LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bt sul. 15 lup. 133-140
  • “Bazzaamu Ebibiina Amaanyi”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Bazzaamu Ebibiina Amaanyi”
  • ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Ka Tuddeyo Tukyalire ab’Oluganda” (Bik. 15:36)
  • “Wabaawo Oluyombo olw’Amaanyi” (Bik. 15:37-41)
  • “Baali Bamwogerako Bulungi” (Bik. 16:1-3)
  • “Byanywezebwa mu Kukkiriza” (Bik. 16:4, 5)
  • “Omwana Wange Omwagalwa era Omwesigwa mu Mukama Waffe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Timoseewo Yali Mwetegefu era ng’Ayagala Okuweereza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Makko ‘Wa Mugaso Nnyo mu Buweereza’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Makko Teyaggwamu Maanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
bt sul. 15 lup. 133-140

ESSUULA 15

‘Bazzaamu Ebibiina Amaanyi’

Pawulo ne banne bakyalira ebibiina ne babiyamba okweyongera okunywera mu kukkiriza

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 15:36–16:5

1-3. (a) Kati ani Pawulo gw’atambula naye, era muntu wa ngeri ki? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu ssuula eno?

PAWULO ali n’omuvubuka omu batambula. Ekitundu kye bayitamu kirimu enjazi n’enkonko, era ku lugendo lwabwe olwo bayita mu bubuga obutali bumu. Pawulo atunuulira omuvubuka oyo era alowooza ku bintu ebitali bimu omuvubuka oyo by’ajja okukola. Omuvubuka oyo ye Timoseewo. Kirabika Timoseewo anaatera okuweza emyaka 20 oba yaakagiweza. Essaawa bwe zigenda ziyitawo, batuuka mu bitundu ebiri ewala ennyo okuva mu kitundu Timoseewo gy’azaalwa eky’e Lusitula ne Ikoniyo. Biki ebibalindiridde ku lugendo olwo? Pawulo alina ky’amanyi, kubanga luno lwe lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri. Akimanyi nti bajja kusanga emiziziko era bajja kwolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Timoseewo anaasobola okugumira ebizibu ebyo?

2 Pawulo yeesiga nnyo Timoseewo. Ebintu ebibaddewo gye buvuddeko awo bireetedde Pawulo okukiraba nti yeetaaga omuntu omutuufu ow’okutambula naye. Pawulo akimanyi nti omulimu gwe bagenda okukola ogw’okukyalira ebibiina n’okuzzaamu ab’oluganda mu bibiina ebyo amaanyi, gwetaagisa abo abagukola okuba abamalirivu n’okuba obumu mu ndowooza. Lwaki? Ensonga emu eyinza okuba nga bwe butakkaanya bwe yafuna ne Balunabba.

3 Mu ssuula eno tugenda kulaba engeri esingayo obulungi ey’okugonjoolamu obutakkaanya. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki Pawulo yalonda Timoseewo okutambula naye. Era tugenda kulaba omulimu omukulu abalabirizi abakyalira ebibiina gwe bakola leero.

“Ka Tuddeyo Tukyalire ab’Oluganda” (Bik. 15:36)

4. Kiki Pawulo kye yali ayagala okukola ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri?

4 Mu ssuula eyaggwa, twalaba engeri Pawulo, Balunabba, Yuda, ne Siira gye bazzaamu ab’oluganda amaanyi mu kibiina ky’e Antiyokiya nga babategeeza ekyo akakiiko akafuzi kye kaali kasazeewo ku nsonga y’okukomolebwa. Kiki Pawulo kye yaddako okukola? Yategeeza Balunabba ku nteekateeka gye yalina ey’okukyalira ebibiina. Yamugamba nti: “Ka tuddeyo tukyalire ab’oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Yakuwa, tulabe bwe bali.” (Bik. 15:36) Mu kwogera ebigambo ebyo, Pawulo yali tategeeza kukyalira bukyalizi Bakristaayo abaali bakyali abapya. Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga ekigendererwa ky’olugendo lwa Pawulo olw’obuminsani olw’okubiri. Okusookera ddala, yali agenda kwongera okutegeeza ebibiina ebyo ebyali bisaliddwawo akakiiko akafuzi. (Bik. 16:4) Ate era yali ayagala okunyweza ab’oluganda abaali mu bibiina ebyo mu by’omwoyo okukkiriza kwabwe kusobole okweyongera okunywera. (Bar. 1:11, 12) Ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa leero kikoppa kitya ekyokulabirako abatume kye bassaawo?

