LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • rq essomo 16 lup. 31
  • Okusalawo Kwo Okuweereza Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okusalawo Kwo Okuweereza Katonda
  • Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Similar Material
  • Otuuse Okubatizibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Okubatizibwa n’Enkolagana Yo ne Katonda
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Kinneetaagisa Okwewaayo eri Katonda n’Okubatizibwa?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Kifuule Kiruubirirwa Kyo Okuweereza Katonda Emirembe Gyonna
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
See More
Katonda Atwetaagisa Ki?
rq essomo 16 lup. 31

Essomo 16

Okusalawo Kwo Okuweereza Katonda

Oteekwa kukola ki okufuuka mukwano gwa Katonda? (1, 2)

Weewaayo otya eri Katonda? (1)

Wandibatiziddwa ddi? (2)

Osobola otya okufuna amaanyi osigale ng’oli mwesigwa eri Katonda? (3)

1. Okufuuka mukwano gwa Katonda oteekwa okumanya obulungi amazima ga Baibuli (1 Timoseewo 2:​3, 4), okukkiririza mu bintu by’oyize (Abaebbulaniya 11:6), okwenenya ebibi byo (Ebikolwa 17:​30, 31), era n’okukyuka okuva mu kkubo ly’obulamu bw’obaddemu. (Ebikolwa 3:19) Olwo okwagala kw’olina eri Katonda kwandikuleetedde okwewaayo gy’ali. Kino kitegeeza nti ng’oyitira mu kusaba okukwo ku bubwo ng’oli wekka, omutegeeza nti weewaddeyo gy’ali okukola by’ayagala.​—⁠Matayo 16:24; 22:⁠37.

2. Ng’omaze okwewaayo eri Katonda, osaanidde okubatizibwa. (Matayo 28:​19, 20) Okubatizibwa kumanyisa buli muntu nti weewaddeyo eri Yakuwa. N’olwekyo okubatizibwa kw’abo bokka abakulu ekimala okwesalirawo okuweereza Katonda. Omuntu bw’aba abatizibwa, omubiri gwe gwonna gulina okunnyikibwa mu mazzi okumala akaseera katono.a​—⁠Makko 1:​9, 10; Ebikolwa 8:⁠36.

3. Oluvannyuma lw’okwewaayo, Yakuwa akusuubira okutuukiriza ekisuubizo kyo. (Zabbuli 50:14; Omubuulizi 5:​4, 5) Omulyolyomi ajja kugezaako okukuziyiza okuweereza Yakuwa. (1 Peetero 5:⁠8) Naye tuukirira Katonda mu kusaba. (Abafiripi 4:​6, 7) Soma Ekigambo kye buli lunaku. (Zabbuli 1:​1-3) Nywerera ku kibiina. (Abaebbulaniya 13:17) Mu kukola bino byonna, ojja kufuna amaanyi okusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda. Mu ngeri eno ojja kusobola okukola ebintu Katonda by’akwetaagisa emirembe gyonna!

[Obugambo obuli wansi]

a Okubirizibwa okusoma akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, oba ekitabo ekirala ekikifaanana ekyakubibwa Watch Tower Bible and Tract Society, mu kweteekateeka okubatizibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share