Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 8
WIIKI ETANDIKA MAAKI 8
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Samwiri 1-4
Na. 1: 1 Samwiri 2:18-29
Na. 2: Ddala Yesu Yayigiriza nti Ababi Bandibonyaabonyezeddwa Oluvannyuma lw’Okufa? (rs-E lup. 174 ¶5)
Na. 3: Ebyawandiikibwa Biraga nti Yakuwa Ayagala Nnyo Abaana Abato
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Obubaka bwa Baibuli bw’Obuulira Bunaawulikika? Okwogera okwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, okuva ku lupapula 109, akatundu 2, okutuuka ku nkomerero y’essomo.
Ddak. 20: “Okwoleka Okusiima olw’Ekirabo kya Katonda Ekisinga Byonna.” Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Nga mumaze akatundu 3, mwejjukanye enteekateeka y’obuweereza bw’ennimiro ekwata ku kugaba akapapula ak’enjawulo akayita abantu ku Kijjukizo. Saba payoniya omuwagizi alage ekyokulabirako ku ngeri gy’anaagabamu akapapula akayita abantu. Oluvannyuma lw’ekyo, musabe ayogere ku nteekateeka gye yakola okusobola okuweereza nga payoniya omuwagizi era n’engeri gy’aganyuddwamu.