Yakuwa Awa Amaanyi Oyo Akooye
“[Yakuwa] awa amaanyi oyo akooye; era atalina maanyi amuwa amaanyi.”—ISAAYA 40:29, NW.
1. Waayo ekyokulabirako ku maanyi agali mu bintu Katonda bye yatonda.
AMAANYI ga Yakuwa tegaliiko kkomo. Ebintu bye yatonda nga birina amaanyi mangi nnyo! Atomu akatono ennyo—ekitundu kya buli kintu kyonna—katono nnyo ne kiba nti ettondo ly’amazzi lirimu obuwumbi n’obuwumbi bwa atomu.a Obulamu bwonna ku nsi bwesigamye ku maanyi ga atomu agava mu njuba. Naye amaanyi g’enjuba ageetaagisa okubeesaawo obulamu ku nsi mangi kwenkana wa? Ensi efuna akatundu katono nnyo ddala ak’amaanyi agava mu njuba. Wadde kiri kityo, “akatundu akatono ennyo ak’amaanyi g’Enjuba agajja ku Nsi . . . gasinga amaanyi gonna agakozesebwa mu makolero g’ensi yonna emirundi 100,000,” bw’atyo Fred Hoyle, omukugu mu kubala, bw’agamba mu kitabo kye Astronomy.
2. Okutwalira awamu, Isaaya 40:26 lwogera ki ku maanyi ga Yakuwa?
2 Ka tube nga tulowooza ku atomu oba nga tutunuulira obwengula obunene ennyo, tuwuniikirira olw’amaanyi ga Yakuwa amangi ennyo. Tekyewuunyisa nti yagamba: “Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw’ali, afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli: byonna abituuma amannya; olw’obukulu bw’obuyinza bwe [“bw’amaanyi ge,” NW], era kubanga wa maanyi mu kuyinza [“mangi,” NW] tewali na kimu ekibulako”! (Isaaya 40:26) Yee, Yakuwa “wa maanyi mangi,” era y’Ensibuko ya ‘amaanyi’ agabeesaawo obutonde bwonna.
Amaanyi Agasinga ku ga Bulijjo Geetaagisa
3, 4. (a) Bintu ki ebimu ebiyinza okutukooya? (b) Bibuuzo ki ebyetaaga okwekenneenyezebwa?
3 Wadde amaanyi ga Katonda tegaliiko kkomo, abantu bo bakoowa. Wonna we tugenda, tulaba abantu abakooye. Bazuukuka nga bakooye, bagenda ku mirimu oba ku ssomero nga bakooye, bakomawo awaka nga bakooye, era beebaka nga bakooyedde ddala. Abamu balowooza nti bandigenze mu kifo ekimu ne bawummula. Ng’abaweereza ba Yakuwa, naffe tukoowa, kubanga obulamu bwaffe obw’okwemalira ku Katonda butwetaagisa okufuba ennyo. (Makko 6:30, 31; Lukka 13:24; 1 Timoseewo 4:8) Era eriyo ebintu ebirala bingi ebitukooya.
4 Wadde tuli Bakristaayo, naffe twolekagana n’ebizibu ebituuka ku bantu okutwalira awamu. (Yobu 14:1) Obulwadde, okuddirira mu by’enfuna, oba ebizibu ebirala ebibaawo mu bulamu biyinza okutumalamu amaanyi. Okugatta ku kusoomooza kuno, kwe kugezesebwa okutuuka ku abo abayigganyizibwa olw’obutuukirivu. (2 Timoseewo 3:12; 1 Peetero 3:14) Olw’okunyigirizibwa buli lunaku okuva mu nsi n’okuziyizibwa kw’omulimu gwaffe ogw’okubuulira Obwakabaka, abamu ku ffe tuyinza okukoowa ennyo ne tuddirira mu buweereza bwa Yakuwa. Ate era, Setaani Omulyolyomi akozesa kyonna ky’alina okugezaako okutulemesa okukuuma obugolokofu bwaffe eri Katonda. Kati olwo, tuyinza tutya okufuna amaanyi ageetaagisa ag’eby’omwoyo tuleme okukoowa n’okubivaako?
