ESSUULA 9
“Kristo Maanyi ga Katonda”
1-3. (a) Kiki ekyatuuka ku bayigirizwa nga bali ku Nnyanja y’e Ggaliraaya, era Yesu yakolawo ki? (b) Lwaki kyali kituukirawo omutume Pawulo okugamba nti Yesu, “maanyi ga Katonda”?
ABAYIGIRIZWA baatya nnyo. Bwe baali ku Nnyanja y’e Ggaliraaya, embuyaga ey’amaanyi yatandika okukunta. Awatali kubuusabuusa baali balabyeko ku mbuyaga nga bali ku nnyanja eno kubanga abamu ku bo baali bavubi abalina obumanyirivu.a (Matayo 4:18, 19) Naye eno yali ‘mbuyaga ya maanyi nnyo,’ era yasiikuula ennyanja. Abasajja abo baafuba nnyo okuzza eryato ku lubalama naye embuyaga yali ya maanyi nnyo. Amayengo ag’amaanyi gaayiwa amazzi mu lyato ne litandika okujjula. Wadde nga waaliwo akakyankalano ako, Yesu yali yeebase mu kitundu eky’emabega eky’eryato, ng’akooye nnyo oluvannyuma lw’okuyigiriza ebibiina by’abantu. Olw’okuba obulamu bwabwe bwali mu kabi, abayigirizwa baamuzuukusa, ne bamugamba nti: “Mukama waffe, tunaatera okusaanawo, tuwonye!”—Makko 4:35-38; Matayo 8:23-25.
2 Yesu teyalina kutya kwonna. Nga mugumu, yaboggolera embuyaga n’ennyanja ng’agamba nti: “Sirika! Teeka!” Amangu ago, embuyaga n’ennyanja ne bimuwuliriza; amayengo ne gakkakkana, era “ennyanja n’eteeka.” Abatume baatya nnyo ne bagamba nti: “Ono ddala y’ani?” Mazima ddala muntu wa ngeri ki ayinza okuboggolera embuyaga n’ennyanja ng’alinga awabula omwana ow’eddalu?—Makko 4:39-41; Matayo 8:26, 27.
3 Naye Yesu teyali muntu wa bulijjo. Amaanyi ga Yakuwa geeyolekera mu Yesu mu ngeri ez’enjawulo. Bwe kityo, omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okugamba nti: “Kristo maanyi ga Katonda.” (1 Abakkolinso 1:24) Amaanyi ga Katonda geeyolekera gatya mu Yesu? Engeri Yesu gye yakozesaamu amaanyi ge ekwata etya ku bulamu bwaffe?
Amaanyi g’Omwana wa Katonda Eyazaalibwa Omu Yekka
4, 5. (a) Buyinza ki Yakuwa bye yawa Omwana we eyazaalibwa omu yekka? (b) Kiki Yakuwa kye yawa Omwana we ekyamusobozesa okubeera omukozi omukugu?
4 Lowooza ku maanyi Yesu ge yalina nga tannafuuka muntu. Yakuwa yayoleka ‘amaanyi ge agataggwaawo’ bwe yatonda Omwana we eyazaalibwa omu yekka, ayitibwa Yesu Kristo. (Abaruumi 1:20; Abakkolosaayi 1:15) Oluvannyuma lw’ekyo, Yakuwa yawa Omwana we amaanyi n’obuyinza bungi nnyo, asobole okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okutonda. Bayibuli eyogera bw’eti ku Mwana wa Katonda: “Ebintu byonna byakolebwa okuyitira mu ye, era w’ataali tewali kintu kyonna kyakolebwa.”—Yokaana 1:3.
5 Kye tumanyi ku mulimu ogwo kitono nnyo ddala. Teeberezaamu amaanyi agaali geetaagisa okutonda obukadde n’obukadde bwa bamalayika, obuwumbi n’obuwumbi bw’ebibinja by’emmunyeenye, n’ebiramu ebingi ennyo ebiri ku nsi. Okusobola okutuukiriza emirimu egyo, Omwana oyo eyazaalibwa omu yakozesa amaanyi agasingayo mu butonde bwonna, kwe kugamba, omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Omwana ono yafuna essanyu lingi mu kubeera omukozi omukugu, oyo Yakuwa gwe yakozesa okutonda ebintu ebirala byonna.—Engero 8:22-31.
6. Oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuzuukira, yaweebwa buyinza ki?
6 Omwana oyo eyazaalibwa omu yekka yali asobola okufuna amaanyi n’obuyinza ebisingawo? Oluvannyuma lw’okufa n’okuzuukira, Yesu yagamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” (Matayo 28:18) Mazima ddala Yesu aweereddwa obuyinza okukozesa amaanyi ge mu butonde bwonna. Nga “Kabaka wa bakabaka, era Mukama wa bakama,” aweereddwa obuyinza “okuggyawo obufuzi bwonna, obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna,” kwe kugamba, ebintu ebirabika n’ebitalabika ebiwakanya obufuzi bwa Kitaawe. (Okubikkulirwa 19:16; 1 Abakkolinso 15:24-26) Yakuwa ‘talina ky’atatadde wansi’ wa Yesu. Yakuwa yekka y’atali wansi wa Yesu.—Abebbulaniya 2:8; 1 Abakkolinso 15:27.
7. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yesu tagenda kukozesa bubi maanyi Yakuwa ge yamuwa?
7 Twandyeraliikiridde nti Yesu ayinza okukozesa obubi obuyinza bwe? N’akatono! Yesu ayagala nnyo Kitaawe era tayinza kukola kintu kyonna kimunyiiza. (Yokaana 8:29; 14:31) Yesu akimanyi bulungi nti Yakuwa takozesa bubi maanyi ge ag’ekitalo. Akirabye nti Yakuwa bulijjo ayagala okukozesa “amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Ebyomumirembe 16:9) Mazima ddala, okufaananako Kitaawe, Yesu ayagala nnyo abantu, n’olwekyo tuli bakakafu nti ajja kukozesanga amaanyi ge okubaganyula. (Yokaana 13:1) Yesu ataddewo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Ka twetegereze amaanyi ge yalina bwe yali ku nsi era n’engeri gye yagakozesaamu.
‘Yayogeranga n’Amaanyi’
8. Oluvannyuma lw’okufukibwako omwoyo omutukuvu, amaanyi Yesu ge yaweebwa gaamusobozesa kukola ki, era yagakozesa atya?
8 Kirabika Yesu teyakola byamagero bwe yali akyali muto ng’abeera e Nazaaleesi. Naye bwe yabatizibwa mu mwaka gwa 29 E.E., ng’aweza emyaka nga 30 egy’obukulu yatandika okukola ebyamagero. (Lukka 3:21-23) Bayibuli egamba nti: “Katonda . . . yamufukako omwoyo omutukuvu era n’amuwa amaanyi, n’agenda mu bitundu byonna ng’akola ebintu ebirungi era ng’awonya abo bonna abaali batawaanyizibwa Omulyolyomi.” (Ebikolwa 10:38) Okuba nti Bayibuli egamba nti Yesu ‘yakola ebintu ebirungi,’ kiraga nti yakozesa bulungi amaanyi ge. Oluvannyuma lw’okufukibwako amafuta, yafuuka “nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga.”—Lukka 24:19.
9-11. (a) Emirundi egisinga obungi Yesu yayigiririzanga mu bifo ki, era yayolekagana na kusoomooza ki? (b) Lwaki abantu beewuunya engeri Yesu gye yayigirizaamu?
9 Yesu yayoleka atya amaanyi mu bye yayogeranga? Emirundi egisinga obungi yayigiririzanga wabweru, mu bifo gamba nga ku mbalama z’ennyanja, ku nsozi, ku nguudo, ne mu butale. (Makko 6:53-56; Lukka 5:1-3; 13:26) Abaali bamuwuliriza baalinga basobola okuvaawo singa bye yayogeranga byali tebibasikiriza. Mu kiseera ekyo ng’ebitabo tebinnatandika kukubibwa, abaasiimanga ebyo bye yayogeranga, baabanga balina kubikwata bukusu. N’olwekyo, ebyo Yesu bye yayigiriza byali birina okuba nga bisikiriza, nga bitegeerekeka bulungi, era nga biyinza okujjukirwa amangu. Naye ekyo tekyali kizibu eri Yesu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi.
10 Lumu ku makya mu 31 E.E., ekibiina ky’abantu kyakuŋŋaanira ku lusozi oluli okumpi n’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Abamu baava mu Buyudaaya n’e Yerusaalemi, ebyali byesudde mayiro 60 oba 70. Abalala baava ku bitundu by’e Ttuulo ne Sidoni, mu bukiika kkono. Abalwadde bangi beeyuna Yesu nga baagala okumukwatako, era n’abawonya bonna. Bwe yamala okuwonya abalwadde bonna, yatandika okuyigiriza. (Lukka 6:17-19) Bwe yamaliriza okwogera, beewuunya nnyo ebyo bye baawulira. Lwaki?
