LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 1/1 lup. 12-17
  • Muyimirire mu Bujjuvu nga Muli Banywevu mu Kutegeera

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Muyimirire mu Bujjuvu nga Muli Banywevu mu Kutegeera
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Fuba ‘Okuyimirira mu Bujjuvu’
  • Saba Okufuna Obunywevu mu Kutegeera
  • Yamba Abalala Okutambula nga Bwe Kisaanira mu Maaso ga Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okwogera nga Weekakasa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okubuulira Amawulire Amalungi nga Tulina Okukkiriza Okunywevu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Weenyumiririze mu Ssuubi Eritamalaamu Maanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 1/1 lup. 12-17

Muyimirire mu Bujjuvu nga Muli Banywevu mu Kutegeera

‘Afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke mu nkomerero muyimirire mu bujjuvu era nga muli banywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala.’​—ABAKKOLOSAAYI 4:12, NW.

1, 2. (a) Abantu abataali Bakristaayo baalaba ki ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka? (b) Ekitabo ky’Abakkolosaayi kiraga kitya okwagala?

ABAGOBEREZI ba Yesu baali bafaayo nnyo ku basinza bannaabwe. Tertullian (omuwandiisi ow’omu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu C.E.) yayogera ku kisa kye baalaganga bamulekwa, abaavu, ne bannamukadde. Ebikolwa ebyo ebyayoleka okwagala byawuniikiriza nnyo abantu abataali bakkiriza abamu ne batuuka n’okwogera ku Bakristaayo nti, ‘Laba bwe baagalana.’

2 Ekitabo ky’Abakkolosaayi kiraga okwagala ng’okwo omutume Pawulo ne munne Epafula kwe baalina eri baganda baabwe ne bannyinaabwe ab’omu Kkolosaayi. Pawulo yabawandiikira nti: Epafula “afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke mu nkomerero muyimirire mu bujjuvu era nga muli banywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala.” Mu mwaka 2001, ebigambo ebiri mu Abakkolosaayi 4:12, NW: “Muyimirire mu bujjuvu era nga muli banywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala” bye bijja okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa.

3. Bintu ki ebibiri Epafula bye yasaba?

3 Oyinza okulaba nti okusaba kwa Epafula ku lw’abaagalwa be kwalimu ensonga biri: (1) nti ‘mu nkomerero bayimirire mu bujjuvu’ (2) era nti bayimirire nga “banywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala.” Ebigambo bino byateekebwa mu Byawandiikibwa olw’okutuganyula. Kati nno weebuuze, ‘Kiki kye nneetaaga okukola okuyimirira mu bujjuvu era nga ndi munywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala? Era nga nkikola, kiki ekinaavaamu?’ Ka tulabe.

Fuba ‘Okuyimirira mu Bujjuvu’

4. Mu ngeri Abakkolosaayi gye baali beetaaga okubeera ‘abajjuvu’?

4 Epafula yayagala nnyo baganda be ne bannyina mu by’omwoyo mu Kkolosaayi ‘mu nkomerero okuyimirira mu bujjuvu.’ Ekigambo Pawulo kye yakozesa wano ekikyusibwa ‘obujjuvu,’ kiyinza okutegeeza atuukiridde, oba akuze mu by’omwoyo. (Matayo 19:21; Abaebbulaniya 5:14; Yakobo 1:4, 25) Oyinza okuba ng’okimanyi nti omuntu okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ku bwakyo tekitegeeza nti Mukristaayo akuze mu by’omwoyo. Pawulo yawandiikira Abefeso, abaali babeera ebugwanjuba wa Kkolosaayi, nti abasumba n’abayigiriza bagezeeko okuyamba “bonna okutuuka mu bumu obw’okukkiriza, n’okumanya okutuufu okw’Omwana wa Katonda, tufuuke omuntu akuze, abatuukiridde mu bulamu bwa Kristo.” Awalala Pawulo yakubiriza Abakristaayo okubeera “abakulu mu kutegeera.”​—Abaefeso 4:8-13, NW; 1 Abakkolinso 14:20, NW.

