EKITUNDU EKY’OKUSOMA 18
OLUYIMBA 65 Weeyongere mu Maaso!
Ab’Oluganda Abato—Mukoppe Makko ne Timoseewo
“Jjangu ne Makko kubanga wa mugaso nnyo gye ndi mu buweereza.”—2 TIM. 4:11.
EKIGENDERERWA
Tugenda okulaba engeri ekyokulabirako kya Makko ne Timoseewo gye kisobola okuyamba ab’oluganda abakyali abato okukulaakulanya engeri ze beetaaga okuweereza bakkiriza bannaabwe mu bujjuvu.
1-2. Biki ebyandibadde biremesa Makko ne Timoseewo okugaziya ku buweereza bwabwe?
AB’OLUGANDA abato, mwagala okukola ekisingawo mu kuweereza Yakuwa musobole okweyongera okuba ab’omugaso eri bakkiriza bannammwe mu kibiina? Tewali kubuusabuusa nti mwagala. Kisanyusa nnyo okulaba nti abavubuka bangi baagala nnyo okuweereza abalala! (Zab. 110:3) Naye oyinza okuba ng’olina ebikulemesa okukola ekisingawo mu buweereza bwo. Otya okugaziya ku buweereza bwo olw’okuba tomanyi bulamu bwo bwe bunaaba oba wa Yakuwa gy’ayagala oweerereze? Wali oweereddwako obuvunaanyizibwa naye n’obugaana olw’okuba weetya? Bwe kiba kityo, si ggwe asoose okuwulira bw’otyo.
2 Makko ne Timoseewo nabo baawulirako bwe batyo. Wadde nga baali tebamanyi kyandituuse ku bulamu bwabwe oba nga baali bawulira nti tebalina bumanyirivu, baasalawo okukola ekisingawo mu kuweereza Yakuwa. Kirabika Makko yali abeera ne maama we mu nnyumba ennungi, omutume Pawulo ne Balunabba we baamuyitira okugenda nabo ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwasooka. (Bik. 12:12, 13, 25) Makko yava awaka we yali amanyidde n’agenda okugaziya ku buweereza bwe. Yasooka kugenda mu Antiyokiya oluvannyuma n’agenda mu bitundu eby’ewala ng’awerekeddeko Pawulo ne Balunabba. (Bik. 13:1-5) Mu ngeri y’emu, kirabika Timoseewo yali abeera ne bazadde be, omutume Pawulo we yamuyitira okukolera awamu naye omulimu gw’okubuulira. Olw’okuba Timoseewo yali akyali muto era nga talina bumanyirivu, yandibadde agaana okugenda ne Pawulo olw’okwetya. (Geraageranya 1 Abakkolinso 16:10, 11 ne 1 Timoseewo 4:12.) Naye yakkiriza okugenda naye era yafuna emikisa mingi.—Bik. 16:3-5.
3. (a) Tumanya tutya nti Pawulo yali ayagala nnyo Makko ne Timoseewo? (2 Timoseewo 4:6, 9, 11) (Laba n’ebifaananyi.) (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
3 Makko ne Timoseewo baayiga okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina nga bakyali bavubuka. Pawulo yasiima nnyo abavubuka abo ne kiba nti bwe yakitegeera nti yali anaatera okufa, yabayita bajje gy’ali. (Soma 2 Timoseewo 4:6, 9, 11.) Ngeri ki Makko ne Timoseewo ze baalina ezaaviirako Pawulo okubaagala ennyo n’okubeesiga? Ab’oluganda abato bayinza batya okubakoppa? Era bayinza batya okuganyulwa mu kubuulirira omutume Pawulo kwe yawa?
Pawulo yayagala nnyo Makko ne Timoseewo olw’okuba baafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa nga bakyali bavubuka (Laba akatundu 3)b
KOPPA MAKKO—BEERA MWETEGEFU OKUWEEREZA ABALALA
4-5. Makko yakyoleka atya nti yali mwetegefu okuweereza abalala?
