Olina “Endowooza ya Kristo”?
“Katonda agaba obugumiikiriza era abudaabuda abawe . . . endowooza y’emu Kristo Yesu gye yalina.”—ABARUUMI 15:5, NW.
1. Yesu akubibwa atya mu bifaananyi bya Kristendomu bingi, era lwaki engeri Yesu gy’akubibwamu mu bifaananyi ebyo si ntuufu?
“TALABIBWANGAKO ng’aseka.” Bw’atyo Yesu bw’ayogerwako mu kiwandiiko ekimu ekirimba nti kyawandiikibwa omukungu Omuruumi ow’edda. Kigambibwa nti ekiwandiiko kino, ekimanyiddwa okuva mu kyasa 11, kirina kinene nnyo kye kikoze ku bakubi b’ebifaananyi bangi.a Mu bifaananyi bingi, Yesu alabika ng’omuntu omunakuwavu, eyali tatera kumwenyamwenya kabekasinge n’obutamwenyeza ddala n’akamu. Naye tekiba kituufu okukuba Yesu ng’afaanana bw’atyo kubanga Enjiri zimulaga okubeera omuntu ow’omukwano, ow’ekisa era alina enneewulira ez’amaanyi.
2. Tuyinza tutya okukulaakulanya “endowooza y’emu Kristo Yesu gye yalina,” era kino kinaatusobozesa kukola ki?
2 Kya lwatu, okusobola okumanya Yesu yennyini, tuteekwa okujjuza ebirowoozo byaffe n’emitima gyaffe okutegeera okutuufu okukwata ku Yesu kye yali ddala ng’ali wano ku nsi. N’olwekyo, ka twekenneenye ebintu ebimu ebiri mu Njiri ebitusobozesa okutegeera “endowooza ya Kristo”—kwe kugamba, enneewulira ze n’ebirowoozo bye. (1 Abakkolinso 2:16) Nga tukola ekyo, ka tulowooze ku ngeri gye tuyinza okukulaakulanyamu “endowooza y’emu Kristo Yesu gye yalina.” (Abaruumi 15:5) Mu ngeri eyo, tujja kuba nga tusobola bulungi okugoberera ekyokulabirako kye yatuteerawo mu bulamu bwaffe era ne mu ngeri gye tukolaganamu n’abalala.—Yokaana 13:15.
Mwangu wa Kutuukirira
3, 4. (a) Ebiri mu Makko 10:13-16, byaliwo ddi? (b) Yesu yakola ki abayigirizwa be bwe baagezaako okuziyiza abaana okujja gy’ali?
3 Abantu baasikirizibwa eri Yesu. Emirundi mingi, abantu ab’emyaka egitali gimu era abava mu mbeera z’obulamu ez’enjawulo baamutuukirira awatali kutya kwonna. Lowooza ku byaliwo ebyogerwako mu Makko 10:13-16. Byaliwo ku nkomerero y’obuweereza bwe ng’agenda e Yerusaalemi omulundi ogusembayo, okwolekagana n’okufa okw’obulumi ennyo.—Makko 10:32-34.
4 Kuba ekifaananyi ebyaliwo. Abantu batandika okuleeta abaana, nga mw’otwalidde n’abawere, eri Yesu abawe omukisa.b Kyokka, abayigirizwa bagezaako okuziyiza abaana okujja eri Yesu. Oboolyawo abayigirizwa balowooza nti Yesu tayagala baana kumutawaanya mu wiiki zino enkulu ennyo. Naye bakyamu. Yesu bw’amanya abayigirizwa kye bakola, takisanyukira. Yesu ayita abaana bajje gy’ali, ng’agamba: “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana.” (Makko 10:14) Awo n’alyoka akola ekintu ekyoleka okufaayo n’okwagala. Ekyawandiikibwa kigamba: “N’abawambaatira, n’abawa omukisa, ng’abassaako emikono.” (Makko 10:16) Awatali kubuusabuusa abaana tebatya n’akamu nga Yesu abawambaatira.
5. Ebiri mu Makko 10:13-16 bitutegeeza ki ku Yesu kye yali?
5 Ebyaliwo ebyo ebitonotono bitutegeeza bingi ebikwata ku Yesu kye yali. Weetegereze nti yali atuukirikika. Wadde yali mu kifo kya kitiibwa mu ggulu, yali tatiisa era teyanyoomanga bantu abatatuukiridde. (Yokaana 17:5) Era si kya makulu nti n’abaana nabo tebaatyanga kubeera naye? Mazima ddala tebandisikiriziddwa eri omuntu ow’eggume, atamwenyako n’akamu wadde okuseka! Abantu ab’emyaka egitali gimu baatuukiriranga Yesu kubanga baalaba nti yali muntu ow’omukwano afaayo, era baalinga bakakafu nti tajja kubagoba.
