Abasomi Baffe Babuuza
Katonda Akozesa Obutyabaga bw’Omu Butonde Okubonereza Abantu?
Katonda tabonereza bantu ng’akozesa obutyabaga obw’omu butonde. Tabukozesangako era talibukozesa. Lwaki? Kubanga mu 1 Yokaana 4:8 Baibuli egamba nti: “Katonda kwagala.”
Buli Katonda ky’akola akikola lwa kwagala. Okwagala tekwagaliza balala kulumizibwa kubanga Baibuli egamba nti ‘okwagala tekuleetera muntu kukola munne bubi.’ (Abaruumi 13:10) Mu Yobu 34:12, Baibuli egamba nti: “Mazima Katonda taakolenga bubi.”
Baibuli yalagula nti wandibaddewo obutyabaga mu biseera byaffe, gamba nga “ebikankano ebinene.” (Lukka 21:11) Kyokka Yakuwa si y’aleeta obutyabaga obwo. Ng’ekyokulabirako, abo abakola ku by’enteebereza y’obudde bwe bagamba nti wajja kubaayo omuyaga, bwe gujja si be baba baguleese. Kati oba Katonda si y’aleetawo obutyabaga bw’omu butonde obuviirako abantu okubonaabona, buva wa?
Baibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu [buyinza bwa mubi],” Setaani Omulyolyomi. (1 Yokaana 5:19) Setaani abadde mussi okuva lwe yajeema ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu n’okutuusa leero. (Yokaana 8:44) Obulamu bw’abantu Setaani tabutwala nga kya muwendo n’akatono. Ebikolwa bye biraga nti tafaayo ku balala, era tekyewuunyisa nti n’enteekateeka ye ejjudde abantu abeefaako bokka. Mu nsi ya leero, abantu abamu banyigiriza bannaabwe ne babawaliriza okubeera mu bifo ebitera okuggwamu obutyabaga. (Abaefeso 2:2; 1 Yokaana 2:16) N’olwekyo abantu ng’abo be bavunaanyizibwa ku bizibu ebimu ebituuka ku abo abakosebwa obutyabaga. (Omubuulizi 8:9) Mu ngeri ki?
Abantu balina kinene kye bakola mu kuleetawo obutyabaga obumu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyatuuka ku bantu b’omu kibuga New Orleans eky’omu Amerika ekyakubibwa omuyaga. Oba lowooza ku mayumba agaasaanyizibwawo ku lubalama lwa Venezuela, ettaka eryali ligyerebedde bwe lyakulugguka okuva ku nsozi ne ligakuba. Mu byokulabirako ebyo, ebintu ebya bulijjo gamba ng’embuyaga n’enkuba byafuuka bya kabi olw’abantu obutamanya bikwata ku butonde, enzimba embi, obutawuliriza kulabulwa, n’olw’ensobi ezaakolebwa ab’obuyinza.
Lowooza ku katyabaga akaaliwo mu biseera bya Baibuli. Mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, ekigo kyagwa ne kitta abantu 18. (Lukka 13:4) Akatyabaga kano kayinza okuba nga kaava ku nsobi eyali ekoleddwa mu kuzimba, ‘ku bintu ebigwawo obugwi,’ oba ku ebyo byombi—naye Katonda si ye yakaleetawo.—Omubuulizi 9:11.
Waali wabaddewo akatyabaga konna nga Katonda y’akaleese? Yee, naye obutafaananako butyabaga obugwawo bulijjo, obwo obwaleetebwanga Katonda bwabangako ekigendererwa, bwabangawo lumu na lumu, ate tebwamalanga gatta buli omu. Amataba agaaliwo mu kiseera kya Nuuwa n’okuzikirizibwa kw’ebibuga Sodomu ne Ggomola mu biseera bya Lutti bye bimu ku byokulabirako eby’obutyabaga ng’obwo. (Olubereberye 6:7-9, 13; 18:20-32; 19:24) Obutyabaga obwo Katonda bwe yaleeta bwazikiriza abantu abajeemu ne bulekawo abaali abalungi mu maaso ga Katonda.
Awatali kubuusabuusa, Katonda asobola era ayagala okumalawo okubonaabona kwonna n’ebizibu ebiva mu butyabaga bw’omu butonde. Zabbuli 72:12 woogera bwe wati ku Kabaka Katonda gw’ataddewo: “Anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi.”