Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Maaki 1
“Abantu balina endowooza ez’enjawulo ku Yesu. Ggwe omutwala ng’omwana wa Katonda oba ng’omusajja omulungi obulungi kyokka?” Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma musomere wamu ebyo ebiri wansi w’ekimu ku bibuuzo ebiri mu nnukuta enkwafu ebiri ku lupapula 16-17 n’ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini zombi, era mukole enteekateeka eneekusobozesa okuddayo mukubaganye naye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Awake! Maaki
Bw’osanga omuvubuka, mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 26. Songa ku mutwe omutono ogusooka omubuuze nti, “Olowooza sentensi zino ntuufu oba nkyamu? [Muleke abeeko ky’addamu era oluvannyuma soma 2 Abakkolinso 7:1.] Ekitundu kino kiraga ebyo by’osaanidde okumanya ebikwata ku kunywa sigala n’engeri omuntu gy’ayinza okumuvaako.”
The Watchtower Apuli 1
“Abantu bangi balina endowooza ez’enjawulo ku Yesu. Olowooza kikulu okumanya amazima agamukwatako? [Muleke abeeko ky’addamu era oluvannyuma soma Yokaana 17:3.] Magazini eno ennyonnyola ekyo Bayibuli ky’eyogera ku Yesu—gye yava, engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe, n’ensonga lwaki yafa.”
Awake! Apuli
“Okkiriziganya nange nti okufiirwa omwagalwa kye kintu ekisinga okutuleetera obulumi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu bangi bakisanze nti okukolera ku amagezi gano kibadde kya muganyulo. [Soma Zabbuli 55:22.] Magazini eno eraga engeri ez’enjawulo eziyinza okutuyamba okwaŋŋanga obulumi bwe tuba nabo nga tufiiriddwa abaagalwa baffe, n’engeri gye tuyinza okussa omugugu gwaffe ku Katonda.”