6. Abakadde bayinza batya okubeera abantu abatuukirikika?
6 Nga tufumiitiriza ku byaliwo bino, tuyinza okwebuuza, ‘Nnina endowooza ya Kristo? Ntuukirikika?’ Mu biseera bino ebizibu ennyo, endiga za Katonda zeetaaga abasumba abatuukirikika, abasajja abalinga “eky’okwekwekamu eri empewo.” (Isaaya 32:1, 2; 2 Timoseewo 3:1) Abakadde, singa mufiirayo ddala mu bwesimbu ku baganda bammwe era nga muli beetegefu okubayamba, bajja kukitegeera nti mubafaako. Bajja kukiraba ku maaso gammwe, bajja kukimanya okuva ku ddoboozi lyammwe, era n’okuva ku ngeri ey’ekisa gye mweyisaamu. Omukwano n’okufaayo ng’ebyo biyinza okuleetawo embeera ey’okwesigaŋŋana ne kyanguyira abalala, nga mw’otwalidde n’abaana, okubatuukirira. Omukazi omu Omukristaayo annyonnyola lwaki yasobola okweyabiza omukadde omu: “Yayogeranga nange mu ngeri ey’eggonjebwa era ey’obusaasizi. Singa tekyali kityo, oboolyawo sandisobodde kwogera kintu kyonna. Yandeetera okuwulira obukuumi.”
Okufaayo ku Balala
7. (a) Yesu yalaga atya nti yali afaayo ku balala? (b) Nsonga ki eyinza okuba nga ye yaleetera Yesu okuzibula amaaso ga muzibe empolampola?
7 Yesu yafangayo ku balala. Yafangayo ku nneewulira z’abalala. Okulaba obulabi abaali mu nnaku kyamukwatangako nnyo n’asindikirizibwa okukendeeza okubonaabona kwabwe. (Matayo 14:14) Era yafangayo ku kkomo n’ebyetaago by’abalala. (Yokaana 16:12) Lumu abantu baaleetera Yesu muzibe era ne bamwegayirira amuwonye. Yesu yazibula amaaso g’omusajja oyo, naye yakikola mpolampola. Mu kusooka, omusajja oyo yalaba abantu naye nga tategeera bulungi ky’alaba—‘bafaanana ng’emiti, naye nga batambulatambula.’ Awo, Yesu n’amuzibulira ddala amaaso. Lwaki yawonya omusajja oyo mpolampola? Kyandiba nga yayagala omuntu ono eyali amanyidde ekizikiza okutuukagana obulungi n’okulaba ensi omuli ekitangaala n’ebintu ebirala enkumu.—Makko 8:22-26.
8, 9. (a) Kiki ekyabaawo nga Yesu n’abayigirizwa be bayingidde mu ssaza ly’e Dekapoli? (b) Nnyonnyola engeri Yesu gye yawonyamu kiggala.
8 Era lowooza ku kyaliwo oluvannyuma lw’Okuyitako okw’omu 32 C.E. Yesu n’abayigirizwa be baali bayingidde mu ssaza ly’e Dekapoli, ebuvanjuba w’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Mu bbanga ttono ekibiina ky’abantu ekinene kyabazuula era ne baleetera Yesu abalwadde n’abalema bangi, era bonna n’abawonya. (Matayo 15:29, 30) Ekyewuunyisa, Yesu omusajja omu yamufaako mu ngeri ya njawulo. Omuwandiisi w’Enjiri Makko, yekka eyawandiika ebyaliwo bino, ategeeza ebyaliwo.—Makko 7:31-35.
9 Omusajja yali kiggala era nga tasobola kwogera bulungi. Yesu ayinza okuba yakiraba nti omusajja ono yali yeetya. Awo Yesu n’akola ekintu ekitali kya bulijjo. Yaggya omusajja mu kibiina ky’abantu n’amutwala mu kifo eky’ekyama. Awo Yesu n’akozesa obubonero okulaga omusajja kye yali agenda okukola. “N’amussa engalo mu matu ge, n’awanda amalusu, n’amukoma ku lulimi.” (Makko 7:33) Ekyaddako, Yesu yatunula mu ggulu n’asaba. Ebikolwa bino byanditegeezezza omusajja nti, ‘Kye nnaatera okukukolera kyesigamye ku maanyi ga Katonda.’ Mu nkomerero Yesu yagamba: “Zibuka.” (Makko 7:34) Awo, amatu g’omusajja oyo ne gazibuka, era n’atandika okwogera mu ngeri eya bulijjo.