4 Okuweereza abalala kiyinza okutegeeza okukola ennyo okubayamba, era n’okweyongera okubayamba ne bwe kiba nga si kyangu. Makko yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo Pawulo bwe yagaana okugenda naye ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri. (Bik. 15:37, 38) Naye ekyo tekyamulemesa kweyongera kuweereza bakkiriza banne.
5 Makko yakkiriza okugenda okuweerereza mu kitundu ekirala ng’ali wamu ne Balunabba gwe yalinako oluganda. Nga wayise emyaka nga 11, Makko yali omu ku abo abaayamba Pawulo ng’asibiddwa mu Rooma omulundi ogwasooka. (Fir. 23, 24) Mu butuufu, Pawulo yasiima nnyo engeri Makko gye yamuyambamu ne kiba nti yagamba nti y’omu ku abo ‘abaamuzzaamu ennyo amaanyi.’—Bak. 4:10, 11.
6. Makko yaganyulwa atya mu kukolera awamu n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo? (Laba obugambo obuli wansi.)
6 Makko yaganyulwa nnyo mu kukolera awamu n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’aweerereza wamu ne Pawulo mu Rooma, yagenda okuweerereza awamu ne Peetero mu Babulooni. Baafuuka ba mukwano nnyo ne kiba nti omutume Peetero yamuyita mwana we. (1 Peet. 5:13) Bwe baali bakolera wamu, kirabika Peetero yabuulira Makko ebintu bingi ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, era oluvannyuma Makko yawandiika ebintu ebyo mu kitabo ky’Enjiri ekiyitibwa erinnya lye.a
7. Ow’oluganda Seung-Woo yakoppa atya Makko? (Laba n’ekifaananyi.)
7 Makko yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu era yasigala akolera wamu n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Oyinza otya okumukoppa? Bw’oba ng’oyagala okuweereza ng’omukadde oba omuweereza mu kibiina naye nga tonnafuna nkizo eyo, ba mugumiikiriza. Weeyongere okubaako ebintu ebirala by’okola okuweereza Yakuwa ne bakkiriza banno. Lowooza ku w’oluganda Seung-Woo, kati aweereza ng’omukadde. Bwe yali akyali muvubuka, yeegeraageranyanga ku b’oluganda abalala abavubuka. Abamu ku bo baaweebwa enkizo mu kibiina naye nga ye tannaweebwa. Seung-Woo yawulira bubi era oluvannyuma yategeezaako abakadde engeri gye yali yeewuliramu. Omu ku bakadde yamugamba akole kyonna ky’asobola okuweereza abalala, ne bwe kiba nti oluusi ebintu ebirungi by’akola abalala tebabiraba. Seung-Woo yakolera ku magezi ago n’ayambanga abakaddiye, era n’atwalangako abo abaabanga beetaaga okubatwalako mu nkuŋŋaana. Bw’alowooza ku kiseera ekyo agamba nti: “Nnategeera kye kitegeeza okuweereza abalala mu bujjuvu. Nnafuna essanyu eriva mu kuyamba abalala.”
Ab’oluganda abakyali abato baganyulwa batya bwe babeerako awamu n’ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo? (Laba akatundu 7)
KOPPA TIMOSEEWO—FAAYO KU BALALA
8. Lwaki Pawulo yalonda Timoseewo okuweerereza awamu naye? (Abafiripi 2:19-22)
8 Pawulo yali yeetaaga ab’oluganda abavumu okugenda naye ng’addayo mu bibuga gye baali baamuyigganya. Yasooka kulonda Omukristaayo eyali ayitibwa Siira eyalina obumanyirivu. (Bik. 15:22, 40) Oluvannyuma yalonda ne Timoseewo. Lwaki Pawulo yalonda Timoseewo? Ab’oluganda mu kitundu Timoseewo gye yali abeera baali bamwogerako bulungi. (Bik. 16:1, 2) Ate era yali afaayo nnyo ku balala.—Soma Abafiripi 2:19-22.
