LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 10 lup. 104-127
  • “Mukoppe Katonda” mu Ngeri Gye Mukozesaamu Obuyinza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Mukoppe Katonda” mu Ngeri Gye Mukozesaamu Obuyinza
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwagala Kukulu Nnyo
  • Obuyinza mu Maka
  • Mu Kibiina
  • “Olulimi Lulina Obuyinza”
  • Okuweereza Yakuwa ‘n’Amaanyi Gaffe Gonna’
  • “Munoonye Yakuwa n’Amaanyi Ge”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • ‘Yakuwa Alina Amaanyi Mangi Nnyo’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • “Kristo Maanyi ga Katonda”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Yakuwa—Ow’Amaanyi Amangi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 10 lup. 104-127
Abajulirwa ba Yakuwa babiri nga babuulira omukyala.

ESSUULA 10

“Mukoppe Katonda” mu Ngeri Gye Mukozesaamu Obuyinza

1. Mutego ki omwekusifu abantu abatatuukiridde gwe bayinza okugwamu?

“BULI alina obuyinza ayinza okugwa mu mutego omwekusifu.” Ebigambo ebyo eby’omuwandiisi w’ebitontome eyaliwo mu kyasa 19 byoleka akabi kano: okukozesa obubi obuyinza. Eky’ennaku, kyangu nnyo abantu abatatuukiridde okugwa mu mutego ogwo. Mazima ddala, mu byafaayo by’abantu ‘omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’ (Omubuulizi 8:9) Okukozesa obuyinza awatali kwagala, kiviiriddeko abantu okubonaabona ennyo.

2, 3. (a) Kiki ekyewuunyisa ku ngeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge oba buyinza bwe? (b) Amaanyi ge tulina gayinza kuzingiramu ki, era twandigakozesezza tutya?

2 Kyewuunyisa nti, wadde nga Yakuwa Katonda alina amaanyi mangi n’obuyinza, tabikozesa bubi. Nga bwe tulabye mu ssuula ezivuddeko, akozesa amaanyi ge bulijjo mu ngeri ekwatagana n’ebigendererwa bye, gamba ng’okutonda, okuzikiriza, okukuuma, oba okuzza obuggya ebintu. Bwe tulowooza ku ngeri gy’akozesaamu amaanyi ge oba obuyinza bwe, tuba twagala okufuna enkolagana ennungi naye. Ate era, ekyo kiyinza okutukubiriza ‘okukoppa Katonda’ mu ngeri gye tukozesaamu amaanyi gaffe oba obuyinza bwaffe. (Abeefeso 5:1) Naye ffe abantu abataliiko bwe tuli, tulina buyinza ki?

3 Kijjukire nti omuntu yatondebwa mu “kifaananyi kya Katonda.” (Olubereberye 1:26, 27) Bwe kityo, naffe tulina amaanyi, naye nga ga kigero. Amaanyi ge tulina gayinza okuzingiramu obusobozi bw’okutuukiriza ebintu, okukola emirimu, okuba n’obuyinza ku balala, obusobozi bw’okukubiriza abalala naddala abo abatwagala, oba amaanyi ag’omu mubiri. Omuwandiisi wa Zabbuli bwe yali ayogera ku Yakuwa yagamba nti: “Ggwe nsibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9) Bwe kityo, Katonda ye Nsibuko y’amaanyi gonna ge tulina. N’olwekyo, twagala okugakozesa mu ngeri emusanyusa. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Okwagala Kukulu Nnyo

4, 5. (a) Kintu ki ekikulu ekinaatusobozesa okukozesa obulungi obuyinza bwaffe, era kyakulabirako ki ekirungi Katonda ky’ataddewo? (b) Okwagala kunaatuyamba kutya obutakozesa bubi buyinza bwaffe?

4 Ekintu ekikulu ennyo ekinaatusobozesa okukozesa obulungi obuyinza bwe tulina kwe kwagala. Katonda atuteereddewo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Lowooza ku ngeri za Katonda zino ennya enkulu: amaanyi, obwenkanya, amagezi, n’okwagala, ezaayogerwako mu Ssuula 1. Ku ngeri ezo ennya, eriwa esinga obukulu? Okwagala. Mu 1 Yokaana 4:8 Bayibuli egamba nti: “Katonda kwagala.” Okwagala ye ngeri ya Yakuwa esinga obukulu, era kwe kumuleetera okukola byonna by’akola. N’olwekyo, buli lw’akozesa amaanyi ge, agakozesa mu ngeri ey’okwagala era n’okuganyula abo abamwagala.