10, 11. Tuyinza tutya okufaayo ku nneewulira z’abalala mu kibiina? mu maka?
10 Nga Yesu yali afaayo nnyo ku balala! Yali afaayo nnyo ku nneewulira zaabwe, era okufaayo kuno kwamuleetera okweyisa mu ngeri etaalumya nneewulira zaabwe. Ng’Abakristaayo, kiba kirungi singa tukulaakulanya era ne twoleka endowooza ya Kristo mu nsonga eno. Baibuli etukubiriza: “Mwenna mubeerenga n’emmeeme emu [“n’endowooza eyo,” NW], abasaasiragana, abaagalana ng’ab’oluganda, ab’ekisa, abawombeefu.” (1 Peetero 3:8) Mazima ddala kino kitwetaagisa okwogera n’okweyisa mu ngeri ezooleka okufaayo eri enneewulira z’abalala.
11 Mu kibiina, tuyinza okwoleka okufaayo eri endowooza z’abalala nga tubassaamu ekitiibwa, nga tubayisa mu ngeri gye twandyagadde tuyisibwemu. (Matayo 7:12) Ekyo kyanditwaliddemu okwegendereza bye twogera awamu n’engeri gye tubyogeramu. (Abakkolosaayi 4:6) Jjukira nti ‘ebigambo ebyogerwa awatali kulowooza bifumita ng’ekitala.’ (Engero 12:18, NW) Ate kiri kitya mu maka? Omwami n’omukyala abaagalana bafaayo buli omu ku nneewulira za munne. (Abaefeso 5:33) Beewala ebigambo ebisongovu, okuvumirira buli kiseera, n’okukiina—byonna ebiyinza okuleeta obulumi mu nneewulira z’abalala era ng’obulumi obwo buyinza okulwawo okuggwaawo. Abaana nabo balina enneewulira, era abazadde abaagazi bafaayo ku nneewulira ezo. Bwe kiba kyetaagisa okubagolola, abazadde bandikikoze mu ngeri etamalaamu baana baabwe kitiibwa n’okubaswaza.c (Abakkolosaayi 3:21) Bwe kityo, bwe tulaga okufaayo eri abalala, tulaga nti tumanyi endowooza ya Kristo.
Yali Mwetegefu Okwesiga Abalala
12. Yesu yalina ndowooza ki etegudde lubege ku bayigirizwa be?
12 Yesu yalina endowooza etegudde lubege ku bayigirizwa be. Yali akimanyi bulungi nti baali tebatuukiridde. Ate era yali asobola okusoma emitima gy’abantu. (Yokaana 2:24, 25) Wadde kyali kityo, teyatunuulira butali butuukirivu bwabwe bwokka naye yatunuuliranga n’engeri zaabwe ennungi. Era yalaba obusobozi abasajja bano Yakuwa be yasika bwe baalina. (Yokaana 6:44) Endowooza ennungi Yesu gye yalina ku bayigirizwa be yeeyoleka mu ngeri gye yakolaganamu nabo ne gye yabayisangamu. Yakiraga nti yali mwetegefu okubeesiga.
13. Yesu yakyoleka atya nti yalina obwesige mu bayigirizwa be?
13 Yesu yayoleka atya obwesige obwo? Bwe yava ku nsi, yakwasa abayigirizwa be abaafukibwako amafuta obuvunaanyizibwa bwa maanyi. Yabakwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebigendererwa by’Obwakabaka bwe mu nsi yonna. (Matayo 25:14, 15; Lukka 12:42-44) Mu buweereza bwe, yakiraga nti yali abeesiga wadde mu bintu ebitono. Bwe yaliisa ebibiina by’abantu emmere mu ngeri ey’ekyamagero, yawa abayigirizwa be obuvunaanyizibwa obw’okugaba emmere.—Matayo 14:15-21; 15:32-37.