5. Lwaki amaanyi agasinga ku g’obuntu geetaagibwa okutuukiriza obuweereza obw’Ekikristaayo?
5 Okusobola okubeera abanywevu mu by’omwoyo, tuteekwa okwesiga Yakuwa, Omutonzi ow’amaanyi amangi. Omutume Pawulo yagamba nti obuweereza bw’Ekikristaayo bwandyetaagisizza amaanyi agasinga ku g’abantu abatatuukiridde. Yawandiika: “Obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby’ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe.” (2 Abakkolinso 4:7) Abakristaayo abaafukibwako amafuta benyigira mu ‘buweereza obw’okutabaganya’ nga bayambibwako bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. (2 Abakkolinso 5:18; Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 7:9) Okuva ffe abantu abatatuukiridde bwe tukola omulimu gwa Katonda nga tuyigganyizibwa, tetuyinza kugukola mu maanyi gaffe. Yakuwa atuyamba okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, era bwe kityo obunafu bwaffe bwoleka amaanyi ge. Era nga tuddamu nnyo amaanyi bwe tumanya nti ‘Yakuwa ajja kuwagira abatuukirivu’!—Zabbuli 37:17.
‘Yakuwa Ge Maanyi Gaffe’
6. Ebyawandiikibwa bitukakasa bitya nti Yakuwa ye Nsibuko y’amaanyi gaffe?
6 Kitaffe ow’omu ggulu wa “maanyi mangi” era ayinza okutuzzaamu amaanyi. Mu butuufu tugambibwa: “[Yakuwa] awa amaanyi abazirika [“akooye,” NW]; n’oyo atalina buyinza [“maanyi,” NW] amwongerako amaanyi. Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n’abalenzi baligwira ddala: naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.” (Isaaya 40:29-31) Olw’okunyigirizibwa okugenda kweyongera, emirundi egimu tuyinza okuwulira ng’omuddusi akooye ng’amagulu ge tegakyasobola kudduka. Kyokka, enkomerero y’embiro zaffe ez’obulamu eri mu maaso awo, era tetuteekwa kulekulira. (2 Ebyomumirembe 29:11) Omulabe waffe, Omulyolyomi, atambulatambula “ng’empologoma ewuluguma,” era ayagala okutuziyiza. (1 Peetero 5:8) Tukijjukirenga nti ‘Yakuwa ge maanyi gaffe era engabo yaffe,’ era akoze enteekateeka nnyingi ‘ez’okuwa akooye amaanyi.’—Zabbuli 28:7.
7, 8. Bukakafu ki obuliwo nti Yakuwa yanyweza Dawudi, Kaabakuuku, ne Pawulo?
7 Yakuwa yawa Dawudi amaanyi ageetaagisa okusobola okwolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Ng’alina okukkiriza okujjuvu n’obwesige, Dawudi yawandiika: “Okuva eri Katonda tunaafuna amaanyi amangi, era ye kennyini anaalinnyiriranga abalabe baffe.” (Zabbuli 60:12, NW) Yakuwa era yawa Kaabakuuku amaanyi asobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga nnabbi. Kaabakuuku 3:19, (NW) lugamba: “Yakuwa Mukama Omuyinza w’Ebintu Byonna, ge maanyi gange; naye anaafuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo, era anaantambuliza ku bifo byange ebigulumivu.” Era ekirala eky’okwetegereza kye kyokulabirako kya Pawulo, eyawandiika: “Nnyinzizza byonna mu [Katonda] ampa amaanyi.”—Abafiripi 4:13.
8 Okufaananako Dawudi, Kaabakuuku, ne Pawulo, tusaanidde okwesiga obusobozi bwa Katonda okutunyweza era n’amaanyi ge okutuwonya. Nga tumanyi nti Mukama Afuga Byonna Yakuwa ye Nsibuko ya ‘amaanyi,’ kati ka twekenneenye engeri ezimu ez’okufuna amaanyi mu by’omwoyo okuva mu nteekateeka Katonda z’atukolera mu bungi.
