LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 3/15 lup. 6-9
  • Makko ‘Wa Mugaso Nnyo mu Buweereza’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Makko ‘Wa Mugaso Nnyo mu Buweereza’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ng’Ali Ewaabwe mu Yerusaalemi
  • Obuvunaanyizibwa mu Kibiina
  • Okutabagana
  • Makko Yatambula Nnyo
  • Obuvunaanyizibwa Obulala obw’Amaanyi
  • “Wa Mugaso Nnyo gye Ndi mu Buweereza”
  • Makko Teyaggwamu Maanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • “Bazzaamu Ebibiina Amaanyi”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Ab’Oluganda Abato​​—⁠Mukoppe Makko ne Timoseewo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • “Beeyongera Okusanyuka n’Okujjula Omwoyo Omutukuvu”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 3/15 lup. 6-9

Makko ‘Wa Mugaso Nnyo mu Buweereza’

EKIBIINA ky’e Antiyokiya kyali kifunye ku bizibu, naye obutategeeragana obwali wakati w’omutume Pawulo ne Balunabba kyali kizibu kya maanyi nnyo. Abasajja bano baali bateekateeka olugendo lwabwe olw’obuminsani, naye bwe kyatuuka ku kusalawo ku ani gwe bandigenze naye, waaliwo “okuwakana okw’amaanyi” wakati waabwe. (Bik. 15:39) Baayawukana era buli omu n’akwata lirye. Obuzibu obwo bwava ku muminsani ow’okusatu​—Makko.

Makko yali ani? Kiki ekyaleetera abatume abo ababiri okukaayana? Lwaki baalina endowooza ez’enjawulo? Endowooza zaabwe zaakyuka? Kiki ky’oyigira ku Makko?

Ng’Ali Ewaabwe mu Yerusaalemi

Makko, ayinza okuba nga yali ava mu maka g’Ekiyudaaya amagagga, yakulira mu Yerusaalemi. Asooka kwogerwako mu byafaayo by’ekibiina Ekikristaayo ekyasooka. Awo nga mu mwaka gwa 44 malayika wa Yakuwa bwe yasumulula omutume Peetero mu ngeri ey’ekyamagero okuva mu kkomera lya Kerode Agulipa I, Peetero yagenda “mu nnyumba ya Maliyamu maama wa Yokaana eyali ayitibwa Makko, awaali wakuŋŋaanidde abantu batonotono nga basaba.”​—Bik. 12:1-12.a

Kirabika ng’ab’oluganda mu kibiina ky’e Yerusaalemi baakuŋŋaniranga mu maka ga maama wa Makko. Okuba nti abantu ‘abatonotono’ baakuŋŋanirangayo kiraga nti amaka ago gaali manene. Malyamu yalina omuwala omuweereza ayitibwa Looda eyagenda ku “luggi” Peetero bwe yakonkona. Bino byonna biraga nti Malyamu yali mukyala mugagga. Ate era eky’okuba nti ennyumba mwe baakuŋŋaniranga eyogerwako ng’eyiye so si ng’eya bba, kiraga nti Malyamu ayinza okuba nga yali nnamwandu era nti Makko mu kiseera ekyo yali akyali muto.​—Bik. 12:13.

Kiyinzika okuba nti Makko yali omu kw’abo abaali bakuŋŋaanye okusaba. Alina okuba nga yalina omukwano ku bayigirizwa ba Yesu n’abala abaalaba ku bintu Yesu bye yakola. Makko ayinza okuba nga ye mulenzi eyali yeebikkiridde olugoye eyali agoberera Yesu bwe baali baakamukwata era eyadduka obwereere bwe baali bagezaako okumukwata.​—Mak. 14:51, 52.

Obuvunaanyizibwa mu Kibiina

Okukolagana n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo kirina okuba nga kyayamba nnyo Makko. Yakula mu by’omwoyo era ekyo kyalabibwa n’ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu kibiina. Awo nga mu mwaka gwa 46, Pawulo ne Balunabba baggya “obuyambi” mu Antiyokiya ne babutwala e Yerusaalemi. Nga bali eyo, baakiraba nti Makko yali asobola okuba ow’omugaso. Era Pawulo ne Balunabba bwe baali baddayo mu Antiyokiya, baamutwala.​—Bik. 11:27-30; 12:25.

Bw’oba teweetegerezza ng’osoma, oyinza obutakimanya nti abasajja bano abasatu baalina akakwate akalala ng’oggyeko okuba nti bonna baali Bakristaayo. Oyinza okulowooza nti Pawulo ne Balunabba baatwala Makko lwa busobozi bwe kyokka. Naye emu ku bbaluwa za Pawulo eraga nti Makko yalina oluganda ku Balunabba. (Bak. 4:10) Kino kituyamba okutegeera ebirala ebyaliwo ebikwata ku Makko.

