LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g20 Na. 1 lup. 4
  • Biki Ebiviirako Abantu Okweraliikirira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Biki Ebiviirako Abantu Okweraliikirira?
  • Zuukuka!—2020
  • Similar Material
  • Okweraliikirira Kye Ki?
    Zuukuka!—2020
  • Olina Ebikweraliikiriza?
    Zuukuka!—2020
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2020
  • Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza
    Zuukuka!—2020
Zuukuka!—2020
g20 Na. 1 lup. 4

OKUKENDEEZA KU KWERALIIKIRIRA

Biki Ebiviirako Abantu Okweraliikirira?

Lipoota eyafulumizibwa eddwaliro eriyitibwa Mayo Clinic yagamba nti: “Abantu abakulu abasinga obungi bagamba nti balina bingi ebibeeraliikiriza. Leero embeera mu nsi zikyukakyuka buli kiseera.” Lowooza ku bimu ku bintu ebitera okuviirako abantu okweraliikirira oba okuwulira nga bazitoowereddwa:

  • okugattululwa mu bufumbo

  • okufiirwa omuntu

  • obulwadde obw’amaanyi

  • obubenje

  • obumenyi bw’amateeka

  • eby’okukola ebingi

  • obutyabaga

  • obunkenke ku ssomero oba ku mulimu

  • emirimu n’eby’enfuna

“OKUFIIRWA OMULIMU”

Ekitongole ekirondoola embeera z’abantu mu Amerika kyagamba nti: “Okufiirwa omulimu kuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Kisobola okuviirako abantu abatalina mirimu okulwala, kiyinza okuleetawo ebizibu mu maka, okuleetera abantu okweraliikirira, okwennyamira, oluusi n’okwetta. Okufiirwa omulimu kikosa nnyo omuntu.”

OKWERALIIKIRIRA MU BAANA

Abaana nabo batera okweraliikirira. Abamu bannaabwe babayiikiriza ku ssomero oba balagajjalirwa bazadde baabwe. Abalala batulugunyizibwa, bavumibwa, oba bakabasanyizibwa. Bangi beeraliikirira ebibuuzo. Ate abalala bakosebwa nnyo nga bazadde baabwe bagattuluddwa. Abaana ng’abo bayinza okufuna ebirooto ebitiisa, okuzibuwalirwa okutegeera ebisomesebwa ku ssomero, okwennyamira, oba okweyawula ku balala. Omwana eyeeraliikirira aba yeetaaga okuyambibwa mu bwangu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share