Zimbanga Ekibiina
“Mubudaabudaganenga era muzimbaganenga.”—1 BAS. 5:11.
1. Mikisa ki omuntu gy’afuna ng’ali mu kibiina Ekikristaayo, ate bizibu ki by’ayinza okwolekagana nabyo?
OKUBA mu kibiina Ekikristaayo nkizo ya maanyi. Oba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye kikuyamba okwewala emitawaana egiva mu nneeyisa embi. Oba n’emikwano mingi egikwagaliza ebirungi. Yee, emikisa gy’ofuna giba mingi nnyo. Kyokka, Abakristaayo bangi boolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Abamu ku bo bayinza okuba nga beetaaga okuyambibwa basobole okutegeera ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda. Abalala balwadde, bennyamivu, oba bayinza okuba nga babonaabona olw’ebizibu ebyava mu nsobi ze baakola. Ate era ffenna twetooloddwa abantu abatatya Katonda.
2. Tusaanidde kukola ki nga baganda baffe boolekagana n’ebizibu, era lwaki?
2 Tewali n’omu ku ffe yandyagadde kulaba Bakristaayo banne nga babonaabona. Omutume Pawulo yageraageranya ekibiina ku mubiri era n’agamba nti “singa ekitundu ekimu kibonaabona, byonna bibonaabonera wamu nakyo.” (1 Kol. 12:12, 26) Mu mbeera ng’ezo, tusaanidde okufuba okuyamba baganda baffe ne bannyinnaffe. Waliwo ebyokulabirako ebiwerako mu Byawandiikibwa ebiraga engeri ab’oluganda mu kibiina gye baayambamu bannaabwe okwolekagana n’ebizibu era n’okubivvuunuka. Nga twetegereza ebyokulabirako ebyo, lowooza ku ngeri naawe gy’oyinza okuyambamu abalala ng’okoppa ab’oluganda abo. Oyinza otya okuyamba baganda bo mu by’omwoyo bw’otyo n’oba ng’ozimba ekibiina kya Yakuwa?
‘Baamutwala Ewaabwe’
3, 4. Akula ne Pulisikira baayamba batya Apolo?
3 Apolo we yagendera okubeera mu Efeso, yali amaze okufuuka omubuulizi omunyiikivu. Ekitabo ky’Ebikolwa kiraga nti yali “ayaka n’omwoyo, ng’abuulira era ng’ayigiriza ebintu ebituufu ebikwata ku Yesu, naye ng’amanyi kubatiza kwa Yokaana kwokka.” Eky’okuba nti Apolo yali tamanyi bikwata ku kubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu” kiraga nti ayinza okuba nga yali yayigirizibwa bayigirizwa ba Yokaana Omubatiza oba abagoberezi ba Yesu abaaliwo ng’olunaku lwa Pentekooti mu mwaka ogwa 33 terunnatuuka. Wadde nga Apolo yali munyiikivu, waaliwo ebintu ebikulu bye yali tannategeera. Okubeera awamu ne bakkiriza banne kyamuyamba kitya?—Bik. 1:4, 5; 18:25; Mat. 28:19.
4 Akula awamu ne mukyala we Pulisikira bwe baawulira nga Apolo ayogera n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro, baamutwala ewaabwe ne bamuyigiriza ebisingawo. (Soma Ebikolwa 18:24-26.) Ekyo kyali kikolwa kya kwagala. Kya lwatu nti Akula ne Pulisikira baayamba Apolo nga boogera naye mu ngeri ey’amagezi, n’atawulira nti baali bamunoonyamu nsobi. Yali yeetaaga okumanya ebyafaayo by’ekibiina Ekikristaayo. Era tewali kubuusabuusa nti Apolo yasiima nnyo mikwano gye gino olw’okumuyamba okutegeera ebintu ebyo ebikulu. Oluvannyuma lw’okutegeera ebintu ebyo, Apolo ‘yayamba nnyo’ ab’oluganda mu Akaya era yawa obujulirwa obw’amaanyi.—Bik. 18:27, 28.
5. Ababuulizi b’Obwakabaka bangi bayambye batya abantu, era ekyo kivuddemu ki?
5 Leero bangi abali mu kibiina Ekikristaayo basiima nnyo abo abaabayamba okutegeera Baibuli. Ab’oluganda bangi bafuuse ba mukwano nnyo n’abo abaabayigiriza amazima. Kyo kituufu nti okusobola okuyamba abantu okuyiga amazima kyetaagisa okuwaayo ebiseera ebiwerako. Wadde kiri kityo, ababuulizi b’Obwakabaka beetegefu okwefiiriza olw’okuba bakimanyi nti obulamu bw’abantu buzingirwamu. (Yok. 17:3) Nga kireeta essanyu lingi okulaba abantu nga bayiga amazima, ne bagakolerako, era ne bakozesa obulamu bwabwe okukola Yakuwa by’ayagala!
“Baali Bamwogerako Bulungi”
6, 7. (a) Lwaki Pawulo yalonda Timoseewo okukolera awamu naye? (b) Kukulaakulana ki Timoseewo kwe yayambibwa okutuukako?
6 Omutume Pawulo ne Siira bwe baagenda e Lusitula nga bali ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olw’okubiri, baasangayo omuvubuka ayitibwa Timoseewo, ayinza okuba nga yali anaatera okuweza emyaka 20 oba nga yakagisussaamu. “Ab’oluganda mu Lusitula ne Ikoniyo baali bamwogerako bulungi.” Maama wa Timoseewo, Ewuniike, ne jjajjaawe Looyi baali Bakristaayo, naye nga kitaawe ye si mukkiriza. (2 Tim. 1:5) Kirabika Pawulo yategeera abantu abo ku mulundi gwe yasooka okugenda mu kitundu ekyo emyaka mitono emabega. Naye ku mulundi guno Pawulo yayagala okutwala Timoseewo olw’okuba yali akirabye nti yali muvubuka wa njawulo nnyo. Bwe kityo, abakadde mu kibiina bwe baakisemba, Pawulo yatwala Timoseewo okukola ng’omuyambi we mu mulimu gwe ogw’obuminsani.—Soma Ebikolwa 16:1-3.
7 Timoseewo alina bingi bye yayigira ku Pawulo, mukozi munne eyali akuze mu myaka, ebyamuyamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Bwe kityo, oluvannyuma lw’ekiseera Pawulo yali asobola okumutuma okukyalira ebibiina n’okukola ng’omubaka we. Mu myaka 15 oba okusingawo Timoseewo gye yamala ng’akolera wamu ne Pawulo, omuvubuka oyo eyali talina bumanyirivu era ayinza okuba nga yali yeetya yakulaakulana n’afuuka omulabirizi omulungi.—Baf. 2:19-22; 1 Tim. 1:3.
8, 9. Ab’oluganda bayinza batya okuyamba abavubuka abali mu kibiina? Waayo ekyokulabirako.
8 Abavubuka bangi, abalenzi n’abawala, abali mu kibiina Ekikristaayo leero balina bingi bye basobola okukola. Singa ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo bafuba okubayamba, abavubuka bano basobola okuba ab’omugaso ennyo mu kibiina kya Yakuwa. Tunula mu kibiina kyo! Olabamu abavubuka abasobola okwewaayo okuweereza nga Timoseewo bwe yakola? Singa ofuba okubayamba, abavubuka abo basobola okufuuka bapayoniya, Ababeseri, abaminsani, oba abalabirizi abakyalira ebibiina. Kati oyinza kukola ki okubayamba okutuuka ku biruubirirwa ng’ebyo?
9 Martin, ow’oluganda amaze emyaka 20 ng’aweereza mu maka ga Beseri, ajjukira engeri omulabirizi w’ekitundu gye yamuyambamu nga bali bombi mu buweereza bw’ennimiro emyaka 30 emabega. Omulabirizi oyo yayogera ku ngeri gye yanyumirwamu obuweereza bwe ku Beseri bwe yali ng’akyali muvubuka. Yakubiriza Martin okulowooza ku ky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna nga naye bwe yakola. Martin agamba nti ebyo omulabirizi bye yamugamba birina kinene kye byakola ku bintu bye yasalawo okukola oluvannyuma. Ani amanyi ebirungi ebiyinza okuvaamu singa ofuba okwogera ne mikwano gyo abakyali abato ku biruubirirwa eby’omwoyo!
“Okubudaabuda Abennyamivu”
10. Epafulodito yawulira atya, era lwaki?
10 Epafulodito yatambula olugendo olwali oluwanvu okuva e Firipi okutuuka e Rooma okukyalira omutume Pawulo eyali asibiddwa olw’okukkiriza kwe. Ow’oluganda ono yakiikirira ab’oluganda ab’omu Firipi. Yatwala ebirabo byabwe eri Pawulo era n’akola n’enteekateeka okusigala naye asobole okumuyambako mu mbeera enzibu gye yalimu. Kyokka ng’ali e Rooma, Epafulodito yalwala nnyo era “n’abulako katono okufa.” Olw’okuba Epafulodito yali awulira nti alemereddwa okutuukiriza ekigendererwa kye, ekyo kyamwennyamiza nnyo.—Baf. 2:25-27.