Enteekateeka z’Eby’Omwoyo ez’Okutuzzaamu Amaanyi
9. Ebitabo eby’Ekikristaayo birina kifo ki mu kutuliisa?
9 Okunyiikira okuyiga Ebyawandiikibwa awamu n’obuyambi bw’ebitabo by’Ekikristaayo kiyinza okutuzzaamu amaanyi n’okutuwanirira. Omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Alina omukisa [“essanyu,” NW] omuntu . . . [asanyukira] amateeka ga Mukama; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro. Naye alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi, ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, era amalagala gaagwo tegawotoka; na buli ky’akola, akiweerwako omukisa.” (Zabbuli 1:1-3) Nga bwe tulina okulya okusobola okufuna amaanyi mu mubiri, tuteekwa okulya emmere ey’eby’omwoyo etuweebwa Katonda okuyitira mu Kigambo kye n’ebitabo eby’Ekikristaayo okusobola okubeera abanywevu mu by’omwoyo. N’olwekyo, okuyiga okw’amakulu n’okufumiitiriza byetaagisa.
10. Ddi lwe tuyinza okufuna ekiseera okuyiga n’okufumiitiriza?
10 Mazima ddala, kiganyula okufumiitiriza ku “bintu bya Katonda eby’omunda.” (1 Abakkolinso 2:10, NW) Naye ddi lwe tuyinza okufuna ebiseera okufumiitiriza? Omwana wa Ibulayimu Isaaka ‘yali atambulatambula mu nnimiro akawungeezi okufumiitiriza.’ (Olubereberye 24:63-67) Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli ‘yafumiitiriza ku Katonda ekiro.’ (Zabbuli 63:6) Tuyinza okuyiga Ekigambo kya Katonda ne tukifumiitirizaako ku makya, akawungeezi, ekiro—mazima ddala ekiseera kyonna. Okuyiga ng’okwo n’okufumiitiriza bituusa ku nteekateeka ya Yakuwa endala ey’okutunyweza mu by’omwoyo—okusaba.
11. Lwaki twanditutte okusaba obutayosa ng’ekintu ekikulu ennyo?
11 Okusaba Katonda obutayosa kiyamba okutuzzaamu amaanyi. N’olwekyo, ka ‘tunyiikirire okusaba.’ (Abaruumi 12:12) Emirundi egimu, twetaaga okusaba amagezi n’amaanyi ageetaagisa okwaŋŋanga okugezesebwa. (Yakobo 1:5-8) Ka twebaze era tutendereze Katonda nga tulaba okutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye oba bwe tulaba nti atuzizzaamu amaanyi okweyongera mu maaso mu buweereza bwe. (Abafiripi 4:6, 7) Bwe tusigala nga tuli kumpi ne Yakuwa mu kusaba, tagenda kutwabulira. “Laba,” bw’atyo Dawudi bwe yayimba, “Katonda ye mubeezi wange.”—Zabbuli 54:4.
12. Lwaki twandisabye Katonda okutuwa omwoyo gwe omutukuvu?
12 Kitaffe ow’omu ggulu atuzzaamu amaanyi era n’atunyweza okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, oba amaanyi ge agakola. Pawulo yawandiika: “Nfukaamirira Kitaffe . . . abawe mmwe, ng’obugagga bw’ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n’amaanyi mu mwoyo gwe mu muntu ow’omunda.” (Abaefeso 3:14-16) Tusaanidde okusaba omwoyo omutukuvu, nga tuli bagumu nti Yakuwa ajja kugutuwa. Yesu yagamba: Singa omwana asaba ekyennyanja, taata ow’okwagala anaamuwa musota? Kya lwatu nedda. Bwe kityo, yawunzika bw’ati: “Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o]mwoyo [o]mutukuvu abamusaba.” (Lukka 11:11-13) Ka tusabe nga tulina obugumu ng’obwo era bulijjo tujjukire nti abaweereza ba Katonda abeesigwa bayinza ‘okufuuka ab’amaanyi’ okuyitira mu mwoyo gwe.
Ekibiina Kizzaamu Amaanyi
13. Twanditutte tutya enkuŋŋaana z’Ekikristaayo?
13 Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu nkuŋŋaana z’ekibiina Ekikristaayo. Yesu yagamba: “We baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.” (Matayo 18:20) Yesu bwe yasuubiza bw’atyo, yali ayogera ku nsonga ezaali zeetaaga okukolebwako abo abatwala obukulembeze mu kibiina. (Matayo 18:15-19) Kyokka, ebigambo bye bikwata ne ku nkuŋŋaana zaffe zonna ez’ekibiina, n’enkuŋŋaana ennene, eziggulwawo era ne ziggalwawo n’okusaba mu linnya lye. (Yokaana 14:14) N’olwekyo, eba nkizo okubeerawo mu nkuŋŋaana ng’ezo ez’Ekikristaayo, ka wabe nga waliwo abantu batono oba nkumi na nkumi. N’olwekyo, ka tusiime emikolo gino egitegekebwa okutuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo era egitukubiriza okwagalana n’okwoleka ebikolwa ebirungi.—Abaebbulaniya 10:24, 25.
