Yakuwa—Ow’Amaanyi Amangi
“Olw’obuyinza obungi, era alina amaanyi mangi,tewali na kimu ekibulako.”—ISAAYA 40:26, NW.
1, 2. (a) Nsibuko ki ey’amaanyi ffenna gye twesigamyeko? (b) Nnyonnyola ensonga lwaki Yakuwa ye Nsibuko ya maanyi gonna.
AMAANYI kye kintu bangi ku ffe kye tubuusa amaaso. Ng’ekyokulabirako, tufaayo kitono nnyo ku maanyi g’amasannyalaze agatuwa ekitangaala n’ebbugumu oba agatusobozesa okweyambisa ekintu kyonna kye tulina ekikozesa amasannyalaze. Amasannyalaze bwe gavaako, awo bwe tutegeera nti we gatali, ebibuga by’abantu byandikoseddwa nnyo. Amasannyalaze agasinga obungi ge tukozesa, tugafuna wadde nga si butereevu okuva eri ensibuko y’amaanyi esingayo okwesigika ku nsi—enjuba.a Buli katikitiki enjuba eno ekozesa ttani z’amaanyi ga nukiriya obukadde butaano, n’esobola okuwa ensi amaanyi agabeesaawo obulamu.
2 Amaanyi gano gonna ag’enjuba gava wa? Ani yakola enjuba? Yakuwa Katonda ye yagikola. Nga lumwogerako, Zabbuli 74:16 lugamba: “Wakola omusana n’enjuba.” Yee, Yakuwa y’Ensibuko y’amaanyi gonna, era nga bw’ali Ensibuko y’obulamu bwonna. (Zabbuli 36:9, NW) Amaanyi ge tetugabuusanga amaaso. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa atujjukiza tutunuulire ebitonde eby’omu ggulu, ng’enjuba n’emmunnyeenye, era n’okufumiitiriza ku ngeri gye byajjawo. “Muyimuse amaaso gammwe mulabe. Ani yatonda ebintu bino? Y’Oyo afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli, byonna abituuma amannya. Olw’obuyinza obungi, era ng’alina amaanyi mangi, tewali na kimu ekibulako.”—Isaaya 40:26, NW; Yeremiya 32:17.
3. Tuganyulwa tutya mu kweyoleka kw’amaanyi ga Yakuwa?
3 Okuva Yakuwa bw’alina amaanyi amangi, tuyinza okubeera abakakafu nti enjuba ejja kweyongera okutuwa 4ekitangaala n’ebbugumu, ebintu obulamu bwaffe kwe bwesigamye. Kyokka, amaanyi ga Katonda tegatuganyula mu byetaago byaffe byokka eby’omubiri. Okununulibwa kwaffe okuva mu kibi n’okufa, essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso, n’obwesige bwe tulina mu Yakuwa, byonna byesigamye ku ngeri gy’akozesaamu amaanyi ge. (Zabbuli 28:6-9; Isaaya 50:2) Baibuli erimu ebyokulabirako bingi ebikakasa amaanyi ga Yakuwa ag’okutonda n’okununula, okuwonya abantu be n’okuzikiriza abalabe be.
Amaanyi ga Katonda Geeyoleka mu Butonde
4. (a) Dawudi yakwatibwako atya bwe yatunuulira eggulu ekiro? (b) Ebitonde eby’omu bwengula byoleka ki ku maanyi ga Katonda?
4 Omutume Pawulo yannyonnyola nti ‘amaanyi g’Omutonzi waffe agataggwaawo galabikira mu bintu bye yatonda.’ (Abaruumi 1:20, NW) Ebyasa by’emyaka ebiyiseewo, omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, eyali omusumba, ateekwa okuba nga yatunuuliranga eggulu ekiro, n’ategeera ekitiibwa ky’obwengula n’amaanyi g’oyo Eyabutonda. Yawandiika: “Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye, bye walagira; omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, oba omwana w’omuntu, ggwe okumu[labir]ira?” (Zabbuli 8:3, 4) Wadde yali amanyi kitono ku bitonde eby’omu bwengula, Dawudi yali akimanyi nti teyalina bw’ali ng’ageraageranyiziddwa n’Omutonzi w’obwengula obwagaagavu. Leero, abakugu mu by’obwengula bamanyi bingi ebikwata ku bunene bw’obwengula n’amaanyi agabubeesaawo. Ng’ekyokulabirako, batugamba nti buli katikitiki enjuba yaffe efulumya amaanyi agenkanankana n’okutulika kwa megattani obukadde 100,000 eza TNT.b Akatundu katono nnyo ak’amaanyi ago ke katuuka ku nsi; naye kasobola okubeesaawo obulamu bwonna ku nsi yaffe. Wadde kiri kityo, enjuba yaffe si ye mmunyeenye esingayo amaanyi mu bwengula. Emmunyeenye ezimu, mu katikitiki kamu kokka, zifulumya amaanyi enjuba g’efulumya olunaku olulamba. N’olwekyo, fumiitiriza ku maanyi g’Oyo eyatonda ebitonde ng’ebyo ebiri mu bwengula! Eriku yayogera kituufu nti: “Omuyinza w’ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza [“amaanyi,” NW].”—Yobu 37:23.
