LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 1/1 lup. 7-12
  • Yamba Abalala Okutambula nga Bwe Kisaanira mu Maaso ga Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yamba Abalala Okutambula nga Bwe Kisaanira mu Maaso ga Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obuyambi obw’Omuganyulo eri Abakkolosaayi
  • Yogera ku Kintu Ekikakafu mu Kusaba
  • Kolerera Okunyweza Abalala
  • Muyimirire mu Bujjuvu nga Muli Banywevu mu Kutegeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Muzziŋŋanengamu Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Teweerabira Kusabira Balala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 1/1 lup. 7-12

Yamba Abalala Okutambula nga Bwe Kisaanira mu Maaso ga Yakuwa

“Tetulekangayo kubasabira n’okubeegayiririra mulyoke mutambulenga nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa okusobola okumusanyusa nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi.”​—ABAKKOLOSAAYI 1:9, 10, NW.

1, 2. Kiki ddala ekiyinza okubeera ensibuko y’essanyu n’obumativu?

“TUSULA mu kiyumba kya tuleera ku faamu. Bwe tukuuma obulamu bwaffe nga bwangu, tufuna ebiseera ebisingawo okutuukirira abantu n’amawulire amalungi. Tufunye enkizo ya maanyi ey’okuyamba abantu bangi okuwaayo obulamu bwabwe eri Yakuwa.”​—Omugogo gw’abafumbo, abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna mu South Africa.

2 Tokikkiriza nti okuyamba abalala kuleeta essanyu? Abamu bagezaako buli kiseera okuyamba abalwadde, abaavu, oba abali mu kiwuubaalo​—era bafuna obumativu mu kukola ekyo. Abakristaayo ab’amazima bakakafu nti bwe benyigira mu kutegeeza abalala okumanya okukwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo baba bawa obuyambi obusingirayo ddala obulungi. Kino kyokka kye kiyinza okutuusa abalala ku kukkiriza ekinunulo kya Yesu, okukulaakulanya enkolagana ennungi ne Katonda, ne baba nga basobola okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Ebikolwa 3:19-21; 13:48.

3. Kuyamba kwa ngeri ki kwe tusaanidde okulowoozaako?

3 Naye ate, kiri kitya okuyamba abo abaweereza Katonda, abagoberera “Ekkubo”? (Ebikolwa 19:9) Awatali kubuusabuusa, okwagala kwo gye bali kwa maanyi nnyo n’okusinga bwe kwali kubadde, naye oyinza obutalaba ngeri gy’oyinza kubaako ky’okola ekisingawo oba okweyongera okubayamba. Oba embeera gy’olimu eyinza okulabika ng’ekukugira mu ngeri y’okubayambamu, bwe kityo, n’esalako ku bumativu bwe wandifunye. (Ebikolwa 20:35) Ku nsonga ezo zombi, tuyinza okubaako kye tuyiga okuva mu kitabo ky’Abakolosaayi.

4. (a) Mu mbeera ki Pawulo mwe yawandiikira Abakkolosaayi? (b) Epafula yenyigiramu atya?

4 Omutume Pawulo bwe yawandiikira Abakristaayo mu Kkolosaayi, yali mu Rooma nga akuumirwa mu nnyumba ng’omusibe, kyokka nga yali ayinza okufuna abagenyi. Nga bwe wandikisuubidde, Pawulo yakozesa eddembe ettono lye yalina okubuulira ku Bwakabaka bwa Katonda. (Ebikolwa 28:16-31) Pawulo yali ayinza okukyalirwa Bakristaayo banne, oboolyawo abamu ne basibibwa naye ebiseera ebimu. (Abakkolosaayi 1:7, 8; 4:10) Omu ku bo yali omubuulizi w’enjiri omunyiikivu ennyo Epafula okuva mu kibuga kye Kkolosaayi mu Fulugiya, ensi eri mu buvanjuba bwa Efeso mu Asiya Omutono (kaakano ekiyitibwa Butuluki). Epafula yayamba nnyo mu kutandikawo ekibiina kye Kkolosaayi, era yakolerera nnyo ebibiina ebyali mu Lawodikiya ne Kiyerapoli, ebibuga eby’omuliraano. (Abakkolosaayi 4:12, 13) Lwaki Epafula yagenda okulaba Pawulo e Rooma, era kiki kye tuyinza okuyiga okuva ku ngeri Pawulo gye yayanukulamu?

