LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 12/1 lup. 8-13
  • Buli Mukristaayo Yeetaaga Mukristaayo Munne

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Buli Mukristaayo Yeetaaga Mukristaayo Munne
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Baawaayo Obuyambi Obwali Bwetaagisa
  • Okugaba Obuyambi bw’Ebintu
  • Baali ‘Bazzaamu Nnyo Amaanyi’
  • Abakyala Abaafangayo ku Balala
  • Nammwe Abato Tubeetaaga
  • Bwe Wabalukawo Ebizibu
  • Buulira Okusobola Okufuula Abantu Abayigirizwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Zimbanga Ekibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • “Muzimbaganenga”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Muzziŋŋanengamu Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 12/1 lup. 8-13

Buli Mukristaayo Yeetaaga Mukristaayo Munne

‘Tuli bitundu bya mubiri gumu.’​—ABAEFESO 4:25.

1. Ekitabo ekimu kyogera ki ku mubiri gw’omuntu?

OMUBIRI gw’omuntu kitonde kya kyewuunyo! Ekitabo The World Book Encyclopedia kigamba: “Oluusi, abantu omubiri gw’omuntu baguyita kyuma​—ekyuma ekyewuunyisa ennyo ekyali kikoleddwa. Kya lwatu, omubiri gw’omuntu si kyuma. Naye guyinza okugeraageranyizibwa ku kyuma mu ngeri nnyingi. Okufaananako ekyuma, omubiri gulina ebitundu bingi. Buli kitundu ky’omubiri okufaananako na buli kitundu ky’ekyuma, kirina omulimu ogw’enjawulo gwe kikola. Naye ebitundu byonna bikolaganira wamu era mu ngeri eyo, ne bisobozesa omubiri oba ekyuma okutuukiriza omulimu gwakyo.”

2. Omubiri gw’omuntu n’ekibiina Ekikristaayo bifaanagana mu ngeri ki?

2 Yee, omubiri gw’omuntu gulina ebitundu bingi, era buli kimu kikola ekintu ekyetaagisa. Tewali musuwa na gumu, binywa oba ebitundu ebirala eby’omubiri ebitalina mugaso. Mu ngeri y’emu, buli omu ali mu kibiina Ekikristaayo alina ky’asobola okukola ekisobozesa embeera ennungi mu by’omwoyo okubeerawo mu kibiina. (1 Abakkolinso 12:14-26) Wadde nga tewandibaddewo n’omu ku abo abali mu kibiina eyandyerowoozezaako okubeera owa waggulu okusinga abalala, era tewali n’omu yandyetutte ng’atalina mugaso.​—Abaruumi 12:3.

3. Abaefeso 4:25 walaga watya nti buli Mukristaayo yeetaaga munne?

3 Ng’ebitundu by’omubiri ebikolaganira awamu, Abakristaayo nabo beetaaga bannaabwe. Omutume Pawulo yategeeza bakkiriza banne abaali bafukiddwako omwoyo omutukuvu: “Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne: kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka.” (Abaefeso 4:25) Okuva bwe bali ‘ebitundu bya mubiri gumu,’ kwe kugamba aba Isiraeri ey’omwoyo, “omubiri gwa Kristo,” boogera mazima buli muntu eri munne era bakolaganira wamu. Yee, buli omu ku bo ali kitundu kya mubiri gumu. (Abaefeso 4:11-13) Abo abakolagana nabo era aboogera amazima, be Bakristaayo bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi.

