Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjulaayi
“Abantu bangi baagala nnyo okumanya ebikwata ku bamalayika. Olowooza bamalayika gyebali? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’egamba.” Mukwase Watchtower eya Jjulaayi 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini zombi era kola enteekateeka ey’okumuddira mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Jjulaayi 1
Soma Zabbuli 65:2. Oluvannyuma gamba nti, “Abantu bangi bakkiriza nti Katonda “awulira okusaba” era basaba buli lunaku. Naye abalala beebuuza nti, ‘Bwe kiba nti Katonda gyali, lwaki ensi erimu ebizibu bingi?’ Ggwe olowooza otya, waliwo Katonda awulira okusaba kwaffe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo kino: ‘Lwaki Oyo awulira okusaba aleka okubonaabona okubaawo?’”
Awake! Jjulaayi
“Singa obadde n’obusobozi obw’okuleetawo enkyukakyuka yonna mu nsi eno, nkyukakyuka ki gye wandireese? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga ensonga lwaki obusobozi bw’abantu buliko we bukoma. [Soma Yeremiya 10:23.] Magazini eno ennyonnyola enkyukakyuka Katonda z’agenda okuleeta.”