“Munoonye Yakuwa n’Amaanyi Ge”
“Ku bikwata ku Yakuwa, amaaso ge gatambulatambula mu nsi yonna okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.”—2 EBYOMUMIREMBE 16:9, NW.
1. Amaanyi kye ki, era abantu bagakozesezza batya?
AMAANYI gayinza okutegeeza ebintu ebitali bimu, gamba ng’okubeera n’obuyinza, oba obuyinza ku balala; obusobozi bw’okubaako ky’okola oba okusobozesa ekintu okubaawo; amaanyi mu mubiri; obusobozi bw’okukola ekirungi. Abantu tebakoze linnya ddungi ku bikwata ku kukozesa amaanyi. Munnabyafaayo Lord Acton, ng’ayogera ku maanyi bannabyabufuzi ge babeera nago, yagamba: “Amaanyi goonoona ate amaanyi amangi ennyo goonoonera ddala.” Ebyafaayo mu kiseera kyaffe bijjudde ebyokulabirako ebiraga nti Lord Acton kye yayogera kya mazima. Mu kyasa 20, ‘omuntu alumizza muntu munne’ okusinga bwe kyali kibadde. (Omubuulizi 8:9, NW) Bannakyemalira bakozesezza bubi nnyo amaanyi gaabwe era basse obukadde n’obukadde bw’abantu. Amaanyi agatakozesebwa na kwagala, magezi, era n’obwenkanya gaba ga kabi nnyo.
2. Nnyonnyola mu ngeri ki engeri za Katonda endala gye zikwata ku ngeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge.
2 Obutafaanana bantu bangi, Katonda bulijjo akozesa amaanyi ge okuganyula abalala. “Ku bikwata ku Yakuwa, amaaso ge gatambulatambula mu nsi yonna okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Ebyomumirembe 16:9, NW) Yakuwa akozesa amaanyi ge mu ngeri entuufu. Olw’obugumiikiriza, Katonda akyalese okuzikiriza ababi abawe omukisa beenenye. Okwagala kumuleetera okuleka enjuba okwakira abantu aba buli kika—abatuukirivu n’abatali batuukirivu. Mu nkomerero, obwenkanya bujja kumuleetera okukozesa amaanyi ge agataliiko kkomo okuzikiriza oyo atta, Setaani Omulyolyomi.—Matayo 5:44, 45; Abaebbulaniya 2:14; 2 Peetero 3:9.
3. Lwaki amaanyi ga Katonda amangi ennyo nsonga etuleetera okumwesiga?
3 Amaanyi amangi ennyo Kitaffe ow’omu ggulu galina gatuleetera okubeera n’obwesige—mu bisuubizo bye ne mu bukuumi bwe. Omwana omuto awulira ng’alina obukuumi mu bantu b’atamanyi bw’akwata omukono gwa kitaawe, olw’okuba amanyi nti kitaawe tajja kuleka kabi konna kumutuukako. Mu ngeri y’emu, Kitaffe ow’omu ggulu, ‘alina amaanyi amangi okulokola,’ ajja kutukuuma eri akabi konna ak’olubeerera singa tutambula naye. (Isaaya 63:1; Mikka 6:8) Era nga Taata omulungi, Yakuwa bulijjo atuukiriza ebisuubizo bye. Amaanyi ge agataliiko kkomo gatukakasa nti ‘ekigambo kye kirituukiriza ekyo kye yakitumirira.’—Isaaya 55:11; Tito 1:2.
4, 5. (a) Kiki ekyavaamu Kabaka Asa bwe yeesiga Yakuwa mu bujjuvu? (b) Kiki ekiyinza okubaawo singa twesiga abantu okugonjoola ebizibu byaffe?