4. Abappya bayinza kuyambibwa batya?

4 Buli mwaka enkumi n’enkumi z’abo abaagala okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi babatizibwa. Abantu abalala abali mu kibiina baba basanyufu okubayamba ‘okukulaakulana mu by’omwoyo.’ (Abaebbulaniya 6:1-3, NW) Obuyambi obwo buyinza okuzingiramu okuddamu ebibuuzo byabwe ebikwata ku Baibuli oba okubayamba mu buweereza bw’ennimiro. Tusobola okuyamba abappya nga tubateerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okwenyigira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa. Mu biseera ebizibu, tusobola okubazzaamu amaanyi oboolyawo nga tubabudaabuda. (1 Abasessaloniika 5:14, 15) Tulina okunoonya engeri gye tusobola okuyambamu abalala ‘okweyongera okutambulira mu mazima.’ (3 Yokaana 4) Ka tube bakulu oba bato, nga twakatandika oba nga tumaze ekiseera kiwanvu mu mazima, tusobola okuyamba bakkiriza bannaffe okukulaakulana mu by’omwoyo​—mazima ddala batwetaaga.

Baawaayo Obuyambi Obwali Bwetaagisa

5. Akula ne Pulisikira baayamba batya Pawulo?

5 Abakristaayo abafumbo be bamu ku abo abafuna essanyu mu kuyamba bakkiriza bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, Akula ne mukyala we Pulisikira, baayamba Pawulo. Baamutwala mu maka gaabwe, baakolanga naye weema, era ne bamuyamba okunyweza ekibiina ekippya eky’e Kkolinso. (Ebikolwa 18:1-4) Mu ngeri etamanyiddwa, baateeka obulamu bwabwe mu kabi ku lwa Pawulo. Baali babeera mu Rooma Pawulo we yagamba Abakristaayo nti: “Mumulamuse Pulisikira ne Akula abaakolera awamu nange mu Kristo Yesu abaawaayo obulago bwabwe olw’obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n’ekkanisa zonna ez’ab’amawanga.” (Abaruumi 16:3, 4) Okufaananako Akula ne Pulisikira, Abakristaayo abamu ab’omu kiseera kino banyweza ebibiina era bayamba basinza bannaabwe mu ngeri ezitali zimu, nga n’ebiseera ebimu bateeka obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuziyiza abaweereza ba Katonda abalala okuyisibwa mu ngeri ey’obukambwe oba okuttibwa ababayigganya.

6. Apolo yafuna buyambi ki?

6 Akula ne Pulisikira era baayamba Apolo, Omukristaayo omwogezi omulungi, eyali ayigiriza abantu b’omu Efeso ebikwata ku Yesu Kristo. Mu kiseera ekyo, okubatiza kwokka Apolo kwe yali amanyi kwe kwa Yokaana, era okubatiza okwo kaali kabonero akooleka okwenenya ebibi olw’okumenya endagaano y’Amateeka. Bwe baamanya nti Apolo yali yeetaaga okuyambibwa, Akula ne Pulisikira ‘baamuyigiriza bulungi byonna ebikwata ku Katonda.’ Kirabika nga baamunnyonnyola nti Abakristaayo balina kubatizibwa nga bannyikibwa mu mazzi era n’okufukibwako omwoyo omutukuvu. Apolo yassa mu nkola bye yayiga. Oluvannyuma ng’ali mu Akaya, ‘yayamba nnyo abakkiriza olw’ekisa kya Katonda: kubanga yasinganga Abayudaaya mu maaso g’abantu, ng’ajuliza mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.’ (Ebikolwa 18:24-28) Ebigambo ebyogerwa baganda baffe bisobola okutuyamba okutegeera Ekigambo kya Katonda. Ne mu nsonga eno, buli omu yeetaaga munne.

Okugaba Obuyambi bw’Ebintu

7. Abafiripi baakola ki Bakristaayo bannaabwe bwe baalina obwetaavu obw’ebintu?

7 Ab’omu kibiina ky’e Firipi baali baagala nnyo Pawulo, era baamuweereza obuyambi ng’ali mu Sessaloniika. (Abafiripi 4:15, 16) Ab’oluganda abaali mu Yerusaalemi bwe baali beetaaga obuyambi, Abafiripi baalaga nti baali beetegefu okuwaayo kyonna kye baalina. Pawulo yasiima nnyo omwoyo omulungi baganda ne bannyina ab’omu Firipi gwe baalaga era n’atuuka n’okuboogerako ng’ekyokulabirako eri abakkiriza abalala.​—2 Abakkolinso 8:1-6.

