Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 1
WIIKI ETANDIKA MAAKI 1
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Luusi 1-4
Na. 1: Luusi 3:1-13
Na. 2: Engeri gye Tuyinza Okuganyulwa mu Kubeera Abasaasizi (Mat. 5:7)
Na. 3: Mpeera Ki ey’Ekibi? (rs-E lup. 174 ¶1-4)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli. Bategeeze olunaku oluddako olw’okuyigiririzaako abantu Baibuli. Yogera ku byokulabirako ebizzaamu amaanyi, era saba omubuulizi ayogere ennyanjula ezisinze okusikiriza abantu ab’omu kitundu kyammwe. Era musabe awe ekyokulabirako ng’akozesa emu ku nnyanjula eziri mu katabo Reasoning wansi w’omutwe omutono “Okuyigiriza Abantu Baibuli mu Maka Gaabwe” oguli ku lupapula 12.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina. Bakubirize bonna okujjuzaamu kaadi zaabwe eza DPA oba AMD. Temulwawo kugijjuzaamu. Abo abeetaaga obuyambi basaanidde okutuukirira omulabirizi w’ekibinja kyabwe oba omuyambi we. Yogera ku ebyo ebiri ku kaadi ebyetaaga okujjuzaamu.
Ddak. 10: Lwaki Kikulu Okwogera nga Twekakasa mu Buweereza Bwaffe? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu olupapula 194-196.