LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g19 Na. 1 lup. 12-15
  • ‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga
  • Zuukuka!—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAJJA DDI?
  • OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAATANDIKA BUTYA OKUFUGA ENSI YONNA?
  • OYINZA OTYA OKUGANYULWA MU BUFUZI BW’OBWAKABAKA BWA KATONDA?
  • Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Yesu Kye Yayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obwakabaka “Obutalizikirizibwa Emirembe Gyonna”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
See More
Zuukuka!—2019
g19 Na. 1 lup. 12-15
Abantu nga banyumirwa obulamu mu nsi empya

ENGERI EBIZIBU GYE BINAAGONJOOLERWA DDALA

‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga

Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda, ng’eno ye Gavumenti Katonda gye yassaawo ejja okufuga ensi yonna, bujja kuleetawo emirembe n’obumu mu nsi yonna. Zabbuli 72:7 wagamba nti: “Emirembe ginaabanga mingi nnyo.” Naye Obwakabaka bwa Katonda bunaatandika ddi okufuga ensi yonna? Bunaatandika butya okufuga ensi yonna? Era oyinza otya okuganyulwa mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda?

OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAJJA DDI?

Bayibuli yalaga ebintu ebitali bimu ebyandibaddewo ng’Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja. Ebintu ebyo byonna awamu “kabonero” akalaga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja, era akabonero ako kazingiramu ebintu gamba ng’entalo, enjala, endwadde, musisi, n’okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka.​—Matayo 24:3, 7, 12; Lukka 21:11; Okubikkulirwa 6:2-8.

Ate era Bayibuli yalagula nti: “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, . . . nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bulungi, . . . nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu okusinga Katonda.” (2 Timoseewo 3:1-4) Okuva edda wabaddengawo abantu abatonotono abeeyisa bwe batyo. Naye kati abantu abasinga obungi bwe batyo bwe beeyisa.

Ebintu ebyo byatandika okutuukirira mu 1914. Mu butuufu, bannabyafaayo, bannabyabufuzi, n’abawandiisi boogedde ku ngeri ensi gye yakyukamu oluvannyuma lw’omwaka ogwo. Ng’ekyokulabirako, munnabyafaayo omu ow’omu Denmark ayitibwa Peter Munch yagamba nti: “Ssematalo eyatandikawo mu 1914 yaleetawo enkyukakyuka ey’amaanyi mu byafaayo by’abantu. Ng’omwaka ogwo tegunnatuuka, embeera mu nsi yali nnungi era ng’abantu basuubira nti egenda kweyongerera ddala okuba ennungi, . . . naye waatandika okubaawo obutyabaga, ebintu ebitiisa, obukyayi, n’obutali butebenkevu buli wamu.”

Naye ebintu ebyo ebibi biraga nti waliwo ekintu ekirungi ekinaatera okubaawo. Biraga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okutandika okufuga ensi yonna. Mu butuufu Yesu yayogera ne ku kintu ekirungi ekyandiraze nti enkomerero eneetera okujja. Yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Matayo 24:14.

Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka bwe bubaka obukulu Abajulirwa ba Yakuwa bwe babuulira. Mu butuufu, magazini y’Abajulirwa ba Yakuwa enkulu eyitibwa Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa. Etera okwogera ku bintu ebirungi Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukolera abantu, n’engeri gye bujja okulongoosaamu ensi.

OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAATANDIKA BUTYA OKUFUGA ENSI YONNA?

Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kizingiramu ebintu bino bina ebikulu:

  1. Obwakabaka obwo tebujja kufuga nga buyitira mu bafuzi b’ensi eno.

  2. Olw’okwagala okwenywereza mu buyinza, abafuzi b’ensi bajja kugezaako okulwanyisa Obwakabaka bwa Katonda.​—Zabbuli 2:2-9.

  3. Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza obufuzi bw’abantu. (Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 19:17-21) Olutalo olwo olusembayo olujja okubaawo mu nsi yonna luyitibwa Amagedoni.​—Okubikkulirwa 16:14, 16.

  4. Abo bonna abakkiriza okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda bajja kuwonyezebwawo ku Amagedoni bayingire mu nsi empya eribaamu emirembe. Abantu abo Bayibuli ebayita “ekibiina ekinene,” era kirabika bajja kuba bangi nnyo ng’omuwendo gwabwe guli mu bukadde.​—Okubikkulirwa 7:9, 10, 13, 14.

