ESSOMO 32
Okwogera nga Weekakasa
OMUNTU bw’ayogera nga yeekakasa, abalala bakiraba nti by’ayogera abikkiririzaamu. Bwe yabanga abuulira, Pawulo naye yayogeranga nga yeekakasa. Abo abaafuuka abakkiriza mu Ssessaloniika, yabagamba: ‘Amawulire amalungi ge tubuulira tetwagabuulira mu bigambo mwokka naye nga twekakasa.’ (1 Bass. 1:5, NW) Pawulo yayoleka okwekakasa ng’okwo mu ngeri gye yayogeramu ne mu bikolwa bye. Naffe twandibuulidde amazima g’omu Baibuli nga twekakasa.
Okwogera nga weekakasa tekitegeeza kugugubira ku ndowooza yo. Omuntu ayeekakasa ayogera ebiri mu Kigambo kya Katonda mu ngeri eyoleka okukkiriza okw’amaanyi.—Beb. 11:1.
Lwe Kisaanira Okwogera nga Weekakasa. Kikulu okwogera nga weekakasa ng’oli mu buweereza bw’ennimiro. Ng’oggyeko okuwuliriza by’oyogera, abantu beetegereza n’engeri gy’oyogeramu. Balaba engeri gy’otwalamu by’oyogera. Bw’oyogera nga weekakasa abantu bakiraba mangu nti, olina ebintu ebikulu by’oyagala okubategeeza.
Era kyetaagisa okwogera nga weekakasa bw’oba oyogera eri bakkiriza banno. Omutume Peetero yawandiika ebbaluwa ye eyasooka ‘okuzzaamu banne amaanyi n’okubawa obujulirwa ku kisa kya Katonda eky’amazima.’ Yabakubiriza nti: “Mukinywererengamu.” (1 Peet. 5:12) Omutume Pawulo yalaga nti yali akakakasa bye yayogera mu bbaluwa gye yawandiikira ekibiina eky’e Rooma, era ekyo kyabaganyula nnyo. Yawandiika: “[Ndi mukakafu] nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.” (Bar. 8:38, 39) Pawulo yawandiika ne ku bwetaavu bw’okubuulira, era obunyiikivu bwe yayolesa mu mulimu ogwo bw’alaga nti ye kennyini yakitwala nti kikulu okubuulira. (Bik. 20:18-21; Bar. 10:9, 13-15) Abakadde abali mu kibiina Ekikristaayo nabo basaanidde okwogera nga beekakasa bwe baba bayigiriza Ekigambo kya Katonda.
Abazadde bwe baba nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’eby’omwoyo n’abaana baabwe mu kuyiga kwabwe okw’amaka era ne mu biseera ebirala byonna, bandyogedde nga beekakasa. Kino kyetaaza abazadde okukulaakulanya okwagala eri Katonda n’amakubo ge. Olwo nno, bajja kusobola okwogera eri abaana baabwe ebiviira ddala ku mutima, ‘kubanga ebyo ebiba mu mutima akamwa bye koogera.’ (Luk. 6:45; Ma. 6:5-7) Mu ngeri eyo abazadde bajja kussaawo ekyokulabirako ‘eky’okukkiriza okutaliimu bukuusa.’—2 Tim. 1:5.
Naddala kikulu okwogera nga weekakasa bw’oyolekagana n’embeera egezesa okukkiriza kwo. Muyizi munno, omusomesa, oba gw’okola naye ayinza okwewuunya olw’okuba teweenyigira mu mikolo egimu. Bw’omunnyonnyola nga weekakasa kiyinza okumuleetera okukkiriza by’omunnyonnyola ebyesigamiziddwa ku Baibuli. Kiba kitya singa omuntu agezaako okukusendasenda wenyigire mu bikolwa ebibi gamba nga, obutali bwesigwa, okunywa enjaga oba obugwenyufu? Kikulu okukyoleka kaati nti tojja kwenyigira mu mpisa ng’ezo era nti tewali kiyinza kukyusa ndowooza yo. Kino kikwetaagisa okwogera nga weekakasa. Mukyala Potifali bwe yasendasenda Yusufu okwenyigira mu kikolwa eky’obugwenyufu, Yusufu yagamba: “Nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya [mu maaso ga] Katonda?” Bwe yeeyongera okukubiriza Yusufu okwetaba naye, Yusufu yadduka okuva mu nnyumba.—Lub. 39:9, 12.