4 Lwaki kikulu nnyo ffe okwesiganga obukuumi bwa Kitaffe ow’omu ggulu? Kubanga tuyinza okutendewererwa olw’embeera ne twerabira obukuumi bwaffe obwa nnamaddala gye buli. Kino kirabikira mu kyokulabirako kya Kabaka Asa, omusajja eyeesiganga Yakuwa. Mu bufuzi bwa Asa, eggye ly’Abesiyopiya eryalimu abaserikale akakadde kamu lyalumba Yuda. Ng’akitegedde nti abalabe be baali bamusinga amaanyi, Asa yasaba: “Mukama, tewali muyambi akwenkana ggwe wakati w’abalina (abalwanyi) abangi, n’abo abatalina maanyi: tuyambe, ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga.” (2 Ebyomumirembe 14:11) Yakuwa yaddamu okusaba kwa Asa n’amuwa obuwanguzi.
5 Kyokka, oluvannyuma lw’okuweereza emyaka mingi n’obwesigwa, obwesige Asa bwe yalina mu maanyi ga Yakuwa ag’obulokozi bwakendeera. Okusobola okuziyiza okulumbibwa obwakabaka bwa Isiraeri obw’omu bukiika kkono, yasaba Busuuli obuyambi. (2 Ebyomumirembe 16:1-3) Wadde enguzi gye yawa Benikadadi Kabaka wa Busuuli yamalawo obweraliikirivu Yuda bwe yalina obw’okulumbibwa Isiraeri, endagaano Asa gye yakola ne Busuuli yalaga nti teyalina bwesige mu Yakuwa. Nnabbi Kanani yamubuuza: “Abaesiyopiya n’Abalubimu tebaali ggye ddene kitalo, nga balina amagaali n’abeebagala embalaasi bangi nnyo nnyini? [N]aye kubanga weesiga Mukama, yabagabula mu mukono gwo.” (2 Ebyomumirembe 16:7, 8) Wadde kyali kityo, Asa yagaana okubuulirira kuno. (2 Ebyomumirembe 16:9-12) Nga twolekaganye n’ebizibu, tuleme kwesiga bantu. Mu kifo ky’ekyo, twesigenga Katonda, kubanga okwesiga amaanyi g’abantu tekijja kuvaamu ekyo kye tusuubira.—Zabbuli 146:3-5.
Noonya Amaanyi Yakuwa g’Agaba
6. Lwaki ‘twandinoonyezza Yakuwa n’amaanyi ge’?
6 Yakuwa asobola okuwa abaweereza be amaanyi awamu n’okubakuuma. Baibuli etukubiriza ‘okunoonyanga Yakuwa n’amaanyi ge.’ (Zabbuli 105:4) Lwaki? Kubanga bwe tukola ebintu mu maanyi ga Katonda, amaanyi gaffe gajja kukozesebwa okuganyula abalala, so si okubalumya. Tewaliwo kyakulabirako kirungi kisinga kya Yesu Kristo, eyakola eby’amagero bingi ‘mu maanyi ga Yakuwa.’ (Lukka 5:17) Yesu yandisobodde okwemalira ku kufuuka nnagagga, omuntu omututumufu, oba kabaka ow’amaanyi ennyo. (Lukka 4:5-7) Mu kifo ky’ekyo, yakozesa amaanyi Katonda ge yamuwa okutendeka, okuyigiriza, okuyamba era n’okuwonya. (Makko 7:37; Yokaana 7:46) Nga kyakulabirako kirungi nnyo gye tuli!
7. Ngeri ki enkulu gye tukulaakulanya bwe tukola ebintu mu maanyi ga Katonda mu kifo ky’okwesiga obusobozi bwaffe?
7 Ate era, bwe tukola ebintu mu ‘maanyi Katonda g’agaba,’ kituyamba okubeera abeetoowaze. (1 Peetero 4:11) Abantu abaluubirira okuba ab’amaanyi bafuuka ba malala. Ekyokulabirako ye Esaludooni Kabaka wa Bwasuli eyagamba: “Ndi wa maanyi, nze nsinga amaanyi, ndi wa kitalo, ndi wa buyinza.” Okwawukana ku ekyo, Yakuwa “yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ensonyi eby’amaanyi.” Bwe kityo, Omukristaayo ow’amazima bwe yeenyumiriza, yeenyumiririza mu Yakuwa, kubanga amanyi nti ky’akoze aba takikoze mu maanyi ge. ‘Okwewombeeka wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi’ kijja kuleeta okugulumizibwa okwa nnamaddala.—1 Abakkolinso 1:26-31; 1 Peetero 5:6.