14. Miganyulo ki gye tufuna mu kufuba kw’abakadde Abakristaayo?
14 Abakadde Abakristaayo bawa obuyambi bw’eby’omwoyo era ne bazzaamu abalala amaanyi. (1 Peetero 5:2, 3) Pawulo yayamba era n’azzaamu amaanyi ebibiina bye yaweereza, ng’abalabirizi abatambula bwe bakola leero. Mu butuufu, yayagala nnyo okubeera ne bakkiriza banne basobole okuziŋŋanamu amaanyi. (Ebikolwa 14:19-22; Abaruumi 1:11, 12) Ka buli kiseera tusiime abakadde b’omu kitundu kyaffe n’abalabirizi abalala Abakristaayo, abafuba ennyo okutunyweza mu by’omwoyo.
15. Bakkiriza bannaffe mu kibiina bayinza batya ‘okutuzzaamu amaanyi’?
15 Bakkiriza bannaffe abali mu kibiina bayinza ‘okutuzzaamu amaanyi.’ (Abakkolosaayi 4:10, 11, NW) Nga ‘ab’emikwano aba nnamaddala’ bayinza okutuyamba mu biseera eby’obuyinike. (Engero 17:17, NW) Ng’ekyokulabirako, abaweereza ba Katonda 220 bwe baggibwa mu nkambi y’abasibe ey’e Sachsenhausen eyali ekuumibwa Abanazi mu 1945, baalina okutambula olugendo lwa mayiro 120. Baatambulira mu kibinja, era ab’amaanyi baasikanga abanafu mu bigaali ebitono bye baalina. Kiki ekyavaamu? Mu lugendo olwafiiramu abantu abaava mu nkambi abasukka mu 10,000, tewali n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa eyafa. Ebintu ng’ebyo ebyaliwo ebisangibwa mu bitabo bya Watch Tower, nga mw’otwalidde ne Yearbook of Jehovah’s Witnesses ne Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, bikakasa nti Katonda awa abantu be amaanyi, ne batalekulira.—Abaggalatiya 6:9.b
Tunywezebwa Obuweereza Bwaffe obw’Omu Nnimiro
16. Okwenyigira mu buweereza obutayosa kitunyweza kitya mu by’omwoyo?
16 Obutayosa kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka kitunyweza mu by’omwoyo. Omulimu ng’ogwo gutuyamba okwemalira ku Bwakabaka bwa Katonda era n’okulowooza ku biseera eby’olubeerera eby’omu maaso n’emikisa egiribibeeramu. (Yuda 20, 21) Ebisuubizo eby’omu Byawandiikibwa bye twogerako mu buweereza bwaffe bituwa essuubi era biyinza okutufuula abamalirivu nga nnabbi Mikka, eyagamba: “Naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.”—Mikka 4:5.
17. Magezi ki agaweebwa ku bikwata ku kuyigiriza Baibuli awaka?
17 Enkolagana yaffe ne Yakuwa enywezebwa nga tweyongera okukozesa Ebyawandiikibwa mu kuyigiriza abalala. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tuyigiriza abalala Baibuli nga tweyambisa ekitabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, kiba kya magezi okusoma n’okukubaganya ebirowoozo ku byawandiikibwa ebiwera ebiweereddwa. Kino kiyamba abayizi era naffe kituyamba okweyongera okutegeera eby’eby’omwoyo. Singa omuyizi afuna obuzibu okutegeera enjigiriza y’omu Baibuli oba ekyokulabirako, emirundi egisukka mu gumu giyinza okukozesebwa okusoma essuula emu mu kitabo Okumanya. Nga tuli basanyufu nnyo okutegeka obulungi era n’okufuba mu ngeri esingawo okuyamba abalala okusemberera Katonda!