Engeri y’Okulagamu nti Weekakasa. Ebigambo by’okozesa biyinza okulaga nti weekakasa. Emirundi mingi Yesu yaggumizanga ensonga enkulu ng’akozesa ebigambo: “Ddala ddala nkugamba nti.” (Yok. 3:3, 5, 11; 5:19, 24, 25) Pawulo yalaga nti akakasa by’ayogera ng’akozesa ebigambo nga “ntegeeredde ddala [“ndi mukakafu” NW],” “Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu,” ne “Njogera mazima, ssirimba.” (Bar. 8:38; 14:14; 1 Tim. 2:7) Ng’alaga nti ebigambo bye bijja kutuukirizibwa, emirundi egimu Yakuwa yaluŋŋamya bannabbi be okwogera ebigambo nga “tekulirema kujja.” (Kaab. 2:3) Bw’oba oyogera ku bunnabbi ng’obwo, naawe oyinza okukozesa ebigambo ebifaananako ebyo. Bw’ossa obwesige mu Yakuwa era n’oyogera mu ngeri eweesa abalala ekitiibwa, by’oyogera bijja kulaga nti olina okukkiriza okw’amaanyi.
Bw’oyogera n’amaanyi, era mu bwesimbu, nakyo kiraga nti weekakasa. Endabika yo ey’oku maaso, n’engeri gy’okozesaamu ebitundu byo eby’omubiri ng’oyogera, nabyo biraga nti weekakasa, wadde ng’engeri gye bikozesebwamu eyawukana ku buli muntu. Ne bwe kiba nti olina ensonyi oba ng’oyogera mpola, bw’oba oli mukakafu nti by’oyogera bituufu era nti abalala beetaaga okubiwulira, ojja kusobola okwogera nga weekakasa.
Kya lwatu bye twogera, tulina okubyogera mu bwesimbu. Singa tuwa ekifaananyi nti bye twogera tebiva ku mutima, abatuwuliriza bayinza okubitwala nti si bikulu. N’olwekyo, fuba okwogera mu ngeri eya bulijjo. Singa abakuwuliriza baba bangi, kiyinza okukwetaagisa okukangula ku ddoboozi. Wadde kiba kityo, ekigendererwa kyo bulijjo kyandibadde kwogera mu bwesimbu era mu ngeri eya bulijjo.
Ebiyamba Okwogera nga Weekakasa. Okuva okwogera nga weekakasa bwe kizingiramu engeri gy’otwalamu by’oyogera, kikulu nnyo okuteekateeka obulungi. Tokoppa bukoppi kuva mu kitabo by’onooyogera eri abakuwuliriza. Kikwetaagisa okutegeera obulungi by’ogenda okwogerako era n’obissa mu bigambo byo. Oteekwa okuba omukakafu nti bituufu era nti bijja kuganyula abakuwuliriza. Kino kitegeeza nti bw’oba otegeka emboozi yo, olina okulowooza ku mbeera yaabwe, kye bamanyi ku ky’ogenda okwogerako oba engeri gye babitwalamu.
Abalala bakiraba nti twekakasa bwe tuwa emboozi nga tetusikattira. N’olwekyo, ng’oggyeko okuteekateeka obulungi emboozi yo, fuba okugiwa obulungi. Bw’oba oteekateeka, weetegereze ensonga z’oyagala okuggumiza kikusobozese okuzinnyonnyola nga teweemalidde ku by’owandiise. Era jjukira okusaba Yakuwa akuyambe. Mu ngeri eyo, ‘amaanyi ga Katonda gajja kukusobozesa okufuna obuvumu’ osobole okwogera mu ngeri eraga nti by’oyogera bituufu era bikulu nnyo.—1 Bas. 2:2, NW.