Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? oba emu ku tulakiti zino wammanga: Bayibuli Ogitwala Otya?, Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?, Ddala Ani Afuga Ensi?, Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?, Okubonaabona Kuliggwaawo?, Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?, oba Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Jjulaayi: Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga: Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!, Wuliriza Katonda, oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Agusito: Tujja kugaba tulakiti empya ekwata ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti jw.org. Bwe kiba nga tekituukirawo kugaba tulakiti eyo mu kitundu kye mubuuliramu, mugabe brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga: Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!, Wuliriza Katonda, oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Ssebutemba ne Okitobba: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!
◼ Okutandika n’amasomero ga bapayoniya aganaabaawo ku nkomerero y’omwaka gw’obuweereza ogwa 2014, amasomero ago gajja kumalanga ennaku mukaaga, okuva ku Bbalaza okutuuka ku Lwomukaaga.
◼ Musaanidde okukola enkyukakyuka mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki eddirirwa eyo ekibiina kyammwe lwe kinaaba n’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu, musobole okwejjukanya ebyo ebikwata ku lukuŋŋaana olwo ebyayogerwako mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu wiiki etandika nga Jjuuni 16, n’ebyo ebiri mu bbaluwa eyawandiikirwa ebibiina byonna nga Agusito 3, 2013 ekwata ku kwewala obubenje nga tuli mu nkuŋŋaana. Nga wayiseewo omwezi gumu oba ebiri oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu, muyinza okukozesa ekitundu eky’ebyetaago by’ekibiina okwejjukanya ebimu ku ebyo bye mwayiga, ababuulizi bye basanze nga bya muganyulo mu buweereza.