LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g20 Na. 1 lup. 5-7
  • Okweraliikirira Kye Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okweraliikirira Kye Ki?
  • Zuukuka!—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKWERALIIKIRIRA OKULUNGI N’OKUTALI KULUNGI
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2020
  • Olina Ebikweraliikiriza?
    Zuukuka!—2020
  • Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza
    Zuukuka!—2020
Zuukuka!—2020
g20 Na. 1 lup. 5-7
Omusajja omukozi ayambuka amadaala ng’adduka ng’agenda mu ofiisi.

OKUKENDEEZA KU KWERALIIKIRIRA

Okweraliikirira Kye Ki?

Okweraliikirira ye nneewulira ejjawo mu mubiri nga wazzeewo embeera eyeetaaga okukolwako. Obwongo busindika empulirizo z’omubiri (hormones) nnyingi mu bitundu byonna eby’omubiri. Empulirizo ezo ziviirako omutima okukuba ennyo, zikyusa engeri omusaayi gye gutambulamu mu misuwa, ziviirako amawuggwe okugaziwa oba okufunda, era ziviirako ebinywa okwesiba. Nga tonnamanya kigenda mu maaso, omubiri gwo guba mwetegefu okubaako kye gukolawo. Ekintu ekiba kireeseewo embeera eyo bwe kiggwaawo, omubiri gwo gudda mu mbeera.

OKWERALIIKIRIRA OKULUNGI N’OKUTALI KULUNGI

Okweraliikirira kintu kya mu butonde ekisobola okukusobozesa okwaŋŋanga embeera ezisoomooza oba ez’obulabe. Okweraliikirira kitandikira mu bwongo. Okweraliikirira okulungi kukusobozesa okubaako ky’okolawo mu bwangu. Okweraliikirira okw’ekigero kusobola okukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo oba okukola obulungi ebintu, gamba ng’ebigezo, yintaaviyu, oba emizannyo.

Naye okweraliikirira bwe kumala ekiseera ekiwanvu oba bwe kuyitirira, kuba kwa bulabe eri omuntu. Bw’obeera ku bunkenke buli kiseera, kiyinza okukukosa mu mubiri, mu birowoozo, ne mu bwongo. Enneeyisa yo, nga mw’otwalidde n’engeri gy’oyisaamu abalala, eyinza okukyuka. Okweraliikirira olutatadde kisobola okuviirako omuntu okwekamirira omwenge oba okukozesa ebiragalalagala asobole okukwaŋŋanga. Kisobola n’okumuviirako okwennyamira, okuwulira nga mukoowu, oba okulowooza ku ky’okwetta.

Wadde ng’abantu bakwatibwako mu ngeri ya njawulo nga balina ebibeeraliikiriza, okweraliikirira kusobola okuvaako endwadde ezitali zimu. Kusobola okukosa kyenkana ebitundu byonna eby’omubiri.

ENGERI OKWERALIIKIRIRA GYE KUKOSA OMUBIRI

Obusimu bw’Omubiri.

Omusajja atadde omukono ku kyenyi nga mweraliikirivu.

Obusimu bw’omubiri buleetera empulirizo z’omubiri gamba nga adrenaline ne cortisol okuyiika mu mubiri. Empulirizo ezo ziviirako omutima okukubira ku sipiidi, omuntu okufuna entunnunsi, era ziviirako ne sukaali okweyongera obungi mu musaayi, era nga bino byonna bisobozesa omuntu okubaako ky’akolawo mu bwangu nga waliwo akabi. Okweraliikirira ennyo kisobola okukuviirako

  • okunyiiga amangu, omutima okukwewanika, okwennyamira, okulumwa omutwe, okubulwa otulo

Ebinywa.

Ebinywa by’omubiri gwo byesiba okukuyamba obutafuna bisago. Okweraliikirira ennyo kisobola okukuviirako

  • omubiri okukuluma, omutwe okukubobba, oba okufuna kamenya

Okussa.

Ossiza kumukumu. Okweraliikirira ennyo kisobola okukuviirako

  • okuwejjawejja oba okubeera awo nga weekangakanga

Omutima n’entambula y’omusaayi.

Omutima gwo gukuba nnyo era gukubira kumukumu okusobola okusaasaanya omusaayi mu mubiri. Emisuwa gigaziwa oba gifunda okusobola okutwala omusaayi gye gusinga okwetaagibwa, gamba nga mu binywa. Okweraliikirira ennyo kisobola okukuviirako

  • okufuna entunnunsi, omutima okwesibwa, oba okusannyalala

Empulirizo z’omubiri.

Omubiri guzaala empulirizo (hormones) eziyitibwa adrenaline ne cortisol eziyamba omubiri okwaŋŋanga okweraliikirira. Ekibumba kyongera ku bungi bwa sukaali mu musaayi okusobola okukuwa amaanyi. Okweraliikirira ennyo kisobola okukuviirako

  • okufuna obulwadde bwa sukaali, obusirikale bw’omubiri okukendeera, okulwalalwala, okukyukakyuka mu mbeera zo, okugejja

Okusa emmere.

Kutaataaganya engeri omubiri gye gusa emmere. Okweraliikirira ennyo kisobola okukuviirako

  • okusinduukirirwa emmeeme, okusesema, okuddukana, olubuto okwesiba

Ebitundu ebikwatagana n’okuzaala.

Okweraliikirira kulina kye kukola ku by’okwegatta. Okweraliikirira ennyo kisobola okuviirako

  • omusajja obutasobola kwegatta, okutaataaganya ebiseera omukazi mw’agendera mu nsonga

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share