LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ypq ekibuuzo 5 lup. 15-17
  • Watya Singa Waliwo Anjiikiriza ku Ssomero?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Watya Singa Waliwo Anjiikiriza ku Ssomero?
  • Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu
  • Similar Material
  • Weesige Yakuwa Bwe Wabaawo Abakuyiikiriza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu
ypq ekibuuzo 5 lup. 15-17
Omulenzi omu ayiikiriza munne mu kibiina

EKIBUUZO 5

Watya Singa Waliwo Anjiikiriza ku Ssomero?

LWAKI KIKULU?

Engeri gye weeyisaamu nga bakuyiikirizza eyinza okukkakkanya embeera oba okwongera okugyonoona.

KIKI KYE WANDIKOZE?

Lowooza ku mbeera eno: Thomas awulira tayagala kuddayo ku ssomero. Ekizibu ky’alina kyatandika emyezi esatu emabega abamu ku bayizi banne bwe baatandika okumwogerako ebintu ebitali bituufu era ne bamupaatiikako amannya. Oluusi muyizi munne yajjanga n’akoona ebitabo bye ne bigwa wansi ne yeefuula ng’atakigenderedde, ate oluusi omu ku bayizi banne yamusindikanga, era bwe yakyukanga okulaba amusindise nga tasobola kumanya eyabanga akikoze. Olunaku lwa jjo ebintu byeyongedde okwonooneka; abaana baamuweerezza obubaka ku ssimu nga bamutiisatiisa okumukolako akabi.

Singa ggwe Thomas, kiki kye wandikoze?

LOWOOZA KU KINO!

Olina ky’osobola okukolawo! Kiki ky’oyinza okukola nga bakuyiikirizza?

  • SIGALA NG’OLI MUKKAKKAMU. Bayibuli egamba nti: “Omusirusiru ayoleka obusungu bwe bwonna, naye ow’amagezi abufuga.” (Engero 29:11) Bw’ofuba okusigala ng’oli mukkakkamu, wadde nga munda owulira obusungu, abo abakuyiikiriza bajja kukuvaako.

  • TEWEESASUZA. Bayibuli egamba nti: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi.” (Abaruumi 12:17) Bw’ogezaako okwesasuza kyongera bwongezi kwonoona mbeera.

  • WEEWALE EBIYINZA OKUKULEETERA EMITAWAANA. Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka.” (Engero 22:3) Kola kyonna ekisoboka okwewala abantu abayinza okukuleetera emitawaana oba okwewala embeera eziyinza okuleetera abalala okukuyiikiriza.

  • OYINZA OKUBADDAMU MU NGERI GYE BATASUUBIRA. Bayibuli egamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi.” (Engero 15:1) Ng’ekyokulabirako, singa oyo akuyiikiriza akugamba nti oyitiridde obunene, oyinza okumugamba nti, “Ky’oyogedde kituufu, kirabika nneetaaga okusala ku mubiri!”

  • TAMBULA OVEEWO. Omuwala ow’emyaka 19 ayitibwa Nora yagamba nti: “Bw’osirika, kiraga nti oli mukulu mu birowoozo okusinga oyo akuyiikiriza. Era kiraga nti osobola okwefuga, ekintu oyo akuyiikiriza ky’atasobola kukola.”​—2 Timoseewo 2:24.

  • TEWEENYOOMA. Abo abayiikiriza abalala batera okwagala okuyiikiriza abantu abeenyooma era be basuubira nti tebalina kye bayinza kubakola. Ku luuyi olulala, singa bakiraba nti omuntu teyeenyooma, tebamala gamulumba.

  • BUULIRAKO OMUNTU OMULALA. Omusomesa omu agamba nti: “Nnagambanga abaana nti singa wabaawo omwana yenna abayiikiriza bajje bantegeeze. Ekyo kye basaanidde okukola, era kisobola okuyamba okukomya omuze ogwo.”

Omuvubuka ayolese obuvumu bwe babadde bamuyiikiriza

Bw’oba teweenyooma, kikufuula wa maanyi okusinga oyo ayagala okukuyiikiriza

OBADDE OKIMANYI?

Ng’oggyeeko okulumba omuntu obutereevu, okuyiikiriza era kuzingiramu:

  • Ebigambo ebiringa omuliro biva mu kamwa k’oyo ayiikiriza

    Ebigambo. “Sisobola kwerabira mannya ge bampitanga n’ebintu bye banjogereranga. Kyandeetera okuwulira nga sirina mugaso era nti saagalibwa. Kyandisinzeeko singa bankuba bukubi.”​—Celine, 20.

  • Omuvubuka ng’atudde yekka oluvannyuma lwa banne okumuboola

    Okuboolebwa. “Bayizi bannange baatandika okunneewala. Baafubanga okulaba nti sifuna kifo we ntuula ku mmeeza kwe twaliiranga eky’emisana, ne kiba nti emirundi mingi nnatuulanga nzekka. Nnamala omwaka mulamba nga ndya nzekka, era ng’emirundi mingi nkaaba.”​—Haley, 18.

  • Omuwala ng’ava ku kompyuta oluvannyuma lw’okusoma obubaka obumutiisatiisa

    Obubaka ku ssimu oba ku kompyuta. “Omuntu ayinza okusindika obubaka ku ssimu oba ku kompyuta n’ayonoona erinnya ly’omulala oba n’ateeka obulamu bwe mu kabi. Kino kisobola okulabika ng’okusavuwaza, naye kitera okubaawo!”​—Daniel, 14.

EBIKWATA KU KUYIIKIRIZA

KITUUFU OBA KIKYAMU?

EBY’OKUDDAMU

1 Okuyiikiriza kubaddewo okumala emyaka nkumi na nkumi.

1 Kituufu. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku baana bamalayika abajeemu be baazaala abaali bayitibwa Abanefuli, ekitegeeza “Abo Abasuula Abalala Wansi.”​—Olubereberye 6:4.

2 Okuyiikiriza tekulina mutawaana.

2 Kikyamu. Okuyiikiriza abalala kye kimu ku bintu ebiviiriddeko abavubuka bangi okwetta.

3 Engeri esingayo obulungi ey’okuziyizaamu oyo akuyiikiriza kwe kumulwanyisa.

3 Kikyamu. Abo abayiikiriza bannaabwe batera okuba ab’amaanyi okusinga abo be bayiikiriza, n’olwekyo okubalwanyisa tekiyamba.

4 Bw’olaba gwe bayiikiriza, tobaako ky’okolawo.

4 Kikyamu. Bw’olaba abayiikiriza abalala naye n’osirika busirisi, naawe mu ngeri emu oba endala oba owagira omuze ogwo.

5 Wadde ng’abo abayiikiriza abalala batera okwogera nga beewaga, muli munda baba batya.

5 Kituufu. Wadde ng’abamu ku abo abayiikiriza abalala beetwala okuba ab’ekitalo, bangi ku bo muli baba batya era bagezaako okufeebya abalala basobole okuwulira obulungi.

6 Abo abayiikiriza abalala basobola okukyuka.

6 Kituufu. Abo abayiikiriza abalala bwe bayambibwa, basobola okulekayo omuze ogwo.

EKY’OKUKOLA

  • Singa wabaawo anjiikiriza, nja kukola bino oba nja kwogera bino:

MANYA EBISINGAWO!

Ky’Oyinza Okukola nga Waliwo Akuyiikiriza

Laba vidiyo Ky’Oyinza Okukola nga Waliwo Akuyiikiriza ku www.pr418.com. (Genda wansi wa ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > ABAVUBUKA)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share