LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 39
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ababaka okuva e Babulooni (1-8)

Isaaya 39:1

Marginal References

  • +2By 32:23
  • +2Sk 20:5, 12, 13

Isaaya 39:2

Footnotes

  • *

    Obut., “yabasanyukira.”

  • *

    Oba, “lubiri.”

Marginal References

  • +2By 32:27

Isaaya 39:3

Marginal References

  • +2Sk 20:14, 15

Isaaya 39:4

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri lwo.”

  • *

    Oba, “lubiri lwange.”

Isaaya 39:6

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri lwo.”

Marginal References

  • +2Sk 24:11, 13; 25:13; 2By 36:18; Dan 1:1, 2
  • +2Sk 20:16-18

Isaaya 39:7

Marginal References

  • +2Sk 24:12; Dan 2:49; 5:29

Isaaya 39:8

Footnotes

  • *

    Oba, “n’amazima.”

  • *

    Obut., “nnaku zange.”

Marginal References

  • +2Sk 20:19

General

Is. 39:12By 32:23
Is. 39:12Sk 20:5, 12, 13
Is. 39:22By 32:27
Is. 39:32Sk 20:14, 15
Is. 39:62Sk 24:11, 13; 25:13; 2By 36:18; Dan 1:1, 2
Is. 39:62Sk 20:16-18
Is. 39:72Sk 24:12; Dan 2:49; 5:29
Is. 39:82Sk 20:19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 39:1-8

Isaaya

39 Mu kiseera ekyo kabaka wa Babulooni, Merodaaki-baladani mutabani wa Baladani, yaweereza Keezeekiya amabaluwa n’ekirabo,+ olw’okuba yali awulidde nti Keezeekiya yali alwadde era n’awona.+ 2 Keezeekiya yayaniriza ababaka n’essanyu* era n’abalaga ennyumba omwali eby’obugagga bye+—ffeeza, zzaabu, amafuta ga basamu, amafuta amalala ag’omuwendo, eby’okulwanyisa bye byonna, n’ebintu byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu nnyumba* ye ne mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

3 Oluvannyuma nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, era bavudde wa?” Keezeekiya n’amuddamu nti: “Bavudde mu nsi ey’ewala, e Babulooni.”+ 4 Isaaya era n’amubuuza nti: “Kiki kye balabye mu nnyumba yo?”* Keezeekiya n’amuddamu nti: “Buli kintu ekiri mu nnyumba yange* bakirabye. Tewali na kimu kye sibalaze mu mawanika gange.”

5 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti: “Wulira Yakuwa ow’eggye ky’agambye, 6 ‘Laba! Ekiseera kijja, byonna ebiri mu nnyumba yo* n’ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba na kimu ekirisigala,”+ Yakuwa bw’agamba.+ 7 ‘Era n’abamu ku baana bo ggwe kennyini b’olizaala, balitwalibwa ne bafuuka abakungu b’omu lubiri lwa kabaka wa Babulooni.’”+

8 Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti: “Ekigambo kya Yakuwa ky’oyogedde kirungi.” Era n’agattako nti: “Kubanga wajja kubaawo emirembe n’obutebenkevu* mu kiseera ky’obulamu bwange.”*+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share