5. Akakiiko Akafuzi leero kawa katya ebibiina obulagirizi era kabizzaamu katya amaanyi?

5 Leero Kristo akozesa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa okuwa ekibiina kye obulagirizi. Ab’oluganda abo abeesigwa abaafukibwako amafuta bawa ebibiina okwetooloola ensi yonna obulagirizi era babizzaamu amaanyi okuyitira mu mabaluwa, mu bitabo ebikubibwa mu kyapa n’ebyo ebiri ku mukutu gwaffe, mu nkuŋŋaana, n’okuyitira ku mikutu gy’empuliziganya, gamba nga Intaneeti. Ate era ab’oluganda ku Kakiiko Akafuzi baagala nnyo okumanya ebibiina bwe biri. Ekyo okusobola okukituukako, beeyambisa abalabirizi abakyalira ebibiina. Ab’oluganda ku Kakiiko Akafuzi balonze abakadde nkumi na nkumi okwetooloola ensi okuweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina.

6, 7. Obumu ku buvunaanyizibwa abalabirizi abakyalira ebibiina bwe balina bwe buliwa?

6 Abalabirizi abakyalira ebibiina leero bafaayo ku bonna ababa mu bibiina bye bakyalira era babazzaamu amaanyi. Ekyo bakikola batya? Nga bakoppa ekyokulabirako Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka, gamba nga Pawulo, kye bassaawo. Pawulo yagamba mulabirizi munne nti: “Buuliranga ekigambo; kibuulire n’obunyiikivu mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu; nenyanga, labulanga, buuliriranga, ng’olaga obugumiikiriza era ng’oyigiriza mu ngeri ennungi. . . . Kola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri.”​—2 Tim. 4:2, 5.

7 Nga bakolera ku bigambo ebyo, abalabirizi abakyalira ebibiina awamu ne bakyala baabwe, bwe baba nga bafumbo, babuulira wamu n’ababuulizi mu bibiina bye baba bakyalidde, era beenyigira mu ngeri ezitali zimu ez’okubuulira. Abalabirizi abo abakyalira ebibiina babuulira n’obunyiikivu era bayigiriza mu ngeri ennungi, ekintu ekiyamba ennyo ab’oluganda mu bibiina. (Bar. 12:11; 2 Tim. 2:15) Abalabirizi abakyalira ebibiina beefiiriza ku lwa baganda baabwe. Baweereza abalala nga bakyalira ebibiina ne mu mbeera y’obudde embi, oluusi ne mu bitundu eby’obulabe. (Baf. 2:3, 4) Ate era okuyitira mu mboozi ze bawa, bazzaamu amaanyi, bayigiriza, era babuulirira buli omu mu kibiina. Bonna mu bibiina balina kye bayigira ku nneeyisa y’abalabirizi abo era bakoppa okukkiriza kwabwe.​—Beb. 13:7.

“Wabaawo Oluyombo olw’Amaanyi” (Bik. 15:37-41)

8. Balunabba yakola ki Pawulo bwe yamugamba bagende bakyalire ebibiina?

8 Balunabba yasanyukira ekyo Pawulo kye yamugamba ‘eky’okukyalira ab’oluganda.’ (Bik. 15:36) Bombi baali baweererezza wamu mu bitundu ebitali bimu era baali bamanyi ebitundu eby’okugendamu, n’abantu baamu. (Bik. 13:2–14:28) N’olwekyo, eky’okukolera awamu omulimu ogwo kyali kirabika nga kikola amakulu. Naye waliwo obuzibu obwajjawo. Ebikolwa 15:37 wagamba nti: “Balunabba yali amaliridde okutwala Yokaana eyali ayitibwa Makko.” Balunabba yali tawa buwi kirowoozo nti bagende ne Makko eyamulinako oluganda, wabula “yali amaliridde” bagende naye ku lugendo lw’obuminsani olwo.