    BIKI OBWAKABAKA BWA KATONDA BYE BUNAAKOLA?

    Yesu bwe yali ku nsi yatulagako ku kigero ekitono ekyo ky’ajja okukola ng’afuga nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda. Yawonya abalwadde n’abaliko obulemu. (Matayo 4:23) Yaliisa abantu nkumi na nkumi. (Makko 6:35-44) Yalina n’obuyinza ku mbeera y’obudde.​—Makko 4:37-41.

    Yesu ng’ayigiriza abantu abamwetoolodde

    N’okusinga byonna, Yesu yayigiriza abantu engeri y’okubeera awamu mu mirembe nga bali bumu. Abo bonna abakolera ku ebyo bye yayigiriza, bayiga okweyisa mu ngeri eneebasobozesa okubeera awamu nga basanyufu nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Tewali musomesa yenna ayinza kutuukiriza ekyo. Ebimu ku bintu ebirungi Yesu bye yayigiriza bisangibwa mu Matayo essuula 5-7. Lwaki essuula ezo tozisoma? Ebigambo Yesu bye yakozesa mu ssuula ezo byangu, naye obubaka obuzirimu bukulu nnyo era bukwata ku mitima gy’abantu.

OYINZA OTYA OKUGANYULWA MU BUFUZI BW’OBWAKABAKA BWA KATONDA?

Ekintu ekisookera ddala omuntu ky’alina okukola okusobola okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda kwe kuyigirizibwa. Yesu bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”​—Yokaana 17:3.

Abantu bwe bamanya Katonda, n’aba nga wa ddala gye bali, baganyulwa mu ngeri nnyingi. Ka tulabeyo emiganyulo ebiri: Ekisooka, bafuna okukkiriza okw’amaanyi. Okukkiriza okwo okuba kwesigamiziddwa ku bukakafu bwe baba bafunye, kubaleetera okukiraba nti Obwakabaka bwa Katonda bwa ddala era nti bunaatera okujja. (Abebbulaniya 11:1) Eky’okubiri, okwagala kwe balina eri Katonda n’eri bantu bannaabwe kweyongera. Okwagala kwe balina eri Katonda kubaleetera okumugondera kyeyagalire. Ate okwagala kwe balina eri bantu bannaabwe kubaleetera okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Ebyo bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”​—Lukka 6:31.

Omutonzi waffe era Kitaffe ow’omu ggulu, atwagaliza ekisingayo obulungi. Ayagala tufune obulamu Bayibuli bw’eyita “obulamu obwa nnamaddala.” (1 Timoseewo 6:19) Obulamu leero si ‘bwa nnamaddala.’ Abantu bangi leero bali mu bulamu obuzibu era bakaluubirirwa nnyo okwebeezaawo. Okusobola okumanya “obulamu obwa nnamaddala” bwe buliba, lowooza ku bimu ku bintu ebirungi ennyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukolera abo be bunaafuga.

OBULAMU OBWA NNAMADDALA BWE BULIBA

  • “Mu nnaku ze [Kristo ng’afuga nga Kabaka] abatuukirivu bajja kumeruka, era emirembe ginaabanga mingi nnyo . . . Anaafuganga . . . okutuuka ensi gy’ekoma.”​—Zabbuli 72:7, 8, 13, 14.

  • “[Katonda] amalawo entalo mu nsi yonna. amenya emitego gy’obusaale era amenyaamenya amafumu.”​—Zabbuli 46:9.

  • “Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.”​—Zabbuli 72:16.

  • “Balizimba ennyumba ne bazibeeramu, era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’abeeramu, era tebalisimba abalala ne balya. . . . Abalonde bange balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe.”​—Isaaya 65:21, 22.

  • “Weema ya Katonda eri wamu n’abantu . . . Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Abantu nga banyumirwa obulamu mu nsi empya

Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga, wajja kubaawo emirembe n’obutebenkevu, era abantu bajja kuba n’emmere nnyingi

ENSONGA ENKULU

EBYO YESU BYE YAYIGIRIZA BISOBOZESA ABANTU OKUKOLA EKITUUFU. ABO BONNA ABABIKOLERAKO, BAJJA KUBA MU MIREMBE ERA BAJJA KUBA BUMU NGA BAFUGIBWA OBWAKABAKA BWA KATONDA

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share