5. Tuyinza tutya okufuula okubeera abajjuvu ekiruubirirwa kyaffe ekikulu?

5 Bwe kiba nti abamu mu Kkolosaayi baali tebannaba kukula mu by’omwoyo, ekyo kye kyandibadde ekiruubirirwa kyabwe. Si bwe kyandibadde leero? Ka kibe nti twabatizibwa emyaka mingi egiyise oba gye buvuddeko awo, tusobola okukiraba nti tukulaakulanye mu busobozi bwaffe obw’okulowooza era ne mu ngeri gye tulabamu ebintu? Tusooka kulowooza ku misingi egiri mu Baibuli nga tetunnabaako kye tusalawo? Ensonga ezikwata ku Katonda awamu n’ekibiina zeeyongera okubeera n’ekifo ekikulu mu bulamu bwaffe? Wano tetuyinza kulaga ngeri zonna mwe tuyinza kwolekera bukulu ng’obwo obw’eby’omwoyo mu bujjuvu, naye weetegereze ebyokulabirako bibiri.

6. Ngeri ki emu omuntu mw’ayinza okukulaakulanira okubeera omutuukirivu nga Yakuwa bw’ali?

6 Ekyokulabirako ekisooka: Singa kiba nti twakulira mu mbeera ezirimu obusosoze oba obukambwe eri abantu ab’ekika ekirala, ensi endala, oba ekitundu ekirala. Kati tumanyi nti Katonda tasosola era naffe bwe tulina okubeera. (Ebikolwa 10:14, 15, 34, 35) Mu kibiina kyaffe oba mu circuit yaffe, waliyo abantu ng’abo ab’enjawulo ku ffe, bwe kityo ne tuba nga tuli nabo. Abantu ng’abo tukoma wa okubalowoozaako obubi oba okubeekengera? Twanguwa okulowooza ekintu ekitali kirungi singa omuntu ng’oyo asobya oba atunyiiza? Weebuuze, ‘Nneetaaga okweyongera okukulaakulana okusobola okubeera n’endowooza ya Katonda ey’obutasosola?’Matayo 5:45-48.

7. Okubeera omujjuvu ng’Omukristaayo kiyinza kutwaliramu kufuna ndowooza ki ekwata ku balala?

7 Ekyokulabirako eky’okubiri: Okusinziira ku Abafiripi 2:3, tetulina ‘kukola kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.’ Tukulaakulana tutya mu nsonga eyo? Buli muntu alina obunafu n’engeri ennungi. Bwe kiba nti edda twali bangu mu kulaba obunafu bw’abalala, tukulaakulanye nga tetukyabasuubira kubeera “abatuukiridde”? (Yakobo 3:2) Kati, n’okusinga bwe kyali kibadde, tusobola okulaba​—n’okunoonyereza​—engeri abalala ze batusingamu? ‘Nteekwa okukkiriza nti mwannyinaze ono ansinga okubeera omugumiikiriza.’ ‘Omuntu oyo ayoleka okukkiriza okunsinga.’ ‘Mazima ddala, ansinga okuyigiriza.’ ‘Ansinga okufuga obusungu.’ Oboolyawo Abakkolosaayi abamu baali beetaaga okukulaakulana mu ekyo. Naffe twetaaga okukulaakulana mu ngeri eyo?

8, 9. (a) Mu ngeri ki Epafula gye yasabira Abakkolosaayi “okuyimirira” nga bajjuvu? (b) ‘Okuyimirira mu bujjuvu’ kyali kitegeeza ki ku bikwata ku biseera eby’omu maaso?

8 Epafula yasaba nti Abakkolosaayi ‘bayimirire mu bujjuvu.’ Kya lwatu, Epafula yali asaba Katonda nti Abakkolosaayi ka babe nga baali bajjuvu, Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo, bandisigadde ‘bayimiridde’ oba okusigala nga bakulu mu by’omwoyo.