9. Lwaki Pawulo teyakkiriziganya ne Balunabba?

9 Ekyo Pawulo teyakkiriziganya nakyo. Lwaki? Bayibuli egamba nti: “Naye Pawulo yalaba nga tekisaana kugenda [ne Makko], kubanga yali abalese e Panfuliya n’atagenda nabo kukola mulimu.” (Bik. 15:38) Makko yali agenze ne Pawulo ne Balunabba ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwasooka naye teyamalako nabo lugendo olwo. (Bik. 12:25; 13:13) Olugendo olwo bwe baali baakalutambulako kitono nga batuuse mu Panfuliya, Makko yabaleka n’addayo ewaabwe e Yerusaalemi. Bayibuli tetubuulira nsonga lwaki yabaleka, naye olw’ekyo kye yakola, Pawulo yamutwala ng’ataali wa buvunaanyizibwa. Pawulo ayinza okuba nga yali abuusabuusa obanga Makko yali yeesigika.

10. Biki ebyava mu butakkaanya obwaliwo wakati wa Pawulo ne Balunabba?

10 Wadde kyali kityo, Balunabba yali amaliridde okugenda ne Makko. Kyokka Pawulo naye yali amaliridde obutagenda naye. Ebikolwa 15:39 wagamba nti: “Awo ne wabaawo oluyombo olw’amaanyi wakati waabwe, ne baawukana.” Balunabba yasaabala n’agenda mu kitundu ky’ewaabwe ku kizinga ky’e Kupulo era yagenda wamu ne Makko. Ate Pawulo ye yagenda mu maaso n’enteekateeka ye. Bayibuli egamba nti: “Pawulo n’alonda Siira n’agenda naye oluvannyuma lw’ab’oluganda okusaba Yakuwa alage Pawulo ekisa eky’ensusso.” (Bik. 15:40) Abasajja abo bombi baagenda ‘mu Busuuli ne mu Kirukiya nga bagenda bazzaamu ebibiina amaanyi.’​—Bik. 15:41.

11. Ngeri ki eziyinza okutuyamba obutasibira kiruyi muntu aba atunyiizizza?

11 Ebyo ebyaliwo wakati wa Pawulo ne Balunabba bitujjukiza obutali butuukirivu ffenna bwe twasikira. Abasajja abo bombi baali balondeddwa okukiikirira akakiiko akafuzi. Ate era kirabika Pawulo yaweererezaako ku kakiiko ako. Wadde kyali kityo, ku luno Pawulo ne Balunabba baatwalirizibwa obutali butuukirivu bwabwe. Bakkiriza embeera eyo okubaleetera okwawukanira ddala ne bataddamu kukolagana? Wadde nga Pawulo ne Balunabba baali tebatuukiridde, baali beetoowaze era baalina endowooza ya Kristo. Awatali kubuusabuusa, oluvannyuma lw’ekiseera baasonyiwagana. (Bef. 4:1-3) Ate era oluvannyuma Pawulo ne Makko baakolera wamu mu buweereza obulala.a​—Bak. 4:10.

12. Okufaananako Pawulo ne Balunabba, abalabirizi bonna leero basaanidde kuyisa batya abalala?

12 Okuba nti waabalukawo oluyombo wakati wa Pawulo ne Balunabba tekitegeeza nti abasajja abo baali ba busungu oba nti baali bayombi. Balunabba yali amanyiddwa ng’omuntu eyali ayagala ennyo abantu era omugabi, ne kiba nti abatume mu kifo ky’okumuyita erinnya lye Yusufu, baamutuuma Balunabba, ekitegeeza “Oyo Azzaamu Abalala Amaanyi.” (Bik. 4:36) Pawulo naye yali amanyiddwa ng’omuntu eyali afaayo ku balala, ow’ekisa, era omukkakkamu. (1 Bas. 2:7, 8) Abalabirizi Abakristaayo bonna leero nga mwe muli n’abo abakyalira ebibiina, basaanidde okukoppa Pawulo ne Balunabba nga bafuba okuba abeetoowaze era nga bayisa balabirizi bannaabwe awamu n’abalala bonna mu kibiina mu ngeri ey’ekisa.​—1 Peet. 5:2, 3.

“Baali Bamwogerako Bulungi” (Bik. 16:1-3)

13, 14. (a) Timoseewo yali ani era Pawulo yatuuka atya okumumanya? (b) Kiki ekyaviirako Pawulo okukiraba nti Timoseewo yali muntu wa buvunaanyizibwa? (c) Buvunaanyizibwa ki abakadde bwe baawa Timoseewo?

