Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjul. 15
“Mu nkumi n’enkumi z’emyaka egiyiseewo, abantu bagunjizzaawo enzikiriza nnyingi nnyo ezitali zimu. Olowooza kisoboka okumanya entuufu n’enkyamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga wa gy’oyinza okuzuula enjigiriza entuufu ezisanyusa Katonda.” Soma 2 Timoseewo 3:16.
Awake! Jjul. 22
“Kinakuwaza nnyo okulaba ng’abantu babonaabona olw’obutyabaga obubaawo mu butonde. [Yogera ku katyabaga akamanyiddwa mu kitundu kyammwe.] Olowooza obutyabaga obwo bujja kweyongera bweyongezi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eddamu ekibuuzo ekyo. Ate era ebudaabuda n’abo abafiiriddwa abaagalwa baabwe mu butyabaga ng’obwo.” Soma Yokaana 5:28, 29.
The Watchtower Agu. 1
“Abantu bangi leero bawulira ng’abatalina mugaso. Olowooza kiki ekiyinza okukolebwa okusobola okubayamba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri Baibuli gy’eyinza okuyamba abantu ng’abo okufuna essanyu erya nnamaddala.” Yogera ku byawandiikibwa ebiri mu nnukuta enkwafu mu kitundu ekirina omutwe “Baibuli esobola okukuyamba okufuna essanyu.”
Awake! Agu. 8
“Abantu bangi bali mu kutya. Olowooza kiki ekibaviiriddeko okuba mu kutya ng’okwo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ewa amagezi agayinza okutuyamba obutagwa mu mitawaana egitera okutuuka ku bantu. Ate era eyogera ku kisuubizo Baibuli ky’ewa eky’ensi omutaabe kutya.” Soma Isaaya 11:9.