11 Nga wayiseewo emyaka, omu ku baawulira okubuulira okwo yagamba nti: “Ekibiina ky’abantu ne kiwuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu, kubanga yali abayigiriza ng’omuntu alina obuyinza.” (Matayo 7:28, 29) Yesu yayogeranga n’obuyinza. Yayogeranga mu linnya lya Katonda era bye yayigiriza yabyesigamyanga ku Kigambo kya Katonda. (Yokaana 7:16) Yesu bye yayogeranga byali bitegeerekeka bulungi, bisikiriza, era nga bya magezi. Bye yayogera byalaga nti asobola okuggyayo ensonga enkulu era nti asobola okutuuka ku mitima gy’abamuwuliriza. Yabayigiriza engeri y’okufunamu essanyu, okusaba, okunoonya Obwakabaka bwa Katonda, era n’okweteekerateekera obulungi ebiseera eby’omu maaso. (Matayo 5:3–7:27) Ebigambo bye yayogera byasikirizanga abo abaali baagala amazima n’obutuukirivu. Abalinga abo baali beetegefu ‘okulekera awo okwetwala bokka’ basobole okumugoberera. (Matayo 16:24; Lukka 5:10, 11) Obwo nga bujulizi bwa maanyi obulaga amaanyi g’ebyo Yesu bye yayogera!
‘Yali wa Maanyi mu Bye Yakolanga’
12, 13. Mu ngeri ki Yesu gye yali ‘ow’amaanyi mu bye yakolanga,’ era yakola byamagero ki?
12 Era Yesu yali ‘wa maanyi mu bye yakolanga.’ (Lukka 24:19) Ebitabo by’Enjiri byogera ku byamagero bye yakola ebisoba mu 30, byonna nga yabikola mu ‘maanyi ga Yakuwa.’b (Lukka 5:17) Ebyamagero Yesu bye yakola byakwata ku nkumi n’enkumi z’abantu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku byamagero bibiri, okuliisa abasajja 5,000 n’okuliisa abalala 4,000. Mu butuufu bw’obalirako abakazi n’abaana, abantu be yaliisa ku mirundi egyo gyombi baali bangi nnyo!—Matayo 14:13-21; 15:32-38.
13 Yesu yakola ebyamagero ebitali bimu. Yalina obuyinza ku badayimooni, ng’abagoba awatali kintu kyonna kimulemesa. (Lukka 9:37-43) Yalina obuyinza ku bintu ebirabwako, gamba ng’okufuula amazzi enviinyo. (Yokaana 2:1-11) Lowooza ku ngeri abayigirizwa gye baakwatibwako bwe baamulaba “ng’atambulira ku nnyanja.” (Yokaana 6:18, 19) Yalina obuyinza ku bulwadde, ng’awonya endwadde eza buli kika. (Makko 3:1-5; Yokaana 4:46-54) Yawonyanga abantu mu ngeri ezitali zimu. Abamu yabawonya nga bali wala okuva we yali, ate abalala yabakwatangako bukwasi ne bawona. (Matayo 8:2, 3, 5-13) Abamu baawonyezebwa mbagirawo, ate abalala mpolampola.—Makko 8:22-25; Lukka 8:43, 44.
‘Baalaba Yesu ng’atambulira ku nnyanja’
14. Yesu yalaga atya nti alina obuyinza ku kufa?
14 Era Yesu yalina amaanyi ku kufa. Yazuukiza abantu basatu: yazuukiza omwana ow’emyaka 12 n’amuddiza bazadde be, yazuukiza omwana wa nnamwandu, ne Laazaalo. (Lukka 7:11-15; 8:49-56; Yokaana 11:38-44) Yesu yali asobola okuzuukiza abantu mu buli mbeera. Yazuukiza omuwala ow’emyaka 12 nga waakayitawo ekiseera kitono ng’omuwala oyo amaze okufa. Yazuukiza mutabani wa nnamwandu nga bamutwala okumuziika, ku lunaku lwennyini lwe yafiirako. Era yazuukiza Laazaalo eyali amaze ennaku nnya nga mufu.
Yakozesanga Amaanyi Ge mu Ngeri Entuufu
15, 16. Bujulizi ki obulaga nti Yesu teyeerowoozangako yekka ng’akozesa amaanyi ge?
15 Oyinza okuteeberezaamu bwe kyandibadde singa amaanyi Yesu ge yalina omufuzi atatuukiridde ye yagalina? Naye Yesu teyalina kibi. (1 Peetero 2:22) Teyalina mwoyo gwa kwerowoozaako na mululu, ebireetera abantu abatatuukiridde okukozesa obuyinza bwabwe okulumya abalala.