13 Ku lugendo lwe olw’okubiri olw’obuminsani, Pawulo yagenda mu ssaza ly’e Ggalatiya awaali ebibiina ebitali bimu ebyali bitandikiddwawo. Bayibuli egamba nti: “Awo n’atuuka mu Derube ne mu Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa ayitibwa Timoseewo, omwana w’omukyala Omuyudaaya eyali omukkiriza naye nga kitaawe Muyonaani.”​—Bik. 16:1.b

14 Kirabika Pawulo yali yasisinkanako dda Timoseewo n’ab’ewaabwe ku lugendo lwe olw’obuminsani olwasooka, awo nga mu mwaka gwa 47 E.E. Kati ku lugendo luno lw’obuminsani olw’okubiri nga wayise emyaka ebiri oba esatu, Pawulo yakiraba nti Timoseewo yali muvubuka wa buvunaanyizibwa. Lwaki? Kubanga ‘ab’oluganda baali bamwogerako bulungi.’ Ab’oluganda mu kibiina Timoseewo mwe yali akuŋŋaanira si be bokka abaali bamwagala ennyo, wabula n’ab’omu bibiina ebirala. Bayibuli egamba nti ab’oluganda mu kibiina ky’e Lusitula n’eky’omu Ikoniyo, ebyali byesudde mayiro nga 20, baali balina ebintu ebirungi bye bamwogerako. (Bik. 16:2) Nga bakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, abakadde baawa Timoseewo eyali akyali omuvubuka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okuyamba Pawulo ne Siira nga bakola omulimu gw’okukyalira ebibiina.​—Bik. 16:3.

15, 16. Kiki ekyaviirako Timoseewo okwogerwako obulungi?

15 Kiki ekyaviirako Timoseewo okwogerwako obulungi wadde nga yali akyali muto? Kyava ku kuba nti yali mugezi, yali alabika bulungi, oba olw’okuba yalina ebitone eby’enjawulo? Abantu batera okutwalirizibwa engeri ezo. Ne nnabbi Samwiri lumu yali atwaliriziddwa endabika ey’okungulu. Kyokka Yakuwa yamugamba nti: “Engeri abantu gye balabamu ebintu Katonda si bw’abiraba; abantu balaba ekyo amaaso gaabwe kye gasobola okulaba, naye Yakuwa alaba ekiri mu mutima.” (1 Sam. 16:7) Amagezi, endabika, oba ebitone, si bye byaviirako Timoseewo okwogerwako obulungi, wabula engeri ennungi ze yalina.

16 Nga wayise emyaka, omutume Pawulo yayogera ku zimu ku ngeri za Timoseewo. Yagamba nti Timoseewo yalina endowooza ennungi, yali yeefiiriza ku lw’abalala, era yali aweereza n’obunyiikivu. (Baf. 2:20-22) Ate era Timoseewo yali amanyiddwa ng’omuntu eyalina okukkiriza “okutaliimu bukuusa.”​—2 Tim. 1:5.

17. Abavubuka leero bayinza batya okukoppa Timoseewo?

17 Leero abavubuka bangi bakoppa ekyokulabirako kya Timoseewo nga bakulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. Mu ngeri eyo, beekolera erinnya eddungi eri Yakuwa n’eri abantu be, wadde nga bakyali bato. (Nge. 22:1; 1 Tim. 4:15) Booleka okukkiriza okutaliimu bukuusa nga beewala okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. (Zab. 26:4) N’ekivuddemu, okufaananako Timoseewo, abavubuka bangi ba mugaso nnyo eri ekibiina. Bwe batuukiriza ebisaanyizo by’okufuuka ababuulizi b’amawulire amalungi era oluvannyuma ne beewaayo eri Yakuwa ne babatizibwa, bazzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi!

“Byanywezebwa mu Kukkiriza” (Bik. 16:4, 5)

18. (a) Buvunaanyizibwa ki Pawulo ne Timoseewo bwe baalina nga bakyalira ebibiina? (b) Ebibiina byaganyulwa bitya?

