Emirembe mu Nsi Yonna gisoboka Gitya?
EMIREMBE mu nsi yonna giri kumpi okubaawo? Bangi baali balowooza bwe batyo naye kati babuusabuusa. Okusinziira ku lipoota eyogera ku kusoomooza kw’omu biseera eby’omu maaso, eyafulumira mu Daily Mail & Guardian, olw’omu South Africa, “okulagula okukwata ku mbeera empya mu nsi yonna okwakolebwa emyaka 10 egiyise kati kulabika ng’okwali okusuubira obusuubizi ebirungi okubaawo.”
Abawandiisi bafumiitiriza ku ssuubi lye baalina emyaka kkumi egiyise. Olutalo olw’Ekimugunyu lwali lwakaggwa, era ng’akanyoolegano wakati w’ensi kirimaanyi tekakyaliwo. Ku ekyo ekyali kirabika ng’entandikwa empya, bangi baasuubira nti abantu banditandise okukola ku nsonga z’obwavu, obulwadde n’ez’obutonde obutwetoolodde. “Okulagula okwo kati kulabika ng’okwali okuteebereza obuteebereza,” bw’etyo lipoota emu bw’egamba. “Okulwanagana okuppya kubaluseewo mu bitundu gye twali tutakusuubira; obwavu mu nsi yonna bugenda bweyongera. Kati waliwo ensi endala bbiri ezirina eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nukuliya. Erinnya lya U.N. lyonoonese nnyo olw’okulemererwa okukola ku butyabaga obuzze butuuka ku bantu. Endowooza eriwo eraga nti abantu batandise okweraliikirira mu kifo ky’okusuubira ebirungi okubaawo.”
Abayizi ba Baibuli bakimanyi nti okufuba kw’abantu, ka kube mu bwesimbu, tekuyinza kutuuka ku buwanguzi mu bujjuvu. Lwaki? Kubanga nga Baibuli bw’egamba, “ensi yonna eri mu buyinza bwa mubi.” (1 Yokaana 5:19, NW) Ng’ensi ekyali wansi w’obuyinza bwa Setaani, teyinza kufuulibwa Lusuku lwa Katonda ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kyali.
Mu kiseera kye kimu, waliwo kye tuyinza okusinziirako okusuubira ebirungi. Yakuwa Katonda asuubizza okuleeta emirembe mu nsi yonna, si ng’atereeza enteekateeka y’ebintu eno, naye ng’aleeta “ensi empya obutuukirivu mwe butuula.” (2 Peetero 3:13) Yee, okuyitira mu Bwakabaka bwa Katonda, ensi yaffe ejja kufuulibwa amaka ag’emirembe, ag’essanyu, ng’obulamu n’emirimu bisanyusa olulyo lw’omuntu oluwulize buli kiseera. Ate era, Katonda asuubiza “[oku]sangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.” Ebisuubizo bino tebyesigamye ku kulagula kw’abantu okutalina kye kusinziirako. Wabula, byesigamye ku Kigambo eky’amazima eky’Omutonzi, atayinza kulimba.—Okubikkulirwa 21:4; Tito 1:2.