8. Mwoyo gwa ngeri ki Epafuloddito gwe yayoleka?

8 Pawulo bwe yali mu kkomero, Abafiripi tebaamuweereza bintu byokka naye era baamutumira Epafuloddito. Pawulo yagamba: “[Epafuloddito] yabulako katono afe olw’omulimu gwa Kristo, bwe yasingawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi.” (Abafiripi 2:25-30; 4:18) Tetutegeezebwa oba nga Epafuloddito yali mukadde oba muweereza mu kibiina. Ka kibeere ki, yali Mukristaayo eyeerekereza era ayamba Abakristaayo abalala, era Pawulo yali amwetaaga nnyo. Mu kibiina kyo mulimu omuntu alinga Epafuloddito?

Baali ‘Bazzaamu Nnyo Amaanyi’

9. Alisutaluuko yatuteerawo kyakulabirako ki?

9 Ab’oluganda ne bannyinaffe abalina okwagala nga Akula, Pulisikira ne Epafuloddito batwalibwa nga ba muwendo nnyo mu kibiina. Abamu ku basinza bannaffe leero bayinza okubeera nga Alisutaluuko, Omukristaayo ow’omu kyasa ekyasooka. Ye awamu n’abalala ‘baazzangamu nnyo abalala amaanyi,’ oboolyawo nga bababudaabuda oba nga babayamba mu ngeri ezirabika. (Abakkolosaayi 4:10, 11) Alisutaluuko bwe yayamba Pawulo, yeeraga okuba ow’omukwano owa nnamaddala mu biseera ebizibu. Yali kika ky’omuntu ayogerwako mu Engero 17:17: “Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era ow’oluganda [e]yazaalirwa obuyinike.” Naffe tetwandifubye nnyo ‘okuzzaamu amaanyi’ Bakristaayo bannaffe? N’okusingira ddala, twandiyambye nnyo abo ababonaabona.

10. Kyakulabirako ki Peetero kye yateerawo abakadde Abakristaayo?

10 N’okusingira ddala, abakadde Abakristaayo balina okuzzaamu amaanyi baganda baabwe ne bannyinaabwe mu by’omwoyo. Kristo yagamba omutume Peetero: ‘Nywezanga baganda bo.’ (Lukka 22:32) Peetero yali asobola okuzzaamu baganda be amaanyi kubanga yali munywevu nnyo, naddala oluvannyuma lw’okuzuukira kwa Yesu. Abakadde, mufube nnyo nga bwe musobola okukola ekintu kye kimu awatali kuwalirizibwa wabula n’ekisa kubanga bakkiriza bannammwe babeetaaga.​—Ebikolwa 20:28-30; 1 Peetero 5:2, 3.

11. Tuyinza tutya okuganyulwa bwe tulowooza ku mwoyo Timoseewo gwe yayoleka?

11 Timoseewo, Pawulo gwe yatambulanga naye, yali mukadde eyali afaayo ennyo ku Bakristaayo abalala. Wadde nga yali alwalalwala, Timoseewo yayoleka okukkiriza okunywevu era ‘n’akolera wamu ne Pawulo mu kulangirira amawulire amalungi.’ N’olwekyo, omutume yali asobola okugamba Abafiripi nti: ‘Sirina muntu mulala asobola okubalumirwa ennyo nga ye.’ (Abafiripi 2:20, 22; 1 Timoseewo 5:23; 2 Timoseewo 1:5) Tusobola okuganyula basinza bannaffe nga twoleka omwoyo nga Timoseewo gwe yalina. Kituufu nti tulina okwolekagana n’obutali butuukirivu bwaffe awamu n’ebizibu ebitali bimu, naye era tusobola okwoleka okukkiriza okunywevu era ne tufaayo ku baganda baffe ne bannyinaffe mu by’omwoyo. Bulijjo tusaanidde okujjukira nti batwetaaga.

