LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp20 Na. 1 lup. 12-13
  • Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Similar Material
  • Yesu Kye Yayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obwakabaka bwa Katonda Bufuga
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 1 lup. 12-13
Ensi nga bw’erabika ng’oli mu bwengula, ng’omusana gugyaseeko

Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda

Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:9, 10) Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Biki bye bukola? Era lwaki tusaanidde okusaba bujje?

Yesu Ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.

Lukka 1:31-33: “Olimutuuma erinnya Yesu. Oyo aliba mukulu era aliyitibwa Mwana w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu; era Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe; alifuga ennyumba ya Yakobo nga Kabaka emirembe gyonna, era Obwakabaka bwe tebuliggwaawo.”

Yesu yasinga kubuulira bikwata ku Bwakabaka.

Matayo 9:35: “Yesu n’agenda mu bibuga byonna ne mu byalo, ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ng’awonya endwadde eza buli kika.”

Yesu yabuulira abayigirizwa be ebyandibayambye okumanya nti Obwakabaka bunaatera okujja.

Matayo 24:7: “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu.”

Abagoberezi ba Yesu leero babuulira ebikwata ku Bwakabaka mu nsi yonna.

Matayo 24:14: “N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”

Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda

We Businziira Okufuga. Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala Katonda gye yassaawo mu ggulu.​—DANYERI 2:44; MATAYO 4:17.

Bye Bunaakola. Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuula ensi yonna ekifo ekirabika obulungi. Abantu bajja kubeera mu mirembe, nga bali bumu, era nga tebalwala wadde okufa.​—ZABBULI 37:11, 29.

Abafuzi. Katonda yalonda Yesu okuba Kabaka w’Obwakabaka bwe era ajja kufugira wamu n’abantu 144,000 abajja okugenda mu ggulu.​—LUKKA 1:30-33; 12:32; OKUBIKKULIRWA 14:1, 3.

Abanaafugibwa. Abanaafugibwa Obwakabaka bajja kubeera ku nsi nga bagondera obufuzi bwa Yesu n’amateeka g’Obwakabaka.​—MATAYO 7:21.

Ensonga Lwaki Yesu y’Agwanidde Okufuga Abantu

Yesu bwe yali ku nsi, yalaga nti yandibadde mufuzi mulungi era alina okwagala kubanga

  • Yasaasiranga abaavu.​—LUKKA 14:13, 14.

  • Yali tayagalira ddala bulyi bw’enguzi n’obutali bwenkanya.​—MATAYO 21:12, 13.

  • Yalina obuyinza ku maanyi g’obutonde.​—MAKKO 4:39.

  • Yaliisa abantu nkumi na nkumi.​—MATAYO 14:19-21.

  • Yasaasiranga abalwadde era n’awonya bonna abaali balumizibwa.​—MATAYO 8:16.

  • Yazuukiza abafu.​—YOKAANA 11:43, 44.

Engeri Obwakabaka bwa Katonda gye Buyinza Okukuganyula

Osobola okuba omusanyufu mu bulamu kati singa owagira Obwakabaka bwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, abo abanaafugibwa Obwakabaka obwo

  • ‘Bafuba okuba mu mirembe n’abantu bonna.’​—ABEBBULANIYA 12:14.

  • Baba n’emirembe n’obumu mu maka kubanga balagaŋŋana okwagala era bawaŋŋana ekitiibwa.​—ABEEFESO 5:22, 23, 33.

  • Baba basanyufu era bamativu mu bulamu kubanga ‘bamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.’​—MATAYO 5:3.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share