11. (a) Lwaki tekyanditwewuunyisiza kulaba ng’ab’oluganda abamu mu kibiina bennyamivu? (b) Kiki Pawulo kye yasaba ab’oluganda okukolera Epafulodito?
11 Leero waliwo ebintu bingi ebireetera abantu okwennyamira. Okunoonyereza okwakolebwa ekibiina ekikola ku by’obulamu mu nsi yonna kwalaga nti ku buli bantu bataano, omu ku bo afuna okwennyamira mu kiseera ky’obulamu bwe. Abaweereza ba Yakuwa nabo basobola okwennyamira. Ebintu gamba ng’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi omuntu bw’alina okulabirira ab’omu maka ge, ensobi gye yakola, oba obulwadde, biyinza okumuleetera okwennyamira. Ab’oluganda mu Firipi baalina kukola ki okuyamba Epafulodito? Pawulo yawandiika nti: “Mumwanirize n’essanyu nga bwe mwaniriza bulijjo abagoberezi ba Mukama waffe; abantu abalinga abo mubatwale nga ba muwendo nnyo, kubanga ku lw’omulimu gwa Mukama waffe yabulako katono okufa ng’ateeka obulamu bwe mu kabi, asobole okubakiikirira ng’ampeereza.”—Baf. 2:29, 30.
12. Tuyinza kukola ki okuyamba ab’oluganda abennyamivu?
12 Naffe tusaanidde okuyamba ab’oluganda ababa baweddemu amaanyi oba abennyamivu. Awatali kubuusabuusa, waliwo ebintu ebirungi bingi bye bakoze mu buweereza bwabwe eri Yakuwa bye tuyinza okuboogerako. Oboolyawo balina enkyukakyuka ez’amaanyi ze baakola okusobola okufuuka Abakristaayo oba okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Tusobola okubasiima olw’okufuba kwabwe okwo, era ne tubakakasa nti ne Yakuwa abasiima nnyo. Singa obulwadde oba obukadde buviirako baganda baffe abamu okuba nga tebakyasobola kukola ebintu byonna bye baakolanga edda, tusaanidde okwongera okubawa ekitiibwa olw’ekiseera kye bamaze nga baweereza n’obwesigwa. K’ebe nsonga ki eba abaleetedde okwennyamira, Yakuwa akubiriza abaweereza be bonna “okubudaabuda abennyamivu, okuyamba abanafu, n’okugumiikiriza bonna.”—1 Bas. 5:14.
‘Mumusonyiwe era Mumubudeebude’
13, 14. (a) Ekibiina ky’e Kkolinso kyalagirwa kukola ki, era lwaki? (b) Birungi ki ebyava mu kugoba omwonoonyi mu kibiina?
13 Mu kyasa ekyasooka, mu kibiina ky’e Kkolinso mwalimu omusajja eyali akola obwenzi naye ng’agaanye okwenenya. Enneeyisa ye embi yali eyolekedde okwonoona ekibiina era yali yeesisiwaza n’abantu abataali bakkiriza. Bwe kityo, Pawulo yalagira omusajja oyo aggibwe mu kibiina.—1 Kol. 5:1, 7, 11-13.
14 Okukangavvula omwonoonyi oyo kyavaamu ebirungi. Ekibiina kyakuumibwa ne kitayonoonebwa, era n’omwonoonyi oyo yeekuba mu kifuba ne yeenenya mu bwesimbu. Olw’okuba ebikolwa by’omusajja oyo byalaga nti yali yeenenyeza, Pawulo yakiraga mu bbaluwa ye ey’okubiri eri ekibiina ekyo nti omusajja oyo yali asaanidde okukomezebwawo mu kibiina. Naye ekyo si kye kyokka ekyali kyetaagisa okukolera omwonoonyi oyo eyali yeenenyeza. Pawulo yakubiriza ekibiina “okumusonyiwa n’okumubudaabuda, aleme kusaanyizibwawo olw’okunakuwala ennyo.”—Soma 2 Abakkolinso 2:5-8.
15. Tusaanidde kutwala tutya aboonoonyi ababa beenenyezza era ne bakomezebwawo mu kibiina?
15 Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki? Kitunakuwaza okulaba ng’abantu bagobebwa mu kibiina. Enneeyisa yaabwe eyinza okuba ng’ereese ekivume ku linnya lya Katonda era ng’eswazizza n’ekibiina. Bayinza n’okuba ng’ekibi baakikola ffe kennyini. Kyokka, abakadde bwe batunula mu nsonga z’omuntu aba akoze ekibi, nga bagoberera obulagirizi bwa Yakuwa, ne basalawo nti omwonoonyi oyo akomezebwewo mu kibiina, kiba kiraga nti Yakuwa amusonyiye. (Mat. 18:17-20) Naffe tetwandifubye okukoppa Yakuwa? Mu butuufu, bwe tusiba ekiruyi era ne tugaana okusonyiwa tuba tuziyiza Yakuwa. Okusobola okukuuma emirembe n’obumu mu kibiina kya Katonda era n’okusiimibwa Yakuwa, tetwandifubye ‘okulaga okwagala’ aboonoonyi ababa beenenyezza era ne bakomezebwawo mu kibiina?—Mat. 6:14, 15; Luk. 15:7.