8. Ekisooka kye tulina okukola okufuna amaanyi ga Yakuwa kye kiruwa?
8 Tuyinza tutya okufuna amaanyi ga Katonda? Okusooka, tulina okugasaba. Yesu yakakasa abayigirizwa be nti Kitaawe yandiwadde omwoyo omutukuvu abo abagusaba. (Lukka 11:10-13) Lowooza ku ngeri kino gye kyawaamu abayigirizwa ba Kristo amaanyi bwe baalondawo okugondera Katonda okusinga abakulembeze b’eddiini abaali babalagidde okulekera awo okuwa obujulirwa ku Yesu. Bwe baasaba Yakuwa okubayamba, okusaba kwabwe okw’obwesimbu kwaddibwamu, era omwoyo omutukuvu gwabawa amaanyi okweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obuvumu.—Ebikolwa 4:19, 20, 29-31, 33.
9. Menya engeri ey’okubiri etusobozesa okufuna amaanyi ag’eby’omwoyo, era waayo ekyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa okukakasa ekyo.
9 Eky’okubiri, tuyinza okufuna amaanyi ag’eby’omwoyo okuva mu Baibuli. (Abaebbulaniya 4:12) Amaanyi g’ekigambo kya Katonda geeyoleka mu nnaku za Kabaka Yosiya. Wadde kabaka wa Yuda ono yali yaggya dda ebifaananyi eby’ekikaafiiri mu nsi eyo, Amateeka ga Yakuwa bwe gaazuulibwa mu yeekaalu, yayongera amaanyi mu nteekateeka eyo ey’okulongoosa.a Yosiya kennyini bwe yamala okusomera abantu Amateeka, eggwanga lyonna lyakola endagaano ne Yakuwa, era kaweefube ow’okubiri ow’amaanyi ennyo, ow’okumalawo okusinza ebifaananyi, yakolebwa. Ebirungi ebyava mu kulongoosa kwa Yosiya byali nti ‘ennaku ze zonna tebaalekayo kugoberera Yakuwa.’—2 Ebyomumirembe 34:33.
10. Engeri ey’okusatu ey’okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa y’eruwa, era lwaki nkulu nnyo?
10 Eky’okusatu, tufuna amaanyi okuva eri Yakuwa okuyitira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Pawulo yakubiriza Abakristaayo okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa basobole ‘okukubirizigana okwagala n’ebikolwa ebirungi’ era n’okuziŋŋanamu amaanyi. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Peetero bwe yasumululwa mu kkomera mu ngeri y’ekyamagero, yayagala okubeera ne baganda be, n’olwekyo yagenda butereevu mu nnyumba ya maama wa Yokaana Makko, awali ‘wakuŋŋaanidde abantu nga basaba.’ (Ebikolwa 12:12) Kya lwatu bonna bandisobodde okusigala eka ne basaba. Naye baasalawo okukuŋŋaana awamu okusaba n’okuziŋŋanamu amaanyi mu kiseera ekyo ekizibu. Ku nkomerero y’olugendo lwa Pawulo olw’e Rooma, yasisinkana ab’oluganda mu Putiyooli ate oluvannyuma n’abalala abajja okumusisinkana. Yawulira atya? “Bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n’aguma omwoyo.” (Ebikolwa 28:13-15) Yaddamu amaanyi olw’okubeera ne Bakristaayo banne nate. Naffe tufuna amaanyi bwe tukuŋŋaana ne Bakristaayo bannaffe. Nga tukyalina eddembe era nga tusobola okukuŋŋaana awamu, tetuteekwa kutambula ffekka mu kkubo effunda erituusa mu bulamu obutaggwaawo.—Engero 18:1; Matthew 7:14.