16 Yesu teyeerowoozangako yekka ng’akozesa amaanyi ge, era teyagakozesanga kubaako bye yeefunira. Enjala bwe yali emuluma, yagaana okufuula amayinja emmere. (Matayo 4:1-4) Olw’okuba yalina ebintu ebitono, ekyo kyalaga nti teyakozesa maanyi ge kwefunira bintu. (Matayo 8:20) Waliwo obujulizi obulala obulaga nti teyeerowoozaako yekka ng’akola ebyamagero. Bwe yakolanga ebyamagero, yabangako kye yeefiiriza. Bwe yawonyanga abalwadde, amaanyi gaamuvangamu. Wadde ng’awonyezza omuntu omu, yategeeranga nti amaanyi gamuvuddemu. (Makko 5:25-34) Kyokka, yaleka ebibiina by’abantu okumukwatako, era ne bawona. (Lukka 6:19) Nga yayoleka omwoyo gw’obuteerowoozaako!
17. Yesu yakozesa atya amaanyi ge mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa?
17 Yesu yakozesa amaanyi ge mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa. Teyakola byamagero olw’okweraga obwerazi. (Matayo 4:5-7) Teyali mwetegefu kukola byamagero okusobola okusanyusa obusanyusa Kerode. (Lukka 23:8, 9) Mu kifo ky’okumanyisa bonna nti wa maanyi, emirundi mingi Yesu yategeezanga abo be yabanga awonyezza obutabuulirako muntu yenna. (Makko 5:43; 7:36) Teyayagala bantu bakkirize nti ye Masiya nga bacamuukiridde bucamuukirizi olw’ebyo bye bawulira ebimukwatako.—Matayo 12:15-19.
18-20. (a) Kiki ekyakubirizanga Yesu okukozesa amaanyi ge? (b) Olowooza otya ku ngeri Yesu gye yawonyamu omusajja eyali kiggala?
18 Yesu yali wa njawulo nnyo ku bafuzi abakozesezza obuyinza bwabwe nga tebafaayo n’akamu ku byetaago by’abalala n’okubonaabona kwabwe. Yafangayo nnyo ku bantu. Yakwatibwako nnyo bwe yalabanga ababonaabona ne kiba nti yabangako ky’akolawo okubayamba. (Matayo 14:14) Yafangayo nnyo ku nneewulira yaabwe ne ku byetaago byabwe, era ekyo kirina kye kyakola ku ngeri gye yakozesangamu amaanyi ge. Ekyokulabirako ekimu ekibuguumiriza ennyo kisangibwa mu Makko 7:31-37.
19 Ku mulundi guno, ebibiina by’abantu byajja eri Yesu ne bimuleetera abalwadde bangi, era bonna n’abawonya. (Matayo 15:29, 30) Naye waaliwo omusajja Yesu gwe yafaako mu ngeri ey’enjawulo. Omusajja yali kiggala era nga kumpi tasobola kwogera. Yesu ateekwa okuba nga yakitegeera nti omusajja ono yali awulira ensonyi oba nga yeetya. N’olwekyo, yamutwala mu kifo ekyesudde akabanga, awataali bantu. Oluvannyuma yakozesa obubonero okulaga omusajja oyo kye yali agenda okukola. Yassa ‘engalo ze mu matu g’omusajja, era bwe yamala okuwanda amalusu yakwata ku lulimi lwe.’c (Makko 7:33) Ekyaddako, Yesu yatunula waggulu n’asaba. Mu kukola bw’atyo, yali ng’agamba omusajja oyo nti, ‘Kye ŋŋenda okukukolera kyesigamye ku maanyi ga Katonda.’ Oluvannyuma yamugamba nti: “Zibuka.” (Makko 7:34) Awo omusajja n’addamu okuwulira, era n’atandika okwogera obulungi.
20 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yesu ne bwe yali ng’akozesa amaanyi ga Katonda okuwonya ababonaabona, yafangayo ku nneewulira yaabwe! Kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Omufuzi ng’oyo afaayo ennyo ku bantu Yakuwa gw’alonze okufuga nga kabaka.
Ebyamagero Byayoleka Ebintu Ebinaabaawo mu Maaso
21, 22. (a) Ebyamagero bya Yesu byali byoleka ki? (b) Olw’okuba Yesu alina obuyinza ku maanyi g’obutonde, kiki kye tuyinza okusuubira okubaawo ng’afuga ensi yonna?