18. Laga engeri ekitabo Okumanya gye kikozesebwa obulungi.
18 Buli mwaka, ekitabo Okumanya kikozesebwa bulungi okuyamba enkumi n’enkumi okufuuka abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo, era kino kitwaliramu bangi abatamanyiko n’akamu ku Baibuli. Ng’ekyokulabirako, bwe yali akyali mwana muto, omusajja Omuhindu mu SriLanka yawulira mwannyinaffe Omujulirwa ng’ayogera ku Lusuku lwa Katonda. Nga wayiseewo emyaka, omuvubuka yamutuukirira, era mangu ddala mwami we yatandika okuyiga naye Baibuli. Mu butuufu, omuvubuka yajjanga okuyiga buli lunaku, era ekitabo Okumanya baakimalako mu kiseera kitono nnyo. Yatandika okugenda mu nkuŋŋaana zonna, n’ava mu ddiini gye yalimu, era n’afuuka omubuulizi w’Obwakabaka. We yabatirizibwa, yali yatandika dda okuyigiriza Baibuli omuntu gwe yali amanyi.
19. Bwe tusooka okunoonya Obwakabaka, tuyinza kuba bakakafu ku ki?
19 Okusooka okunoonya Obwakabaka kituleetera essanyu era kituzzaamu amaanyi. (Matayo 6:33) Wadde twolekagana n’okugezesebwa okutali kumu, tweyongera mu maaso okubuulira amawulire amalungi n’essanyu era n’obunyiikivu. (Tito 2:14) Bangi ku ffe tutuukiriza ebyetaagisa okubeera bapayoniya ab’ekiseera kyonna, era abamu baweereza awali obwetaavu obusingawo. Ka tube nga tutumbula ebiruubirirwa by’Obwakabaka mu ngeri eno oba mu ngeri endala, tuli bagumu nti Yakuwa tajja kwerabira mulimu gwaffe n’okwagala bye tulaga eri erinnya lye.—Abaebbulaniya 6:10-12.
Weeyongere mu Maaso mu Maanyi ga Yakuwa
20. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa okutuwa amaanyi?
20 Mu buli ngeri yonna, ka tulage nti tutadde obwesige mu Yakuwa era nga tumwesiga okutuwa amaanyi. Tuyinza okukola ekyo nga tukozesa mu bujjuvu enteekateeka ez’eby’omwoyo zatukolera okuyitira mu ‘muddu omwesigwa.’ (Matayo 24:45) Okusoma Ekigambo kya Katonda nga tuli ffekka oba awamu n’ekibiina nga tweyambisa ebitabo by’Ekikristaayo, okusaba okuva mu mutima, obuyambi bw’eby’omwoyo okuva eri abakadde, ebyokulabirako ebirungi ebya bakkiriza banaffe abeesigwa, era n’obutayosa kwenyigira mu buweereza ze zimu ku nteekateeka ezinyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era ezituzzaamu amaanyi okweyongera mu maaso mu buweereza bwe obutukuvu.
21. Abatume Peetero ne Pawulo baalaga batya obwetaavu obw’amaanyi agava eri Katonda?
21 Wadde nga tulina obunafu mu mubiri, Yakuwa ajja kutunyweza okukola ky’ayagala singa tumwesiga okufuna obuyambi. Ng’amanyi obwetaavu bw’obuyambi ng’obwo, omutume Peetero yawandiika: “Omuntu yenna bw’aweerezanga, aweerezenga ng’amaanyi Katonda g’amuwa bwe gali.” (1 Peetero 4:11) Era Pawulo yalaga nti yeesiga amaanyi agava eri Katonda bwe yagamba: “Kyenva nsanyukira eby’obunafu, okugirirwanga ekyejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow’amaanyi.” (2 Abakkolinso 12:10) Ka twoleke obumalirivu bwe bumu era tuleetere ekitiibwa Mukama Omuyinza w’Ebintu Byonna Yakuwa, awa amaanyi oyo akooye.—Isaaya 12:2.
[Obugambo obuli wansi]
a Byakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.
b Omuwendo guno, okusinziira ku nkola ya Amereka ey’okubala, guli namba 1 ng’egobererwa zero 20.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki abantu ba Yakuwa beetaaga amaanyi agasinga ku ga bulijjo?
• Bukakafu ki okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti Katonda awa abaweereza be amaanyi?
• Nteekateeka ki ezimu ez’eby’omwoyo Yakuwa z’atukoledde okutuzzaamu amaanyi?
• Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Katonda okutuwa amaanyi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Enkolagana yaffe ne Yakuwa enywezebwa
nga tukozesa Baibuli okuyigiriza abalala