Abakyala Abaafangayo ku Balala

12. Kiki kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako kya Doluka?

12 Omu ku bakazi abaafangayo ku balala, yali Doluka. Bwe yafa, abayigirizwa baayita Peetero era ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu. Nga bali eyo, “bannamwandu bonna ne bayimirira kumpi naye, nga bakaaba nga boolesa ebizibaawo n’ebyambalo Doluka bye yakolanga ng’ali nabo.” Doluka yazuukizibwa era awatali kubuusabuusa, ‘yeeyongera okukola ebikolwa ebirungi era eby’ekisa.’ Mu kibiina Ekikristaayo leero, mulimu abakyala abalinga Doluka abayinza okukolera abo abali mu bwetaavu ebyambalo oba abayinza okubakolera ebikolwa eby’okwagala. Kya lwatu nti, ebikolwa byabwe ebirungi okusingira ddala bitumbula ebintu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’omulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa.​—Ebikolwa 9:36-42; Matayo 6:33; 28:19, 20.

13. Ludiya yalaga atya nti afaayo ku Bakristaayo abalala?

13 Ludiya omukazi eyali atya Katonda yali afaayo nnyo ku balala. Wadde nga yali nzaalwa ya Suwatira, yali abeera Firipi mu kiseera Pawulo kye yabuuliriramu mu kifo ekyo mu mwaka gwa 50 C.E. Ludiya ayinza okuba nga yali Muyudaaya omukyufu, naye kirabika nga mu Firipi waaliyo Abayudaaya batono era nga tewaaliyo na kuŋŋaaniro. Ludiya awamu n’abakyala abalala baali bakuŋŋaanidde ku lubalama lw’ennyanja okusinza mu kiseera omutume Pawulo kye yababuuliriramu amawulire amalungi. Ebyawandiikibwa bigamba: “Mukama waffe n’amubikkula omutima [Ludiya] okuwuliriza Pawulo bye yayogera. Bwe yabatizibwa ye [n’ab’omu] nnyumba ye, n’atwegayirira ng’agamba nti: Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo. N’atuwaliriza.” (Ebikolwa 16:12-15) Olw’okuba Ludiya yali ayagala okukolera abalala ebintu ebirungi, yasobola okusendasenda Pawulo ne banne okubeera naye. Nga tusiima nnyo Abakristaayo leero bwe baaniriza abalala mu ngeri y’emu!​—Abaruumi 12:13; 1 Peetero 4:9.

Nammwe Abato Tubeetaaga

14. Yesu Kristo yayisa atya abaana abato?

14 Yesu Kristo Omwana wa Katonda ow’ekisa era omusanyufu, ye yatandikawo ekibiina Ekikristaayo. Abantu baawuliranga bulungi nga bali naye kubanga yalina okwagala era nga wa kisa. Olumu, abantu abamu bwe baatandika okuleetera Yesu abaana baabwe, abayigirizwa be baagezaako okubagoba. Naye Yesu yabagamba: “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe. Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.” (Makko 10:13-15) Okusobola okufuna emikisa gy’Obwakabaka, tuteekwa okubeera abawombeefu era abaagala okuyigirizibwa ng’abaana. Yesu yalaga abaana abato okwagala bwe yabasitula era n’abawa emikisa. (Makko 10:16) Naye kiri kitya eri mmwe abaana abato leero? Mube bakakafu nti mwagalibwa era mwetaagibwa mu kibiina leero.

