Yesu Kye Yayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda
“N’atambula ng’agenda ayita mu buli kibuga ne mu bubuga ng’abuulira . . . amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda.”—LUKKA 8:1.
TWAGALA nnyo okwogera ku bintu bye tutwala nga bikulu era bye twagala ennyo. Nga Yesu kennyini bwe yagamba, “ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Matayo 12:34) Bwe tulowooza ku bintu Yesu bye yayogerako mu buweereza bwe, tusobola okugamba nti Obwakabaka bwa Katonda kye kintu kye yali atwala ng’ekikulu.
Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Obwakabaka ye gavumenti efugibwa kabaka. N’olwekyo Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti Katonda gye yateekawo. Yesu yayogera nnyo ku Bwakabaka bwa Katonda era nga bwe bwali omutwe omukulu ogw’obubaka bwe. Obwakabaka buno bwogerwako emirundi egisoba mu 110 mu Njiri ennya. Naye Yesu teyakoma ku kuyigiriza mu bigambo bugambo. Ebikolwa bye nabyo byayigiriza kinene ku Bwakabaka bwa Katonda ne kye bunaakola.
Kabaka waabwo y’ani? Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda talondebwa bantu, wabula Katonda kennyini y’alonda Omufuzi ono. Bwe yali ayigiriza Yesu yakiraga nti ye yalondebwa Katonda okubeera Kabaka.
Yesu yakimanya nti obunnabbi bwa Baibuli bwali bwalagula nti Masiya eyasuubizibwa yandifuze nga Kabaka mu Bwakabaka obutaliggwaawo. (2 Samwiri 7:12-14; Danyeri 7:13, 14; Matayo 26:63, 64) Kijjukire nti Yesu yayogera kaati nti ye Masiya eyali yasuubizibwa. Mu ngeri eyo, Yesu yali alaga nti ye Kabaka eyalondebwa Katonda. (Yokaana 4:25, 26) Kituukirawo bulungi nti, enfunda n’enfunda Yesu yakozesa ebigambo bino, “obwakabaka bwange.”—Yokaana 18:36.
Yesu era yayigiriza nti wandibaddewo abalala abandifuze naye mu Bwakabaka. (Lukka 22:28-30) Bafuzi banne bano yabayita “ekisibo ekitono,” kubanga omuwendo gwabwe mugere. Yaboogerako bw’ati: “Kitammwe yasiima okubawa obwakabaka.” (Lukka 12:32) Ekitabo ekisembayo mu Baibuli kiraga nti abantu abanaabeera n’enkizo ey’okufuga ne Kristo bajja kuba 144,000.—Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1.
Obwakabaka buno buli ludda wa? Yesu yagamba omufuzi Omuruumi Pontiyo Piraato nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yokaana 18:36) Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Kristo tebujja kufuga nga buyitira mu bafuzi b’ensi. Yesu yakyogera enfunda n’enfunda nti Obwakabaka bwa Katonda bwe “bwakabaka obw’omu ggulu.”a (Matayo 4:17; 5:3, 10, 19, 20) N’olwekyo, Obwakabaka bwa Katonda, ye gavumenti ey’omu ggulu.
Yesu yali asuubira okuddayo mu ggulu oluvannyuma lw’ekiseera kye yandimaze ku nsi. Yagamba nti, ‘yanditeeseteese ekifo’ mu ggulu kisobozese bafuzi banne okumwegattako.—Yokaana 14:2, 3.
Obwakabaka bukola ki kati? Yesu yayigiriza abaali bamuwuliriza okusaba Katonda nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:9, 10) Katonda by’ayagala bikolebwa mu ggulu. Obwakabaka Katonda bw’akozesa okutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi eno. Ekigendererwa ekyo okusobola okutuukirira, Obwakabaka bujja kuleeta enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi eno.
Obwakabaka buno bunaakola ki ku nsi? Yesu yayigiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo obubi nga busaanyaawo abo abakola ebintu ebibi. (Matayo 25:31-34, 46) Ekyo kitegeeza nti eyo y’ejja okuba enkomerero y’obubi n’obutali bwesigwa bwonna. Yesu yayigiriza nti ensi ejja kujjula abantu “abateefu,” abatuukirivu; abasaasizi, “abalongoofu mu mutima,” era abaleetawo emirembe.—Matayo 5:5-9.