Obuyambi obw’Omuganyulo eri Abakkolosaayi

5. Lwaki Pawulo yawandiikira Abakkolosaayi?

5 Okusobola okwebuuza ku Pawulo ku mbeera bwe yali mu kibiina kye Kkolosaayi, Epafula yatindigga olugendo lw’e Rooma olutaali lwangu. Yawa lipoota ekwata ku kukkiriza, okwagala, era n’okufuba kw’Abakristaayo abo mu kubuulira. (Abakkolosaayi 1:4-8) Kyokka era, ateekwa okuba nga yayogera ku ndowooza etali nnuŋŋamu eyali ey’akabi eri embeera y’Abakkolosaayi ey’eby’omwoyo. Pawulo yayanukula ng’aweereza ebbaluwa eyaluŋŋamizibwa eyawakanya ezimu ku ndowooza abayigiriza ab’obulimba ze baali basaasaanya. Essira yasinga kulissa ku kifo ekikulu Yesu Kristo ky’alina.a Obuyambi bwe bwakoma bukomi ku kuggumiza amazima amakulu agali mu Baibuli? Mu ngeri ki endala mwe yandiyinzizza okuyambamu Abakkolosaayi, era kya kuyiga ki kye tuyinza okufuna mu kuyamba abalala?

6. Kiki Pawulo kye yasimbako essira mu bbaluwa ye eri Abakkolosaayi?

6 Mu ntandikwa y’ebbaluwa ye, Pawulo yatangaaza ku buyambi bwe tuyinza okubuusa amaaso. Yali ngeri y’okuwamu obuyambi obw’omuganyulo ng’oli wala, Pawulo ne Epafula baali wala okuva mu Kkolosaayi. Pawulo yakiggumiza nti: “Twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira ennaku zonna.” Yee, kuno kwali kusaba okukwata ku Bakristaayo abaali mu Kkolosaayi. Pawulo yagattako: “Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n’okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by’ayagala mu magezi gonna n’okutegeera eby’Omwoyo.”​—Abakkolosaayi 1:3, 9.

7, 8. Okusaba kwaffe nga tuli fekka n’okw’omu kibiina kutera kukwata ku nsonga ki?

7 Tumanyi nti Yakuwa ye “Awulira okusaba,” n’olwekyo tuyinza okuba n’obwesige nti ajja kuwulira okusaba kwaffe okutuukagana n’ebyo by’ayagala. (Zabbuli 65:2; 86:6; Engero 15:8, 29; 1 Yokaana 5:14) Kyokka, bwe tuba tusabira abalala, okusaba kwaffe kuba kutya?

8 Bulijjo tuyinza okulowooza era ne tusabira ‘ekibiina kyonna eky’ab’oluganda mu nsi.’ (1 Peetero 5:9) Oba tuyinza okutuukirira Yakuwa nga tusabira Abakristaayo n’abo abalala abali mu kitundu omuli akatyabaga oba emitawaana emirala. Abayigirizwa ab’omu kyasa ekyasooka abaali mu bifo ebirala bwe baawulira enjala eyali mu Buyudaaya, bateekwa okuba nga baasabira nnyo baganda baabwe wadde nga tebannaba kubaweereza buyambi. (Ebikolwa 11:27-30) Ne mu kiseera kyaffe, okusaba okukwata ku b’oluganda bonna oba ku kibinja ekinene eky’ab’oluganda kutera okuwulirwa mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, abalala abangi gye beetaaga okukitegeera era n’okuddamu nti “Amiina.”​—1 Abakkolinso 14:16.

Yogera ku Kintu Ekikakafu mu Kusaba

9, 10. (a) Byakulabirako ki ebiraga nti okusabira abantu kinnoomu kusaanidde? (b) Pawulo yasabirwa atya ng’omuntu kinnoomu?

