Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Febwali: Mugabe ekimu ku bitabo bino bwe muba mubirina: Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible—God’s Word or Man’s?, oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Ababuulizi basaanidde okufuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli abafunye akatabo kano oba abasangiddwa nga bakalina. Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mubawe akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli.