Okuzaalibwa Okutayinza Kwerabirwa
‘Leero azaaliddwa gye muli Omulokozi, ye Kristo Mukama.’ —Lukka 2:11.
EMYAKA ng’enkumi bbiri egiyise, omukazi omu mu kibuga Besirekemu yazaala omwana ow’obulenzi. Batono nnyo ku batuuze b’omu kibuga ekyo abaategeera obukulu bw’okuzaalibwa kw’omwana oyo. Naye abasumba abamu abaali ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe ekiro, baalaba bamalayika bangi nga bayimba nti: “Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo, ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.”—Lukka 2:8-14.
Oluvannyuma, abasumba baazuula ekisibo Malyamu ne bba Yusufu we baali, nga malayika bwe yali abagambye. Malyamu yali amaze okutuuma omwana oyo erinnya Yesu, era ng’amuzazise mu mmanvu. (Lukka 1:31; 2:12) Leero, nga waakayita emyaka enkumi bbiri bukya Yesu Kristo azaalibwa, kumpi kimu kya kusatu eky’abantu abali ku nsi bagamba nti bamukkiririzaamu. Era, ebyaliwo ku kuzaalibwa kwe byogeddwako okusinga ekintu ekirala kyonna ekyali kibaddewo mu byafaayo by’omuntu.
Spain, nga y’ensi omuli abantu abajjumbira ennyo eddiini y’Ekikatoliki era abassa ennyo essira ku kukuza emikolo gy’eddiini, egunjizzaawo engeri ezitali zimu ez’okujjukiramu ebyaliwo mu kiro ekyo eky’enjawulo mu Besirekemu.
Engeri Ssekukkulu gy’Ekuzibwamu mu Spain
Okuviira ddala mu kyasa 13, okwolesa ebyaliwo mu kuzaalibwa kwa Yesu kye kimu ku bintu ebikolebwa mu bikujjuko by’omu Spain. Mu maka mangi, bateekawo ekintu ekyefaananyiriza emmanvu Yesu mwe yazazikibwa, ebibumbe by’abasumba, eby’abasajja abeekenneenya emmunyeenye (oba “bakabaka abasatu”), ekya Yusufu, ekya Malyamu, awamu n’ekya Yesu. Ate era ebibumbe ebinene eby’abantu abo biteekebwa okumpi ne ofiisi z’ebibuga. Kirabika omusajja ayitibwa Francis enzaalwa y’omu Asisi ye yatandika empisa eyo mu Italy ng’ayagala abantu balowooze ku kuzaalibwa kwa Yesu okwogerwako mu Njiri. Oluvannyuma, bakabona abaali baagoberera enkola ya Francis baagibunyisa mu Spain ne mu mawanga amalala.
Abasajja abeekeneenya emmunyeenye okufaananako Santa Claus (Father Christmas) mu nsi endala, balina ekifo kikulu mu mikolo gya Ssekukkulu mu Spain. Bagabira abaana b’omu Spain ebirabo buli Jjanwali nga 6 olunaku oluyitibwa Día de Reyes (ekitegeeza Olunaku lwa Bakabaka). Kigambibwa nti bakola kino nga bakoppa ekikolwa ky’abasajja abeekeneenya emmunyeenye abagambibwa nti baaleetera Yesu ebirabo ng’akyali muwere. Abantu batono nnyo abamanyi nti Enjiri tewa muwendo gw’abasajja abagenda okulaba Yesu. Mu butuufu, abasajja abo baali bantu abalaguza emmunyeenye so si bakabaka.a Ate era, oluvannyuma lw’abasajja abo okukyalira Yesu, Kerode yatta abaana abalenzi bonna abaali mu Besirekemu ‘abaali bawezezza emyaka ebiri n’abaali batannagiweza’ ng’ayagala okuttiramu ne Yesu. Ekyo kiba kiraga nti abasajja abo bakyalira Yesu nga wayiseewo ebbanga bukya azaalibwa.—Matayo 2:11, 16, Baibuli ey’Oluganda eya 2003.