9 Ate era, Baibuli etuwa ebyokulabirako eby’okusaba ku lw’abalala, okukwata ku bantu kinnoomu. Lowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 22:31, 32. Yali yeetooloddwa abatume 11 abeesigwa. Bonna bandyetaaze obuyambi bwa Katonda mu biseera ebizibu ebyabali mu maaso, era Yesu yabasabira. (Yokaana 17:9-14) Kyokka era, Yesu yalondamu Peetero, n’asabira omuyigirizwa oyo mu ngeri ey’enjawulo. Ebyokulabirako ebirala: Erisa yasaba nti Katonda ayambe omusajja omu, omuweereza we. (2 Bassekabaka 6:15-17) Omutume Yokaana yasaba nti Gayo yeeyongere okubeera obulungi mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. (3 Yokaana 1, 2) N’okusaba okulala kwali kukwata ku bibinja ebimu.​—Yobu 42:7, 8; Lukka 6:28; Ebikolwa 7:60; 1 Timoseewo 2:1, 2. 

10 Ebbaluwa za Pawulo zitangaaza ku kusaba ku kintu ekikakafu. Yasaba nti bamusabire ye kennyini oba ye ne banne. Abakkolosaayi 4:2, 3 wasoma bwe wati: “Munyiikirirenga mu kusaba, nga mutunulanga mu kusaba mu kwebaza; nate nga mutusabira naffe, Katonda okutuggulirawo oluggi olw’ekigambo, okwogera ekyama kya Kristo, n’okusibibwa kye nnasibirwa.” Era weetegereze ebyokulabirako bino ebirala: Abaruumi 15:30; 1 Abasessaloniika 5:25; 2 Abasessaloniika 3:1; Abaebbulaniya 13:18.

11. Bwe yali mu Rooma, baani Epafula be yali asabira?

11 Bw’atyo ne munne wa Pawulo eyali mu Rooma bwe yali. “Epafula ow’ewammwe, . . . abalamusizza, afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe.” (Abakkolosaayi 4:12) Ekigambo ekikyusibwa “okufuba” kiyinza okutegeeza “okufunvubira,” ng’omuzannyi mu mizannyo egy’edda. Epafula yali asabira busabizi ekibiina ky’abakkiriza mu nsi yonna kyokka oba n’abasinza ab’amazima abaali mu Asiya Omutono? Pawulo yakiraga bulungi nti Epafula yali asabira abo abaali mu Kkolosaayi. Epafula yali amanyi embeera yaabwe. Bonna tetubamanyi mannya, era tetumanyi bizibu ki bye baali boolekaganye nabyo, naye oyinza okuteebereza ebimu ku ebyo ebiyinza okuba nga bye byaliwo. Oboolyawo Lino omuto yali ayolekaganye n’’obufirosoofo obwaliwo mu kiseera ekyo, ate ye Luufo ayinza okuba yali yeetaaga amaanyi okuziyiza okusikirizibwa eri ebikolwa bye yenyigirangamu mu ddiini y’Ekiyudaaya. Olw’okubeera n’omwami ataali mukkiriza, Perusi yali yeetaaga obugumiikiriza n’amagezi okusobola okukuza abaana be mu Mukama waffe, ate ye Asunkulito eyalina obulwadde obw’amaanyi, yali yeetaaga okubudaabudibwa okusingawo? Yee, Epafula yali amanyi abo abaali mu kibiina ky’ewaabwe, era yanyiikiriranga okubasabira kubanga ye ne Pawulo baali baagala abantu ng’abo abanyiikivu okweyongera okutambula mu ngeri esaanira mu maaso ga Yakuwa.

12. Okusaba kwaffe kuyinza kutya okukwata ku kintu ekikakafu?

12 Olaba kye tuyinza okugoberera​—engeri gye tuyinza okuyambamu abalala? Nga bwe tulabye, okusaba kw’omu lujjudde mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo kutera okuzingiramu ebintu bingi, olw’abantu abangi ababeerawo. Naye okusaba kwaffe okwa kinnoomu oba okw’amaka kuyinza okukwata ku kintu ekikakafu. Wadde oluusi tuyinza okusaba Katonda awe obulagirizi era n’emikisa abalabirizi abatambula oba abasumba ab’eby’omwoyo, ebiseera ebimu tetwandyogedde n’ebibakwatako bo bennyini ebikakafu? Ng’ekyokulabirako, lwaki mu kusaba kwo toyatulira ddala linnya ly’omulabirizi wa circuit agenda okukyalira ekibiina kyammwe oba ery’oyo akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina? Abafiripi 2:25-28 ne 1 Timoseewo 5:23 ziraga okufaayo kwa Pawulo eri obulamu bwa Timoseewo ne Epafuloddito. Mu ngeri y’emu naffe tuyinza okulaga okufaayo ng’okwo eri abalwadde be tumanyi amannya?