5. Bujulizi ki obulaga amaanyi ga Yakuwa bwe tusanga mu mirimu gye?
5 Singa ‘tunoonya emirimu gya Katonda’ nga Dawudi bwe yakola, tujja kulaba obujulizi obulaga amaanyi ge wonna wonna—mu mpewo ne mu mayengo, mu kubwatuka ne laddu, mu migga eminene n’ensozi ennene. (Zabbuli 111:2; Yobu 26:12-14) Ate era, nga Yakuwa bwe yajjukiza Yobu, ensolo ziwa obujulizi ku maanyi Ge. Mu zino mwe muli envubu. Yakuwa yagamba Yobu: “Amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, . . . Amagulu [“amagumba,” NW] gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.” (Yobu 40:15-18) Amaanyi amangi ag’embogo gaali gamanyiddwa bulungi ne mu biseera bya Baibuli, era Dawudi yasaba awonyezebwe okuva mu “kamwa k’empologoma; era ne mu mayembe g’embogo.”—Zabbuli 22:21; Yobu 39:9-11.
6. Ente ennume ekiikirira ki mu Byawandiikibwa, era lwaki? (Laba obugambo obutono wansi.)
6 Olw’amaanyi gaayo, ente ennume ekozesebwa mu Baibuli okukiikirira amaanyi ga Yakuwa.c Okwolesebwa kw’omutume Yokaana okw’entebe ya Yakuwa kulaga ebiramu ebina, ng’ekimu ku byo kyali kifaanana ng’ente ennume. (Okubikkulirwa 4:6, 7) Okusinziira ku bujulizi obuliwo, emu ku ngeri za Yakuwa ennya enkulu eyolesebwa bakerubi bano ge maanyi. Endala kwe kwagala, amagezi, n’obwenkanya. Okuva amaanyi bwe gali engeri ya Katonda enkulu, okutegeera obulungi amaanyi ge n’engeri gy’agakozesaamu, kijja kutusembeza gy’ali era kituyambe okukoppa ekyokulabirako kye nga tukozesa bulungi amaanyi ge tulina.—Abaefeso 5:1.
‘Mukama ow’Eggye, ow’Amaanyi’
7. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti obulungi bujja kuwangula obubi?
7 Mu Byawandiikibwa, Yakuwa ayitibwa “Katonda Omuyinza w’ebintu byonna,” ekitiibwa ekitujjukiza nti tetusaanidde kubuusa maaso maanyi ge oba obusobozi bwe obw’okuzikiriza abalabe be. (Olubereberye 17:1; Okuva 6:3) Embeera z’ebintu eza Setaani ziyinza okulabika ng’ezisimbye amakanda, naye mu maaso ga Yakuwa “amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng’effufugge eriri mu minzaani.” (Isaaya 40;15) Olw’amaanyi ga Katonda ng’ago, tewali kubuusabuusa nti obulungi bujja kuwangula obubi. Mu kiseera kino ng’obubi bucaase nnyo, tubudaabudibwa bwe tumanya nti “Mukama ow’eggye, [ow’Amaanyi] owa Isiraeri” ajja kumalirawo ddala obubi.—Isaaya 1:24; Zabbuli 37:9, 10.
8. Ggye ki ery’omu ggulu Yakuwa ly’alinako obuyinza, era kiki ekitulaga amaanyi gaalyo?
8 Ebigambo “Mukama ow’eggye,” ebirabika emirundi 285 mu Baibuli, bitujjukiza amaanyi ga Katonda. ‘Amagye’ agoogerwako wano gwe muwendo omunene ogw’ebitonde eby’omwoyo Yakuwa by’ayinza okukozesa. (Zabbuli 103:20, 21; 148:2) Mu kiro kimu, omu ku bamalayika bano yatta abaserikale Abasuuli 185,000 abaali baagala okulumba Yerusaalemi. (2 Bassekabaka 19:35) Singa tutegeera amaanyi g’eggye lya Yakuwa ery’omu ggulu, tetujja kutiisibwatiisibwa abaziyiza. Nnabbi Erisa teyeeraliikirira n’akamu ng’azingiziddwa eggye eryali limunoonya, olw’okuba, obutafaananako muweereza we, yali asobola okulaba n’amaaso ag’okukkiriza eggye eddene ery’omu ggulu eryali limuwagira.—2 Bassekabaka 6:15-17.
