Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjulaayi
“Kumpi buli muntu yandyagadde okuwangaala n’okuba mu bulamu obweyagaza. Olowooza ekiseera kirituuka bannasayansi ne babaako kye bakola ne kitusobozesa okuba abalamu emirembe gyonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze akatabo kano kye kagamba.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Mwetegereze: Nga Jjulaayi 6, musaanidde okulaga ekyokulabirako nga mukozesa ennyanjula eyo mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira.
Omunaala gw’Omukuumi Jjulaayi 1
“Abantu bangi be twogeddeko nabo balina amadiini gaabwe. Naye abamu bagamba nti tebakyesigira ddala madiini. Ggwe olowooza otya ku madiini? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu yatubuulira engeri gye tusobola okwawulawo eddiini ey’amazima. [Soma Lukka 6:44a.] Magazini eno eraga ebimu ku bibala by’amadiini ebibi. Ate era eddamu ekibuuzo kino, Waliwo eddiini yonna gye tusobola okwesiga?”
Awake! Jjulaayi
“Tubakyaliddeko nga twogera ku kizibu eky’amaanyi ekitukosa ffenna—obutali bwenkanya. Abantu abamu balwanyisa obutali bwenkanya nga beekalakaasa. Olowooza abeekalakaasa basobodde okumalawo obutali bwenkanya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Bayibuli ky’egamba ekijja okumalawo obutali bwenkanya ku nsi. [Soma Matayo 6:9, 10.] Akatabo kano kaddamu ekibuuzo kino, Okwekalakaasa kunaamalawo obutali bwenkanya?”
Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
“Tubakyaliddeko nga tubaleetedde amawulire amalungi okuva mu Bayibuli. Abantu bangi be twogeddeko nabo beebuuza ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona mu nsi. Olowooza abantu okubonaabona kyali kigendererwa kya Katonda?” Muleke abeeko ky’addamu. Genda ku ssomo 5, musome era mukubaganye ebirowoozo ku butundu obubiri obusooka n’ebyawandiikibwa ebiwunzikiddwa. Muwe brocuwa, okole enteekateeka y’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako ekiri mu nnukuta enkwafu.