13. Mbeera za ngeri ki ezigwanidde okuteekebwa mu kusaba kwaffe okwa kinnoomu?

13 Kyo kituufu nti, tulina okwewala okweyingiza mu nsonga z’abalala ezitatukwatako, naye okusaba kwaffe kusaanidde okwoleka okufaayo okwa nnamaddala eri abo be tumanyi era be tufaako. (1 Timoseewo 5:13; 1 Peetero 4:15) Ow’oluganda ayinza okuba nga yafiirwa omulimu gwe, era nga tetuyinza kumufunira mulala. Kyokka, tuyinza okwatula erinnya lye era ne twogera ku kizibu kye mu kusaba kwaffe. (Zabbuli 37:25; Engero 10:3) Tumanyiyo mwannyinaffe ali obwannamunigina akuze mu myaka nga talina mwami n’abaana kubanga mumalirivu okufumbirwa mu “Mukama waffe” mwokka? (1 Abakkolinso 7:39) Mu kusaba kwo ng’oli wekka, lwaki tosaba Yakuwa amuwe omukisa era amuyambe okweyongera okuba omwesigwa mu buweereza bwe? Ng’ekyokulabirako ekirala, abakadde babiri bayinza okuba nga baabuulirira ow’oluganda eyali agudde mu nsobi. Lwaki buli omu ku bo tayatula linnya ly’ow’oluganda oyo mu kusaba kwabwe nga bali bokka buli luvannyuma lwa kiseera?

14. Okusaba okukwata ku kintu ekikakafu kukwataganyizibwa kutya n’okuyamba abalala?

14 Mu ngeri nnyingi osobola okuteeka mu kusaba kwo abantu b’omanyi abeetaaga obuyambi bwa Yakuwa, okubudaabudibwa, amagezi, n’omwoyo omutukuvu, oba ekibala kyonna eky’omwoyo omutukuvu. Olw’okubeera ewala oba embeera endala, oyinza okuwulira ng’okugiddwa mu ngeri y’okuwamu abalala obuyambi. Naye teweerabira kusabira baganda bo ne bannyoko. Okimanyi nti beetaaga okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa, kyokka bayinza okuba nga beetaaga obuyambi okukikola ekiseera kyonna. Ekiyinza okuyamba kwe kusaba kwo.​—Zabbuli 18:2; 20:1, 2; 34:15; 46:1; 121:1-3.

Kolerera Okunyweza Abalala

15. Lwaki twandyagadde okumanya ebiri mu kitundu ekisembayo eky’ekitabo ky’Abakkolosaayi?

15 Kya lwatu nti okusaba okukwata ku kintu ekikakafu si ye ngeri yokka ey’okuyambamu abalala, nnaddala abo abakuli okumpi era b’oyagala ennyo. Ekitabo kya Abakkolosaayi kiraga bulungi ensonga eyo. Abeekenneenya bangi bagamba nti oluvannyuma lwa Pawulo okuwa obulagirizi obukwata ku njigiriza era n’okubuulirira okw’omuganyulo, yagattako bugasi okulamusa kwe. (Abakkolosaayi 4:7-18) Okwawukana ku ekyo, tumaze okukizuula nti ekitundu kino ekisembayo eky’ekitabo kirimu okubuulirira okw’omuganyulo, ate era waliwo ebirala eby’okuyiga okuva mu kitundu kino.

16, 17. Kiki kye tuyinza okwogera ku b’oluganda aboogerwako mu Abakkolosaayi 4:10, 11?

16 Pawulo yawandiika: “Alisutaluuko, musibe munnange, abalamusizza, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, (gwe mwalagirwa; bw’alijja gye muli, mumwanirizanga), ne Yesu ayitibwa Yusito, ab’omu bakomole: abo bokka be bakozi bannange olw’obwakabaka bwa Katonda, abansanyusanga [“abanzizizzaamu ennyo amaanyi,” NW].”​—Abakkolosaayi 4:10, 11.