9. Okufaananako Yesu, lwaki twanditadde obwesige mu bukuumi bwa Katonda?
9 Mu ngeri y’emu Yesu yali amanyi nti alina obuwagizi bwa bamalayika bwe yayolekagana n’ekibinja ky’abantu ekyalina ebitala n’emiggo mu lusuku lwa Gesusemane. Oluvannyuma lw’okugamba Peetero okuzza ekitala kye mu kifo kyakyo, Yesu yamugamba nti singa kyali kyetaagisa, yandisobodde okusaba Kitaawe okumuweereza ‘ebibinja by’eggye lya bamalayika ebisoba mu kkumi n’ebibiri.’ (Matayo 26:47, 52, 53) Singa tusiima eggye ery’omu ggulu Katonda ly’alina, mu ngeri y’emu naffe tujja kussa obwesige bwaffe mu buwagizi bwa Katonda. Omutume Pawulo yawandiika: “Kati olwo ebintu ebyo tunaabyogerako ki? Katonda bw’abeera naffe ani anaatulwanyisa?”—Abaruumi 8:31, NW.
10. Yakuwa ayoleka amaanyi ge ku lw’ani?
10 N’olwekyo, tulina ensonga za maanyi okussa obwesige mu bukuumi bwa Yakuwa. Bulijjo akozesa amaanyi ge okuganyula abalala ate mu ngeri etuukana n’engeri ze endala—obwenkanya, amagezi, n’okwagala. (Yobu 37:23; Yeremiya 10:12) Wadde abantu ab’amaanyi emirundi mingi balumya abaavu n’abanaku olw’okubaako bye beefunira, Yakuwa “ayimusa omwavu [okuva] mu nfuufu” era ‘alina amaanyi mangi agalokola.’ (Zabbuli 113:5-7; Isaaya 63:1) Nga Malyamu, maama wa Yesu omuwombeefu bwe yakitegeera, ‘ow’Amaanyi’ akozesa amaanyi ge okuganyula abo abamutya, okutoowaza ab’amalala n’okugulumiza abawombeefu.—Lukka 1:46-53.
Yakuwa Ayoleka Amaanyi Ge eri Abaweereza Be
11. Bujulizi ki obulaga amaanyi ga Katonda, Abaisiraeri bwe baalaba mu mwaka 1513 B.C.E.?
11 Emirundi mingi, Yakuwa yayoleka amaanyi ge eri abaweereza be. Ogumu ku mirundi egyo kyali ku Lusozi Sinaayi mu 1513 B.C.E. Mu mwaka ogwo, Abaisiraeri baali bamaze okulaba obujulizi obw’enkukunala obulaga amaanyi ga Katonda. Ebibonoobono kkumi byayoleka amaanyi ga Yakuwa n’obunafu bwa bakatonda ba Misiri. Mangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, okusomoka Ennyanja Emmyufu mu ngeri y’ekyamagero n’okuzikirizibwa kw’eggye lya Falaawo byawa obukakafu obulala obw’amaanyi ga Katonda. Nga wayiseewo emyezi esatu, nga bali ku njegoyego y’Olusozi Sinaayi, Yakuwa yasaba Abaisiraeri okufuuka ‘eggwanga lye mu mawanga amalala gonna.’ Ku lwabwe, baasuubiza: ‘Byonna Yakuwa by’ayogedde tulibikola.’ (Okuva 19:5, 8) Awo, Yakuwa n’ayoleka amaanyi ge. Mu kubwatuka okw’amaanyi ne laddu awamu n’eddoboozi ly’eŋŋombe eddene ennyo, Olusozi Sinaayi lwavaamu omukka era ne lukankana. Abantu, abaali beesudde akabanga, batya nnyo. Naye Musa yabagamba nti ebyaliwo ebyo byandibayigirizza okutya Katonda, okutya okwandibaleetedde okugondera Katonda waabwe omu ow’amazima era ow’amaanyi ennyo, Yakuwa.—Okuva 19:16-19; 20:18-20.
12, 13. Mbeera ki ezaaviirako Eriya okwabulira omulimu gwe, naye Yakuwa yamuzzaamu atya amaanyi?
