LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g20 Na. 1 lup. 14-15
  • Kisoboka Okuba mu Bulamu Obutaliimu Kweraliikirira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kisoboka Okuba mu Bulamu Obutaliimu Kweraliikirira
  • Zuukuka!—2020
  • Similar Material
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2020
  • ‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga
    Zuukuka!—2019
  • Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza
    Zuukuka!—2020
  • Obwakabaka bwa Katonda—Lwaki Yesu Abutwala nga Bukulu Nnyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Zuukuka!—2020
g20 Na. 1 lup. 14-15
Omulenzi ne taata we nga bazannyira mu nnyanja, ate nga maama ne bawala be banyumirwa olubalama.

OKUKENDEEZA KU KWERALIIKIRIRA

Kisoboka Okuba mu Bulamu Obutaliimu Kweraliikirira

Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okutuyamba okukendeeza ku kweraliikirira. Abantu tetusobola kumalirawo ddala bintu bituviirako kweraliikirira. Naye ye Omutonzi waffe asobola. Alina ne gwe yalonda okutuyamba, ng’ono ye Yesu Kristo. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kukola ebintu eby’ekitalo mu nsi yonna ebisinga n’ebyo bye yakola ng’ali ku nsi. Ng’ekyokulabirako:

YESU AJJA KUWONYA ABALWADDE NGA BWE YAKOLA.

“Ne bamuleetera abo bonna abaali balina endwadde eza buli kika . . . , n’abawonya.”​—MATAYO 4:24.

YESU AJJA KUSOBOZESA BULI OMU OKUFUNA AW’OKUSULA ERA N’EMMERE.

“[Abo Yesu b’alifuga] balizimba ennyumba ne bazibeeramu, era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’abeeramu, era tebalisimba abalala ne balya.”​—ISAAYA 65:21, 22.

OBUFUZI BWA YESU BUJJA KULEETA EMIREMBE N’OBUTEBENKEVU MU NSI YONNA.

“Mu nnaku ze abatuukirivu bajja kumeruka, era emirembe ginaabanga mingi nnyo okutuusa omwezi lwe guliba nga tegukyaliwo. Anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja n’okuva ku Mugga okutuuka ensi gy’ekoma. . . . Abalabe be banaakombanga enfuufu.”​—ZABBULI 72:7-9.

YESU AJJA KUMALAWO OBUTALI BWENKANYA.

“Anaasaasiranga abanaku n’abaavu, era anaawonyanga obulamu bw’abaavu. Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”​—ZABBULI 72:13, 14.

YESU AJJA KUMALAWO OKUBONAABONA N’OKUFA.

“Okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—OKUBIKKULIRWA 21:4.

“EBISEERA BIRIBA BIZIBU NNYO”

“Leero abantu mu nsi beeraliikirivu nnyo, banakuwavu, era bali mu bulumi ku kigero ekitabangawo.”​—Mohamed S. Younis, maneja wa Gallup.

Lwaki leero abantu bangi beeraliikirivu? Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo. Mu 2 Timoseewo 3:1, egamba nti: “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo.” Bayibuli eraga nti abantu leero beeraliikirivu nnyo olw’enneeyisa y’abantu embi. Leero abantu bangi ba mululu, ba malala, bannanfuusi, bakambwe, tebaagala ba ŋŋanda, era tebeefuga. (2 Timoseewo 3:2-5) Ennaku ez’enkomerero zijja kukoma Yesu bw’anaatandika okuddukanya ebintu ku nsi mu bujjuvu nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ng’eno ye gavumenti ey’omu ggulu.​—Danyeri 2:44.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share