Muzziŋŋanengamu Amaanyi
“Abo be banzizizzaamu ennyo amaanyi.”—ABAKKOLOSAAYI 4:11, NW.
1, 2. Wadde nga kyali kiyinza okuba eky’akabi, lwaki mikwano gya Pawulo baamukyalira mu kkomera?
KIYINZA okuba eky’akabi singa obeera mukwano gw’omuntu apoocera mu kkomera—ka kibe nti mukwano gwo oyo bamulanga bwemage. Abakuumi b’ekkomera bayinza okukwekengera, nga beetegereza buli ky’okola okulaba nti tobaako omusango gw’ozza. N’olwekyo kiba kyetaagisa obuvumu okweyongera okukyalira oba okuwuliziganya ne mukwano gwo oyo.
2 Naye kino kyennyini egimu ku mikwano gy’omutume Pawulo kye baakola emyaka nga 1,900 egiyise. Tebaatya kukyalira Pawulo ng’ali mu kkomera okusobola okumubudaabuda n’okumuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo. Mikwano gye gino egya nnamaddala baali baani? Era kiki kye tuyinza okuyigira ku buvumu n’obwesigwa bwe baayoleka, awamu n’omukwano gwe baalaga Pawulo?—Engero 17:17.
‘Abaamuzzaamu Amaanyi’
3, 4. (a) Mikwano gya Pawulo abataano be baani, era baamukolera ki? (b) Ebigambo ‘okuzzaamu amaanyi’ bitegeeza ki?
3 Kati ka tulabe ebyaliwo awo nga mu mwaka gwa 60 C.E. Mu kiseera kino omutume Pawulo ali mu kkomera e Rooma ng’ajwetekeddwako omusango gw’okusekeeterera gavumenti. (Ebikolwa 24:5; 25:11, 12) Pawulo anokolayo Abakristaayo bataano abaamuyamba: Tukiko ow’omu ssaza ly’omu Asiya eyaweereza ng’omubaka we era gw’ayita ‘muddu munnange mu Mukama waffe’; Onnessimo, “ow’oluganda omwesigwa omwagalwa” eyava e Kkolosaayi; Alisutaluuko Omumakedoni eyava e Ssessaloniika era nga lumu ‘yasibibwako’ ne Pawulo; Makko eyawandiika ekitabo ky’enjiri ekiyitibwa erinnya lye era nga yali mujjwa wa Balunabba eyakolanga n’omutume Pawulo mu buminsani; ne Yusito omu ku abo abaakoleranga awamu ne Pawulo okulangirira “obwakabaka bwa Katonda.” Abataano bano Pawulo aboogerako ng’agamba nti: “Abo be banzizizzaamu ennyo amaanyi.”—Abakkolosaayi 4:7-11.
4 Pawulo yayogera bulungi nnyo ku buyambi mikwano gye abo bwe baamuwa. Yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani (pa·re·go·riʹa) ekisangibwa mu lunyiriri olwo lwokka mu Baibuli era nga wano kivvuunuddwa ‘okuzzaamu amaanyi.’ Ekigambo kino kirina amakulu ag’enjawulo ate nga kyakozesebwanga nnyo mu lulimi olw’ekisawo.a Kisobola okutegeeza ‘okugumya, okukkakkanya, okubudaabuda, oba okuweweeza.’ Pawulo yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi mu ngeri ng’ezo, era abasajja abo abataano ekyo kyennyini kye baakola.
Lwaki Pawulo Yali Yeetaaga ‘ab’Okumuzzaamu Amaanyi’
5. Wadde nga yali mutume, kiki Pawulo kye yali yeetaaga, era ffenna kiki kye twetaaga ebiseera ebimu?
5 Abamu kiyinza okubeewuunyisa bwe bawulira nti ne Pawulo, omutume, yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Mu butuufu naye yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Kyo kituufu nti Pawulo yalina okukkiriza okw’amaanyi, era nga yali ayise mu bizibu bingi, ‘emirundi mingi yakubibwa,’ ‘emirundi mingi katono afe,’ era n’ebirala bingi ebiri ng’ebyo. (2 Abakkolinso 11:23-27) Naye wadde kyali kityo, yali muntu buntu ate ng’abantu ffenna wabaawo lwe twetaaga abalala okutubudaabuda era n’okutuzzaamu amaanyi mu kukkiriza. Ne Yesu waliwo lwe yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Mu kiro ekyasembayo nga tannafa, malayika yamulabikira mu lusuku Gesusemane era ‘n’amuzzaamu amaanyi.’—Lukka 22:43.