9. Timoseewo yakiraga atya nti yali afaayo nnyo ku bakkiriza banne?
9 Okuviira ddala lwe yatandika okuweerereza awamu ne Pawulo, Timoseewo yakiraga nti yali afaayo nnyo ku balala okusinga bwe yali yeefaako. N’olwekyo Pawulo bwe yamuleka mu Beroya, yali mukakafu nti yali ajja kuzzaamu amaanyi abayigirizwa abapya abaali mu kibuga ekyo. (Bik. 17:13, 14) Mu kiseera ekyo, Timoseewo ateekwa okuba ng’alina bingi bye yayigira ku Siira, era naye eyali asigadde mu Beroya. Oluvannyuma Pawulo yatuma Timoseewo yekka okugenda e Ssessalonika okuzzaamu Abakristaayo abaali mu kibuga ekyo amaanyi. (1 Bas. 3:2, obugambo obuli wansi) Emyaka egisukka mu 15 egyaddirira, Timoseewo yayiga ‘okukaabira wamu n’abo abaabanga bakaaba,’ kwe kugamba, okulumirirwa abo abaali babonaabona. (Bar. 12:15; 2 Tim. 1:4) Ab’oluganda abakyali abato, bayinza batya okukoppa Timoseewo?
10. Ow’oluganda Woo Jae yayiga atya okufaayo ku balala?
10 Ow’oluganda ayitibwa Woo Jae yayiga okweyongera okufaayo ku balala. Bwe yali akyali muvubuka, yazibuwalirwanga okunyumya ne bakkiriza banne abamusinga obukulu. Bwe yabasisinkananga ku kizimbe ky’Obwakabaka, yababuuzangako bubuuza n’atambula n’agenda. Omukadde omu yamuwa amagezi atandike okunyumya n’abalala ng’ababuulira ebintu ebirungi by’abaagalako. Ate era yamukubiriza okufumiitiriza ku bintu abalala bye bayinza okuba nga baagala okwogerako. Woo Jae yakolera ku magezi ago omukadde ge yamuwa. Woo Jae kati aweereza ng’omukadde era agamba nti: “Kati kinnyanguyira okunyumya n’abantu ab’emyaka egy’enjawulo. Ndi musanyufu kubanga nsobola okutegeera ebyo abalala bye bayitamu. Ekyo kinsobozesezza okuyamba bakkiriza bannange.”
11. Ab’oluganda abakyali abato bayinza batya okuyiga okufaayo ku balala mu kibiina kyabwe? (Laba n’ekifaananyi.)
11 Ab’oluganda abakyali abato, nammwe musobola okuyiga okufaayo ku balala. Bwe muba muzze mu nkuŋŋaana munyumyeko n’abantu ab’enjawulo omuli ab’emyaka egy’enjawulo oba abaakulira mu mbeera ez’enjawulo. Mubabuuze bwe bali, era bwe babaako kye babagamba muwulirize bulungi. Ekyo kijja kubayamba okumanya engeri gye musobola okubayambamu. Ng’ekyokulabirako, muyinza okukitegeerako nti ow’oluganda ne mukyala we abakaddiye beetaaga obuyambi okuyiga okukozesa JW Library®. Oba muyinza okukitegeera nti tebalina muntu wa kubuulira naye. Musobola okukola enteekateeka okubuulirako nabo oba okubayamba okukozesa JW Library®? Bwe muyamba bakkiriza bannammwe, muba muteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi.
Waliwo ebintu bingi ab’oluganda abakyali abato bye basobola okukolera bakkiriza bannaabwe (Laba akatundu 11)
GANYULWA MU MAGEZI PAWULO GE YAWA
12. Ab’oluganda abakyali abato bayinza batya okuganyulwa mu magezi Pawulo ge yawa Timoseewo?
12 Pawulo yawa Timoseewo amagezi amalungi okumuyamba okweyongera okuba omusanyufu n’okweyongera okuweereza Katonda mu bujjuvu. (1 Tim. 1:18; 2 Tim. 4:5) Ab’oluganda abakyali abato, nammwe musobola okuganyulwa mu magezi ago. Muyinza kuganyulwa mutya? Soma ebbaluwa ebbiri Pawulo ze yawandiikira Timoseewo ng’ozitwala nga z’awandiikidde ggwe era olowooze ku ebyo by’osobola okukolerako mu bulamu bwo. Ka tulabeyo ebimu ku byo.