15. Biki ebikwata ku bulamu bwa Yesu ebiri mu Lukka 2:40-52, era kyakulabirako ki kye yateerawo abato?

15 Yesu bwe yali ng’akyali mwana muto, yakiraga nti yali ayagala Katonda n’Ebyawandiikibwa. Bwe yali ng’aweza emyaka 12 egy’obukulu, ye ne bazadde be Yusufu ne Malyamu, baava mu maka gaabwe e Nazaaleesi ne bagenda e Yerusaalemi okubeerawo ku Mbaga ey’Okuyitako. Bwe baali baddayo ewaabwe, bazadde ba Yesu baakizuula nti teyali nabo. Oluvannyuma, baamusanga ng’atudde mu kimu ku bisenge bya yeekaalu, ng’awuliriza abayigiriza Abayudaaya era ng’ababuuza ebibuuzo. Nga yeewunya nti Yusufu ne Malyamu baali tebamanyi gye bayinza kumusanga, Yesu yababuuza: ‘Mubadde temukimanyi nti nnina okubeera mu nnyumba ya Kitange?’ Awo n’addayo eka ne bazadde be, ne yeeyongera okubagondera era ne yeeyongeranga okufuna amagezi n’okukula. (Lukka 2:40-52) Nga kyakulabirako kirungi nnyo Yesu kye yateerawo abato! Mazima ddala basaanidde okugondera bazadde baabwe era n’okwagala okuyiga ebintu eby’eby’omwoyo.​—Ekyamateeka 5:16; Abaefeso 6:1-3.

16. (a) Kiki abaana abamu kye baagamba, Yesu bwe yali abuulira mu yeekaalu? (b) Nkizo ki abavubuka Abakristaayo gye balina leero?

16 Ng’omuvubuka, oyinza okuba ng’obuulira ebikwata ku Yakuwa ku ssomero era ne nnyumba ku nnyumba ng’oli ne bazadde bo. (Isaaya 43:10-12; Ebikolwa 20:20, 21) Yesu bwe yali abuulira era ng’awonya abalwadde mu yeekaalu ng’ebulayo akaseera katono attibwe, abaana abamu baagamba: “Ozaana [ggwe] omwana wa Dawudi.” Nga banyiivu olw’ebigambo ebyo, bakabona abakulu n’abawandiisi beemulugunya nga bagamba “Owulira [abaana] bano bwe bagamba?” Yesu yabaddamu nti, “mpulira.” “Temusomangako nti Mu kamwa k’abaana abato n’abawere otuukirizza ettendo?” (Matayo 21:15-17) Okufaananako abaana abo, nammwe abato abali mu kibiina mulina enkizo ey’okutendereza Katonda n’Omwana we. Tubeetaaga era twagala mukolere wamu naffe ng’abalangirizi b’Obwakabaka.

Bwe Wabalukawo Ebizibu

17, 18. (a) Lwaki Pawulo yakola enteekateeka ey’okukuŋŋaanyiza Abakristaayo abaali mu Buyudaaya ebintu? (b) Okuwaayo kyeyagalire eri abakkiriza ab’omu Buyudaaya kwakola ki ku Bakristaayo Abayudaaya n’ab’Amawanga?

17 Ka tube nga tuli mu mbeera ki, okwagala kutukubiriza okuyamba Bakristaayo bannaffe ababa mu bwetaavu. (Yokaana 13:34, 35; Yakobo 2:14-17) Okwagala kwe yalina eri baganda be ne bannyina abaali mu Buyudaaya, kwe kwakubiriza Pawulo okukola enteekateeka ey’okubafunira ebintu okuva mu bibiina by’e Akaya, Ggalatiya, Makedoni n’eky’omu ssaza ly’omu Asiya. Okuyigganyizibwa, entalo, n’enjala ebyatuuka ku bayigirizwa abaali mu Yerusaalemi biyinza okuba nga bye byaviirako Pawulo okukozesa ebigambo “okubonaabona,” “n’okunyagibwako ebintu byabwe.” (Abaebbulaniya 10:32-34; Ebikolwa 11:27–12:1) N’olwekyo, yakola enteekateeka ez’okufuna ssente okuyamba Abakristaayo abaavu abaali mu Buyudaaya.​—1 Abakkolinso 16:1-3; 2 Abakkolinso 8:1-4, 13-15; 9:1, 2, 7.