21 Ebyamagero Yesu bye yakola ku nsi byali bisonga ku mikisa egy’ekitalo egiribaawo mu bufuzi bwe. Mu nsi ya Katonda empya, Yesu ajja kuddamu okukola ebyamagero, ku luno, mu nsi yonna! Lowooza ku bimu ku bintu ebisanyusa ebijja mu maaso.
22 Yesu ajja kuzza buggya embeera y’ebiramu byonna ebiri ku nsi. Bwe yakkakkanya omuyaga yakiraga nti alina obuyinza ku maanyi g’obutonde. N’olwekyo, wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Kristo, abantu tekiribeetaagisa kutya musisi, embuyaga ez’amaanyi, ensozi eziwandula omuliro, n’obutyabaga obulala ng’obwo. Okuva Yesu bw’ali omukozi omukugu Yakuwa gwe yakozesa okutonda ensi n’ebiramu ebigiriko, amanyi bulungi byonna ebigikwatako. Amanyi engeri gye tusobola okugibeerako nga tetugyonoonye. Wansi w’obufuzi bwe, ensi yonna ejja kufuulibwa Olusuku lwa Katonda.—Lukka 23:43.
23. Nga Kabaka, Yesu alikola atya ku byetaago by’abantu?
23 Ate kiri kitya ku byetaago by’abantu? Okuba nti Yesu yasobola okuliisa enkumi n’enkumi z’abantu ng’akozesa eby’okulya ebitono, kitukakasa nti mu bufuzi bwe tewajja kubaawo njala. Buli muntu ajja kuba n’emmere emumala. (Zabbuli 72:16) Obuyinza bwe yalina ku ndwadde butulaga nti abalwadde, bamuzibe, bakiggala, n’abalema, bajja kuwonera ddala, obutaddamu kulwala nate. (Isaaya 33:24; 35:5, 6) Okuba nti yazuukiza abafu, kiraga nti bw’anaaba afuga ensi yonna nga kabaka, ajja kuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu.—Yokaana 5:28, 29.
24. Bwe tufumiitiriza ku maanyi ga Yesu, kiki kye tusaanidde okujjukira, era lwaki?
24 Bwe tufumiitiriza ku maanyi ga Yesu, tukijjukire nti Omwana ono akoppa Kitaawe mu bujjuvu. (Yokaana 14:9) N’olwekyo, engeri Yesu gye yakozesaamu amaanyi etulaga bulungi engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yesu gye yafaayo ku mugenge gwe yawonya. Olw’okuba Yesu yasaasira omusajja oyo, yagolola omukono n’amukwatako era n’amugamba nti: “Njagala!” (Makko 1:40-42) Okusinziira ku ebyo ebyaliwo, Yakuwa aba ng’atugamba nti, ‘Eyo ye ngeri gye nkozesaamu amaanyi gange!’ Ekyo tekikuleetera kutendereza Katonda omuyinza w’ebintu byonna n’okumwebaza olw’okukozesa amaanyi ge mu ngeri ey’okwagala?
a Ennyanja y’e Ggaliraaya etera okubaako embuyaga ezijja embagirawo. Olw’okuba ennyanja eyo eri wansi nnyo ng’ogigeraageranyizza n’agayanja aganene (ffuuti nga 700), empewo eri waggulu waayo ebuguma okusinga ey’omu kitundu ekyetooloddewo, era kino kireetawo enkyukakyuka mu ngeri empewo gy’etambulamu. Embuyaga ez’amaanyi ziva ku Lusozi Kerumooni ne zikka mu Kiwonvu kya Yoludaani, ekiri ebukiika kkono. Obudde obubadde obuteefu buyinza okukyuka amangu ago ne wajjawo embuyaga ez’amaanyi.
b Okugatta ku ekyo, emirundi egimu ebitabo by’Enjiri byogera ku byamagero bingi ebyabanga bikoleddwa mu kiseera kye kimu. Ng’ekyokulabirako, lumu ‘abantu b’omu kibuga bonna’ bajja okumulaba, era n’awonya “bangi” ku bo abaali abalwadde.—Makko 1:32-34.
c Okuwanda amalusu kaali kabonero oba ngeri ya kuwonya eyakkirizibwanga Abayudaaya n’Ab’amawanga, era ebiwandiiko bya balabbi byalaga nti amalusu gaakozesebwanga okuwonya. Yesu ayinza okuba nga yawanda amalusu okulaga omusajja oyo nti yali agenda kumuwonya. Kyokka Yesu yali teyeeyambisa malusu kuwonya.