6, 7. (a) Mu Rooma, baani abaamalamu Pawulo amaanyi, ate baani abamuzzaamu amaanyi? (b) Buyambi bwa ngeri ki baganda ba Pawulo Abakristaayo bwe baamuwa ‘obwamuzzaamu amaanyi’ ng’ali mu Rooma?
6 Pawulo naye yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Bwe yatwalibwa mu Rooma ng’omusibe, abantu b’eggwanga lye tebaamwaniriza. Abayudaaya abasinga obungi tebakkiriza bubaka bwa Bwakabaka. Abakulu b’Abayudaaya bwe baakyalira Pawulo mu kkomera, ebyawandiikibwa bigamba: “Abamu ne bakkiriza bye yayogera, abamu ne batakkiriza. Bwe bataatabagana bokka na bokka, ne bagenda.” (Ebikolwa 28:17, 24, 25) Nga Pawulo ateekwa okuba nga yanakuwala nnyo abantu bwe baalemererwa okusiima ekisa kya Yakuwa! Engeri gye kyamuyisaamu yeeyoleka bulungi mu bbaluwa gye yali awandiikidde ekibiina ky’e Rooma emyaka mitono emabega mwe yagambira: “Nnina ennaku nnyingi n’okulumwa okutamala mu mutima gwange. Kubanga nandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange [Abayudaaya] ab’ekika kyange mu mubiri.” (Abaruumi 9:2, 3) Kyokka era mu Rooma yasangayo emikwano egya nnamaddala egyamubudaabuda era ne gimuzzaamu amaanyi. Bano be baali baganda be ab’eby’omwoyo aba nnamaddala.
7 Mu ngeri ki ab’oluganda abo abataano gye bazzaamu Pawulo amaanyi? Eky’okuba nti Pawulo yali musibe tekyabaleetera kumwewala. Mu kifo ky’ekyo, baamulaga okwagala nga bakola ebintu bye yali tasobola kukola olw’okuba yali musibe. Ng’ekyokulabirako, baatwaliranga ebibiina obubaka n’amabaluwa okuva gy’ali; era baamuleeteranga amawulire agazzaamu amaanyi agakwata ku mbeera y’ab’oluganda abaali mu Rooma n’ebitundu ebirala. Kirabika nti baafuniranga Pawulo eby’okukozesa gamba ng’engoye ez’okwambala mu budde obw’obutiti, emizingo, n’eby’okukozesa mu kuwandiika. (Abaefeso 6:21, 22; 2 Timoseewo 4:11-13) Obuyambi buno bwonna bwazzaamu nnyo amaanyi omutume ono eyali asibiddwa mu kkomera era naye bw’atyo n’asobola ‘okuzzaamu abalala amaanyi’ nga mw’otwalidde n’ebibiina.—Abaruumi 1:11, 12.
Engeri Gye Tusobola ‘Okuzzaamu Abalala Amaanyi’
8. Okuba nti Pawulo yakkiriza nti yali yeetaaga ‘okuzzibwamu amaanyi’ tukiyigiramu ki?
8 Kiki kye tuyinza okuyiga mu bino bye tusoma ku Pawulo ne bakozi banne abataano? Ka twetegerezeemu eky’okuyiga kimu: Kyetaagisa obuvumu n’omwoyo ogw’okwefiiriza okusobola okuyamba abo ababa bali mu buzibu. Ate era kiba kitwetaagisa okuba abawombeefu okusobola okukkiriza abalala okutuyamba bwe tuba tufunye ebizibu. Pawulo teyakkiriza bukkiriza nti yali yeetaaga obuyambi, naye era n’obuwombeefu yakkiriza obuyambi obwo era n’asiima n’abo abaamuyamba. Teyakitwala nti okukkiriza obuyambi bw’abalala kyali kyoleka bunafu oba nti yali yeefeebya, era naffe si bwe tutyo bwe twandikitutte. Bwe tugamba nti tetwetaaga buyambi bwonna tuba ng’abagamba nti tulina obusobozi obusinga ku bw’abantu. Tukijjukire nti ekyokulabirako kya Yesu kiraga nti n’omuntu atuukiridde ebiseera ebimu ayinza okusaba obuyambi.—Abaebbulaniya 5:7.