18 Pawulo ne Timoseewo baakolera wamu okumala emyaka. Yonna gye baagenda nga bakyalira ebibiina, baatuukiriza obuvaanyizibwa obutali bumu ku lw’akakiiko akafuzi. Bayibuli egamba nti: “Bwe baagenda bayita mu bibuga, baabuuliranga abaayo eby’okugoberera ebyali bisaliddwawo abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi.” (Bik. 16:4) Kya lwatu nti ebibiina byakolera ku bulagirizi obwabiweebwa abatume n’abakadde mu Yerusaalemi. Olw’obuwulize obwo, “ebibiina . . . byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga buli lunaku.”​—Bik. 16:5.

19, 20. Lwaki Abakristaayo basaanidde okugondera “abo ababakulembera”?

19 Abajulirwa ba Yakuwa leero nabo bafuna emikisa egiva mu kukolera ku bulagirizi bwe bafuna okuva eri “abo ababakulembera.” (Beb. 13:17) Olw’okuba embeera y’ensi buli kiseera ekyuka, kikulu Abakristaayo okukolera ku bulagirizi bwonna obuva eri “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45; 1 Kol. 7:29-31) Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba obutawaba kuva mu mazima, era kituyamba okusigala nga tetuliiko mabala ga nsi.​—Yak. 1:27.

20 Kyo kituufu nti abalabirizi mu kibiina Ekikristaayo leero, nga mw’otwalidde n’abo abali ku Kakiiko Akafuzi, tebatuukiridde ng’era bwe kyali eri Pawulo, Balunabba, Makko, n’abakadde abalala abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kyasa ekyasooka. (Bar. 5:12; Yak. 3:2) Kyokka olw’okuba ab’oluganda ku Kakiiko Akafuzi banywerera ku Kigambo kya Katonda era bagoberera ekyokulabirako abatume kye bassaawo, beesigika. (2 Tim. 1:13, 14) Era olw’ensonga eyo, ab’oluganda mu bibiina bazzibwamu amaanyi era banywezebwa mu kukkiriza.

TIMOSEEWO YAFUBA “OKUBUNYISA AMAWULIRE AMALUNGI”

Timoseewo yali wa mugaso nnyo eri omutume Pawulo. Oluvannyuma lwa Pawulo ne Timoseewo okukolera awamu okumala emyaka nga 11, Pawulo yawandiika bw’ati ku Timoseewo: “Sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye ajja okubafaako mu bwesimbu. . . . Mumanyi engeri gye yalagamu nti agwanidde; okufaananako omwana ne kitaawe, yakolera wamu nange okubunyisa amawulire amalungi.” (Baf. 2:20, 22) Timoseewo yakola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira. Ekyo kyaviirako omutume Pawulo okumwagala ennyo, era naffe yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.

Timoseewo.

Kirabika Timoseewo yakulira mu Lusitula era kitaawe yali Muyonaani, ate nga maama we Muyudaaya. Maama wa Timoseewo Ewuniike ne jjajjaawe we Looyi, baayigiriza Timoseewo ebyawandiikibwa okuviira ddala mu buwere. (Bik. 16:1, 3; 2 Tim. 1:5; 3:14, 15) Kirabika Timoseewo ne maama we awamu ne jjajjaawe, baafuuka Abakristaayo ku mulundi Pawulo gwe yasooka okugenda mu kibuga kyabwe.

Pawulo we yakomerawo mu Lusitula nga wayise emyaka, Timoseewo ayinza okuba nga yali anaatera okuweza emyaka 20 oba nga yaakagiweza. Era “ab’oluganda mu Lusitula ne Ikoniyo baali bamwogerako bulungi.” (Bik. 16:2) Omwoyo omutukuvu gwali gwawa “obunnabbi” ku Timoseewo, era nga bakolera ku bunnabbi obwo, Pawulo n’abakadde mu kibiina Timoseewo mwe yali akuŋŋaanira baawa Timoseewo obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. (1 Tim. 1:18; 4:14; 2 Tim. 1:6) Baamuwa obuvunaanyizibwa obw’okuwerekerako Pawulo ng’akola omulimu gw’obuminsani. Timoseewo yalina okuleka ab’ewaabwe era yalina n’okukomolebwa, Abayudaaya be yandikyalidde baleme kwemulugunya.​—Bik. 16:3.

