Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Maayi
“Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki Katonda aleka ebintu ebibi n’okubonaabona okubaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Waliwo ekintu ekikulu ekikwata ku nsonga eno kye nandyagadde okukulaga.” Musomere wamu ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 mu magazini ya Watchtower eya Maayi 1 n’ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo oddemu ekibuuzo ekiddako.
The Watchtower May 1
Soma Zabbuli 37:10, 11. Oluvannyuma gamba nti: “Olowooza ekisuubizo kino kinaatuukirira mu kiseera ekitali kya wala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku bunnabbi bwa Bayibuli mukaaga obw’enjawulo bwe tulaba nga butuukirizibwa mu kiseera kino, obunnabbi obulaga nti ekisuubizo kino kinaatera okutuukirizibwa.”
Awake! May May
“Abamu bagamba nti abantu baava mu nsolo ezajja zifuukafuuka. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu, oluvannyuma soma Zabbuli 139:14.] Kya lwatu, omuwandiisi wa zabbuli yali amanyi kitono nnyo ku bikwata ku mubiri gw’omuntu ogwakolebwa mu ngeri ey’ekitalo. Magazini eno eyogera ku ebyo bye tumanyi kati ebikwata ku mubiri gw’omuntu, nga mw’otwalidde n’ekitwawula ku nsolo.”