9, 10. Birungi ki ebisobola okuvaamu omuntu bw’akkiriza nti yeetaaga okuyambibwa, era abalala mu maka ne mu kibiina bayinza kukwatibwako batya?
9 Ebivaamu biba birungi ddala abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bwe bakkiriza nti waliwo bye batasobola kukola era nti beetaaga obuwagizi bw’abalala. (Yakobo 3:2) Bwe booleka omwoyo ng’ogwo enkolagana ebaawo wakati waabwe n’abo be balinako obuvunaanyizibwa yeeyongera okunywera. Abo ababa beetaaga okuyambibwa bwe bakkiriza obuyambi, bateerawo abalala ekyokulabirako singa nabo baba batuuse mu mbeera y’emu. Kiraga nti abo abatwala obukulembeze nabo balina ebibalema era nti batuukirikika.—Omubuulizi 7:20.
10 Ng’ekyokulabirako abaana kiyinza okubanguyira okukkiriza obuyambi bazadde baabwe bwe babawa okusobola okugonjoola ebizibu n’okwaŋŋanga ebikemo bwe bamanya nti bazadde baabwe nabo baayolekaganako n’ebizibu bye bimu nga bakyali bato. (Abakkolosaayi 3:21) Mu ngeri eyo empuliziganya wakati w’omuzadde n’omwana eba nnungi. Era kiba kyangu okwekenneenyeza awamu amagezi agaweebwa okuva mu Byawandiikibwa era n’okugagoberera. (Abaefeso 6:4) Mu ngeri y’emu, ab’oluganda mu kibiina kijja kubanguyira okukkiriza obuyambi obubaweebwa abakadde bwe bakiraba nti n’abakadde nabo boolekagana n’ebizibu ebifaananako n’ebyabwe. (Abaruumi 12:3; 1 Peetero 5:3) Na wano, empuliziganya ennungi esobola okubaawo, n’okubuulirira okuva mu byawandiikibwa kusobola okwekenneenyezebwa awamu era n’ekivaamu kwe kunywezebwa mu ku kukkiriza. Tujjukire nti baganda baffe ne bannyinnaffe beetaagira ddala okuzzibwamu amaanyi kati n’okusinga bwe kyali kibadde.—2 Timoseewo 3:1.
11. Lwaki bangi nnyo leero beetaaga ‘okuzzibwamu amaanyi’?
11 Ka tube baani, nga tubeera wa, oba tulina emyaka emeka, ffenna twolekagana n’ebizibu mu bulamu. Embeera bw’etyo bw’eri. (Okubikkulirwa 12:12) Ebizibu ng’ebyo ebituleetera obulumi mu mubiri ne mu birowoozo bigezesa okukkiriza kwaffe. Tuyinza okwolekagana n’embeera enzibu ku mulimu, ku ssomero, mu maka gaffe, oba mu kibiina. Obulwadde obw’amaanyi oba ekizibu eky’amaanyi ennyo ekyatutuukako kiyinza okuba nga kye kituleetera okweraliikirira. Singa munnaffe mu bufumbo, omukadde mu kibiina, oba mukwano gwaffe abaako by’ayogera oba by’akola ebituzzaamu amaanyi—nga tuwulira obulungi nnyo! Tuyinza okuwulira ng’omuntu gwe bayisizzaako akazigo akaweweeza awababirira. N’olwekyo, singa okitegeera nti omu ku baganda baffe alina ekizibu ng’ekyo, muzzeemu amaanyi. Oba, singa ggwe kennyini obeera n’ekizibu ekikutawaanya ennyo, saba obuyambi okuva eri abo abalina obumanyirivu mu by’omwoyo.—Yakobo 5:14, 15.