Abeesigwa ng’abo ba kubeera ku nsi eyonooneddwa? Nedda! Yesu yasuubiza nti wajja kujjawo enkyukakyuka ez’ekitalo ku nsi wansi w’Obwakabaka bwa Katonda. Omusajja eyali agenda okuttibwa awamu ne Yesu yagamba nti: “Yesu, onzijukiranga bw’olituuka mu bwakabaka bwo.” Yesu n’amuddamu nti: “Mazima nkugamba leero nti, Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:42, 43) Yee, Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda—olufaananako n’olwo olwaliwo, olusuku Adeni.
Kiki ekirala obwakabaka buno kye bunaakolera abantu bonna? Yesu teyakoma ku kusuubiza busuubiza ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bulikola naye era yalagira ddala ekyo kyennyini kye bulikola. Yesu yawonya abantu bangi mu ngeri ey’ekyamagero, era mu kukola ekyo yali alaga ekyo ky’alikola mu biseera eby’omu maaso ku kigero ekinene bw’aliba afuga mu Bwakabaka bwe. Enjiri eyaluŋŋamizibwa eyogera bw’eti ku Yesu: “N’agenda mu Ggaliraaya yonna ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng’abuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka, era ng’awonya endwadde eza buli kika, n’obukosefu bwonna obwali mu bantu.”—Matayo 4:23.
Yesu yawonya abantu abaalina endwadde ez’enjawulo. ‘Yazibula amaaso g’omuntu eyazaalibwa nga muzibe.’ (Yokaana 9:1-7, 32, 33) Yesu yakwata ku musajja eyalina obulwadde obubi ennyo obw’ebigenge n’amuwonya. (Makko 1:40-42) Bwe baamuleetera “omusajja kiggala era nga tasobola kwogera bulungi,” Yesu yakiraga nti “Asobozesa bakiggala okuwulira, n’abatayogera okwogera.”—Makko 7:31-37.
Kabaka eyalondebwa Katonda yalina obusobozi obw’okuzuukiza abafu. Baibuli eyogera ku bantu basatu ab’enjawulo Yesu be yazuukiza. Yazuukiza omwana wa nnamwandu omulenzi gwe yalina omu yekka, omuwala ow’emyaka 12, ne mukwano gwe Lazaalo.—Lukka 7:11-15; 8:41-55; Yokaana 11:38-44.
Ng’ayogera ku mbeera ennungi abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda gye banaabeeramu mu biseera eby’omu maaso, Yesu bw’ati bwe yalagula okuyitira mu mutume Yokaana: “Laba! Eweema ya Katonda eri wamu n’abantu, era anaabeeranga wamu nabo, era baliba bantu be. Katonda yennyini aliba wamu nabo. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde kukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.” (Okubikkulirwa 1:1; 21:3, 4) Kubamu akafaananyi—ensi omutali kukungubaga, bulumi, n’okufa! Olwo nno essaala egamba nti Katonda by’ayagala bikolebwe ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu eriba etuukiriziddwa mu bujjuvu.
Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi? Yesu yayigiriza nti yanditandise okufuga nga kabaka mu kiseera kye yayita “okubeerawo” kwe. Yesu yawa obunnabbi obwalimu ebintu eby’enjawulo ebyandiraze okubeerawo kwe ng’atandise okufuga nga Kabaka. Ekyo ekyandiraze nti ekiseera kino kitandise, bye bizibu ebyandibaddewo mu nsi yonna, nga mw’otwalidde entalo, enjala, musisi, kawumpuli, n’okweyongerayongera kw’obumenyi bw’amateeka. (Matayo 24:3, 7-12; Lukka 21:10, 11) Ebyo ebyogeddwako waggulu n’ebirala bingi Yesu bye yayogerako byatandika okweyoleka okuva mu 1914 omwaka Ssematalo I we yatandikira. N’olwekyo, Yesu kati afuga nga Kabaka. Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bujja kujja era buleetere Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi.b
Okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda kulina makulu ki gy’oli? Ebyo byonna bisinziira ku ngeri gy’otwalamu obubaka bwa Yesu.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo “obwakabaka obw’omu ggulu” kisangibwa mu Njiri ya Matayo emirundi nga 30.
b Okumanya ebisingawo ku ngeri gye tuyinza okutegeeramu nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi, laba essuula 9, erina omutwe, “Ddala Tuli mu ‘Nnaku ez’Oluvannyuma’?” mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.