5 Naffe okwagala kujja kutuyamba obutakozesa bubi buyinza bwaffe. Bayibuli egamba nti okwagala “kwa kisa” era “tekwenoonyeza byakwo.” (1 Abakkolinso 13:4, 5) Bwe kityo, bwe tuba n’okwagala, tetuyinza kuyisa bubi be tulinako buyinza. Wabula, tukulembeza ebyetaago byabwe mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe, era tufaayo ku nneewulira yaabwe.—Abafiripi 2:3, 4.

6, 7. (a) Okutya Katonda kye ki, era lwaki engeri eno ejja kutuyamba okwewala okukozesa obubi obuyinza bwe tulina? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga akakwate akaliwo wakati w’okutya okunyiiza Katonda n’okumwagala.

6 Okwagala kukwatagana n’engeri endala eyinza okutuyamba obutakozesa bubi buyinza bwaffe. Engeri eno kwe kutya Katonda. Engeri eyo ya muwendo kwenkana wa? Engero 16:6 lugamba nti: “Okutya Yakuwa kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.” Mazima ddala, tusaanide okwewala okukozesa obubi obuyinza bwe tulina. Okutya Katonda kujja kutuyamba okwewala okuyisa obubi abo be tulinako obuyinza. Lwaki? Kubanga tukimanyi nti tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’engeri gye tuyisaamu abalala. (Nekkemiya 5:1-7, 15) Kyokka okutya Katonda kuzingiramu ekisingawo ku ekyo. Ekigambo ekyavvuunulwa “okutya” emirundi mingi kitegeeza okuwa Katonda ekitiibwa eky’okusinza. Bwe kityo, Bayibuli ekwataganya okutya n’okwagala Katonda. (Ekyamateeka 10:12, 13) Okuwa Katonda ekitiibwa eky’okusinza kizingiramu okutya okumunyiiza, si lwa kuba nti tutya ebiyinza okuvaamu naye lwa kuba tumwagalira ddala.

7 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nkolagana ennungi ebaawo wakati w’omwana omuto ne kitaawe. Omwana akiraba nti kitaawe amufaako era amwagala nnyo. Kyokka era amanyi kitaawe by’amwetaaza, era ng’akimanyi nti kitaawe ajja kumukangavvula singa yeeyisa obubi. Omwana tatya kitaawe mu ngeri embi, wabula, aba amwagala nnyo. Aba ayagala okukola ebyo kitaawe by’ayagala. Bwe kityo bwe kiri ne ku kutya Katonda. Olw’okuba twagala Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, tutya okukola ekintu kyonna ekiyinza okunakuwaza omutima gwe. (Olubereberye 6:6) Twagala nnyo okusanyusa omutima gwe. (Engero 27:11) Eyo ye nsonga lwaki twagala okukozesa obulungi obuyinza bwaffe. Ka twekenneenye engeri gye tuyinza okukikolamu.

Obuyinza mu Maka

8. (a) Buyinza ki abaami bwe balina mu maka, era basaanidde kubukozesa batya? (b) Omwami ayinza atya okulaga nti assa ekitiibwa mu mukyala we?

8 Kati ate lowooza ku maka. Abeefeso 5:23, lugamba nti: “Omwami gwe mutwe gwa mukyala we.” Omusajja yandikozesezza atya obuyinza obwamuweebwa Katonda? Bayibuli ekubiriza abaami okubeera ne bakyala baabwe nga ‘babategeera bulungi, nga babassaamu ekitiibwa ng’ekibya ekinafu.’ (1 Peetero 3:7) Ebigambo by’Oluyonaani ebyavvuunulwa ‘okubassaamu ekitiibwa’ bitegeeza ‘okubatwala nga ba muwendo.’ Ebigambo ebyo era bisobola okutegeeza ‘ekirabo’ oba ekintu ‘eky’omuwendo.’ (Ebikolwa 28:10; 1 Peetero 2:7) Omwami awa mukyala we ekitiibwa tayinza n’akamu kumukuba, kumuswaza, oba okumuvuma, ekireetera mukyala we okuwulira ng’atalina mugaso. Wabula ategeera nti mukyala we wa muwendo era n’amussaamu ekitiibwa. Akiraga mu bigambo ne mu bikolwa, ka babe nga bali bokka oba nga bali mu bantu, nti wa muwendo gy’ali. (Engero 31:28) Omwami ng’oyo takoma ku kwagalibwa oba okussibwamu ekitiibwa mukyala we, naye n’ekisingawo obukulu, asiimibwa Katonda.

Omwami n’omukyala nga batambulako bombi.