18 Okuwaayo kyeyagalire eri abatukuvu abaali mu Buyudaaya kwakakasa nti waaliwo oluganda olunywevu wakati w’abasinza ba Yakuwa Abayudaaya n’ab’Amawanga. Essente Abakristaayo Bannaggwanga ze baawaayo okuyamba basinza bannaabwe ab’omu Buyudaaya, zaabasobozesa okulaga okusiima kwe baalina eri eby’obugagga eby’omwoyo bye baafuna okuva gye bali. Mu ngeri eyo, waaliwo okugabana ebintu eby’omubiri n’eby’omwoyo. (Abaruumi 15:26, 27) Okuwaayo eri basinza bannaffe abali mu bwetaavu leero nakwo kukolebwa kyeyagalire era kukubirizibwa kwagala. (Makko 12:28-31) Era ne mu nsonga eno, buli omu yeetaaga munne wasobole okubaawo okwenkanankana, ‘oyo alina akatono aleme kubeera na katono nnyo.’​—2 Abakkolinso 8:15.

19, 20. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri abantu ba Yakuwa gye bayambamu nga wabaddewo akatyabaga.

19 Bwe tumanya nti buli Mukristaayo yeetaaga munne, kitukubiriza okwanguwa okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe mu kukkiriza. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo musisi n’embuyaga eby’amaanyi bwe byali mu El Salvador mu ntandikwa ya 2001. Lipoota emu yagamba: “Ab’oluganda mu bifo byonna eby’omu El Salvador beenyigira mu kugaba obuyambi. Ab’oluganda okuva mu Guatemala, Amereka, ne Canada bajja okutuyamba. . . . Mangu ddala, ennyumba ezisoba mu 500 n’Ebizimbe by’Obwakabaka 3 ebirabika obulungi byazimbibwa. Obujulirwa obw’amaanyi buweereddwa olw’omulimu ogw’amaanyi ogwakolebwa era n’olw’engeri ab’oluganda abo gye baakolaganiramu awamu.”

20 Lipoota okuva mu South Africa egamba: “Amataba ag’amaanyi ennyo agaayonoona ebifo ebitali bimu mu Mozambique, gaalina kinene kye gaakola ku baganda baffe bangi. Ettabi ly’omu Mozambique lyakola enteekateeka okukola ku bwetaavu bwabwe. Naye ab’oluganda muttabi eryo baatusaba tubaweereze engoye ennungi ezikozeseddwako eri baganda baffe abaali mu bwetaavu. Twakuŋŋaanya engoye ezimala era ne tuziweereza baganda baffe mu Mozambique.” Yee, ne mu mbeera ng’ezo, twetaaga baganda baffe.

21. Kiki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?

21 Nga bwe kyayogeddwako mu ntandikwa, ebitundu by’omubiri byonna bikulu nnyo. Era kye kimu n’eri ekibiina Ekikristaayo. Buli omu akirimu yeetaaga munne. Era beetaaga okweyongera okuweereza nga bali bumu. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri kino gye kiyinza okukolebwamu.

Wandizzeemu Otya?

• Kufaanagana ki okuliwo wakati w’omubiri gw’omuntu n’ekibiina Ekikristaayo?

• Kiki Abakristaayo abaasooka kye baakola nga bakkiriza bannaabwe balina obwetaavu bw’ebintu?

• Byakulabirako ki ebiri mu Byawandiikibwa ebiraga nti buli Mukristaayo yeetaaga munne era nti bayambagana?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Akula ne Pulisikira baafangayo ku balala

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]

Abantu ba Yakuwa bayambagana era bayamba n’abalala nga wabaddewo akatyabaga

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share