17 Awo Pawulo yayogera ku b’oluganda abamu abaali basaanidde okwetegerezebwa mu ngeri ey’enjawulo. Yagamba nti baali bamu ku bakomole, era Abayudaaya. Waaliyo Abayudaaya bangi abakomole mu Rooma, era n’abamu kati baali Bakristaayo. Kyokka era, abo Pawulo be yayogerako baali bamuyambye. Kirabika nga tebaalonzalonza okubeera awamu n’Abakristaayo ab’Amawanga, era bateekwa okuba nga baakolera wamu ne Pawulo mu kubuulira ab’Amawanga.​—Abaruumi 11:13; Abaggalatiya 1:16; 2:11-14.

18. Pawulo yasiima atya abamu abaali naye?

18 Weetegereze ebigambo bya Pawulo nti: ‘Bano banzizizzaamu nnyo amaanyi.’ Yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekirabika omulundi guno gwokka mu Baibuli. Abavvuunuzi bangi bakivvuunula “okubudaabuda.” Kyokka, waliwo ekigambo ekirala eky’oluyonaani (pa·ra·ka·le’o) ekitera okuvvuunulwa “okubudaabuda.” Pawulo yakikozesa mu kifo ekirala mu bbaluwa eno yennyini naye si mu Abakkolosaayi 4:11.​—Matayo 5:4; Ebikolwa 4:36; 9:31; 2 Abakkolinso 1:4; Abakkolosaayi 2:2; 4:8.

19, 20. (a) Makulu ki agali mu bigambo Pawulo bye yakozesa ku b’oluganda abaali bamuzzaamu amaanyi mu Rooma? (b) Ab’oluganda abo bayinza okuba nga Pawulo bamuyamba mu ngeri ki?

19 Abo Pawulo be yayogerako bateekwa okuba nga baakola ekisingawo ku kumusaasira obusaasizi. Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa ‘okuzzaamu amaanyi’ mu Abakkolosaayi 4:11 ebiseera ebimu kyakozesebwanga mu bitabo ebirala okutegeeza eddagala erikkakannya ku bulumi. New Life Version esoma bw’eti: “Nga banyambye nnyo!” Today’s English Version ekozesa ebigambo: “Nga babadde ba buyambi nnyo gyendi!” Ab’oluganda Abakristaayo abaali babeera okumpi ne Pawulo kiki kye bayinza okuba nga baakola okumuyamba?

20 Pawulo yali ayinza okufuna abagenyi, naye waaliwo ebintu bingi bye yali tayinza kukola, gamba ng’okugula bye yali yeetaaga​—emmere n’engoye ez’okukozesa mu biseera eby’obutiti. Yandisobodde atya okufuna emizingo egy’okusoma oba okugula eby’okukozesa mu kuwandiika? (2 Timoseewo 4:13) Toyinza kuteebereza ng’ab’oluganda abo bayamba Pawulo okukola ku byetaago bye, nga bamugulira ebintu oba ng’abatuma okumukolera ku nsonga ze? Ayinza okuba yayagalanga okumanya embeera y’ekibiina n’okukizzaamu amaanyi. Olw’okuba yali musibe, yali tayinza kukikola, n’olwekyo, ab’oluganda abo bayinza okuba nga baakyalangayo ku lulwe, nga batwala obubaka, era nga bakomyawo lipoota. Nga kyali kizzaamu nnyo amaanyi!

21, 22. (a) Lwaki twandyagadde okumanya ebikwata ku Abakolosaayi 4:11? (b) Ngeri ki ezimu mwe tuyinza okukoppa ebyokulabirako by’abo abaali ne Pawulo?

21 Pawulo kye yawandiika ku ‘kuzzaamu amaanyi’ kituyamba okutegeera engeri naffe gye tuyinza okuyambamu abalala. Bayinza okuba nga batambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa ku bikwata ku mitindo gye egy’empisa, nga babeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, era nga benyigira mu mulimu gw’okubuulira. Olw’okukola ebyo, kiba kigwanira okubasiima. Kyokka, tuyinza okukola ekisingawo, ne tubeera ‘abazzaamu abalala amaanyi’ ng’abo abaali ne Pawulo?