11. Menya embeera ezimu ‘amaanyi agasingawo ku ga bulijjo’ mwe geetaagibwa ennyo.
11 Okuyitira mu kusaba obutayosa, okusoma Ekigambo kya Katonda, n’okukuŋŋaana ne bakkiriza bannaffe, ‘tweyongera okufuna amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza bw’amaanyi ge.’ (Abaefeso 6:10) Awatali kubuusabuusa ffenna twetaaga ‘amaanyi mu Mukama waffe.’ Abamu babonaabona olw’obulwadde, abalala olw’ebizibu ebireetebwa obukadde oba olw’okufiirwa munnaabwe mu bufumbo. (Zabbuli 41:3) Abalala bagumiikiriza okuziyizibwa munnaabwe mu bufumbo atali mukkiriza. Abazadde, naddala abazadde abali obwannamunigina, bayinza okukisanga nti okukola omulimu ogw’ekiseera kyonna ng’eno bwe balabirira amaka gaabwe buvunaanyizibwa obukooya ennyo. Abakristaayo abato beetaaga amaanyi okwaŋŋanga okupikirizibwa bannaabwe, okugaana okwekamirira amalagala n’okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu. Tewali n’omu yanditidde kusaba Yakuwa ‘amaanyi agasingawo ku ga bulijjo’ okusobola okwaŋŋanga okusoomooza ng’okwo.—2 Abakkolinso 4:7, NW.
“Awa Amaanyi Abakooye”
12. Yakuwa atuwanirira atya mu buweereza obw’Ekikristaayo?
12 Ate era, Yakuwa awa abaweereza be amaanyi nga beenyigira mu buweereza. Tusoma tuti mu bunnabbi bwa Isaaya: “Awa amaanyi abazirika [“abakooye,” NW]; n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. . . . Abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n’ebiwawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.” (Isaaya 40:29-31) Omutume Pawulo yafuna amaanyi okutuukiriza obuweereza bwe. N’ekyavaamu, obuweereza bwe bwavaamu ebibala. Eri Abakristaayo mu Ssessaloniika, yawandiika bw’ati: “Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu mwoyo omutukuvu.” (1 Abasessaloniika 1:5) Okubuulira kwe n’okuyigiriza kwe byali bisobola okuleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bw’abo abaamuwuliriza.
13. Kiki ekyanyweza Yeremiya n’ataggwaamu maanyi wadde ng’aziyizibwa?
13 Bwe twolekagana n’omwoyo gw’obuteefiirayo mu kitundu kye tubuuliramu—ekitundu kye tuyinza okuba nga tubuuliddemu enfunda n’enfunda okumala emyaka ate nga tufuna ebibala bitono—tuyinza okuggwaamu amaanyi. Mu ngeri y’emu Yeremiya yaggwaamu amaanyi olw’okuziyizibwa, okusekererwa, n’obuteefiirayo bye yayolekagana nabyo. ‘Sigenda kwogera ku Katonda, era sijja kuddamu kwogera mu linnya lye,’ bw’atyo bwe yagamba. Naye yali tayinza kusirika. Obubaka bwe ‘bwalinga omuliro ogubuubuuka ogusibiddwa mu magumba ge.’ (Yeremiya 20:9) Kiki ekyamuzzaamu amaanyi ng’ayolekaganye n’obuzibu obw’amaanyi ennyo bwe butyo? ‘Yakuwa yali nange ng’ow’amaanyi,’ bw’atyo Yeremiya bwe yagamba. (Yeremiya 20:11) Yeremiya okusiima obukulu bw’obubaka bwe era n’omulimu ogwamuweebwa Katonda byamuleetera okunywera nga Yakuwa amuzizzaamu amaanyi.