9 Tetuyinza kugamba nti buli omu afuka Omukristaayo, wadde akuze mu by’omwoyo, ajja kweyongera okubeera bw’atyo. Yesu yagamba nti malayika omwana wa Katonda “teyanywerera mu mazima.” (Yokaana 8:44) Ne Pawulo yajjukiza Abakkolinso ku bamu mu biseera ebyayita abaaweereza Yakuwa okumala ekiseera naye ate ne balemererwa. Yalabula ab’oluganda abaafukibwako amafuta nti: “Kale alowooza ng’ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa.” (1 Abakkolinso 10:12) Kino kyongera amaanyi mu kusaba nti Abakkolosaayi ‘mu nkomerero bayimirire mu bujjuvu.’ Nga bamaze okufuuka abajjuvu, abakuze mu by’omwoyo, baali beetaaga okunyiikira, obutadda nnyuma, okukoowa, oba okuwaba ne babivaako. (Abaebbulaniya 2:1; 3:12; 6:6; 10:39; 12:25) Mu ngeri eyo bandibadde ‘bajjuvu’ ku lunaku lwabwe olw’okulabirwamu era n’okusiimibwa okusembayo.​—2 Abakkolinso 5:10; 1 Peetero 2:12.

10, 11. (a) Kyakulabirako ki Epafula kye yatuteerawo ku bikwata ku kusaba? (b) Nga kituukagana n’ekyo Epafula kye yakola, kusalawo ki kwe wandyagadde okukola?

10 Tumaze okwogera ku bukulu bw’okusabira abalala nga twatula amannya gaabwe, nga tusaba Yakuwa abayambe, ababudaabude, abawe omukisa, era abawe omwoyo omutukuvu. Okusaba kwa Epafula nga asabira Abakkolosaayi kwali bwe kutyo. Era naffe tusobola​—mu butuufu tusaanidde​—okufuna mu bigambo ebyo amagezi ag’omuwendo agakwata ku ebyo bye tubuulira Yakuwa mu kusaba okutukwatako ffe kennyini. Awatali kubuusabuusa tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okutuuka ku kiruubirirwa ekyo kinnoomu tusobole ‘mu nkomerero okuyimirira mu bujjuvu.’ Bw’okola?

11 Lwaki embeera yo togyogerako mu kusaba? Yogera ne Katonda w’otuuse mu kukulaakulana okubeera ‘omujjuvu,’ akuze mu by’omwoyo. Mwegayirire akuyambe okumanya ebifo we weetaaga okweyongera okukula mu by’omwoyo. (Zabbuli 17:3; 139:23, 24) Awatali kubuusabuusa, olina ebifo ng’ebyo. Mu kifo eky’okuggwaamu amaanyi olw’ekyo, weegayirire Katonda akuyambe okukulaakulana. Kino kikole omulundi ogusukka mu gumu. Mu butuufu, lwaki tosalawo nti wiiki ejja ojja kuwaayo ekiseera okusaba osobole ‘okuyimirira mu bujjuvu.’ Era teekateeka okukikola okusingawo nga bwe weekenneenya ekyawandiikibwa ky’omwaka. Mu kusaba kwo, yogera ku bintu ebiyinza okukuleetera okuddirira, okukoowa, oba okuva ku buweereza bwa Katonda n’engeri gy’oyinza okwewalamu okukikola.​—Abaefeso 6:11, 13, 14, 18.

Saba Okufuna Obunywevu mu Kutegeera

12. Okusingira ddala lwaki Abakkolosaayi baali beetaaga ‘obunywevu mu kutegeerera’?

12 Epafula era yasaba ekintu ekirala ekyali ekikulu singa Abakkolosaayi baali baakusangibwa nga bayimiridde mu ngeri esiimibwa Katonda. Mu ngeri y’emu kyetaagisa gye tuli. Kyali kiki ekyo? Yasaba nti bandibadde bayimirira nga ‘banywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala.’ Baali beetooloddwa endowooza z’eddiini ezitali zimu era n’obufirosoofo obw’akabi, ebimu ku byo nga byefaananyiriza okusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, baali bapikirizibwa okukwata ennaku enkulu awamu n’okusiiba oba okujaguza, nga bwe kyali kyetaagisa mu kusinza kw’Ekiyudaaya. Abayigiriza ab’obulimba essira baliteeka ku bamalayika, ebitonde ebyo eby’amaanyi eby’omwoyo ebyakozesebwa okutuusa ku Musa Amateeka. Kiteeberezeemu okupikirizibwa mu ngeri ng’eyo! Waaliwo endowooza nyingi ezaali zikontana era nga zibuzaabuza.​—Abaggalatiya 3:19; Abakkolosaayi 2:8, 16-18.

