Ezimu ku Nnyanjula ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Ddesemba
“Nkakasa ojja kukkiriziganya nange nti buli omu yeetaaga emikwano. Ngeri ki gy’osinga okwagala mukwano gwo abe nayo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’eyogera ku nsonga lwaki tusaanidde okulonda mikwano gyaffe n’obwegendereza.” Muwe Watchtower eya Ddesemba 1, oluvannyuma musome era mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono oguli ku lupapula 16. Soma waakiri ekyawandiikibwa kimu. Muwe magazini zombi, era kola enteekateeka ey’okuddayo oddemu ekibuuzo ekiddako.
The Watchtower Ddesemba 1
“Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki gye buvuddeko awo wabaddewo obutyabaga obw’omuddiriŋŋanwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli yalagula ekiseera ekyandibaddemu obutyabaga obungi. [Soma Matayo 24:7, 8.] Magazini eno eddamu ebibuuzo bino: Lwaki waliwo obutyabaga bungi nnyo leero? Bibonerezo okuva eri Katonda? Nsonga ki kwe tusinziira okukkiriza nti Katonda anaatera okukomya obutyabaga bwonna?”
Awake! Ddesemba
Soma 2 Timoseewo 3:16. Oluvannyuma ogambe nti: “Abamu bakkiriza nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, ate bo abalala tebakikkiriza. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wadde ng’abantu balina endowooza za njawulo ku kibuuzo ekyo, okutwalira awamu bakkiriza nti tewali kitabo kirala kyonna kye bafubye kusaanyaawo okuggyako Bayibuli. Magazini eno eyogera ku kufuba okukoleddwa okumala ebyasa n’ebyasa okusaanyaawo Bayibuli n’okulemesa abantu okugisoma. Ate era ennyonnyola lwaki Bayibuli ekyaliwo.”