Timoseewo yatambula mu bitundu bingi. Yabuulira wamu ne Pawulo ne Siira mu Firipi, yabuulira wamu ne Siira mu Beroya, ate oluvannyuma n’abuulira yekka mu Ssessalonika. Timoseewo bwe yaddamu okusisinkana ne Pawulo mu Kkolinso, yaleetera Pawulo amawulire amalungi agaali gakwata ku kwagala n’obwesigwa ab’oluganda mu Ssessalonika bye baali booleka wadde nga baali bayita mu kubonaabona okw’amaanyi. (Bik. 16:6–17:14; 1 Bas. 3:2-6) Pawulo bwe yali mu Efeso n’afuna amawulire agataali malungi agaali gakwata ku Bakkolinso, yalowooza ku ky’okuddamu okusindika Timoseewo e Kkolinso. (1 Kol. 4:17) Ate era oluvannyuma Pawulo bwe yali mu Efeso, yatuma Timoseewo ne Erasuto okugenda e Masedoniya. Kyokka mu kiseera Pawulo we yawandiikira Abaruumi ebbaluwa, Timoseewo yali akomyewo ng’ali wamu naye mu Kkolinso. (Bik. 19:22; Bar. 16:21) Ezo ze zimu ku ŋŋendo Timoseewo ze yatambula ku lw’amawulire amalungi.

Ebigambo Pawulo bye yawandiikira Timoseewo biraga nti Timoseewo ayinza okuba nga yali yeetya. Yamugamba nti: “Omuntu yenna takunyoomanga olw’obuvubuka bwo.” (1 Tim. 4:12) Kyokka Pawulo yatuma Timoseewo eri ekibiina ekyalimu ebizibu nga mukakafu nti yali ajja kukiyamba. Yamugamba “okulagira abamu obutayigiriza njigiriza za bulimba.” (1 Tim. 1:3) Pawulo era yawa Timoseewo obuvunaanyizibwa obw’okulonda abalabirizi n’abaweereza mu kibiina.​—1 Tim. 5:22.

Engeri za Timoseewo ennungi zaaviirako Pawulo okumwagala ennyo. Ebyawandiikibwa biraga nti Timoseewo ne Pawulo baali ba mukwano nnyo, nga Timoseewo alinga mutabani wa Pawulo. Pawulo yawandiika nti yali ajjukira amaziga Timoseewo ge yakaaba, yali asubwa okumulaba, era nti yali amusabira. Okufaananako taata afaayo ku mutabani we, Pawulo yawa Timoseewo amagezi ku kizibu kye yalina ‘eky’okulwalalwala,’ era nga kirabika olubuto lwe lwali lumutawaanya.​—1 Tim. 5:23; 2 Tim. 1:3, 4.

Omulundi Pawulo gwe yasooka okusibibwa mu Rooma, Timoseewo yali wamu naye. Timoseewo naye yasibwako mu kkomera okumala ekiseera. (Fir. 1; Beb. 13:23) Omukwano ogw’oku lusegere Pawulo ne Timoseewo gwe baalina gweyolekera mu kuba nti Pawulo bwe yakitegeera nti yali anaatera okufa, yatumya Timoseewo n’amugamba nti: “Fuba nnyo okujja gye ndi mu bwangu.” (2 Tim. 4:6-9) Ebyawandiikibwa tebiraga obanga Timoseewo yasobola okutuuka mu budde n’addamu okulaba ku mukwano gwe nga tannattibwa.

MAKKO YAFUNA ENKIZO NNYINGI

Enjiri ya Makko eraga nti abo abaakwata Yesu era baagezaako n’okukwata “omuvubuka” omu naye n’abeesimattulako “n’adduka ng’ali bwereere.” (Mak. 14:51, 52) Okuva bwe kiri nti Makko, era amanyiddwa nga Yokaana Makko ye yekka eyawandiika ku kintu ekyo, omuvubuka oyo ayinza okuba nga ye Makko kennyini. Ekyo bwe kiba kityo, Makko yalaba ku Yesu.

Makko awuliriza omukadde by’ayogera era abiwandiika.

Nga wayise emyaka nga 11, mu kiseera Kerode Agulipa we yayigganyiza Abakristaayo, “abantu abatonotono” ab’omu kibiina ky’e Yerusaalemi baakuŋŋaanira mu nnyumba ya Maliyamu maama wa Makko okusaba. Era eyo ewa Maliyamu omutume Peetero gye yasooka okugenda bwe yali ng’asumuluddwa mu kkomera mu ngeri ey’ekyamagero. (Bik. 12:12) N’olwekyo Makko ayinza okuba nga yakulira mu nnyumba oluvannyuma Abakristaayo gye baakozesa okukuŋŋaanirangamu. Kirabika Makko yali amanyi bulungi abayigirizwa ba Yesu abaasooka, era bateekwa okuba nga baamuyamba nnyo mu by’omwoyo.