Okuviira ddala mu kyasa 12, mu bibuga ebimu eby’omu Spain bazannya emizannyo egiraga ebyo ebyaliwo Yesu lwe yazaalibwa nga mw’otwalidde n’okukyala kw’abasumba n’okw’abasajja abeekenneenya emmunyeenye mu Besirekemu. Buli Jjanwali nga 5, mu bibuga ebisinga obungi mu Spain, abantu bayisa ekivvulu ng’abasajja abeekenneenya emmunyeenye abasatu abali ku bimotoka ebitimbiddwa obulungi ennyo bayita mu bibuga wakati nga bagenda bagabira abalabi buswiiti. Ebibuga bitimbibwa era n’ennyimba ziyimbibwa okusobola okunyumisa omukolo ogwo.
Mu maka agasinga obungi mu Spain abantu baliira wamu ekijjulo eky’enjawulo nga Ddesemba 24. Ku olwo balya swiiti (ezikoleddwa mu mubisi gw’enjuki), ebibala ebikaze, ennyama y’endiga n’eby’ennyanja. Abeŋŋanda okuva ebule n’ebweya bafuba okubeerako awamu ku kijjulo kino. Ate era, ku kijjulo ekirala ekibaawo nga Jjanwali 6, amaka galiira wamu keeki enneekulungirivu eyitibwa eya “Bakabaka” nga munda waayo waliwo akantu akakwekeddwamu. Ku mukolo ogufaananako ng’ogwo ogwalingawo mu biseera by’Abaruumi, omuddu bwe baafunanga omugabo ku keeki eyo omuli ekintu ekikwekeddwa, ye yabeeranga “kabaka” w’olunaku olwo.
“Ekiseera Ekisinga Okuba eky’Essanyu n’Okubaako eby’Okukola Ebingi mu Mwaka”
Ka bube bulombolombo ki obugobererwa mu buli kitundu, Ssekukkulu gwe mukolo abantu kwe basinga okujaguliza mu nsi yonna. Ekitabo The World Book Encyclopedia kyogera ku Ssekukkulu “ng’ekiseera obukadde n’obukadde bw’Abakristaayo n’abatali Bakristaayo mu nsi yonna kwe basanyukira ennyo era n’okubeera n’eby’okukola ebingi.” Waliwo omuganyulo gwonna mu kukuza olunaku luno?
Kyo kituufu nti okuzaalibwa kwa Kristo kwali kukulu nnyo mu byafaayo. Era okuva bwe kiri nti bamalayika baalangirira nti okuzaalibwa kuno kwandireese ‘emirembe eri abantu Katonda basiima’ ekyo kikakasa nti kwali kukulu nnyo.
Naye wadde kiri kityo, munnamawulire ow’omu Spain ayitibwa Juan Aras ye yagamba nti, “Ssekukkulu teyakuzibwanga ng’Obukristaayo bwakatandika.” Ekyo bwe kiba nga kituufu, olwo kati okukuza Ssekukkulu kwatandika kutya? Ngeri ki esingayo okuba ennungi ey’okujjukiramu okuzaalibwa kwa Yesu ne bye yakola mu bulamu bwe? Mu kitundu ekiddako ojja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekitabo ekiyitibwa The Holy Scriptures—Text and Commentary of by Professors of the Company of Jesus kinnyonnyola nti “mu Baperusi, Abameedi, n’Abakaludaaya, abeekenneenya emmunyeenye baali bakabona abaayigirizanga ebikwata ku busamize, obusawo n’okulaguza emmunyeenye.” Kyokka, emyaka egiri wakati wa 400-1500 C.E. we gyatuukira, abasajja abaagenda okulaba Yesu baali bafuuliddwa abatuukirivu era ne baaweebwa amannya Melchior, Gaspar, ne Balthasar. Kigambibwa nti ebisigalira byabwe biterekeddwa mu lutikko emu ey’omu kibuga Cologne, mu Germany.