13. Kiki ekizingirwa mu kwemalira ku Yakuwa?
13 “Beera n’ekiruubirirwa eky’okwetendeka mu kwemalira ku Katonda.” (1 Tim. 4:7b) Kitegeeza ki okwemalira ku Katonda? Okwemalira ku Katonda kitegeeza okuba abeesigwa eri Yakuwa n’okukola by’ayagala. Naye okuba abeesigwa eri Yakuwa n’okukola by’ayagala kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. Lwaki? Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okwetendeka” kyakozesebwanga ku kutendekebwa okw’amaanyi abaddusi kwe baayitangamu nga beeteekerateekera empaka. Abaddusi abo baalinanga okwefuga. Naffe tulina okwefuga okusobola okukola ebintu ebituyamba okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.
14. Bwe tuba tusoma Bayibuli, tusaanidde kuba na kigendererwa ki? Waayo ekyokulabirako.
14 Kikulu okuba n’enteekateeka ey’okusoma Bayibuli buli lunaku, era bw’oba ogisoma kirungi okuba n’ekiruubirirwa eky’okweyongera okusemberera Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, kiki ky’oyigira ku ebyo ebyaliwo Yesu bwe yasisinkana omusajja omugagga? (Mak. 10:17-22) Omusajja oyo yali akkiriza nti Yesu ye Masiya, naye teyafuuka mugoberezi we kubanga okukkiriza kwe tekwali kunywevu. Wadde kyali kityo, Yesu ‘yawulira ng’amwagadde,’ era yayogera naye mu ngeri ey’ekisa. Kya lwatu, Yesu yali ayagala omusajja oyo asalewo mu ngeri ey’amagezi. Ate era Yesu mu kwogera naye bw’atyo yali ayoleka okwagala Yakuwa kwe yalina gy’ali. (Yok. 14:9) Bw’olowooza ku ebyo by’osoma ku musajja oyo ne ku mbeera yo, weebuuze, ‘Kiki kye nnina okukola okweyongera okusemberera Yakuwa n’okuweereza abalala mu bujjuvu?’
15. Lwaki kikulu ow’oluganda akyali omuvubuka okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi? Waayo ekyokulabirako. (1 Timoseewo 4:12, 13)
15 “Beeranga kyakulabirako eri abeesigwa.” (Soma 1 Timoseewo 4:12, 13.) Pawulo yakubiriza Timoseewo okuyiga okusoma obulungi n’okuyigiriza obulungi, era yamukubiriza n’okukulaakulanya engeri gamba nga: okwagala, okukkiriza, n’obulongoofu. Lwaki? Kubanga ebyo omuntu by’akola biba bikulu nnyo okusinga ebyo by’ayogera. Ka tugambe nti oweereddwa emboozi mu kibiina ekwata ku kuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Bw’oba ofuba okwenyigira mu mulimu ogwo kijja kukubeerera kyangu okuwa emboozi eyo. By’oyogera bijja kukwata ku bawuliriza kubanga ossaawo ekyokulabirako ekirungi.—1 Tim. 3:13.
16. (a) Bintu ki ebitaano ow’oluganda akyali omuvubuka by’asaanidde okulowoozaako okusobola okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi? (b) Ow’oluganda akyali omuvubuka ayinza atya okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi “mu kwogera”?
16 Nga bwe kiragibwa mu 1 Timoseewo 4:12, Pawulo yayogera ku bintu bitaano ow’oluganda akyali omuvubuka by’ayinza okukola okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. Kirungi okufunayo obudde n’osoma ku buli kimu ku bintu ebyo. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti oyagala okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi “mu kwogera.” Lowooza ku ngeri ebyo by’oyogera gye bisobola okuzzaamu abalala amaanyi. Bw’oba ng’okyabeera ne bazadde bo, lowooza ku ebyo by’osobola okubagamba okweyongera okulaga nti osiima bye bakukolera. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, baako ow’oluganda oba mwannyinaffe gw’obuulira ekyo ky’oyagadde ku kitundu ky’abadde nakyo mu lukuŋŋaana. Ate era oyinza n’okufuba okubaako ky’oddamu mu nkuŋŋaana mu bigambo byo. Bw’ofuba okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi mu ebyo by’oyogera, kijja kulaga nti okulaakulana mu by’omwoyo.—1 Tim. 4:15.
