LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ypq ekibuuzo 7 lup. 21-23
  • Watya Singa Waliwo Ampikiriza Okwegatta Naye?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Watya Singa Waliwo Ampikiriza Okwegatta Naye?
  • Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu
  • Similar Material
  • Ddala Okukomberera Ebitundu by’Omulala eby’Ekyama Kuba Kwegatta Naye?
    Abavubuka Babuuza
  • Yogera n’Abaana Bo ku Bikwata ku by’Okwetaba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Yigiriza Abaana Bo Empisa Ennungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu
ypq ekibuuzo 7 lup. 21-23
Omulenzi agamba omuwala okwegatta naye, naye omuwala agaanira ddala ekyo omulenzi ky’amugamba

EKIBUUZO 7

Watya Singa Waliwo Ampikiriza Okwegatta Naye?

LWAKI KIKULU?

Ebyo by’osalawo ku bikwata ku bikolwa eby’okwegatta birina kinene kye bikola ku biseera byo eby’omu maaso.

KIKI KYE WANDIKOZE?

Lowooza ku mbeera eno: Omuwala ayitibwa Heather yaakalabira Mike emyezi ebiri gyokka, naye awulira ng’amaze emyaka n’emyaka ng’amumanyi. Beeweereza obubaka ku ssimu, batera okwekubira amasimu, era buli omu kumpi aba amanyi munne ky’agenda okwogera! Naye kati Mike ayagala ekisingawo ku kunyumya obunyumya.

Mu myezi ebiri egiyise, Mike ne Heather babadde bakwatagana ku mikono era nga beenywegera. Heather awulira nga tayagala kukola kisingako awo. Kyokka ate tayagala kufiirwa Mike. Bw’abeera ne Mike, awulira bulungi nnyo era awulira nga wa njawulo. Ate era Heather agamba nti ‘Nze ne Mike twagalana . . .’

Kiki kye wandikoze ng’oli mu mbeera ng’eya Heather?

LOWOOZA KU KINO!

Olugoye olulungi nga lukozebwa ng’ekisiimuula

Okwegatta kirabo Katonda kye yawa abafumbo bokka. Okwegatta nga toli mufumbo kuba kukozesa bubi ekirabo ekyo. Kiri ng’okuddira olugoye olulungi lwe baakuwa n’olufuula ekisiimuula.

Bw’ogaana okugondera amateeka agafuga obutonde, gamba ng’etteeka lya gravity, ofuna obuzibu. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku mateeka agakwata ku mpisa, gamba ng’eryo erigamba nti: “Mwewale ebikolwa eby’obugwenyufu.”​—1 Abassessalonika 4:3.

Biki ebivaamu ng’omenye etteeka eryo? Bayibuli egamba nti: “Oyo eyenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu aba akola ekibi ku mubiri gwe.” (1 Abakkolinso 6:18) Lwaki ekyo kituufu?

Okunoonyereza kulaga nti abavubuka abeenyigira mu bikolwa eby’okwegatta nga tebannayingira bufumbo boolekagana n’ebimu ku bino wammanga.

  • OKWEJJUSA. Abavubuka abasinga obungi abeegatta nga tebannafumbiriganwa bejjusa ekyo kye baakola.

  • OBUTEESIGAŊŊANA. Oluvannyuma lw’okwegatta, buli omu ku bavubuka abo atandika okwebuuza, ‘Ani omulala omuwala ono / omulenzi ono gwe yali yeegasseeko naye?’

  • OBUTAFUNA KYE BASUUBIRA. Abawala abasinga obungi baagala omuntu ajja okubaleetera okuwulira nga balina obukuumi, so si oyo abakozesa obukozesa. Ate abalenzi abasinga obungi okwagala kwe baba nakwo eri omuwala kukendeera oluvannyuma lw’okwegatta naye.

  • Ensonga enkulu: Bwe weegatta n’omuntu nga temuli bafumbo, oba ojolonga ekintu eky’omuwendo ennyo. (Abaruumi 1:24) Omubiri gwo gwa muwendo nnyo okumala gagujaajaamya!

Ba mumalirivu ‘okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu.’ (1 Abassessalonika 4:3) Ekiseera bwe kirituuka n’owasa oba n’ofumbirwa, ojja kusobola okwegatta. Era tojja kufuna bizibu gamba ng’okweraliikirira, okwejjusa, n’okuwulira nga tolina bukuumi, abo abeegatta nga si bafumbo bye bafuna.​—Engero 7:22, 23; 1 Abakkolinso 7:3.

OLOWOOZA OTYA?

  • Ddala omuntu akwagala ayinza okukugamba okukola ekintu ekinaakuviiramu ebizibu?

  • Ddala omuntu akwagala ayinza okukugamba okukola ekintu ekigenda okwonoona enkolagana yo ne Katonda?​—Abebbulaniya 13:4.

ERI ABAWALA

Omuwala omutiini ng’atudde afumiitiriza

Abalenzi bangi bagamba nti tebasobola kuwasa muwala gwe beegattako naye. Lwaki? Kubanga baagala omuntu eyeekuuma!

Ekyo kikwewuunyisa era ne kikuleetera n’okunyiiga? Lowooza ku kino: Firimu ne programu ezibeera ku ttivi zitera okulaga nti abatiini abeegatta baba mu mukwano ogwa nnamaddala, era nti tewali kabi konna kayinza kuvaamu.

Naye tolimbibwalimbibwa! Abo abaagala okwegatta naawe baba baagala kukukozesa bukozesa era beenoonyeza byabwe.​—1 Abakkolinso 13:4, 5.

ERI ABALENZI

Omulenzi omutiini ng’atudde afumiitiriza

Bw’oba oyogereza omuwala, weebuuze, ‘Ddala omuwala ono mmufaako?’ Bwe kiba nga ddala omufaako, ekyo osobola otya okukyoleka? Osobola okukyoleka ng’oba mumalirivu okunywerera ku mateeka ga Katonda, ng’oyoleka amagezi ne weewala embeera eziyinza okubaleetera okukemebwa, era ng’oyoleka okwagala nga teweenoonyeza bibyo wekka wabula ebibye.

Bw’okola bw’otyo, omuwala oyo gw’oyagala ajja kuwulira ng’omuwala Omusulamu eyayogera ku mulenzi omusumba nti: “Omwagalwa wange, wange, nange ndi wuwe.” (Oluyimba lwa Sulemaani 2:16) Mu butuufu, omuwala oyo ajja kweyongera okukwagala!

AMAGEZI

Singa omuntu agezaako okukusendasenda okwegatta naye ng’akugamba nti, “Bw’oba onjagala, kkiriza twegatte,” muddemu nti “Singa onjagala, tewandiŋŋambye kukola kintu ng’ekyo!”

Bwe kituuka ku kukolagana n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula, kuumira kino mu birowoozo: Bw’aba nga ky’ayagala mukole tewandyagadde bazadde bo bakimanye, tosaanidde kukikola.

EKY’OKUKOLA

  • Kiki ky’onookola nga waliwo akugambye okwegatta naye?

  • Mbeera ki eziyinza okukifuula ekizibu gy’oli okwewala okwegatta n’omuntu oyo?

  • Oneewala otya embeera ezo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share