Amaanyi Agalumya n’Amaanyi Agawonya
14. (a) Olulimi lwa maanyi kwenkana wa? (b) Waayo ebyokulabirako ebiraga akabi akayinza okukolebwa olulimi.
14 Amaanyi gonna ge tulina tegava buteerevu eri Katonda. Ng’ekyokulabirako, olulimi lutono nnyo naye lulina amaanyi okulumya n’okuwonya. “Okufa n’obulamu biba mu buyinza bw’olulimi,” bw’atyo Sulemaani bw’alabula. (Engero 18:21) Ebyava mu mboozi ennyimpimpi eyali wakati wa Setaani ne Kaawa biraga akabi ak’amaanyi akayinza okuleetebwa ebigambo. (Olubereberye 3:1-5; Yakobo 3:5) Naffe tuyinza okukola akabi ka maanyi n’olulimi. Okwogera ebigambo ebifeebya ku bunene bw’omuwala omuto kiyinza okumuleetera obutaagala kulya. Okulaalaasa eby’obulimba kiyinza okwonoona omukwano ogumaze ekiseera ekiwanvu. Yee, olulimi lwetaaga okufugibwa.
15. Tuyinza tutya okukozesa olulimi lwaffe okuzimba era n’okuwonya?
15 Kyokka, olulimi luyinza okuzimba awamu n’okulumya. Olugero olw’edda lugamba: “Wabaawo ayogera ng’ayanguyiriza ng’okufumita okw’ekitala: naye olulimi lw’ab’amagezi kwe kulaama [“kuwonya,” NW].” (Engero 12:18) Abakristaayo ab’amagezi bakozesa olulimi okubudaabuda abennyamivu n’abakungubaga. Ebigambo eby’ekisa biyinza okuzzaamu amaanyi abatiini abalwanyisa okupikirizibwa bannaabwe. Olulimi olufaayo ku balala luyinza okukakasa baganda baffe ne bannyinaffe bannamukadde nti bakyetaagibwa era baagalibwa. Ebigambo eby’ekisa biyinza okuzzaamu amaanyi abalwadde. Okusinga byonna, tuyinza okukozesa olulimi lwaffe okubuulira obubaka bw’Obwakabaka obw’amaanyi eri bonna abanaawuliriza. Tuba tusobola okulangirira Ekigambo kya Katonda singa omutima gwaffe gukyemalirako. Baibuli egamba: “Tommanga birungi abo abagwanira, bwe [kiba] mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.”—Engero 3:27.
Enkozesa Entuufu ey’Amaanyi
16, 17. Nga bakozesa obuyinza obwabaweebwa Katonda, abakadde, abazadde, abaami, n’abakyala bayinza batya okukoppa Yakuwa?
16 Wadde ye muyinza w’ebintu byonna, Yakuwa afuga ekibiina n’okwagala. (1 Yokaana 4:8) Nga bamukoppa, abalabirizi Abakristaayo balabirira ekisibo kya Katonda mu ngeri ey’okwagala—nga tebakozesa bubi buyinza bwabwe. Kituufu nti abalabirizi emirundi egimu beetaaga ‘okukangavvula, okunenya, n’okubuulirira’ naye bakikola ‘n’okugumiikiriza kwonna n’okuyigiriza.’ (2 Timoseewo 4:2) N’olwekyo, abakadde bafumiitiriza buli kiseera ku bigambo omutume Peetero bye yawandiikira abo abalina obuyinza mu kibiina: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw’ayagala; so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo; so si ng’abeefuula abaami b’ebyo bye mwateresebwa, naye nga mubeeranga byakulabirako eri ekisibo.”—1 Peetero 5:2, 3; 1 Abasessaloniika 2:7, 8.
