Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Febwali 1
“Abasinga obungi tulina amadiini gaffe. Olowooza Katonda afaayo ku ngeri gye tumusinzaamu? [Muleke abeeko ky’addamu. Era osome Matayo 15:9.] Ekitundu kino kiraga ebintu bina Yesu bye yayogera ebyawulawo okusinza okw’amazima.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 16.
Awake! Febwali
“Abamu bakkiririza mu Mutonzi, ate abalala balowooza nti okukkiririza mu Mutonzi tekikwatagana na sayansi era si kya magezi. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku Baibuli, okukkiriza okutuufu kuba kwesigamiziddwa ku bukakafu. [Soma Abebbulaniya 11:1.] Ekitundu kino kyogera ku bukakafu obumu obulaga nti waliwo Omutonzi.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 22.
The Watchtower Maaki 1
“Baibuli ogitwala nti Kigambo kya Katonda, oba olowooza nti kitabo butabo ekirungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo kyennyini Baibuli ky’egamba. [Soma 2 Timoseewo 3:16, 17.] Magazini eno eraga engeri gy’oyinza okukola okusalawo okutuufu ku nsonga eno era n’ensonga lwaki kikulu okukikola.”
Awake! Maaki
“Ng’abantu abasinga obungi, naawe kiyinza okuba nga kikusanyusa okulaba obutonde obulabika obulungi. Okkiriziganya nange nti endabika y’ebitonde eraga nti byakolebwa mu ngeri ey’amagezi? [Muleke abeeko ky’addamu. Era soma Zabbuli 104:24.] Magazini eno eraga ebyokulabirako ebirungi ebikwata ku ngeri ey’amagezi ebitonde gye byakolebwamu era ennyonnyola kye bituyigiriza.”