13. Kutegeera nsonga ki okwandiyambye Abakkolosaayi, era ekyo kiyinza kitya okutuyamba?

13 Pawulo yayanukula ng’aggumiza ekifo kya Yesu Kristo. ‘Kale nga bwe mukkiriza Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye, nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa.’ Yee, waaliwo obwetaavu (eri Abakkolosaayi era n’eri ffe) obw’okubeera abanywevu mu kutegeera ebikwata ku kifo kya Kristo mu kigendererwa kya Katonda ne mu bulamu bwaffe. Pawulo yannyonnyola: “Kubanga mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw’Obwakatonda ng’omubiri bwe guli, era mwatuukirira mu ye, gwe mutwe gw’okufuga n’obuyinza bwonna.”​—Abakkolosaayi 2:6-10.

14. Lwaki essuubi kyali kintu ekya ddala eri abo abaali mu Kkolosaayi?

14 Abakkolosaayi baali Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Baali balina essuubi ekkakafu, obulamu mu ggulu, era baali balina buli nsonga ennungi okukuuma essuubi eryo nga ttangaavu. (Abakkolosaayi 1:5) Kwe kwali “okwagala kwa Katonda” nti babeere banywevu mu kutegeera ebikwata ku ssuubi lyabwe ekakafu. Wandibaddewo n’omu ku bo eyandibuusizabuusiza essuubi eryo? N’akatono! Kyandibadde kya njawulo leero eri abo bonna abalina essuubi eryabaweebwa Katonda ery’okufuna obulamu mu lusuku olw’oku nsi? Mazima ddala, nedda! Kya lwatu essuubi eryo kitundu ky’ebyo “Katonda by’ayagala.” Kati nno lowooza ku bibuuzo bino: Bwe kiba nti ofuba nnyo okubeera omu ku ‘b’ekibiina ekinene’ abanaawonawo ku “kibonyoobonyo ekinene,” essuubi lyo kkakafu kwenkana wa? (Okubikkulirwa 7: 9, 14) Lye limu ku kitundu ‘ky’obunywevu bwo mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala’?

15. Pawulo yayogera nsonga ki eziddiriŋŋana ezaazingiramu essuubi?

15 Bwe twogera ku ‘ssuubi’ tetutegeeza okuluubirira ekitategeerekeka, oba okuteebereza obuteebereza. Kino tuyinza okukiraba mu nsonga ezidiriŋŋana Pawulo ze yawa Abaruumi. Mu nsonga ezo eziddiriŋŋana, buli kintu ekyayogerwako kirina engeri gye kikwataganyizibwamu n’ekikiddako. Weetegereze wa Pawulo w’ateeka “essuubi” mu nsonga ze: ‘Ka twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng’okubonaabona kuleeta okugumiikiriza; nate okugumiikiriza kuleeta okusiimibwa; okusiimibwa kuleeta essuubi: nate essuubi terikwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, ku bw’omwoyo omutukuvu gwe twaweebwa.’​—Abaruumi 5:3-5.

16. Ng’oyiga amazima ga Baibuli, ssuubi ki lye wafuna?

16 Abajulirwa ba Yakuwa lwe baasooka okukubuulira obubaka okuva mu Baibuli, kiyinzika okuba nti waaliwo amazima agaakutuuka ku mutima, gamba ng’embeera y’abafu oba okuzuukira. Eri bangi, ekintu ekikulu ekippya kye baategeera lye ssuubi eriri mu Baibuli nti kisoboka okubeera omulamu mu lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. Jjukira lwe wasooka okuwulira enjigiriza eyo. Nga lyali ssuubi lya kitalo nnyo​—obulwadde n’okukaddiwa tebiribeerawo nate, ojja kusobola okubeerawo emirembe gyonna okunyumirwa ebibala eby’omulimu gwo, ate wajja kubeerawo emirembe wakati w’abantu n’ensolo! (Omubuulizi 9:5, 10; Isaaya 65:17-25; Yokaana 5:28, 29; Okubikulirwa 21:3, 4) Wafuna essuubi ery’ekitalo ennyo!