Nga wayise omwaka nga gumu oba n’okusingawo, omwoyo omutukuvu gwalagira Pawulo ne Balunabba okugenda ku lugendo lw’obuminsani. Baasitula okuva mu Antiyokiya ne boolekera Kupulo. Yokaana eyayitibwanga Makko yagenda nabo “ng’abaweereza.” (Bik. 13:2-5) Kirabika Makko yabayambangako ku mirimu emirala, ekyo ne kiyamba abatume abo okwemalira ku mulimu gwabwe omukulu ogw’obuminsani.

Pawulo, Balunabba, ne Makko baayita mu Kupulo nga babuulira; ne boolekera Asiya Omutono. Nga bali eyo, Yokaana Makko yakola ekintu ekitaasanyusa Pawulo. Ebyawandiikibwa biraga nti bwe baatuuka e Peruga, “Yokaana n’abaleka n’addayo e Yerusaalemi.” (Bik. 13:13) Ebyawandiikibwa tebiraga nsonga yamuleetera kukola ekyo.

Oluvannyuma lw’emyaka, Pawulo, Balunabba, ne Makko baddayo mu Antiyokiya. Pawulo ne Balunabba baali bateekateeka olugendo lwabwe olw’obuminsani olw’okubiri basobole okwongera okuyamba abo be baali babuulidde ku lugendo lwabwe olwasooka. Balunabba yali ayagala bagende ne Makko, naye ekyo Pawulo yali takyagala olw’okuba Makko yabaabulira ku lugendo lwabwe olwasooka. Ekyo kye kyavaako enkaayana eyayogeddwako waggulu. Balunabba yatwala Makko ne bagenda e Kupulo, ate ye Pawulo n’agenda e Busuuli. (Bik. 15:36-41) Tewali kubuusabuusa nti ekyo Makko kye yali akoze, Pawulo ne Balunabba baakitunuulira mu ngeri za njawulo.

Okutabagana

Makko ateekwa okuba nga yayisibwa bubi olw’ebyo ebyaliwo. Kyokka yasigala nga muweereza mwesigwa. Nga wayise emyaka nga 11 oba 12 okuva lwe baayawukana ne Pawulo, Makko adamu okwogerwako mu byafaayo by’Abakristaayo abasooka. Ng’ali ludda wa? Ng’ali mu kifo w’otandimusuubidde kubeera​—wamu ne Pawulo!

Bwe yali mu kkomera e Rooma wakati w’omwaka 60 ne 61, Pawulo yawandiika amabaluwa agawerako agali mu Byawandiikibwa Ebitukuvu leero. Mu emu ku bbaluwa eri Abakkolosaayi, yawandiika nti: “Alisutaluuko musibe munnange abalamusizza, era ne Makko alina oluganda ku Balunabba, (oyo gwe mwalagirwa okwaniriza ng’azze gye muli) . . . Bano bokka be bakola nange omulimu gw’obwakabaka bwa Katonda era bano be banzizaamu ennyo amaanyi.”​—Bak. 4:10, 11.

Ng’ebintu byali bakyukidde ddala! Kati Pawulo yali atwala Makko nga mukozi munne ow’omugaso ennyo. Pawulo yali yagamba Abakkolosaayi nti Makko yali ayinza okubakyalira. Ekyo bwe kyandibaddewo, Makko yandibadde akiikiridde Pawulo.

Kyandiba nti mu myaka egyayita Pawulo yali talaba kalungi konna mu Makko? Kyandiba nti Makko yali afunye okubuulirirwa okwamuyamba? Oba kyandiba nti bombi balina kye baakolawo? Ka kibe ki ekyaliwo, okuba nti Pawulo ne Makko baatabagana kiraga nti bombi baali bakuze mu by’omwoyo. Beerabira byonna ebyayita ne baddamu okukolera awamu. Nga kino kyakulabirako kirungi nnyo eri buli Mukristaayo aba afunye obutategeeragana ne munne!

Makko Yatambula Nnyo

Bw’osoma ku ŋŋendo za Makko ezitali zimu, okiraba nti yatambula nnyo. Yava e Yerusaalemi n’agenda mu Antiyokiya, gye yava okugenda e Kupulo n’e Peruga. Oluvannyuma yagenda e Rooma. Ng’ali eyo Pawulo yayagala okumutuma e Kkolosaayi. Naye eŋŋendo ze tezaakoma awo!

Omutume Peetero yawandiika ebbaluwa ye eyasooka wakati w’omwaka 62 ne 64. Yawandiika nti: “Omukazi ali e Babulooni . . . abalamusizza, era ne Makko omwana wange.” (1 Peet. 5:13) Ekyo kiraga nti Makko yagenda n’e Babulooni asobole okukolera awamu n’omutume oyo gwe baakuŋŋaananga naye mu maka ga maama we.

