Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjul. 152
“Bangi bakyetegerezza nti abantu beeyawula ku balala. Olowooza kino ky’amagezi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ebigambo bino eby’amagezi ebiraga obukulu bw’okubeera n’emikwano. [Soma Omubuulizi 4:9, 10.] Magazini eno ennyonnyola lwaki twetaaga abalala era n’engeri ekizibu kino gye kiyinza okugonjoolebwamu.”
Awake! Jjul. 22
“Abantu bangi beeraliikirivu olw’okuba ebifaananyi eby’obugwenyufu bicaase nnyo. Olowooza ensonga eno nkulu okulowoozaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okubuulirira okulungi okusangibwa mu Baibuli kuyinza okutukuuma. [Soma Abaefeso 5:3, 4.] Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okwekuumamu akabi kano.”
The Watchtower Agu. 1
“Obadde okimanyi nti okusinziira ku alipoota emu, abantu abasukka mu kimu kya kubiri mu nsi yonna tebafuna ssente zibamala buli lunaku? Olowooza waliwo ekiyinza okukolebwa okugonjoola ekizibu kino? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno etutegeeza Baibuli ky’egamba ekirimaliraawo ddala obwavu.”—Soma Zabbuli 72:12, 13, 16.
Awake! Agu. 8
“Mu myaka egiyise, obutyabaga obusibuka ku mbeera y’obudde embi bwonoonye ebintu bingi okwetooloola ensi yonna. Olowooza kiki ekiyinza okukolebwa okukendeeza ku kubonaabona okuleetebwawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ebizibu ebiva mu kukyukakyuka kw’embeera y’obudde era n’engeri gye biyinza okugonjoolebwamu okusinziira ku Baibuli.”—Soma Isaaya 35:1.