EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BUBAKA KI OBULI MU BAYIBULI?
“Tuzudde Masiya”!
Nga wayiseewo ebyasa nga musaanvu oluvannyuma lw’ekitabo kya Mikka okuwandiikibwa, obunnabbi obukwata ku Masiya obuli mu kitabo ekyo bwatuukirizibwa: Yesu yazaalibwa mu Besirekemu. Oluvannyuma lw’emyaka nga 30, mu 29 embala eno, ekitundu ekisooka eky’obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku kujja kwa Masiya bwatuukirizibwa. Yesu yabatizibwa era Katonda yamufukako omwoyo omutukuvu. Ezzadde oba Masiya gwe baali balindirira yatuukira mu kiseera kyennyini ekyalagulwa!
Yesu yatandikirawo obuweereza bwe, “ng’alangirira amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda.” (Lukka 8:1) Nga bwe kyalagulwa, Yesu yali wa kisa, mukkakkamu, era ng’afaayo nnyo ku bantu. Bye yayigirizanga byaganyula nnyo abantu, era yawonya “endwadde eza buli kika,” ekyalaga nti Katonda yali wamu naye. (Matayo 4:23) Abantu bangi bajja eri Yesu era baakakasa nti ‘bazudde Masiya’!—Yokaana 1:41.
Yesu yalagula nti ng’Obwakabaka bwe tebunnatandika kufuga nsi, wandibaddewo entalo, musisi, n’ebizibu ebirala bingi. Yakubiriza abantu bonna ‘okubeera obulindaala.’—Makko 13:37.
Yesu yali atuukiridde era yakolanga Katonda by’ayagala, naye abalabe be baamutta. Yawaayo obulamu bwe obutuukiridde nga ssaddaaka tusobole okufuna ekyo Adamu ne Kaawa kye baafiirwa, nga bwe bulamu obutaggwawo mu lusuku lwa Katonda.
Nga bannabbi bwe baalagula, Yesu yafa era oluvannyuma lw’ennaku ssatu Katonda n’amuzuukiza ng’ekitonde eky’omwoyo era eky’amaanyi. Oluvannyuma, Yesu yalabikira abayigirizwa be abasukka mu 500. Nga tannaddayo mu ggulu, Yesu yalagira abagoberezi be okubuulira “abantu b’omu mawanga gonna.” amawulire amalungi agamukwatako n’agakwata ku Bwakabaka bwe. (Matayo 28:19) Baakola omulimu ogwabaweebwa?
—Byesigamiziddwa ku Matayo, Makko, Lukka, Yokaana, 1 Abakkolinso.