‘Awa Amaanyi Abakooye’
1 Oluusi n’oluusi ffenna tukoowa. Kino kiyinza obutava ku mirimu gye tukola gyokka naye era ne ku bizibu bye twolekagana nabyo mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku.’ (2 Tim. 3:1) Ng’abaweereza ba Yakuwa, tuyinza tutya okufuna amaanyi ag’eby’omwoyo aganaatusobozesa obutaddirira mu buweereza bwaffe? Tusobola okugafuna bwe twesigama ku oyo alina ‘amaanyi amangi ennyo,’ Yakuwa. (Is. 40:26) Amanyi bulungi ebyetaago byaffe era ayagalira ddala okutuyamba.—1 Peet. 5:7.
2 Enteekateeka Yakuwa z’Ataddewo Okutuyamba: Yakuwa atuwa amaanyi okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, nga gano ge maanyi amangi ennyo ge yakozesa okutonda ebintu byonna. Omwoyo gwa Katonda gutuyamba ‘okuddamu obuggya amaanyi’ bwe tuba nga tukooye. (Is. 40:31) Weebuuze, ‘Ddi lwe nnasembayo okusaba Yakuwa ampe omwoyo gwe omutukuvu gunnyambe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange obw’Ekikristaayo?’—Luk. 11:11-13.
3 Bwe tweriisa mu by’omwoyo obutayosa nga tusoma era nga tufumiitiriza buli lunaku ku Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa awamu n’ebitabo by’omuddu omwesigwa, tujja kuba “ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi.”—Zab. 1:2, 3.
4 Yakuwa era akozesa bakkiriza bannaffe ‘okutuzzaamu amaanyi.’ (Bak. 4:10, 11, NW) Bwe tuba tugenze mu nkuŋŋaana z’ekibiina, tuzzibwamu amaanyi okuyitira mu ebyo bye batunyumiza, mu ebyo bye baddamu, ne mu mboozi ze bawa. (Bik. 15:32) N’okusingira ddala, abakadde mu kibiina batuzzaamu nnyo amaanyi mu by’omwoyo.—Is. 32:1, 2.
5 Obuweereza: Singa owulira nti otandise okuggwamu amaanyi, tolekera awo kubuulira! Obutafaananako mirimu mirala gye tukola, okwenyigira obutayosa mu buweereza kituzzaamu nnyo amaanyi. (Mat. 11:28-30) Okubuulira abalala amawulire amalungi kituyamba okuteeka ebirowoozo byaffe ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku ssuubi ery’ekitalo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.
6 Tulina bingi eby’okukola ng’enteekateeka y’ebintu eno embi tennazikirizibwa. Tulina ensonga nnyingi ezituleetera okweyongera okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe, ‘nga twesigama ku maanyi Katonda g’atuwa.’ (1 Peet. 4:11) N’obuyambi bwa Yakuwa, tujja kumaliriza omulimu gwaffe, kubanga ‘awa amaanyi abakooye.’—Is. 40:29.