Engeri Ekibiina Gye Kisobola Okuyamba
12. Kiki buli omu mu kibiina ky’asobola okukola okuzzaamu abalala amaanyi?
12 Bonna mu kibiina nga mw’otwalidde n’abato, basobola okuzzaamu abalala amaanyi. Ng’ekyokulabirako, okubeerawo kwo mu nkuŋŋaana n’okugenda mu nnimiro obutayosa birina kinene nnyo kye bikola mu kunyweza okukkiriza kw’abalala. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Obwesigwa bw’olaga mu kuweereza Yakuwa bulaga nti omunywereddeko era nti otunula mu by’omwoyo wadde ng’oyolekaganye n’ebizibu. (Abaefeso 6:18) Obwesigwa obwo buyinza okuzzaamu abalala amaanyi.—Yakobo 2:18.
13. Lwaki abamu bayinza okulekerayo ddala okubuulira, era kiki ekiyinza okukolebwa okubayamba?
13 Ebiseera ebimu, ebizibu eby’omu bulamu biyinza okuleetera abamu okuddirira oba okulekerayo ddala okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. (Makko 4:18, 19) Abatakyabuulira bayinza okuba nga tebajja mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Kyokka bayinza okuba nga bakyayagala Katonda mu mitima gyabwe. Kiki kye tuyinza okukola okubazzaamu amaanyi? Abakadde basobola okubayamba nga babakyalira. (Ebikolwa 20:35) Ab’oluganda abalala mu kibiina nabo bayinza okubakyalira. Okukyala ng’okwo kuyinza okuba nga kwe kwokka kwe babadde beetaaga okusobola okuddamu amaanyi mu by’omwoyo.
14, 15. Kubuulirira ki Pawulo kw’awa okukwata ku kuzzaamu abalala amaanyi? Waayo ekyokulabirako eky’ekibiina ekimu ekyassa mu nkola okubuulirira kuno.
14 Baibuli etukubiriza ‘okugumyanga abennyamivu n’okuyamba abanafuye.’ (1 Abasessaloniika 5:14, NW) Kyandiba nti abo ‘abennyamivu’ balaba nga tebasobola kwaŋŋanga bizibu bye balina nga tewali abayambye. Osobola okuyamba? Ebigambo ‘okuyamba abanafuye’ birina amakulu ‘ag’okunyweza’ oba ‘obutayabulira’ oyo aba anafuye. Yakuwa endiga ze zonna azitwala nga za muwendo era azaagala. Talina n’emu ku zo gy’ayagala ebule. Oyinza okuyamba ekibiina ‘okunyweza’ abo abanafu okutuusa nga bazzeemu amaanyi nate?—Abaebbulaniya 2:1.
15 Omukadde omu yakyalira abafumbo abaali bamaze emyaka nga mukaaga nga tebabuulira. Omukadde ono yawandiika: “Ekisa n’okwagala ab’oluganda bonna mu kibiina bye baabalaga byalina kinene nnyo kye byabakolako ne kibaleetera okudda mu kisibo.” Mwannyinaffe ono eyali takyabuulira yawulira atya ab’oluganda mu kibiina bwe baabakyaliranga? Agamba bw’ati: “Ekyatuyamba okuddamu okubuulira kyali nti ab’oluganda abaatukyaliranga tebaatuvumiriranga oba okutunenya. Mu kifo ky’ekyo baategeera embeera yaffe era ne batuzzaamu amaanyi nga bakozesa Ebyawandiikibwa.”
16. Ani bulijjo omwetegefu okuyamba abo abeetaaga okuzzibwamu amaanyi?
16 Mazima ddala Omukristaayo omwesimbu aba ayagala nnyo okuzzaamu abalala amaanyi. Ate ng’embeera bwe zigenda zikyuka, naffe kennyini tuyinza okwetaaga baganda baffe okutuzzaamu amaanyi. Kyokka ku ludda olulala tulina okukimanya nti baganda baffe bayinza obutabaawo mu kiseera we tubeetaagira. Wadde kiyinza okuba bwe kityo, waliwo Azzaamu Amaanyi abeerawo ekiseera kyonna ate nga bulijjo aba mwetegefu okutuyamba. Ono ye Yakuwa Katonda.—Zabbuli 27:10.
