LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 2/1 lup. 32
  • Olinga Omuti Oguyitibwa Lagani Auna?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Olinga Omuti Oguyitibwa Lagani Auna?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 2/1 lup. 32

Olinga Omuti Oguyitibwa Lagani Auna?

KU KAALO akamu akali okumpi n’omwalo gw’e Moresby oguli mu Papua New Guinea, ababuulizi babiri bwe baali baddayo eka nga bava okubuulira, baasanga omuti ogulabika obulungi ennyo. Omubuulizi omu bwe yagulaba, yagamba munne nti: “Laba, lagani auna!” Yamunnyonnyola nti: “Erinnya ly’omuti ogwo liva ku kuba nti gutojjera omulundi gumu mu mwaka. Okwawukana ku miti emirala gyonna egiri mu kitundu kino, buli mwaka omuti guno guwaatula era ne gulabika ng’ogukaze. Kyokka enkuba bw’etonnya, gutojjera buto ne gumulisa era ne guddamu okulabika obulungi.”

Waliwo kye tuyinza okuyigira ku lagani auna. Bakakensa mu by’emiti bagamba nti, omuti guno gwe gumu ku bika by’emiti ebitaano ebisinga okuteekako ebimuli ebirungi ennyo. Wadde ng’omuti ogwo guwaatula, gweterekera amazzi ge gukozesa mu kyeya. Emirandira gyagwo gisobola okwezingirira ku lwazi ne kiguyamba obutasuulibwa mbuyaga. Okutwalira awamu, omuti guno gusobola okugumira embeera enzibu.

Naffe tuyinza okwesanga mu mbeera ezigezesa okukkiriza kwaffe. Kiki ekinaatuyamba okugumira embeera ng’ezo? Okufaananako lagani auna naffe tusobola okunywa amazzi ag’obulamu agali mu Kigambo kya Katonda. Ate era tusaanidde okunywerera ku Yakuwa ‘olwazi lwaffe,’ awamu n’ekibiina kye. (2 Samwiri 22:3) Kye tuyigira ku muti ogwo kiri nti, tusobola okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo ne bwe tuba mu mbeera enzibu singa tweyambisa emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa. Ekyo bwe tunaakikola, tujja ‘kusikira ebyasuubizibwa’ nga mw’otwalidde n’obulamu obutaggwaawo.​—Abaebbulaniya 6:12; Okubikkulirwa 21:4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share