Abaami n’abakyala bakozesa bulungi obuyinza bwabwe nga buli omu ayagala munne era nga bawaŋŋana ekitiibwa

9. (a) Abakyala balina buyinza ki mu maka? (b) Omukyala ayinza atya okukozesa obusobozi bwe okuwagira omwami we, era kiki ekiyinza okuvaamu?

9 Abakyala nabo balina obuyinza obw’ekigero mu maka. Bayibuli eyogera ku bakyala abaali batya Katonda, abaalina kye baakola okuzimba abaami baabwe oba okubayamba okwewala okusalawo obubi ng’ate tebasambazze musingi gwa bukulembeze. (Olubereberye 21:9-12; 27:46–28:2) Omukyala ayinza okuba omugezi okusinga omwami we, oba ayinza okuba n’obusobozi obulala omwami we bw’atalina. Kyokka aba alina “okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa” era ‘n’okumugondera nga bw’agondera Mukama waffe.’ (Abeefeso 5:22, 33) Okuba n’ekiruubirirwa eky’okusanyusa Katonda kiyinza okuyamba omukyala okukozesa obulungi obusobozi bwe okuwagira omwami we, mu kifo ky’okumuvumirira oba okugezaako okumufuga. “Omukazi ow’amagezi,” akolera wamu ne bbaawe okuzimba amaka. Mu ngeri eyo aba n’emirembe ne Katonda.—Engero 14:1.

10. (a) Buyinza ki Katonda bw’awadde abazadde? (b) Ekigambo “okukangavvula” kitegeeza ki, era abaana bandikangavvuddwa batya?

10 Abazadde nabo balina obuyinza obwabaweebwa Katonda. Bayibuli egamba nti: “Bataata temunyiizanga baana bammwe, naye mubakulize mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.” (Abeefeso 6:4) Mu Bayibuli, ekigambo ‘okukangavvula’ kiyinza okutegeeza “okukuza, okutendeka, oba okuyigiriza.” Abaana beetaaga okukangavvulwa; era baba basanyufu bwe baweebwa obulagirizi obutegeerekeka obulungi. Bayibuli ekwataganya okukangavvula oba okuyigiriza ng’okwo n’okwagala. (Engero 13:24) N’olwekyo, “omuggo” tegusaanidde kukozesebwa bubi, ne kiviirako okulumya omwana mu birowoozo oba mu mubiri. (Engero 22:15; 29:15) Okukangavvula n’obukambwe oba nga tosoose kwetegereza nsonga, kuba kukozesa bubi buyinza era kiyinza okunakuwaza omwana. (Abakkolosaayi 3:21) Ku luuyi olulala, okukangavvula mu ngeri ennungi, kiraga abaana nti bazadde baabwe babaagala era babafaako.

11. Abaana bayinza batya okukozesa obulungi amaanyi gaabwe?

11 Ate bo abaana? Bayinza batya okukozesa obuyinza bwabwe oba amaanyi gaabwe? Engero 20:29, lugamba nti: “Ekitiibwa ky’abavubuka ge maanyi gaabwe.” Engeri esingayo obulungi abavubuka gye bayinza okukozesaamu amaanyi gaabwe kwe kuweereza “Omutonzi” waabwe. (Omubuulizi 12:1) Abaana balina okujjukira nti engeri gye beeyisaamu erina ky’ekola ku bazadde baabwe. (Engero 23:24, 25) Abaana bwe bagondera bazadde baabwe era ne banywerera mu kkubo ettuufu, babasanyusa. (Abeefeso 6:1) Enneeyisa ng’eyo ‘esanyusa Mukama waffe.’—Abakkolosaayi 3:20.

Mu Kibiina

12, 13. (a) Abakadde basaanidde kuba na ndowooza ki ku buyinza bwe balina mu kibiina? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki abakadde basaanidde okuyisa ekisibo mu ngeri ey’ekisa.

12 Yakuwa ataddewo abakadde okukulemberamu ekibiina Ekikristaayo. (Abebbulaniya 13:17) Abasajja bano abalina ebisaanyizo basaanidde okukozesa obuyinza Katonda bw’abawadde okunyweza ekisibo mu by’omwoyo n’okukiwa obuyambi obwetaagisa. Ekifo abakadde kye balina kibawa ebbeetu okukajjala ku bakkiriza bannaabwe? N’akatono! Abakadde basaanidde okuba abeetoowaze era n’okuba n’endowooza etagudde lubege ku kifo kye balina mu kibiina. (1 Peetero 5:2, 3) Bayibuli ekubiriza abakadde “okulabiriranga ekibiina kya Katonda kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.” (Ebikolwa 20:28) Ebigambo ebyo biraga ensonga enkulu lwaki bonna mu kisibo basaanidde okuyisibwa mu ngeri ey’ekisa.

