LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 10/1 lup. 2-4
  • Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri Katonda gy’Atunuuliramu Obubi
  • Ani Avunaanyizibwa olw’Obubi?
  • “Ajjuza Emitima” Gyaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Okubudaabudibwa mu Kumanya Okutuufu Okukwata ku Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Ddala Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • “Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 10/1 lup. 2-4

Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu

ENNAKU zino amawulire si malungi n’akamu. Omuntu omu yawandiika: “Ebintu ebibaawo ennaku zino binakuwaza nnyo ne kiba nti tuzibuwalirwa okusalawo okulaba amawulire eg’essaawa ekkumi n’ebbiri.” Ensi ejjuddemu entalo, ebikolwa eby’obukambwe, okubonaabona, obumenyi bw’amateeka n’endwadde​—ebintu ebibi naffe ebiyinza okututuukako obutereevu bwe biba nga tebinnaba.

Embeera eno Baibuli yagiragulako dda. Yesu bwe yali ayogera ku kiseera kyaffe, yagamba nti walibaawo entalo ez’amaanyi, kawumpuli, ebbula ly’emmere ne musisi. (Lukka 21:10, 11) Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo naye yawandiika ku “biro eby’okulaba ennaku,” abantu lwe bandibadde abakambwe, abaagala essente era abatayagala bulungi. Ekiseera ekyo yakiyita “ennaku ez’oluvannyuma.”​—2 Timoseewo 3:1-5.

N’olwekyo, amawulire bwe googera ku mbeera eriwo mu nsi leero, gaba googera ku nsonga ezimu Baibuli ze yalagulako. Naye go amawulire gakoma ku kwogera ku biriwo mu nsi byokka. Baibuli erina ekirala ky’eyogerako amawulire kye gatayogerako. Okuyitira mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, tusobola okutegeera ensonga lwaki waliwo obubi bungi era n’ekinaabaawo mu kiseera eky’omu maaso.

Engeri Katonda gy’Atunuuliramu Obubi

Baibuli ennyonnyola engeri Katonda gy’atunuuliramu ebintu ebinakuwaza ebiriwo mu kiseera kyaffe. Wadde nga Katonda yamanya ebizibu ebyandibaddewo leero, tabisiima era tajja kubireka kubeerawo mirembe gyonna. “Katonda kwagala,” bw’atyo omutume Yokaana bwe yawandiika. (1 Yokaana 4:8) Yakuwa afaayo nnyo ku bantu era akyawa obubi bwonna. N’olwekyo, kiba kirungi okudda eri Katonda okufuna okubudaabudibwa, okuva bw’ali omulungi, ow’ekisa, alina obusobozi era nga ayagala okuggyawo obubi bwonna ku nsi. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “[Kabaka Katonda gwe yalonda] anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, n’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga. Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n’ettima: n’omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge.”​—Zabbuli 72:12-14.

Osaasira abo ababonaabona? Oboolyawo bw’otyo bw’okola. Tusobola okulumirirwa abalala kubanga Yakuwa yatutonda mu kifaananyi kye. (Olubereberye 1:26, 27) N’olwekyo, tusobola okubeera abakakafu nti Yakuwa afaayo ku kubonaabona kw’abantu. Yesu eyali amanyi obulungi Yakuwa okusinga omuntu omulala yenna, yayigiriza nti Yakuwa atwagala nnyo era nti ajjudde okusaasira.​—Matayo 10:29, 31.

Ebitonde byennyini biwa obukakafu nti Yakuwa afaayo ku bantu. Yesu yagamba nti Katonda “enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Matayo 5:45) Omutume Pawulo yagamba abantu b’omu kibuga ky’omu Lusitula nti: “[Katonda] teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng’abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubalirangamu emmere, ng’ajjuzanga emitima gyammwe emmere n’essanyu.”​—Ebikolwa 14:17.

Ani Avunaanyizibwa olw’Obubi?

Kiba kirungi okutegeera nti Pawulo era yagamba abantu b’omu Lusitula nti: “Mu mirembe egyayita [Katonda] yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago.” N’olwekyo, amawanga oba abantu bennyini, be bavunaanyizibwa olw’ebizibu ebingi ebibatuukako. Katonda si y’avunaanyizibwa.​—Ebikolwa 14:16.

Lwaki Yakuwa akkiriza ebintu ebibi okubeerawo? Alibaako ne ky’akolawo? Eky’okuddamu mu bibuuzo ebyo kiyinza kusangibwa mu Kigambo kya Katonda mwokka. Kiri bwe kityo, kubanga eky’okuddamu kikwataganyizibwa n’ekitonde ekirala eky’omwoyo era n’ensonga gye kyaleetawo mu twale ly’ebitonde eby’omwoyo ebitalabika.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]

Abantu balumirirwa bannaabwe. Katonda ayinza okuba nga ye tafaayo ku kubonaabona kw’abantu?

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 2]

COVER: Tank: UN PHOTO 158181/J. Isaac; earthquake: San Hong R-C Picture Company

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

starving child: UN PHOTO 146150 BY O. MONSEN

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share