12 Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, mu kiseera kya Eriya, era Katonda yaddamu okwoleka amaanyi ge ku Lusozi Sinaayi. Nnabbi ono yali yalabako dda amaanyi ga Katonda nga gakola. Okumala emyaka esatu n’ekitundu, Katonda ‘yasiba eggulu’ olw’obwewagguzi bw’eggwanga lya Isiraeri. (2 Ebyomumirembe 7:13) Mu kyeya ekyaddirira, nnamuŋŋoona zaaliisa Eriya mu kiwonvu kya Kerisi, era oluvannyuma, mu ngeri ey’ekyamagero yasobola okuliisibwa okuva ku butta n’amafuta ga nnamwandu ebyali ebitono ennyo. Era, Yakuwa yawa Eriya amaanyi okuzuukiza omwana wa nnamwandu. Mu nkomerero, mu kigezo ky’Obwakatonda ku Lusozi Kalumeeri, omuliro gwava mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo kya Eriya. (1 Bassekabaka 17:4-24; 18:36-40) Kyokka, akabanga katono oluvannyuma lw’ekyo, Eriya yatya era n’aggwaamu amaanyi Yezeberi bwe yamutiisatiisa nti agenda kumutta. (1 Bassekabaka 19:1-4) Yadduka okuva mu nsi eyo, ng’alowooza nti omulimu gwe nga nnabbi gwali guwedde. Okusobola okumuzzaamu amaanyi, Yakuwa yamulaga amaanyi ge.
13 Nga Eriya yeekwese mu mpuku, yalaba okweyoleka okw’amaanyi ga mirundi esatu Yakuwa g’akozesa: embuyaga, musisi, n’omuliro. Kyokka, Yakuwa bwe yayogera ne Eriya, yakikola mu “ddoboozi ttono [era] lya ggonjebwa.” Yamuwa emirimu emirala n’amutegeeza nti waali wakyaliyo abasinza ba Yakuwa abeesigwa 7,000 mu nsi. (1 Bassekabaka 19:9-18) Singa okufaananako Eriya, tuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’obutafuna bibala mu buweereza bwaffe, tuyinza okusaba Yakuwa okutuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo’—amaanyi agayinza okutunyweza ne tweyongera okubuulira amawulire amalungi awatali kuddirira.—2 Abakkolinso 4:7.
Amaanyi ga Yakuwa Gawa Obukakafu ku Kutuukirizibwa kw’Ebisuubizo Bye
14. Erinnya lya Yakuwa lyoleka ki, era amaanyi ge galina kakwate ki n’erinnya lye?
14 Amaanyi ga Yakuwa galina akakwate n’erinnya lye era n’okutuukirizibwa kw’ebyo by’ayagala. Erinnya lya Yakuwa ery’enjawulo, eritegeeza ‘Ky’Ayagala ky’Aba,’ liraga nti Atuukiriza ebisuubizo bye. Tewaliwo kintu kyonna oba muntu yenna ayinza okulemesa Katonda okutuukiriza ebigendererwa bye, wadde ng’ababuusabuusa balowooza nti tebijja kutuukirizibwa. Nga Yesu bwe yagamba abatume be lumu, “Katonda ayinza byonna.”—Matayo 19:26.
15. Ibulayimu ne Saala bajjukizibwa batya nti tewali kirema Yakuwa?
15 Okuwaayo ekyokulabirako, lumu Yakuwa yasuubiza Ibulayimu ne Saala nti alifuula bazzukulu baabwe eggwanga eddene. Kyokka, tebaalina mwana okumala ebbanga ddene. Bombi baali bakaddiye nnyo Yakuwa we yabagambira nti ekisuubizo kyali kinaatera okutuukirizibwa era Saala yaseka. Mu kumuddamu, malayika yagamba: “Waliwo ekirema Mukama?” (Olubereberye 12:1-3; 17:4-8; 18:10-14) Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka bina, Musa bwe yakuŋŋaanya bazzukulu ba Ibulayimu—kati abaali eggwanga eddene—ku Nsenyi za Mowaabu, yabajjukiza nti Katonda yali atuukirizza ekisuubizo kye. Musa yagamba: “Kubanga [Yakuwa] yayagala bajjajja bo, kyeyava alonda ezzadde lyabwe eriddawo, n’akuggya mu Misiri ye ng’abeera naawe olw’obuyinza bwe obungi; okugoba mu maaso go amawanga agaakusinga obukulu n’amaanyi, okukuyingiza ggwe, okukuwa ensi yaabwe okuba obutaka, nga leero.”—Ekyamateeka 4:37, 38.