Makko yaweererezaako wamu n’abalabirizi abawerako ab’omu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka. Yasooka kuweerereza wamu ne Balunabba gwe yalinako oluganda, awamu n’omutume Pawulo, bwe baali baweereza mu Antiyokiya ekya Busuuli. (Bik. 12:25) Balunabba ne Pawulo bwe baali ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwasooka, Makko yagenda nabo era baasooka kugenda Kupulo, oluvannyuma ne bagenda mu Asiya Omutono. Bwe baali eyo mu Asiya Omutono, Makko yabaleka n’addayo e Yerusaalemi olw’ensonga etamanyiddwa. (Bik. 13:4, 13) Nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa essuula 15, oluvannyuma lwa Balunabba ne Pawulo okufuna obutakkaanya ku nsonga y’okutwala Makko ku lugendo lwabwe, Makko ne Balunabba baagenda okuweereza mu Kupulo.​—Bik. 15:36-39.

Omwaka 60 oba 61 E.E. we gwatuukira, Makko yali azzeemu okuweereza n’omutume Pawulo ng’ali e Rooma, ekiraga nti ebyo ebyaliwo nga bafunye obutakkaanya baali tebakyabirowoozako. Pawulo eyali asibiddwa mu kibuga ekyo yawandiikira ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolosaayi n’abagamba nti: “Alisutaluuko musibe munnange abalamusizza, era ne Makko alina oluganda ku Balunabba abalamusizza, (oyo gwe mwalagirwa okwaniriza ng’azze gye muli).” (Bak. 4:10) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Pawulo yali ayagala kutuma Yokaana Makko okugenda e Kkolosaayi okumukiikirira.

Wakati w’omwaka gwa 62 ne 64 E.E., Makko yakolera wamu n’omutume Peetero mu Babulooni. Nga bwe kyayogerwako mu ssuula 10 ey’ekitabo kino, Makko yafuna enkolagana ey’oku lusegere ne Peetero, kubanga Peetero yamwogerako nga “Makko omwana wange.”​—1 Peet. 5:13.

Oluvannyuma awo nga mu mwaka gwa 65 E.E., omutume Pawulo bwe yali ng’asibiddwa mu Rooma omulundi ogw’okubiri, yawandiikira Timoseewo mukozi munne eyali mu Efeso n’amugamba nti: “Jjangu ne Makko kubanga wa mugaso nnyo gye ndi mu buweereza.” (2 Tim. 4:11) Tewali kubuusabuusa nti Makko yasitukiramu n’ava mu Efeso n’agenda mu Rooma Pawulo gye yali amuyise. Tekyewuunyisa nti Balunabba, Pawulo, ne Peetero baali batwala Makko nga wa muwendo nnyo!

Mu nkizo zonna Makko ze yafuna, enkizo esingira ddala ye y’okuba nti Yakuwa yamuluŋŋamya okuwandiika ekitabo ky’Enjiri. Abantu bangi bagamba nti bingi ku ebyo Makko bye yawandiika yabiggya ku mutume Peetero. Ekyo kirabika kituufu kubanga ebimu ku ebyo bye yawandiika biraga nti yabifuna okuva eri omuntu eyabirabirako ddala nga bibaawo. Kyokka kirabika Makko Enjiri ye yagiwandiikira mu Rooma, so si mu Babulooni bwe yali ng’abeera wamu ne Peetero. Makko yakozesa ebigambo by’Olulattini bingi era yavvuunula ebigambo by’Olwebbulaniya ebitali bimu ebyandibadde bizibuwalira omuntu atali Muyudaaya okubitegeera. N’olwekyo kirabika ebyo bye yawandiika, okusingira ddala yabiwandiikira b’Amawanga.

a Laba akasanduuko “Makko Yafuna Enkizo Nnyingi.”

b Laba akasanduuko “Timoseewo Yafuba ‘Okubunyisa Amawulire Amalungi.’”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share