Ezk 36:35
Is. 54:4Is 41:10
Is. 54:4Is 61:7
Is. 54:5Is 44:2
Is. 54:5Ezk 16:8; Kos 2:16
Is. 54:5Is 44:6
Is. 54:5Zek 14:9; Bar 3:29
Is. 54:6Is 49:14; 62:4
Is. 54:7Ma 30:1, 3; Zb 30:5; 106:47; Is 27:12; Yer 29:10
Is. 54:8Is 47:6; Ezk 39:23
Is. 54:8Is 55:3
Is. 54:8Is 48:17; 49:26
Is. 54:9Lub 7:23
Is. 54:9Lub 8:21
Is. 54:9Yer 31:35, 36; Ezk 39:29
Is. 54:10Is 51:6
Is. 54:10Is 55:3
Is. 54:10Is 14:1
Is. 54:11Is 52:2
Is. 54:11Kuk 1:2, 17
Is. 54:11Kub 21:19
Is. 54:13Yer 31:34; Yok 6:45
Is. 54:13Zb 119:165; Is 66:12; Yer 33:6
Is. 54:14Is 1:26; 60:21
Is. 54:14Is 52:1
Is. 54:14Yer 23:4; Zef 3:13
Is. 54:15Ezk 38:16, 22; Zek 2:8; 12:3
Is. 54:16Is 10:5
Is. 54:17Zb 2:2, 4; Is 41:12
Is. 54:17Yer 23:6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 54:1-17

Isaaya

54 “Yogerera waggulu n’essanyu, ggwe omukazi omugumba atazaalangako!+

Sanyuka era leekaana olw’essanyu+ ggwe atalumwangako bisa,+

Kubanga abaana b’oyo eyayabulirwa bangi

Okusinga abaana b’omukazi alina omusajja,”*+ Yakuwa bw’agamba.

 2 “Gaziya weema yo.+

Leega emitanda gya weema yo ey’ekitiibwa.

Teweeteerawo kkomo, wanvuya emiguwa gyo egya weema,

Era nyweza enninga zo eza weema.+

 3 Kubanga oligaziya ensalo zo ku mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono.

Ezzadde lyo liritwala amawanga,

Era liribeera mu bibuga ebyasigala amatongo.+

 4 Totya,+ kubanga toliswazibwa;+

Era tokwatibwa nsonyi, kubanga toliweebuulwa.

Olyerabira obuswavu bw’omu buvubuka bwo,

Era tolijjukira bwe waweebuuka ng’oli nnamwandu.”

 5 “Kubanga Omutonzi wo ow’Ekitalo+ alinga balo,*+

Yakuwa ow’eggye lye linnya lye,

Era Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo.+

Aliyitibwa Katonda w’ensi yonna.+

 6 Kubanga Yakuwa yakuyita ng’olinga omukazi eyalekebwawo era omunakuwavu,*+

Ng’olinga omukazi eyawasibwa mu buvubuka n’alekebwawo,” Katonda wo bw’agamba.

 7 “Kubanga nnakulekawo okumala akaseera katono,

Naye ndikukomyawo n’okusaasira okungi.+

 8 Mu busungu obungi* nnakukweka amaaso gange okumala akaseera katono,+

Naye ndikusaasira n’okwagala okutajjulukuka okw’emirembe n’emirembe,”+ Yakuwa, Omununuzi wo,+ bw’agamba.

 9 “Kino kiringa ennaku za Nuuwa gye ndi.+

Nga bwe nnalayira nti amazzi ga Nuuwa tegaliddamu kubuutikira nsi,+

Bwe ntyo ndayira nti siriddamu kukusunguwalira wadde okukukambuwalira.+

10 Ensozi ziyinza okuggibwawo

N’obusozi buyinza okunyeenyezebwa,

Naye okwagala kwange okutajjulukuka tekulikuggibwako,+

N’endagaano yange ey’emirembe terinyeenyezebwa,”+ Yakuwa, Oyo akusaasira,+ bw’agamba.

11 “Ggwe omukazi abonaabona,+ ayuuyizibwa omuyaga, atalina amubudaabuda,+

Nsiba amayinja go nga nkozesa obudongo,*

Era omusingi gwo nguzimbisa safiro.+

12 Ndikola ebitikkiro byo nga bya mayinja amatwakaavu* ag’omuwendo,

Emiryango gyo nga gya mayinja agamasamasa,*

N’ensalo zo zonna nga za mayinja ag’omuwendo.

13 Abaana bo bonna baliyigirizibwa Yakuwa,+

Era emirembe gy’abaana bo giriba mingi.+

14 Olinywezebwa mu butuukirivu.+

Okubonaabona kulikubeera wala nnyo,+

Tolitya kintu kyonna era tewaliba kikutiisa,

Kubanga tekirikusemberera.+

15 Bwe walibaawo akulumba,

Si nze ndiba mmulagidde.

Buli alikulumba talikuwangula.”+

16 “Laba! Nze nnatonda omuweesi,

Oyo afukuta omuliro gw’amanda

N’akola eky’okulwanyisa.

Era nze nnatonda omusajja azikiriza.+

17 Tewali kya kulwanyisa ekiriweesebwa okukulwanyisa ekiriba n’omukisa,+

Era buli lulimi oluligolokoka okuwoza naawe olirusinga.

Buno bwe busika bw’abaweereza ba Yakuwa,

Era obutuukirivu bwabwe buva gye ndi,” Yakuwa bw’agamba.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share