17 Abazadde n’abaami nabo balina obuyinza obwabaweebwa Yakuwa, era obuyinza obwo basaanidde okubukozesa okuyamba, okuzimba, n’okwagala. (Abaefeso 5:22, 28-30; 6:4) Ekyokulabirako kya Yesu kiraga nti obuyinza busobola okukozesebwa obulungi mu ngeri ey’okwagala. Okukangavvula bwe kuweebwa mu ngeri etegudde lubege era nga kusaanira, abaana tebaggwaamu maanyi. (Abakkolosaayi 3:21) Obufumbo bunywera abaami Abakristaayo bwe bakozesa ekifo kyabwe eky’obukulembeze mu ngeri ey’okwagala, era abakyala ne bassa ekitiibwa mu baami baabwe mu kifo ky’okusukka obuyinza obwabaweebwa Katonda oba okwekolera ebintu nga bo bwe baagala.—Abaefeso 5:28, 33; 1 Peetero 3:7.
18. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa mu kufuga obusungu? (b) Abo abalina obuyinza bandigezezzaako kukubiriza ki abo be bavunaanyizibwako?
18 Abo abalina obuyinza mu maka ne mu kibiina basaanidde okwegendereza ennyo ne bafuga obusungu bwabwe, okuva obusungu bwe buleeta okutya mu kifo ky’okwagala. Nnabbi Nakkumu yagamba: “Yakuwa alwawo okusunguwala era alina amaanyi mangi.” (Nakkumu 1:3, NW; Abakkolosaayi 3:19) Okufuga obusungu bwaffe kabonero akooleka amaanyi, so ng’ate okwoleka obusungu kiraga bunafu. (Engero 16:32) Mu maka ne mu kibiina, ekiruubirirwa kiri okukubiriza okwagala—okwagala Yakuwa, okwagalana ffekka na ffekka, era n’okwagala emisingi emituufu. Okwagala kwe kusinga okunyweza era kwe kusinga okukubiriza okukola ekituufu.—1 Abakkolinso 13:8, 13; Abakkolosaayi 3:14.
19. Yakuwa atukakasa atya, era twandyanukudde tutya?
19 Okumanya Yakuwa kwe kutegeera amaanyi ge. Okuyitira mu Isaaya, Yakuwa yagamba: “Tonnamanya? [T]onnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w’enkomerero z’ensi, tazirika so takoowa.” (Isaaya 40:28) Amaanyi ga Yakuwa tegakoma. Singa tumwesiga mu kifo ky’okwesiga obusobozi bwaffe, tajja kutwabulira. Atukakasa: “Totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.” (Isaaya 41:10) Twandyanukudde tutya okwagala kwe? Okufaananako Yesu, ka tukozese amaanyi gonna Yakuwa g’atuwa okuyamba n’okuzimba. Tufuge olulimi lwaffe lube nga luwonya mu kifo ky’okulumya. Era ka tusigale nga tutunula mu by’omwoyo, tunywere mu kukkiriza, era tukule mu maanyi g’Omutonzi waffe ow’Ekitalo, Yakuwa Katonda.—1 Abakkolinso 16:13.
[Obugambo obuli wansi]
a Kirabika, Abayudaaya baazuula ebiwandiiko ebyasookera ddala okuwandiikibwa eby’Amateeka ga Musa, ebyali biterekeddwa mu yeekaalu ebyasa by’emyaka emabega.
Osobola Okunnyonnyola?
• Yakuwa akozesa atya amaanyi ge?
• Ngeri ki ze tuyinza okufunamu amaanyi ga Yakuwa?
• Amaanyi g’olulimi gandikozeseddwa gatya?
• Obuyinza obufuniddwa okuva eri Katonda buyinza butya okuba obw’omuganyulo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Yesu yakozesa amaanyi ga Yakuwa okuyamba abalala
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Tuba tusobola okulangirira Ekigambo kya Katonda singa omutima gwaffe gukyemalirako