17. Kiki ekisobola okuyamba ow’oluganda akyali omuvubuka okutuuka ku biruubirirwa bye eby’eby’omwoyo? (2 Timoseewo 2:22)
17 “Ddukanga okwegomba okw’omu buvubuka, naye luubiriranga obutuukirivu.” (Soma 2 Timoseewo 2:22.) Pawulo yakubiriza Timoseewo okwewala ebintu ebyandimulemesezza okutuuka ku biruubirirwa bye eby’omwoyo, oba ebyandimuviiriddeko okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa. Oyinza okukiraba nti wadde ng’ebintu ebimu si bibi, biyinza okukumalako ebiseera bye wandikozesezza mu bintu eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku biseera by’omala nga weenyigira mu by’emizannyo, ng’oli ku Intaneeti, oba ng’ozannya emizannyo gy’oku kompyuta. Oyinza okukozesa ebimu ku biseera ebyo okwenyigira mu bintu eby’omwoyo? Oboolyawo oyinza okuyambako mu kulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka oba okwenyigira mu kubuulira ng’okozesa akagaali. Bwe weenyigira mu bintu ebyo, ojja kufuna emikwano emipya egijja okukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo era n’okubituukako.
OKUWEEREZA ABALALA KIVAAMU EMIKISA MINGI
18. Lwaki tuyinza okugamba nti Makko ne Timoseewo baafuna essanyu n’emikisa mingi?
18 Makko ne Timoseewo balina bye beefiiriza okusobola okuweereza abalala mu bujjuvu, era baafuna essanyu n’emikisa mingi. (Bik. 20:35) Makko yatambula mu bitundu by’ensi ebitali bimu ng’aweereza bakkiriza banne. Ate era yawandiika ekitabo ky’Enjiri ekikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe. Timoseewo yayambako Pawulo mu kutandikawo ebibiina era n’okuzzaamu ab’oluganda amaanyi. Yakuwa yalaba byonna Makko ne Timoseewo bye beefiiriza okusobola okumuweereza, era awatali kubuusabuusa yasanyuka nnyo.
19. Lwaki ab’oluganda abakyali abato basaanidde okukolera ku magezi Pawulo ge yawa Timoseewo, era biki ebijja okuvaamu?
19 Okwagala Pawulo kwe yalina eri Timoseewo kweyolekera mu bbaluwa ze yamuwandiikira. Ebbaluwa ezo ezaaluŋŋamizibwa era ziraga nti mmwe ab’oluganda abakyali abato Yakuwa abaagala nnyo. Ayagala mubeere basanyufu nga mumuweereza. N’olwekyo, mufube okukolera ku magezi Pawulo ge yawa muweereze abalala mu bujjuvu. Bwe mukola bwe mutyo, mujja kuba n’obulamu obulungi kati era mujja ‘kunyweza obulamu obwa nnamaddala,’ mu biseera eby’omu maaso.—1 Tim. 6:18, 19.
OLUYIMBA 80 “Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”
a Olw’okuba Peetero yali muntu ayoleka enneewulira, yali asobola okunnyonnyola obulungi Makko engeri Yesu gye yeewulirangamu n’ebintu bye yakolanga mu mbeera ezitali zimu. Ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki Makko yayogera nnyo ku ngeri Yesu gye yeewulirangamu era n’ebyo bye yakolanga.—Mak. 3:5; 7:34; 8:12.
b EBIFAANANYI: Makko aweereza Pawulo ne Balunabba nga bali ku lugendo lwabwe olw’obuminsani. Timoseewo akyalidde ekibiina okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi.