Zabbuli
Eri akubiriza eby’okuyimba; ku bivuga ebireegeddwa okuvugira mu ddoboozi lya Seminisi.* Zabbuli ya Dawudi.
12 Ndokola, Ai Yakuwa, kubanga abeesigwa tebakyaliwo;
Abantu ab’amazima baweddewo mu bantu.
2 Abantu boogera eby’obulimba buli omu eri munne;
Boogera n’emimwa gyabwe ebigambo ebiwaanawaana era nga balina emitima emikuusa.*+
3 Yakuwa ajja kusaanyaawo emimwa gyonna egyogera ebigambo ebiwaanawaana
Era n’olulimi olwewaana,+
4 Abo abagamba nti: “Tujja kuwangula nga tukozesa ennimi zaffe.
Emimwa gyaffe tugikozesa nga bwe twagala;
Ani anaatufuga?”+
5 “Olw’okuba abanaku banyigirizibwa,
Olw’okuba abaavu basinda,+
Nja kusituka mbeeko kye nkola,” Yakuwa bw’agamba.
“Nja kubawonya abo ababajooga.”
6 Ebigambo bya Yakuwa birongoofu;+
Biringa ffeeza alongoosereddwa mu kyoto eky’ebbumba, n’aggibwamu amasengere emirundi musanvu.
7 Ojja kubakuuma, Ai Yakuwa;+
Buli omu ku bo ojja kumuwonya abantu b’omulembe guno emirembe gyonna.
8 Ababi beetaaya,
Olw’okuba abaana b’abantu bawagira eby’obugwagwa.+