14. Oyinza otya okuwumbawumbako ebiri mu Makko 4:35-41?
14 Era, lowooza ku byaliwo ebiri mu Makko 4:35-41. Ku mulundi guno Yesu n’abayigirizwa be baalinnya eryato ne bagenda ebuvanjuba emitala w’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Ebbanga ttono nga baakava ku lukalu, Yesu yagalamira emabega mu lyato ne yeebaka. Kyokka, oluvannyuma lw’akaseera katono, ‘embuyaga ey’amaanyi yajja.’ Embuyaga ng’ezo zaateranga okukunta ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Olw’okuba ennyanja eno eri wansi (ffuuti nga 700 wansi w’agayanja aganene), empewo ekuntirako ebuguma okusinga ey’omu kitundu ekyetooloddewo, era kino kireetawo enkyukakyuka mu ntambula y’empewo. Okugatta ku kino, kibuyaga ow’amaanyi akunta mu Kiwonvu kya Yoludaani ng’ava ku Lusozi Kerumooni, oluli ebukiika kkono. Obudde obubadde obuteefu buyinza okukyuka amangu ago ne wajjawo embuyaga ey’amaanyi. Lowooza ku kino: Awatali kubuusabuusa, Yesu yali amanyi embuyaga zino ezaabangawo, kubanga yakulira Ggaliraaya. Kyokka yeebaka nga talina kye yeeraliikirira, nga yeesiga obumanyirivu bw’abayigirizwa be, abamu ku bo abaali abavubi.—Matayo 4:18, 19.
15. Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yali omwetegefu okuteeka obwesige mu bayigirizwa be?
15 Tuyinza okukoppa engeri Yesu gye yali omwetegefu okuteeka obwesige mu bayigirizwa be? Abamu kibazibuwalira okuwa abalala obuvunaanyizibwa. Kwe kugamba, buli kiseera bawulira nga be bateekwa okubeera mu buyinza. Bayinza okulowooza bwe bati, ‘Singa njagala ekintu okukolebwa obulungi, nteekwa okukikola nze kennyini!’ Naye singa tukola ebintu byonna ffe kennyini, tweteeka mu kabi ak’okukoowa ennyo era oboolyawo n’obutawa ba mu maka gaffe kiseera kimala. Ng’oggyeko ekyo, singa tetuwa balala mirimu na buvunaanyizibwa, tuba tubasubya okufuna obumanyirivu n’okutendekebwa ebyetaagisa. Kyandibadde kya magezi okuyiga okwesiga abalala, nga tubawa obuvunaanyizibwa. Kiba kirungi okwebuuza, ‘Nnina endowooza ya Kristo ku nsonga eno? Mpa abalala obuvunaanyizibwa kyeyagalire, nga mbeesiga nti bajja kubutuukiriza bulungi?’
Yayoleka Okukkiriza mu Bayigirizwa Be
16, 17. Mu kiro ekyasembayo eky’obulamu bwe obw’oku nsi, Yesu yakakasa ki abayigirizwa be, wadde yali amanyi nti baali bagenda kumwabulira?
16 Yesu yayoleka endowooza ennungi eri abayigirizwa be mu ngeri endala enkulu. Yabalaga nti abalinamu obwesige. Kino kyeyoleka bulungi mu bigambo ebizzaamu amaanyi bye yayogera eri abatume be mu kiro ekyasembayo eky’obulamu bwe ku nsi. Weetegereze ekyaliwo.
17 Kaali kawungeezi Yesu mwe yalina eby’okukola ebingi. Yayigiriza abatume okubeera abeetoowaze ng’anaaza ebigere byabwe. Oluvannyuma lw’ekyo, yatandikawo eky’ekiro ekyandibajjukizanga okufa kwe. Awo, abatume ne baddamu okuwakana ani ku bo asinga obukulu. Nga mugumiikiriza nga bulijjo, Yesu teyabavumirira naye yabayamba okufuna endowooza entuufu. Yabategeeza ekijja mu maaso: “Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n’endiga ez’omu kisibo zirisaasaanyizibwa.” (Matayo 26:31; Zekkaliya 13:7) Yali amanyi nti banne ab’oku lusegere bandimwabulidde mu kiseera we yandibadde asinga okubeetaagira. Wadde kyali kityo, teyabavumirira. Wabula yabagamba: “Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” (Matayo 26:32) Yee, yabakakasa nti wadde bandimwabulidde, ye teyandibaabulidde. Ng’ekiseera kino eky’okugezesebwa kiwedde, yandibasisinkanye nate.