13 Lowooza ku kyokulabirako kino. Mukwano gwo ow’oku lusegere akusabye okulabirira ekintu kye eky’omuwendo. Era okimanyi nti mukwano gwo ekintu ekyo yakigula ssente nnyingi. Tewandikikutte na bwegendereza? Mu ngeri y’emu, Katonda akwasizza abakadde obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekintu eky’omuwendo ennyo, nga kino ky’ekibiina, era nga abakirimu bageraageranyizibwa ku ndiga. (Yokaana 21:16, 17) Endiga za Yakuwa za muwendo nnyo gy’ali, kubanga yazigula n’omusaayi ogw’omuwendo ogw’Omwana we eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo. Yakuwa yasasula omuwendo ogusingayo obunene okununula endiga ze. Abakadde abeetoowaze bajjukira ensonga eyo era bwe kityo bayisa buli omu mu kibiina mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala.

“Olulimi Lulina Obuyinza”

14. Olulimi lulina buyinza ki?

14 Bayibuli egamba nti: “Olulimi lulina obuyinza ku kufa n’obulamu.” (Engero 18:21) Mazima ddala olulimi luyinza okukola akabi ak’amaanyi. Ani ku ffe atawulirangako bubi ng’ayogeddwako ebigambo ebibi? Kyokka era olulimi luyinza okutereeza ensonga. Engero 12:18, lugamba nti: “Ebigambo by’ab’amagezi biwonya.” Ebigambo ebizzaamu amaanyi era ebizimba, biyinza okukkakkanya n’okuwonya omutima. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.

15, 16. Tuyinza tutya okukozesa olulimi okuzzaamu abalala amaanyi?

15 Abassessalonika Ekisooka 5:14 wagamba nti: ‘Mubudaabudenga abennyamivu.’ N’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bayinza okwennyamira. Tuyinza tutya okuyamba abalinga abo? Basiime mu bwesimbu bakitegeere nti ba muwendo mu maaso ga Yakuwa. Balage ebyawandiikibwa ebiraga nti Yakuwa afaayo ku abo “abalina omutima ogumenyese” era “abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Bwe tukozesa olulimi lwaffe okuzzaamu abalala amaanyi, tulaga nti tukoppa Katonda waffe ow’ekisa, “abudaabuda abennyamivu.”—2 Abakkolinso 7:6, New American Standard Bible.

16 Era tuyinza okukozesa olulimi okuzzaamu abalala amaanyi. Mukkiriza munno afiiriddwa omuntu we? Ebigambo ebyoleka okufaayo biyinza okubudaabuda omutima gwe omunakuwavu. Muganda waffe oba mwannyinaffe akaddiye awulira nga talina mugaso? Ebigambo ebizimba era ebizzaamu amaanyi biyinza okuyamba abakaddiye okumanya nti ba muwendo era nti basiimibwa. Waliwo alina obulwadde obutawona? Okwogera n’omulwadde mu ngeri ey’ekisa, ka kibe ku ssimu, obanga tumuwandiikidde bbaluwa, oba nga twogera naye butereevu, kiyinza okumuzzaamu amaanyi. Omutonzi waffe asanyuka nnyo bwe tukozesa olulimi okwogera ebintu ‘ebizimba.’—Abeefeso 4:29.

17. Ngeri ki enkulu gye tuyinza okukozesezaamu obulungi olulimi, era lwaki twandikoze bwe tutyo?

17 Engeri esingayo obukulu ey’okukozesaamu olulimi, kwe kubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Engero 3:27 wagamba nti: “Tommanga kirungi abo b’ogwanidde okukiwa, bw’oba ng’osobola okubayamba.” Tulina obuvunaanyizibwa obw’okubuulira abalala amawulire amalungi agawonya obulamu. Tekyandibadde kituufu okwesigaliza obubaka obukulu Yakuwa bwe yatuwa. (1 Abakkolinso 9:16, 22) Naye Yakuwa ayagala twenyigire mu mulimu guno kwenkana wa?