16. Lwaki Abasaddukaayo baagwa mu nsobi ey’okugaana okuzuukira kw’abafu?
16 Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Yesu yavumirira Abasaddukaayo abaali batakkiririza mu kuzuukira. Lwaki baagaana okukkiriza ekisuubizo kya Katonda nti yandikomezzaawo abafu? Yesu yabagamba: ‘Temumanyi Byawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda.’ (Matayo 22:29) Ebyawandiikibwa bitukakasa nti ‘bonna abali mu ntaana ezijjukirwa baliwulira eddoboozi ly’Omwana w’omuntu ne bavaamu.’ (Yokaana 5:27-29, NW) Singa tumanya Baibuli ky’eyogera ku kuzuukira, obwesige bwe tulina mu maanyi ga Katonda bujja kutukakasa nti abafu bajja kuzuukizibwa. Katonda ‘alimira okufa emirembe gyonna, kubanga Yakuwa kennyini akyogedde.’—Isaaya 25:8.
17. Mu kiseera ki eky’omu maaso obwesige mu Yakuwa lwe bulyetaagisa ennyo mu ngeri ey’enjawulo?
17 Mu maaso awo, wajja kubaawo ekiseera buli omu ku ffe bw’alyetaaga okwesiga amaanyi ga Katonda aganunula mu ngeri ey’enjawulo. Setaani Omulyolyomi ajja kulumba abantu ba Katonda abalirabika ng’abatalina bukuumi. (Ezeekyeri 38:14-16) Awo Katonda ajja kwoleka amaanyi ge ag’ekitalo ku lwaffe, era buli muntu alimanya nti ye Yakuwa. (Ezeekyeri 38:21-23) Kati kye kiseera okuzimba okukkiriza kwaffe n’okuteeka obwesige bwaffe mu Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna tuleme kutya mu kiseera ekyo ekya kazigizigi.
18. (a) Miganyulo ki gye tufuna mu kufumiitiriza ku maanyi ga Yakuwa? (b) Kibuuzo ki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
18 Awatali kubuusabuusa, waliwo ensonga nnyingi ezandituleetedde okufumiitiriza ku maanyi ga Yakuwa. Nga tulowooza ku mirimu gye, mu bwetoowaze tukubirizibwa okutendereza Omutonzi waffe ow’Ekitalo era ne tusanyuka kubanga akozesa amaanyi ge mu ngeri ey’amagezi era ey’okwagala. Tetulitya n’akamu singa tussa obwesige mu Yakuwa ow’eggye. Okukkiriza kwe tulina mu bisuubizo bye tekujja kuddirira. Kyokka, jjukira nti twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Bwe kityo, naffe tulina amaanyi—wadde nga galiko ekkomo. Tuyinza tutya okukoppa Omutonzi waffe mu ngeri gye tukozesaamu amaanyi gaffe? Kino kijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Kirowoozebwa nti ebintu ebivaamu amaanyi ebisimibwa mu ttaka gamba ng’amafuta n’amanda—ebyeyambisibwa mu bifo gye bakolera amasannyalaze—biggya amaanyi gaabyo ku njuba.
b Okwawukana ku ekyo, bbomu y’amaanyi ga nukiriya esingayo okuba ey’amaanyi eyali egezeseddwa yalina amaanyi agenkanankana megattani 57 eza TNT.
c Embogo ezoogerwako mu Baibuli kirabika kika ky’ensolo ekyefaananyirizaako ente naye nga kati tekikyaliwo. Emyaka nkumi bbiri emabega, ensolo zino zaasangibwanga mu Gaul (kati Bufalansa), era Julius Caesar yazoogerako bw’ati: “Ensolo zino kumpi zenkana enjovu obunene, naye engeri gye zifaananamu, langi yaazo, n’enkula yaazo, eringa ya nte nnume. Za maanyi nnyo era zirina sipiidi ya maanyi: zirumba omuntu n’ensolo kasita zimukubako ekimunye.”
Osobola Okuddamu Ebibuuzo Bino?
• Obutonde buwa butya obukakafu ku maanyi ga Yakuwa?
• Ggye ki Yakuwa ly’ayinza okukozesa okuwagira abantu be?
• Mirundi ki egimu Yakuwa bwe yayoleka amaanyi ge?
• Bukakafu ki bwe tulina nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
“Muyimuse amaaso gammwe mulabe. Ani yatonda ebintu bino?”
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Photo by Malin, © IAC/RGO 1991
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Okufumiitiriza ku kweyoleka kw’amaanyi ga Yakuwa kuzimba okukkiriza mu bisuubizo bye