18. Mu Ggaliraaya, Yesu yakwasa abayigirizwa be mulimu ki omukulu, era abatume be baatuukiriza batya omulimu guno?
18 Yesu yatuukiriza bye yayogera. Oluvannyuma, mu Ggaliraaya, Yesu ng’azuukiziddwa yalabikira abatume 11 abeesigwa, abaali bakuŋŋaanye awamu n’abalala bangi. (Matayo 28:16, 17; 1 Abakkolinso 15:6) Ng’ali eyo, Yesu yabawa omulimu ogw’amaanyi: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’Omwoyo Omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kituwa obujulizi obulaga nti abatume baatuukiriza omulimu ogwo. N’obwesigwa baawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mu kyasa ekyasooka.—Ebikolwa 2:41, 42; 4:33; 5:27-32.
19. Ebikolwa bya Yesu oluvannyuma lw’okuzuukizibwa kwe bituyigiriza ki ku ndowooza ya Kristo?
19 Ebyaliwo bino bituyigiriza ki ku ndowooza ya Kristo? Yesu yali alabye engeri z’abatume be ezisingayo obubi, kyokka ‘yabaagala okutuusa ku nkomerero.’ (Yokaana 13:1) Wadde baasobyanga, yabalaga nti yali abakkiririzaamu. Weetegereze nti obwesige Yesu bwe yabateekamu tebwali bwa bwereere. Obwesige bwe yali abataddemu awatali kubuusabuusa bwabanyweza ne bamalirira mu mitima gyabwe okukola omulimu gwe yabalagira okukola.
20, 21. Tuyinza tutya okwoleka endowooza ennungi eri bakkiriza bannaffe?
20 Tuyinza tutya okwoleka endowooza ya Kristo mu nsonga eno? Tobeera na ndowooza mbi ku bakkiriza bano. Singa obasuubiramu bibi, ebigambo byo n’ebikolwa bijja kukyoleka. (Lukka 6:45) Kyokka, Baibuli etutegeeza nti okwagala “kukkiriza byonna.” (1 Abakkolinso 13:7) Okwagala kulowooza birungi so si bibi. Kuzimba so tekumalaamu maanyi. Abantu bakubirizibwa mangu okwagala n’okuzzibwamu amaanyi okusinga okutya. Tuyinza okuzimba abalala era ne tubazzaamu amaanyi nga tubassaamu obwesige. (1 Abasessaloniika 5:11) Singa okufaananako Kristo tubeera n’endowooza ennungi ku balala, tujja kubayisa mu ngeri ezibazimba era ezibakubiriza okukola ebirungi.
21 Okukulaakulanya n’okwoleka endowooza ya Kristo kisingawo ku kukoppa obukoppi ebintu Yesu bye yakola. Nga bwe twalabye mu kitundu ekivuddeko, singa tuli ba kweyisa nga Yesu, tuteekwa okusooka okuyiga okutunuulira ebintu nga bwe yakola. Enjiri zituyamba okulaba ekintu ekirala ekikwata ku ngeri ze, ebirowoozo bye n’enneewulira ye eri omulimu ogwamuweebwa, ng’ekitundu ekiddako bwe kijja okulaga.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu kiwandiiko kino, oyo eyakigingaginga ayogera ku ndabika ya Yesu, nga mw’otwalidde ne langi y’enviiri ze, ekirevu kye, n’amaaso ge. Omuvvuunuzi wa Baibuli Edgar J. Goodspeed annyonnyola nti okugingaginga kuno “kwakolebwa abantu basobole okukkiriza enyinnyonnyola eyali mu bitabo by’abasiizi b’ebifaananyi ebikwata ku ndabika ya Yesu.”
b Kirabika abaana baalina emyaka gya njawulo. Ekigambo ekikyusibwa “abaana abato” kikozesebwa ku muwala wa Yayiro ow’emyaka 12. (Makko 5:39, 42; 10:13) Kyokka, mu njiri endala eyogera ku nsonga y’emu, Lukka akozesa ekigambo ekikozesebwa ne ku baana abawere.—Lukka 1:41; 2:12; 18:15.
c Laba ekitundu “Owa Abalala Ekitiibwa?” mu The Watchtower aka Apuli 1, 1998.
Osobola Okunnyonnyola?
• Yesu yakola ki abayigirizwa be bwe baagezaako okuziyiza abaana okujja gy’ali?
• Yesu yafaayo ku balala mu ngeri ki?
• Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yali omwetegefu okuteeka obwesige mu bayigirizwa be?
• Tuyinza tutya okukoppa obwesige Yesu bwe yateeka mu batume be?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Abaana tebaalina kutya kwonna nga bali ne Yesu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Yesu yayisa abalala mu ngeri ey’obusaasizi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Abakadde abatuukirikika ba muganyulo