Pawulo, bwe yali asibiddwa omulundi ogw’okubiri e Rooma awo nga mu mwaka gwa 65, yawandiikira Timoseewo ng’amuyita okuva mu Efeso. Pawulo yamugamba nti: “Jjangu ne Makko.” (2 Tim. 4:11) Ekyo kiraga nti mu kiseera ekyo Makko yali mu Efeso. Tewali kubuusabuusa nti Pawulo bwe yamuyita okugenda e Rooma ne Timoseewo, yasitukiramu. Mu kiseera ekyo tekyabanga kyangu kutambula, naye Makko yatambula eŋŋendo ezo zonna awatali kuwalirizibwa.

Obuvunaanyizibwa Obulala obw’Amaanyi

Obuvunaanyizibwa obulala obw’amaanyi Makko bwe yaweebwa kwe kuba nti Yakuwa yamuluŋŋamya okuwandiika emu ku Njiri. Wadde ng’Enjiri ey’okubiri teraga linnya ly’oyo eyagiwandiika, ebyafaayo biraga nti Makko ye yagiwandiika era nti bye yawandiika yabiggya ku Peetero. Mu butuufu, ebyo byonna Makko bye yawandiika, Peetero yali yabirabirako ddala.

Abo abeekenneenya Enjiri ya Makko bakkiriza nti yagiwandiikira b’Amawanga; era yabayamba n’okutegeera empisa z’Ekiyudaaya. (Mak. 7:3; 14:12; 15:42) Makko avvuunula ebigambo by’Olulamayiki ebyandibadde ebizibu okutegeerwa abo abataali Bayudaaya. (Mak. 3:17; 5:41; 7:11, 34; 15:22, 34) Akozesa ebigambo by’Olulattini bingi era annyonnyola ebigambo by’Oluyonaani ebimu ng’akozesa eby’Olulattini. Alaga omuwendo gw’essente z’Ekiyudaaya nga zikyusiddwa mu z’Abaruumi. (Mak. 12:42)b Ebyo byonna biraga nti Makko Enjiri ye yagiwandiikira mu Rooma.

“Wa Mugaso Nnyo gye Ndi mu Buweereza”

Bwe yali e Rooma, Makko teyakola gwa kuwandiika Njiri gwokka. Jjukira ekyo Pawulo kye yagamba Timoseewo nti: “Jjangu ne Makko.” Lwaki Pawulo yagamba bw’atyo? “Kubanga wa mugaso nnyo gye ndi mu buweereza.”​—2 Tim. 4:11.

Ebigambo bino ebikwata ku Makko​—ebisangibwa mu kimu ku bitabo bya Baibuli ebyasembayo okuwandiikibwa​—bituyigiriza bingi ku musajja ono. Makko talina wonna w’ayogerwako nga mutume, mukulembeze, oba nnabbi. Yali muweereza, kwe kugamba, oyo eyabangawo okuweereza abalala. Era mu kiseera kino nga Pawulo anaatera okuttibwa, Makko ateekwa okuba nga yamuyamba nnyo.

Bwe tukwataganya ebyo byonna ebikwata ku Makko, tukiraba nti yali musajja munyiikivu nnyo mu kubunyisa amawulire amalungi mu bitundu by’ensi ebitali bimu, nga mwetegefu okuweereza abalala. Mazima ddala, Makko yafuna emikisa mingi olw’okuba teyalekulira!

Okufaananako Makko, naffe ng’abaweereza ba Katonda tuli bamalirivu okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Era okufaananako Makko, abamu ku ffe tusobola okugenda mu bitundu ebirala, oba mu nsi endala, okubunyisa amawulire amalungi. Wadde ng’abasinga obungi ku ffe tuyinza obutasobola kugenda mu bitundu birala, ffenna tusobola okukoppa Makko mu ngeri endala. Nga bwe yafuba okuweereza baganda be Abakristaayo, naffe tusaanidde okufuba okuyamba bakkiriza bannaffe basobole okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe eri Katonda. Bwe tukola tutyo, tuba bakakafu nti tujja kweyongera okufuna emikisa gya Yakuwa.​—Nge. 3:27; 10:22; Bag. 6:2.

[Obugambo obuli wansi]

a Mu kiseera kya Makko, abantu baateranga okuweebwa erinnya eddala ery’Ekiyudaaya oba ery’eggwanga eddala lyonna. Erinnya lya Makko ery’Ekiyudaaya lyali Yohanan​—Yokaana mu Luganda. Erinnya lye ery’Ekirattini lyali Marcus, oba Makko.​—Bik. 12:25.

b Obusente: Mu Luyonaani “Lepton.” Kye kisente ekyali kisembayo okuba eky’omuwendo omutono. ​—Baibuli y’Oluganda eya 2003.

[Mmaapu/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

Ebimu ku Bibuga Makko bye Yatuukamu

Rooma

Efeso

Kkolosaayi

Peruga

Kupulo

Yerusaalemi

Antiyokiya (eky’e Busuuli)

Babulooni

ENNYANJA MEDITERENIYANI

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share