Ddala Twetaaga Masiya?
NAAWE oyinza okuba wali weebuuzizzaako nti, “Ddala Twetaaga Masiya?” Kiba kirungi okwebuuza oba nga ddala Masiya alina ky’asobola okutukolera.
Abamu ku bantu b’onoobuuza ekibuuzo ekyo bajja kukuddamu nti: Ddala tumwetaaga. Omuntu omu eyaliwo mu kyasa ekyasooka eyali amanyi obulungi amateeka g’Ekiyudaaya yawandiika bw’ati ku Masiya: “Byonna Katonda bye yasuubiza, oyo y’abituukiriza.” Mu kwogera bw’atyo yalaga ekifo ekikulu Masiya ky’alina mu kutuukiriza ekigendererwa ky’Omutonzi eky’okuwa amawanga gonna omukisa. (2 Abakkolinso 1:20, NW) Ekifo kya Masiya kikulu nnyo ne kiba nti obunnabbi bwa Baibuli bwonna bukwata ku kujja kwe ne ku bulamu bwe obw’oku nsi. Mu kitabo kye ekimaze emyaka egisukka mu 70 nga kisomebwa obukadde n’obukadde bw’abantu, Henry H. Halley yagamba: “Endagaano Enkadde yawandiikibwa n’ekigendererwa eky’okuleetera abantu okwesunga [Masiya], n’okweteekerateekera Okujja kwe.” Naye ddala kyali kyetaagisa Masiya okujja? Lwaki twandifuddeyo okumanya ebikwata ku Masiya?
Ekigambo “Masiya” kitegeeza “Eyafukibwako Amafuta” era nga kirina amakulu ge gamu n’ekigambo “Kristo” ekimanyiddwa obulungi. Ono, Encyclopædia Britannica, aya 1970 gw’eyogerako nga “omununuzi ow’ekitalo,” yalina okujja ku nsi kubanga abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa baayonoona. Baatondebwa nga batuukiridde, era nga basobola okubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda. Kyokka eky’ennaku baafiirwa obulamu obwo. Malayika omujeemu, ayitibwa Setaani Omulyolyomi, yabagamba nti Omutonzi waabwe yali abakugira nnyo era nti bandibadde bulungi singa beesalirawo ekituufu n’ekikyamu.—Olubereberye 3:1-5.
Kaawa yakkiriza eby’obulimba ebyamugambibwa. Mu kifo ky’okuba omwesigwa eri Katonda, Adamu yeegatta ku mukazi we ne bajeemera Katonda. (Olubereberye 3:6; 1 Timoseewo 2:14) Ng’ogyeko okuba nti baafiirwa obulamu obutaggwaawo mu mbeera ennungi, baasikiza n’ezzadde lyabwe ekibi n’okufa.—Abaruumi 5:12.
Amangu ddala, Omutonzi waffe Yakuwa yakola enteekateeka okumalawo ebyandivudde mu bujeemu. Kino yandikituukirizza ng’asinziira ku musingi ogugamba nti obulamu bugattwenga bulamu. Oluvannyuma omusingi guno gwagobererwanga ne mu Mateeka ga Musa. (Ekyamateeka 19:21; 1 Yokaana 3:8) Omusingi ogwo gwali gulina okussibwa mu nkola kisobozese ezzadde lya Adamu ne Kaawa okufuna obulamu obutaggwaawo ng’Omutonzi waabwe bwe yali akiteeseteese. Kino okusobola okubaawo kyali kyetaagisa Masiya okujja.
Bwe yali asalira Setaani omusango, Yakuwa Katonda yagamba bw’ati mu bunnabbi bwa Baibuli obwasooka: “Nange obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:15) Omwekenneenya omu owa Baibuli yagamba nti “wano Ebyawandiikibwa we bisookera okwogera ku bisuubizo ebikwata ku Masiya.” Omwekenneenya omulala yagamba nti Masiya, Katonda gw’ajja okukozesa “okuggyawo emitawaana gyonna egyava mu kwonoona,” kisobozese abantu okufuna emikisa.—Abaebbulaniya 2:14, 15.
Kyokka, oyinza okugamba nti mu kiseera kino abantu balina ebizibu bingi. Eno y’ensonga lwaki The World Book Encyclopedia egamba nti “Abayudaaya bangi bakyasuubira Masiya okujja” era nti bw’anajja “ajja kumalawo emitawaana gyonna abantu gye boolekaganye nagyo era awangule n’abalabe [baabwe].” Kyokka yo Baibuli egamba nti Masiya yajja dda.