Okubuulira amawulire amalungi ngeri nnungi nnyo ey’okukozesaamu amaanyi go

Okuweereza Yakuwa ‘n’Amaanyi Gaffe Gonna’

18. Kiki Yakuwa ky’atusuubiramu?

18 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza bwaffe. Kiki Yakuwa ky’atusuubiramu ku nsonga eno? Ffenna atusuubira okumuwa ekisingayo okusinziira ku mbeera gye tulimu. Bayibuli egamba nti: “Buli kye mukola, mukikolenga n’omutima gwammwe gwonna, ng’abakolera Yakuwa so si abantu.” (Abakkolosaayi 3:23) Bwe yali ayogera ku tteeka erisingayo obukulu, Yesu yagamba nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Makko 12:30) Yakuwa asuubira buli omu ku ffe okumwagala n’okumuweereza n’obulamu bwaffe bwonna.

19, 20. (a) Okuva obulamu bwe buzingiramu omutima, amagezi, n’amaanyi, lwaki engeri ezo Yesu yazoogerako mu Makko 12:30? (b) Kitegeeza ki okuweereza Yakuwa n’obulamu bwaffe bwonna?

19 Kitegeeza ki okuweereza Katonda n’obulamu bwaffe bwonna? Mu kyawandiikibwa ekyo, obulamu ye muntu yenna mu bulambalamba, nga mw’otwalidde omutima gwe, amagezi ge, n’amaanyi ge. Kati ate lwaki Yesu yayogera ku mutima, amagezi, n’amaanyi mu Makko 12:30? Lowooza ku kyokulabirako kino. Mu biseera by’edda, omuntu yali ayinza okwetunda (kwe kugamba okutunda obulamu bwe) mu buddu. Kyokka omuddu oyo yali ayinza obutaweereza mukama we na mutima gwe gwonna, era yali ayinza obutakozesa maanyi ge gonna oba magezi ge gonna okukola ebyo mukama we by’ayagala. (Abakkolosaayi 3:22) Bwe kityo, Yesu yamenya engeri ezo okuggumiza nti bwe tuba tuweereza Katonda, tulina okumuweereza mu bujjuvu. Okuweereza Katonda n’obulamu bwaffe bwonna kitegeeza okukozesa amaanyi gaffe gonna mu buweereza bwe.

20 Okuweereza n’obulamu bwaffe bwonna kitegeeza nti ffenna tulina kuwaayo ebiseera bye bimu oba okukozesa amaanyi ge gamu mu buweereza? Ekyo tekisoboka, kubanga buli muntu alina embeera n’obusobozi bya njawulo. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omulamu obulungi era alina amaanyi ayinza okumala ebiseera bingi mu kubuulira okusinga oyo alina amaanyi amatono olw’obukadde. Omuntu ali obwannamunigina, atalina buvunaanyizibwa bwa maka ayinza okukola ekinene mu buweereza okusinga oyo alina amaka g’alabirira. Bwe tuba nga tulina amaanyi era ng’embeera zaffe zitusobozesa okukola ekisingawo mu buweereza bwaffe, tusaanidde okukiraga nti tusiima. Kya lwatu, tetwagala kuvumirira balala, nga tugeraageranya bye tukola n’ebyo bye bakola. (Abaruumi 14:10-12) Wabula, twagala okukozesa amaanyi gaffe okuzzaamu abalala amaanyi.

21. Ngeri ki esingayo obulungi n’obukulu ey’okukozesaamu amaanyi gaffe?

21 Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kukozesa obulungi amaanyi ge. Twagala okufuba ennyo nga bwe tusobola okumukoppa. Tuyinza okukozesa obulungi amaanyi gaffe nga tuwa ekitiibwa abo be tulinako obuyinza. Okugatta ku ekyo, twagala okwenyigira mu mulimu ogw’okubuulira n’obulamu bwaffe bwonna. (Abaruumi 10:13, 14) Jjukira nti Yakuwa asanyuka bw’omuwa ekisingayo obulungi. Awatali kubuusabuusa, oteekwa okuba nga wandyagadde okukola kyonna ky’osobola okuweereza Yakuwa, Katonda afaayo era alina okwagala. Eyo ye ngeri esingayo obukulu ey’okukozesaamu amaanyi go.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Engero 3:​9, 10 ‘Bintu ki eby’omuwendo’ bye tulina, era tuyinza tutya okubikozesa okuwa Yakuwa ekitiibwa?

  • Omubuulizi 9:​5-​10 Lwaki wandikozesezza amaanyi go kati mu ngeri Katonda gy’asiima?

  • Ebikolwa 8:​9-​24 Ngeri ki enkyamu obuyinza gye bwali bwagala okufunibwamu eyogerwako mu nnyiriri zino, era ekyo tuyinza tutya okukyewala?

  • Ebikolwa 20:​29-​38 Abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina bayigira ki ku Pawulo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share