Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jul. 15
“Singa ekintu nga kino [ekiri ku ddiba] kyogerwako ku mawulire mu kiseera kino, oboolyawo abantu abasinga obungi bandibadde bakibuusabuusa. Ggwe okirowoozaako otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Makko 4:39.] Bujulizi ki obulaga nti eby’amagero Yesu bye yakola byaliyo ddala? Akatabo kano aka Watchtower kaddamu ekibuuzo ekyo.”
Awake! Jul. 22
“Mu nsi ey’akakyo kano, buli kaseera abamenyi b’amateeka beeyongera okuyiiya engeri ey’okunyagamu abantu. Ggwe naawe kino kikweraliikiriza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Akatabo kano aka Awake! kannyonnyola engeri ezimu eziyinza okutuyamba ne tutanyagibwa.” Soma Engero 22:3.
The Watchtower Agu. 1
“Olw’okuba abantu beeyawuddeyawuddemu nnyo leero, abamu balowooza nti ekyo kyokka ekiyinza okuleeta emirembe kwe kubeera ne gavumenti emu efuga ensi yonna. Ggwe olowooza ekyo kisoboka? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Danyeri 2:44.] Magazini eno ennyonnyola ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bukola kati era n’engeri gye bujja okuleetamu emirembe mu nsi yonna.”
Awake! Agu. 8
“Ffenna tunakuwala bwe tuwulira nti abaana abato bayisibwa bubi. Oboolyawo wali weebuuzizzaako, “Ddala Katonda atufaako?” [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 72:12-14.] Akatabo kano koogera ku ngeri Katonda gy’afaayo ku baana era n’engeri gy’ajja okuleetawo obuweerero obwa nnamaddala eri abo ababonaabona.”