17, 18. (a) Ensonga eziddiriŋŋana Pawulo ze yawa Abaruumi zituuka zitya ku ssuubi? (b) Ssuubi lya ngeri ki eryogerwako mu Baruumi 5:4, 5, era ery’engeri eyo olirina?

17 Nga wayiseewo ekiseera, oyinza okuba nga wafuna okuziyizibwa oba okuyigganyizibwa. (Matayo 10:34-39; 24:9) Ne gye buvuddeko awo, amaka g’Abajulirwa mu nsi ez’enjawulo gannyagiddwa oba bawaliriziddwa okufuuka abanoonyi b’obubudamu. Abamu batuusiddwako ebisago, ebitabo byabwe ebyesigamiziddwa ku Baibuli binnyagiddwa, oba boogeddwako eby’obulimba mu mikutu gy’amawulire. Ka kube kuyigganyizibwa kwa ngeri ki kw’oyolekaganye nakwo, nga Abaruumi 5:3 bwe lugamba, wasobola okwenyumiriza mu kubonaabona, era ne kivaamu ebirungi. Era nga Pawulo bwe yawandiika, okubonaabona kwakuleetera obugumiikiriza. Ate obugumiikiriza ne buleeta okusiimibwa. Wamanya nti wali okola kituufu, ng’okola Katonda ky’ayagala, n’olwekyo muli wali mukakafu nti olina okusiimibwa kwe. Okuva mu bigambo bya Pawulo, wategeera nti ‘osiimibwa.’ Nga yeeyongera mu maaso, Pawulo yawandiika nti ‘okusiimibwa, kuleeta okusuubira.’ Ekyo kiyinza okulabika ng’ekitali kya bulijjo. Lwaki Pawulo, “okusuubira” yakuteeka wala nnyo ku nsonga ezo ezizze ziddiriŋŋana? Gwe essuubi tewalifuna dda nnyo, lwe wasooka okuwulira amawulire amalungi?

18 Kya lwatu, wano Pawulo tayogera ku ngeri gye twawuliramu okusooka ku ssuubi ery’obulamu obutuukiridde. Ky’ayogerako kisingawo ku ekyo; kya munda nnyo, kituleetera okubaako kye tukolawo. Bwe tugumiikiriza mu bwesigwa era ne tumanya nti tulina okusiimibwa kwa Katonda, kinyweza essuubi lyaffe lye twalina okusooka. Essuubi lye twalina kati lifuuka lya nnamaddala, lyeyongera okunywera. Essuubi lino erinywezeddwa lyakaayakana n’okusingawo. Likwatira ddala ku bulamu bwaffe. ‘Era essuubi terikwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, ku bw’omwoyo omutukuvu gwe twaweebwa.’

19. Essuubi lyo liyinza litya okubeera ekitundu ky’okusaba kwo okwa bulijjo?

19 Kwe kwali okusaba kwa Epafula nti baganda be ne bannyina mu Kkolosaayi basigale nga bakwatiddwako era nga bategeerera ddala ebyabali mu maaso, nga balina ‘obunywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala.’ Mu ngeri y’emu buli omu ku ffe k’atuukirire Katonda mu kusaba obutayosa ku bikwata ku ssuubi lyaffe. Mu kusaba kwo ng’oli wekka, yogera ku ssuubi lyo erikwata ku nsi empya. Yakuwa mubuulire engeri gy’ogyegombamu, ng’oli mukakafu nti egya kujja. Mwegayirire akuyambe okwongera okunyweza era n’okugaziya okutegeera kwo. Nga Epafula bwe yasaba nti Abakkolosaayi babeere ‘n’obunywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala,’ naawe kola bw’otyo. Kikole emirundi mingi.

