Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjulaayi
“Abantu bangi baddiŋŋana ebigambo bino ebiri mu Ssaala ya Mukama Waffe: ‘Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.’ Ggwe olowooza Obwakabaka obwo kye ki? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyawandiikibwa kino kituyamba okufuna eky’okuddamu.” Soma Danyeri 2:44. Oluvannyuma muwe Watchtower eya Jjulaayi 1 era musomere wamu ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16. Mulekere magazini eyo era okole enteekateeka ey’okuddayo oddemu ekibuuzo ekiddako.
The Watchtower Jjulaayi 1
“Olw’okuba obulamu bumpi ate nga bujjudde ebizibu, bangi beebuuza obanga ddala bulina amakulu. Ekyo wali okirowoozezzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli etusuubiza nti ebizibu bijja kuggwawo. [Soma Okubikkulirwa 21:4.] Magazini eno eyogera ku kigendererwa kya Katonda eri ensi era eraga ebimu ku bintu bye tuyinza okukola obulamu bwaffe okuba obw’amakulu ne leero.”
Awake! Jjulaayi
Yogera ku kizibu kyonna ekiri mu mawulire. Oluvannyuma gamba nti: “Olowooza lwaki Katonda aleka ebintu ng’ebyo okubaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti Katonda asaasira abo ababonaabona. [Soma Okuva 3:7.] Ate era Bayibuli etubuulira ensonga lwaki Katonda akkiriza okubonaabona okubaawo era eraga nti ajja kukuggyirawo ddala. Magazini eno ennyonnyola bulungi ensonga eyo.”