Yakuwa—Ensibuko y’Amaanyi
17, 18. Mu ngeri ki Yakuwa gye yazzaamu Omwana we Yesu Kristo amaanyi?
17 Bwe yali ng’akomereddwa ku muti, Yesu yagamba nti: “Kitange nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” (Lukka 23:46) Awo n’assa ogw’enkomerero. Essaawa ntono emabegako, yali akwatiddwa era nga ne mikwano gye egy’oku lusegere bamwabulidde olw’okutya. (Matayo 26:56) Yesu yali alekeddwa bw’omu era ng’ow’okumuzzaamu amaanyi yekka, yali Kitaawe ow’omu ggulu. Wadde kyali bwe kityo, obwesige bwe yassa mu Yakuwa tebwali bwa bwereere. Olw’obwesigwa bwe, Yesu yaweebwa amaanyi okuva eri Kitaawe.—Zabbuli 18:25; Abaebbulaniya 7:26.
18 Mu buweereza bwa Yesu ku nsi, Yakuwa yamuwa obuyambi bwe yali yeetaaga okusobola okusigala nga mwesigwa okutuukira ddala ku kufa. Ng’ekyokulabirako, nga yaakamala okubatizibwa, era nga kino kye kyali kiraga entandikwa y’obuweereza bwe, Yesu yawulira Kitaawe ng’amukakasa nti ddala yali amwagala era ng’amusiima. Bwe yali yeetaaga obuyambi, Yakuwa yamusindikira bamalayika okumuzzaamu amaanyi. Yesu bwe yafuna okugezesebwa okw’amaanyi ennyo ku nkomerero y’obuweereza bwe ku nsi, Yakuwa yawuliriza okwegayirirwa kwe n’okusaba kwe. Awatali kubuusabuusa bino byonna byazzaamu nnyo Yesu amaanyi.—Makko 1:11, 13; Lukka 22:43.
19, 20. Tusobola tutya okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa amaanyi nga tufunye ebizibu?
19 Naffe Yakuwa ayagala okutuzzaamu amaanyi. (2 Ebyomumirembe 16:9) Oyo Ensibuko y’amaanyi gonna n’obuyinza asobola okutuzzaamu amaanyi mu kiseera we tugeetaagira. (Isaaya 40:26) Entalo, obulwadde, okufa, oba n’obutali butuukirivu bwaffe biyinza okutuleetera okweraliikirira ennyo. Singa ebizibu bituzingiza ‘ng’omulabe ow’amaanyi,’ Yakuwa asobola okuba amaanyi gaffe. (Zabbuli 18:17; Okuva 15:2) Alina eky’amaanyi ky’asobola okukozesa okutuyamba, nga guno gwe mwoyo gwe omutukuvu. Ng’akozesa omwoyo gwe, Yakuwa asobola ‘okuwa oyo aba akooye amaanyi’ n’asobola ‘okutumbiira ng’empungu.’—Isaaya 40:29, 31.
20 Omwoyo gwa Katonda ge maanyi agasingayo mu butonde bwonna. Pawulo agamba: “Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.” Yee, Kitaffe ow’omu ggulu omwagazi asobola okutuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ ne tusobola okugumiikiriza ebizibu byonna okutuusa lw’anazza ‘ebintu byonna obuggya’ mu Lusuku lwe yasuubiza oluli okumpi ennyo okutuuka.—Abafiripi 4:13; 2 Abakkolinso 4:7; Okubikkulirwa 21:4, 5.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekitabo ekiyitibwa Vine’s Complete Expository Dictionary of Old and New Testament Words, ekyawandiikibwa W. E. Vine kigamba: “Mu kigambo ekyo [pa·re·go·riʹa] musibukamu ekigambo ekirala ekitegeeza eddagala erikkakkanya obulumi.”
Ojjukira?
• Mu ngeri ki ab’oluganda mu Rooma, gye ‘bazzaamu Pawulo amaanyi’?
• Tuyinza tutya ‘okuzzaamu abalala amaanyi’ mu kibiina?
• Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali Ensibuko yaffe ey’amaanyi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Ab’oluganda ‘bazzaamu Pawulo amaanyi’ nga bamuwagira mu ngeri ezitali zimu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abakadde bafaayo okuzzaamu ekisibo amaanyi