20. Singa wabeerawo abatono abava mu kkubo ery’Ekikristaayo, lwaki kino tekyanditumazeemu maanyi?

20 Tolina kuwugulibwa oba okuggwaamu amaanyi olw’okuba bonna tebayimiridde mu bujjuvu nga banywevu mu kutegeera. Abamu bayinza okulemererwa, okuwugulibwa, oba ne balekulira. Ekyo kyaliwo mu banne ba Yesu ab’oku lusegere, abatume be. Naye Yuda bwe yalya mu Yesu olukwe, abatume abalala baggwaamu amaanyi oba baabivaako? Mazima ddala, nedda! Peetero yakozesa Zabbuli 109:8 okulaga nti wandibaddewo omulala eyandizze mu kifo kya Yuda. Omulala yalondebwa, era abeesigwa ba Katonda beeyongera okunyiikirira omulimu gwabwe ogw’okubuulira. (Ebikolwa 1:15-26) Baali bamalirivu okuyimirira mu bujjuvu nga banywevu mu kutegeera.

21, 22. Okuyimirira kwo mu bujjuvu ng’oli munywevu mu kutegeera kunaalabibwa kutya?

21 Oyinza okubeerera ddala omukakafu nti okuyimirira kwo mu bujjuvu era n’obunywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala tekujja kulema kulabibwa. Kujja kulabibwa era kusiimibwe. Ani anaakusiima?

22 Baganda bo ne bannyoko, abakumanyi era abakwagala, be bajja okukulaba. Wadde nga abasinga obungi tebakyoleka, ekinaavaamu kijja kufaananako ne bye tusoma mu 1 Abasessaloniika 1:2-6: “Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe; nga tujjukira bulijjo omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala, n’okugumiikiriza okw’essuubi lya Mukama waffe Yesu Kristo, mu maaso ga Katonda era Kitaffe; . . . Kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu [m]woyo [o]mutukuvu ne mu kutegeerera ddala okungi . . . ; Nammwe ne [mutukoppa] ffe ne Mukama waffe.” Abakristaayo abeesigwa abakwetoolodde nabo bajja kubeera n’enneewulira y’emu bwe banaalaba nti ‘oyimirira mu bujjuvu ng’oli munywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala.’​—Abakkolosaayi 1:23.

23. Mu mwaka ogujja, kiki ky’osaanidde okumalirira okukola?

23 Mazima ddala, Kitammwe ow’omu ggulu ajja kulaba era ajja kuba musanyufu. Beera mukakafu mu ekyo. Lwaki? Kubanga oyimirira mu bujjuvu ng’oli munywevu mu kutegeera ‘byonna Katonda by’ayagala.’ Pawulo yawandiikira Abakkolosaayi nga abazzaamu amaanyi ku nsonga ekwata ku kutambula kwabwe ‘nga bwe kisaanira Yakuwa olw’okumusanyusa.’ (Abakkolosaayi 1:10) Yee, kisoboka abantu abatatuukiridde okumusanyusa mu bujjuvu. Baganda bo ne bannyoko Abakkolosaayi baakikola. Abakristaayo abakwetoolodde bakikola kaakati. Naawe osobola okukikola! N’olwekyo, mu mwaka ogwo ogujja, ka okusaba kwo buli lunaku era n’engeri gye weeyisaamu bulijjo biwe obukakafu nti omaliridde ‘okuyimirira mu bujjuvu ng’oli munywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala.’

Oyinza Okujjukira?

• Kiki ekizingirwa mu ‘kuyimirira mu bujjuvu’?

• Bintu ki ebikukwatako gwe by’olina okuteeka mu kusaba?

• Nga bwe kiri mu Abaruumi 5:4, 5, ssuubi lya ngeri ki ly’oyagala okubeera nalyo?

• Okuyiga kwaffe kukuleetedde kubeera na kiruubirirwa ki mu mwaka ogujja?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Epafula yasaba nti baganda be bayimirire mu bujjuvu, nga banywevu mu kutegeera ebikwata ku Kristo n’essuubi lyabwe

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]

Essuubi lyo ekakafu n’obunywevu mu kutegeera limanyiddwa obukadde n’obukadde bw’abalala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share