“Wa Mugaso Nnyo gye Ndi”
16. Lwaki Makko yanyiiza nnyo Pawulo?
16 Ekyokulabirako ekirala mu Byawandiikibwa kiraga nti tetulina kusibira kiruyi abo ababa batunyiizizza. Ng’ekyokulabirako, Yokaana Makko yanyiiza nnyo omutume Pawulo. Mu ngeri ki? Pawulo ne Balunabba bwe baali bagenda ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwasooka, baatwala Makko asobole okubayambako. Kyokka olw’ensonga etalagibwa, Yokaana Makko yabaabulira n’addayo ekka. Ekyo kyanyiiza nnyo Pawulo ne kiba nti bwe baali bateekateeka olugendo lwabwe olw’okubiri, teyakkiriziganya na Balunabba ku ky’okuddamu okugenda ne Makko. Olw’ebyo ebyali bibaddewo ku lugendo lwabwe olwasooka, Pawulo yali tayagala batwale Makko.—Soma Ebikolwa 13:1-5, 13; 15:37, 38.
17, 18. Kiki kiraga nti ekizibu ekyali wakati wa Pawulo ne Makko kyagonjoolwa, era ekyo kituyigiriza ki?
17 Makko teyaggwamu maanyi olw’okuba Pawulo yagaana okugenda naye, kubanga yeeyongera okukola emirimu gye egy’obuminsani mu kitundu ekirala ng’ali wamu ne Balunabba. (Bik. 15:39) Ebyo Pawulo bye yayogera ku Makko oluvannyuma lw’ekiseera biraga nti yasigala nga mwesigwa. Pawulo bwe yali asibiddwa e Rooma, yawandiikira Timoseewo ebbaluwa ng’amuyita. Mu bbaluwa eyo, Pawulo yamugamba nti: “Jjangu ne Makko kubanga wa mugaso nnyo gye ndi mu buweereza.” (2 Tim. 4:11) Yee, kati Pawulo yali akiraba nti Makko yali akoze enkyukakyuka ez’amaanyi.
18 Kino kirina kye kituyigiriza. Makko yakulaakulanya engeri ezeetaagisa okusobola okufuuka omuminsani omulungi. Teyeesittala olw’okuba Pawulo yagaana okugenda naye. Makko ne Pawulo baali basajja abakuze mu by’omwoyo, era tebaasigala nga buli omu asibidde munne ekiruyi. Mu kifo ky’ekyo, Pawulo oluvannyuma yakiraga nti Makko yali wa mugaso nnyo gy’ali. N’olwekyo, singa baganda baffe bakola enkyukakyuka eziba zeetaagisa, kiba kirungi ne tuleka ebyayita era ne tweyongera okubayamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Bwe tufuba okulaba ebirungi mu balala kiyamba mu kuzimba ekibiina.
Ggwe n’Ekibiina
19. Abo bonna abali mu kibiina Ekikristaayo bayinza kuyambagana batya?
19 Mu ‘biseera bino ebizibu,’ weetaaga obuyambi bwa baganda bo ne bannyoko mu kibiina, era nabo beetaaga obuyambi bwo. (2 Tim. 3:1) Oluusi Omukristaayo ayinza okuba nga tamanyi kya kukola ng’ali mu mbeera enzibu, naye Yakuwa aba amanyi Omukristaayo oyo ky’aba alina okukola. Asobola okukozesa ab’oluganda ab’enjawulo mu kibiina—nga mw’otwalidde naawe—okuyamba abalala okumanya ekituufu eky’okukola. (Is. 30:20, 21; 32:1, 2) N’olwekyo, ba mumalirivu okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo kuno: “Mubudaabudaganenga era muzimbaganenga, nga bwe mukola.”—1 Bas. 5:11.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki ffenna abali mu kibiina Ekikristaayo tulina okuzimbagana?
• Bizibu ki bye tusobola okuyamba abalala okuvvuunuka?
• Lwaki twetaaga obuyambi bw’abalala mu kibiina?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Mukristaayo munnaffe bw’aba n’ekizibu, tusobola okumuyamba
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Abavubuka bangi, abalenzi n’abawala, abali mu kibiina Ekikristaayo leero balina bingi bye basobola okukola