22 Singa omanyayo mwannyinaffe anyweredde ku 1 Abakkolinso 7:37 kyokka nga kati tewali maka gamuli kumpi, oyinza okumugatta ku bimu ku ebyo ebikolebwa mu maka gammwe, oboolyawo okumuyita okuliira awamu nammwe oba okubeerawo nga mukuŋŋaanye wamu n’ab’emikwano oba eb’enŋŋanda? Ate kiri kitya eky’okumuyita mutambulire wamu mwenna nga mugenda mu lukuŋŋaana olunene oba mu kifo ekirala okuwumulako? Oba musabe okubeegattako bwe muba mugenda okugula emmere. Tuyinza okukola kye kimu eri bannamwandu oba bassemwandu, oba abo abatakyayinza kuvuga mmotoka. Oyinza okukisanga nga kya muganyulo okuwuliriza ebibakwatako oba okubayigirako ebintu gamba ng’okulondamu ebibala ebirungi oba engoye z’abaana. (Eby’Abaleevi 19:32; Engero 16:31) Ekiyinza okuvaamu kwe kweyongera okubeera n’enkolagana ey’okulusegere nabo. Bwe kityo kiyinza okubanguyira okukutuukirira okubayamba singa baba beetaaga eddagala okuva gye balitundira, oba ekintu ekirala kyonna ng’ekyo. Ab’oluganda abaali ne Pawulo mu Rooma bateekwa okuba nga baamuzzaamu amaanyi nga naawe bw’oyinza okukola. Mu kiseera ekyo ne mu kino emikisa egivaamu kwe kunyweza okwagala era n’okubeera abamalirivu mu kuweerereza awamu Yakuwa n’obwesigwa.

23. Kyandibadde kirungi buli omu ku ffe okumala ebiseera ng’akola ki?

23 Buli omu ku ffe ayinza okufumiitiriza ku mbeera ezoogeddwako mu kitundu kino. Embeera ezo zibadde byakulabirako, naye biyinza okutujjukiza embeera zennyini mwe tuyinza “okuzzaamu amaanyi” baganda baffe ne bannyinaffe. Ensonga enkulu teri nti tulina okufuna endowooza ng’ez’abantu abakolerera okulongoosa embeera z’abalala. Ekyo si kye kyali ekiruubirirwa ky’ab’oluganda aboogeddwako mu Abakkolosaayi 4:10, 11. Baali ‘bakolera wamu ku lw’obwakabaka bwa Katonda.’ Okuzzaamu abalala amaanyi kyali kikwatagana butereevu n’ekyo. Ka kibeere bwe kityo gye tuli.

24. Nsonga ki enkulu gye tulina ey’okusabira abalala era n’okubazzaamu amaanyi?

24 Twatula amannya g’abalala mu kusaba kwaffe nga tuli fekka era ne tufuba okubazzaamu amaanyi olw’ensonga eno: Tukkiriza nti baganda baffe ne bannyinaffe baagala “okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa olw’okusiimibwa kwonna.” (Abakkolosaayi 1:10, NW) Ensonga eyo ekwataganyizibwa n’ekintu ekirala Pawulo kye yayogerako bwe yali awandiika ku kusaba kwa Epafula okukwata ku Bakkolosaayi, nti balyoke ‘mu nkomerero bayimirire mu bujjuvu nga banywevu mu kutegeera byonna Katonda by’ayagala.’ (Abakolosaayi 4:12) Ffe kinnoomu tuyinza tutya okutuuka ku ekyo? Ka tulabe.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, empapula 490-1, ne “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial,” empapula 226-8, ebyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

Weetegereza?

• Tuyinza tutya okuwa obuyambi obusingawo mu kusaba kwaffe okwa kinnoomu?

• Abakristaayo abamu ‘bazzaamu batya Pawulo amaanyi’?

• Mu mbeera ki mwe tuyinza ‘okuzzaamu abalala amaanyi’?

• Kiruubirirwa ki kye tulina eky’okusabira n’okuzzaamu amaanyi baganda baffe ne bannyinaffe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Oyinza okwaniriza Omukristaayo omulala nga mugenda okwesanyusaamu ng’amaka?

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Courtesy of Green Chimney’s Farm

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share