Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjulaayi
“Olowooza Katonda ayagala tumusabe?” Muleke abeeko ky’addamu. Mulage ekibuuzo ekisooka ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekyo era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Jjulaayi 1
“Okuva bwe kiri nti Katonda ye Muyinza w’Ebintu Byonna, olowooza gwe tusaanidde okunenya olw’okubonaabona okuliwo mu nsi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma musome Yakobo 1:13.] Akatabo kano kannyonnyola ensonga lwaki waliwo okubonaabona, era n’engeri Katonda gy’anaggyawo ebintu ebituleetera okubonaabona.”
Awake! Jjulaayi
“Buli omu afuna ebizibu, gamba ng’okulwala oba okufiirwa omuntu we. Olowooza kiki ekisobola okutuyamba okugumira ebizibu ng’ebyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu bangi babudaabudibwa nnyo bwe basoma Bayibuli. [Soma Abaruumi 15:4.] Akatabo kano kannyonnyola engeri Bayibuli gy’esobola okutuyambamu nga tufunye ebizibu.”